Kye Tuyigira ku Yesu
Ku Ngeri y’Okuyisaamu Abalala
Lwaki kirungi okuba ow’ekisa?
Olaga abantu ekisa ne bwe baba nga bo tebakikulaze? Bwe tuba twagala okukoppa Yesu, tulina okuba ab’ekisa eri n’abantu abatuwalana. Yesu yagamba nti: “Bwe mwagala abo ababaagala mmwe, mwebazibwa ki? kubanga n’abantu abalina ebibi baagala abo ababaagala. . . . Naye mwagalenga abalabe bammwe . . . , nammwe muliba baana b’Oyo Ali waggulu ennyo: kubanga ye mulungi eri abateebaza n’ababi.”—Lukka 6:32-36; 10:25-37.
Lwaki kirungi okusonyiwa?
Bwe tukola ensobi twagala Katonda atusonyiwe. Yesu yayigiriza nti kirungi okusaba Katonda okutusonyiwa. (Matayo 6:12) Naye yagamba nti gye tukoma okusonyiwa bannaffe ne Katonda gy’akoma okutusonyiwa. Yagamba: “Bwe munaasonyiwanga abantu ebyonoono byabwe, Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga nammwe. Naye bwe mutaasonyiwenga bantu ebyonoono byabwe, ne Kitammwe taasonyiwenga byonoono byammwe.”—Matayo 6:14, 15.
Kiki ekiyamba amaka okubaamu essanyu?
Wadde nga Yesu teyali mufumbo, tulina bingi bye tusobola okumuyigirako mu kuleeta essanyu mu maka. Ebintu bye yayogera ne bye yakola bituyamba okulaba engeri gye tuyinza okumukoppa. Lowooza ku bintu bino ebisatu:
1. Omusajja alina okwagala mukyala we nga bw’ayagala omubiri gwe ye. Yesu yateerawo abasajja ekyokulabirako ekirungi. Yagamba abayigirizwa be nti: “Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga.” Baalina kwagalana kwenkana wa? Yagamba nti: “Nga bwe nnabaagalanga mmwe.” (Yokaana 13:34) Baibuli eraga engeri omusingi guno gye gukwata ku basajja ng’egamba nti: “Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo. Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng’emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka: kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa agujjanjaba, era nga Kristo bw’ajjanjaba ekkanisa.”—Abaefeso 5:25, 28, 29.
2. Abafumbo bateekwa okukuuma obwesigwa. Okuleka mukyala wo oba omwami wo ne weetaba n’omuntu omulala kiba kibi mu maaso ga Katonda era kitta amaka. Yesu yagamba: “Temusoma nti . . . Omuntu ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, yeetabe ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu? Obutaba babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu. . . . Mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we, wabula okumulanga ogw’obwenzi, n’awasa omulala, ng’ayenze.”—Matayo 19:4-9.
3. Abaana balina okugondera bazadde baabwe. Wadde nga yali atuukiridde, Yesu yali mwana muwulize eri bazadde be abaali batatuukiridde. Baibuli eyogera bw’eti ku Yesu bwe yali nga wa myaka 12: “N’aserengeta nabo [bazadde be] n’ajja e Nazaaleesi, n’abagonderanga.”—Lukka 2:51; Abaefeso 6:1-3.
Lwaki kirungi okutambulira ku misingi egyo?
Ng’ayogera ku bintu bye yayigiriza abayigirizwa be, Yesu yagamba nti: “Bwe mubimanya ebyo, mulina omukisa bwe mubikola.” (Yokaana 13:17) Bwe tuba twagala okuba Abakristaayo ab’amazima tulina okutambulira ku ekyo Yesu kye yayigiriza ku ngeri y’okuyisaamu abalala. Yagamba nti: “Bonna kwe banaategeerera nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.”—Yokaana 13:35.
Okumanya ebisingawo, laba essuula 14 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?a
[Obugambo obuli wansi]
a Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Olugero lwa Yesu olw’omwana eyayonoona omugabo gwe lutuyigiriza nti kikulu okulaga ekisa n’okusonyiwa.—Lukka 15:11-32
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Buli omu alina okuba omwesigwa eri munne mu bufumbo