Kye Tuyigira Ku Yesu
Ku Bikwata ku Bulamu bw’Amaka
Abafumbo bandibadde na ndowooza ki ku bufumbo esobola okuleetera amaka okuba amasanyufu?
Obufumbo butukuvu. Yesu bwe yabuuzibwa oba nga okugattulula obufumbo kikkirizibwa, yaddamu nti: “Temusomangako nti oyo eyabatonda okuva ku lubereberye yatonda omusajja n’omukazi n’agamba nti, ‘Olw’ensonga eno omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n’abeera ne mukazi we era bombi banaabanga omubiri gumu’? Nga tebakyali babiri naye nga bali omubiri gumu. N’olwekyo, Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawulanga. . . . Buli agattulula mukazi we okuggyako ng’amuvunaana gwa bwenzi, n’awasa omulala, aba ayenze.” (Matayo 19:4-6, 9) Abafumbo bwe bagoberera okubuulirira kwa Yesu kuno era buli omu n’aba mwesigwa eri munne, bonna mu maka bafuna essanyu n’obukuumi.
Lwaki okwagala Katonda kisobozesa amaka okuba amasanyufu?
Yesu yagamba nti: “‘Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ Lino lye tteeka erisinga obukulu mu gonna era lye lisooka.” Ate etteeka ekkulu ery’okubiri lye liruwa? Yesu yagamba nti: “Oteekwa okwagala muntu munno [nga mw’otwalidde n’abo abakuli ku lusegere, kwe kugamba ab’omu maka go] nga bwe weeyagala wekka.” (Matayo 22:37-39) N’olwekyo, ekisobola okuleeta essanyu mu maka kwe kuba n’enkolagana ennungi ne Katonda kubanga okwagala kwe tulina gy’ali kutuleetera okwagalana.
Omwami n’omukyala buli omu ayinza atya okuleetera munne essanyu?
Abaami baleetera bakyala baabwe essanyu bwe bagoberera ekyokulabirako kya Yesu. Yeefiiriza olw’okwagala kwe yalina eri mukyala we ow’akabonero, nga kino kye kibiina Ekikristaayo. (Abeefeso 5:25) Yesu yagamba nti: ‘Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa wabula okuweereza.’ (Matayo 20:28) Yesu teyali nnaakyemalira era teyayisanga bubi abo be yali akulembera wabula yabawummuzanga. (Matayo 11:28) N’olwekyo, abaami basaanidde okukozesa obuyinza bwabwe mu ngeri ey’ekisa eneeganyula ab’omu maka bonna.
Abakyala nabo basobola okuganyulwa mu kyokulabirako kya Yesu. Baibuli egamba nti, “omutwe gwa Kristo ye Katonda.” Ate era egamba nti, “omutwe gw’omukazi ye musajja.” (1 Abakkolinso 11:3) Yesu teyakitwala nti okugondera Katonda kimufeebya. Yassangamu nnyo Kitaawe ekitiibwa. Yagamba nti: “Bulijjo nkola ebintu ebimusanyusa.” (Yokaana 8:29) Omukyala agondera obukulembeze bwa bba olw’okuba ayagala Katonda era amussaamu ekitiibwa, akola kinene nnyo mu kuleeta essanyu mu maka.
Kiki abazadde kye basobola okuyigira ku ngeri Yesu gye yatwalangamu abaana?
Yesu yafunangayo ekiseera eky’okubeerako awamu n’abaana era yafangayo okutegeera endowooza n’enneewulira zaabwe. Baibuli egamba: “Yesu n’ayita abaana ng’agamba nti: ‘Muleke abaana abato bajje gye ndi.’” (Lukka 18:15, 16) Lumu, abantu baasunguwalira abalenzi abaali boogerera waggulu olw’okukkiriza kwe baalina mu Yesu. Naye Yesu yasiima abaana abo era n’agamba abo abaali babasunguwalidde nti: “Temusomangako nti: ‘Oleetedde akamwa k’abaana abawere n’abayonka okukutendereza’?”—Matayo 21:15, 16.
Kiki abaana kye bayinza okuyigira ku Yesu?
Yesu yateerawo abaana ekyokulabirako ekirungi eky’okwagala ebintu eby’omwoyo. Bwe yali ng’aweza emyaka 12 egy’obukulu, bazadde be baamusanga “mu yeekaalu ng’atudde n’abayigiriza, ng’abawuliriza era ng’ababuuza ebibuuzo.” Biki ebyavaamu? “Abo bonna abaali bamuwuliriza ne beewuunya nnyo olw’okutegeera kwe, n’olw’ebyo bye yali addamu.” (Lukka 2:42, 46, 47) Kyokka, okumanya Yesu kwe yalina tekwamufuula wa malala. Wabula, kwamuleetera okussa ekitiibwa mu bazadde be. Baibuli egamba nti: “Ne yeeyongera okubagonderanga.”—Lukka 2:51.
Okusobola okumanya ebisingawo, laba essuula 14 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?a
[Obugambo obuli wansi]
a Akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.