LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 8/15 lup. 3-7
  • Yakuwa Tajja Kwabulira Bantu Be Abeesigwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Tajja Kwabulira Bantu Be Abeesigwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Nga Banyigirizibwa
  • Nga Boolekaganye ne Bakyewaggula
  • Nga Bakola Omulimu gwa Katonda
  • Yakuwa Ajja Kukuuma Abantu Be Abeesigwa
  • Obwakabaka Bwawulwamu
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Obwakabaka Bwawuddwamu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Kuuma Obwesigwa ng’Olina Omutima Oguli Awamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • ‘Ggwe Mwesigwa Wekka’
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 8/15 lup. 3-7

Yakuwa Tajja Kwabulira Bantu Be Abeesigwa

“[Yakuwa] tajja kwabulira bantu be abeesigwa. Bajja kukuumibwa emirembe gyonna.”​—ZAB. 37:28, NW.

1, 2. (a) Biki ebyaliwo mu kyasa eky’ekkumi E.E.T., ebyagezesa ennyo obwesigwa bw’abaweereza ba Katonda? (b) Mbeera ki essatu Yakuwa mwe yaweera abantu be abeesigwa obukuumi?

EKYASA kya kkumi ng’Embala Eno Tennatandika (E.E.T.), era mu kiseera kino waliwo ekintu abantu ba Yakuwa kye balina okusalawo. Olutalo lw’omunda lwewalibwa olw’ebika bya Isiraeri eby’omu bukiika kkono ebibadde byemulugunya okuweebwa obwetwaze. Okusobola okwenywereza mu buyinza, Yerobowaamu, kabaka waabwe omuggya ateekawo ensinza empya mu ggwanga. Alagira abantu be bonna okugigoberera. Abantu ba Yakuwa abeesigwa banaakola ki? Banaasigala nga beesigwa eri Katonda waabwe? Bangi basigala nga beesigwa gy’ali, era Yakuwa abawa obukuumi.​—1 Bassek. 12:1-33; 2 Byom. 11:13, 14.

2 Ne mu kiseera kyaffe, obwesigwa bw’abantu ba Katonda bugezesebwa. Baibuli erabula nti: “Mutamiirukukenga, mutunulenga; omulabe wammwe Setaani atambulatambula, ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.” Tusobola ‘okumuziyiza bwe tuba abanywevu mu kukkiriza’? (1 Peet. 5:8, 9) Ka twekenneenye ebyaliwo mu 997 E.E.T., Yerobowaamu we yafuukira kabaka, era tulabe kye tuyinza okubiyigamu. Mu biseera ebyo ebyali ebizibu, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa baali banyigirizibwa. Era baalina okwolekagana n’abo abaali beewaggudde ku kusinza okw’amazima, ate nga n’omulimu gwe baali batumiddwa okukola tegwali mwangu. Mu mbeera zino zonna, Yakuwa teyayabulira bantu be abeesigwa, era ne leero tajja kukikola.​—Zab. 37:28.

Nga Banyigirizibwa

3. Lwaki obufuzi bwa Kabaka Dawudi tebwalimu kunyigiriza bantu?

3 Ka tusooke twetegereze engeri Yerobowaamu gye yajjamu okufuuka kabaka. Engero 29:2 wagamba nti: “Omubi bw’afuga, abantu basinda.” Mu bufuzi bwa Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda tewaaliwo asinda. Dawudi yali tatuukiridde, naye yali mwesigwa nnyo eri Katonda. Mu bufuzi bwa Dawudi tewaali kunyigiriza bantu. Yakuwa yakola endagaano ne Dawudi n’agamba nti: “Ennyumba yo n’Obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso go: entebe yo erinywezebwa ennaku zonna.”​—2 Sam. 7:16.

4. Okusobola okweyongera okufuna emikisa, Sulemaani n’abantu be kyali kibeetaagisa kukola ki?

4 Obufuzi bwa Sulemaani, mutabani wa Dawudi, bwali bwa mirembe nnyo mu kusooka ne kiba nti bwali busonga ku Bufuzi bwa Kristo Yesu obw’Emyaka Olukumi obugenda okujja. (Zab. 72:1, 17) Mu kiseera ekyo, tewali na kimu ku bika bya Isiraeri 12 kyalina nsonga ekireetera kwegugunga. Kyokka, okusobola okweyongera okufuna emikisa egyo, Sulemaani n’abantu be baalina kye bateekwa okukola. Yakuwa yali yagamba Sulemaani nti: “Bw’onootambuliranga mu mateeka gange n’otuukiriza emisango gyange, n’okwata ebiragiro byange byonna okubitambulirangamu: kale n[n]anywezanga ekigambo kyange naawe, kye nnagamba Dawudi kitaawo. Era n[n]aabeeranga mu baana ba Isiraeri, so si[i]rekenga bantu bange Isiraeri.”​—1 Bassek. 6:11-13.

5, 6. Kiki ekyavaamu Sulemaani bwe yalekera awo okuba omwesigwa eri Katonda?

5 Mu myaka gye egy’obukadde, Sulemaani yalekera awo okuba omwesigwa eri Yakuwa era yatandika okwenyigira mu kusinza okw’obulimba. (1 Bassek. 11:4-6) Mpolampola, Sulemaani yalekera awo okugondera amateeka ga Yakuwa era yatandika okunyigiriza abantu. Yabanyigiriza nnyo ne kiba nti oluvannyuma lw’okufa kwe abantu beemulugunya era ne baatuukirira mutabani we Lekobowaamu eyamuddira mu bigere ne bamusaba abateewuluze. (1 Bassek. 12:4) Yakuwa yakola ki nga Sulemaani alekedde awo okuba omwesigwa?

6 Baibuli etugamba nti: “Mukama n’asunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwakyuka okuva ku . . . Katonda wa Isiraeri eyali yaakamulabikira emirundi ebiri.” Yakuwa yagamba Sulemaani nti: “Kubanga . . . tokutte ndagaano yange n’amateeka gange bye nnakulagira, sirirema kukuyuzaako obwakabaka ne mbuwa omuddu wo.”​—1 Bassek. 11:9-11.

7. Wadde nga Yakuwa yalekera awo okukolagana ne Sulemaani, yayamba atya abantu Be abeesigwa?

7 Yakuwa yatuma nnabbi Akiya afuke amafuta ku oyo eyandinunudde abantu okuva mu kunyigirizibwa. Omununuzi oyo ye yali Yerobowaamu, omusajja eyali omuweereza omulungi mu gavumenti ya Sulemaani. Wadde nga Yakuwa yanywerera ku ndagaano y’Obwakabaka gye yali akoze ne Dawudi, yakkiriza ebika 12 byawulwemu ebitundu bibiri. Ebika ekkumi byali bya kufugibwa Yerobowaamu; ebibiri byali bya kusigala nga bifugibwa ab’ennyumba ya Dawudi, kati eyali ekiikirirwa Kabaka Lekobowaamu. (1 Bassek. 11:29-37; 12:16, 17, 21) Yakuwa yagamba Yerobowaamu nti: “Olulituuka bw’onoowuliranga byonna bye nkulagira n’otambuliranga mu makubo gange n’okolanga ebyo ebiri mu maaso gange ebirungi, okukwatanga amateeka gange n’ebiragiro byange nga Dawudi omuddu wange bwe yakolanga; kale n[n]aabeeranga wamu naawe, era ndikuzimbira ennyumba ey’enkalakkalira nga bwe nnazimbira Dawudi, era ndikuwa Isiraeri.” (1 Bassek. 11:38) Yakuwa yayamba abantu be n’abawa obuweerero ng’abaggya mu kunyigirizibwa.

8. Mbeera ki ezinyigiriza abantu ba Katonda leero?

8 Okunyigirizibwa n’obutali bwenkanya bingi nnyo leero. Omubuulizi 8:9 wagamba nti: ‘Omuntu aba n’obuyinza ku mulala olw’okumukola obubi.’ Omululu mu by’obusuubuzi n’enfuga embi biyinza okukalubya eby’enfuna. Abakulembeze mu gavumenti, mu bizineesi, ne mu madiini tebatera kuteekawo kyakulabirako kirungi. Okufaananako Lutti omusajja eyali omutuukirivu, abantu ba Katonda abeesigwa leero banyolwa nnyo ‘olw’empisa z’ababi ez’obukaba.’ (2 Peet. 2:7) Era wadde nga tufuba okutambulira ku mitindo gya Katonda nga tewali gwe tutawaanya, emirundi mingi abafuzi ababi batuyigganya.​—2 Tim. 3:1-5, 12.

9. (a) Kiki Yakuwa ky’akoze okununula abantu be? (b) Tukakasiza ku ki nti Yesu ajja kuba mwesigwa eri Katonda emirembe gyonna?

9 Kyokka, tuli bakakafu ku kino: Yakuwa tajja kwabulira bantu be abeesigwa! Lowooza ku nteekateeka z’akoze okuggyawo obufuzi bw’ensi eno obubi. Obwakabaka bwa Katonda obufugibwa Kristo Yesu bwamala dda okuteekebwawo. Yesu Kristo yatandika okufugira mu ggulu emyaka kumpi kikumi emabega. Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kuleeta obuweerero eri abo bonna abatya erinnya lya Katonda. (Soma Okubikkulirwa 11:15-18.) Yesu yasigala nga mwesigwa eri Katonda okutuukira ddala ku kufa. Tajja kunyigiriza bantu be n’akatono nga Sulemaani bwe yakola.​—Beb. 7:26; 1 Peet. 2:6.

10. (a) Tuyinza tutya okulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bwa muwendo gye tuli? (b) Tuyinza kuba bakakafu ku ki nga twolekaganye n’okugezesebwa?

10 Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala eggya okumalawo okunyigirizibwa kwonna. Tusaanidde okunywerera ku Yakuwa Katonda ne ku Bwakabaka bwe. Olw’okuba tukkiririza mu Bwakabaka obwo, twewala empisa z’ensi eno etetya Katonda, era ne tufuba okukola ebyo ebimusanyusa. (Tito 2:12-14) Tukola buli kye tusobola okusigala nga tetuliiko mabala ga nsi eno embi. (2 Peet. 3:14) Ka twolekagane na kugezesebwa kwa ngeri ki mu kiseera kino, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutukuuma tuleme kutuukibwako kabi mu by’omwoyo. (Soma Zabbuli 97:10.) Ate era, Zabbuli 116:15 watukakasa nti: “Okufa kw’abatukuvu be kwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama.” Olw’okuba abaweereza ba Yakuwa ba muwendo nnyo gy’ali, tayinza kubaleka kusaanyizibwawo ng’ekibiina.

Nga Boolekaganye ne Bakyewaggula

11. Yerobowaamu yafuuka atya atali mwesigwa?

11 Kabaka Yerobowaamu yali asobola okuleetera abantu ba Katonda obuweerero mu bufuzi bwe. Mu kifo ky’ekyo, ebikolwa bye byayongera bwongezi kugezesa bwesigwa bwabwe eri Katonda. Ng’awulira nti si mumativu n’enkizo eyali emuweereddwa, Yerobowaamu yasala amagezi okwenywereza mu buyinza. Yagamba mu mutima gwe nti: “Abantu bano bwe banaayambukanga okuweerayo ssaddaaka mu nnyumba ya Mukama mu Yerusaalemi, kale omutima gw’abantu bano gulikyukira nate mukama waabwe, Lekobowaamu kabaka wa Yuda; kale balinzita nze, ne baddayo eri Lekobowaamu kabaka wa Yuda.” Bw’atyo Yerobowaamu yassaawo ensinza empya ey’ennyana bbiri eza zaabu. ‘Emu yagiteeka mu Beseri, endala n’agiteeka mu Ddaani. Ekigambo ekyo ne kiba ekibi: kubanga abantu baagendanga okusinziza mu maaso g’emu nga bagenda e Ddaani. Yazimba ennyumba ez’ebifo ebigulumivu, n’assaawo bakabona ng’abaggya mu bantu bonna abatali ba ku baana ba Leevi.’ Yerobowaamu yagunjawo n’olunaku ‘lw’embaga eri abaana ba Isiraeri,’ era ‘yalinnya eri ekyoto okwoteza obubaane.’​—1 Bassek. 12:26-33.

12. Abantu ba Katonda abeesigwa abaali mu bwakabaka bw’omu bukiika kkono baakola ki nga Yerobowaamu atandiseewo okusinza ennyana mu Isiraeri?

12 Kati olwo abantu ba Katonda abeesigwa ab’omu bwakabaka obwo obw’ebukiika kkono bandikoze ki? Okufaananako bajjajjaabwe abeesigwa, Abaleevi abaali mu bibuga ebyabaweebwa mu bwakabaka bw’ebukiika kkono baasalawo mangu eky’okukola. (Kuv. 32:26-28; Kubal. 35:6-8; Ma. 33:8, 9) Baaleka obusika bwabwe, ne basenguka n’ab’omu maka gaabwe ne bagenda mu Yuda basobole okusinza Yakuwa awatali kuziyizibwa. (2 Byom. 11:13, 14) Abaisiraeri abalala abaasangibwa nga bagenzeeko mu Yuda baasalawo kusigala eyo ne bataddayo waabwe. (2 Byom. 10:17) Yakuwa yakakasa nti mu biseera eby’omu maaso, abo bonna abandyagadde okuleka okusinza ennyana baali basobola okuva mu bwakabaka bw’omu bukiika kkono ne bagenda e Yuda ewaali okusinza okw’amazima.​—2 Byom. 15:9-15.

13. Bakyewaggula bagezezzaako batya okuleetera abantu ba Katonda ab’omu kiseera kino okwekkiriranya?

13 Bakyewaggula bagezaako okulaba nti abantu ba Katonda bekkiriranya. Abafuzi abamu bagezezzaako okuwaliriza abantu baabwe okugoberera eddiini emu gye baba batongozza mu nsi yaabwe. Era n’abakulembeze b’amadiini ga Kristendomu n’abantu abalala abeetulinkiriza bagezezzaako okwefuula bakabona ab’eby’omwoyo. Kyokka, mu Bakristaayo ab’amazima mwe mwokka omusangibwa abaafukibwako amafuta aba nnamaddala, era bano be b’okubeera “bakabona abaweereza nga bakabaka.”​—1 Peet. 2:9, NW; Kub. 14:1-5.

14. Tutwala tutya endowooza za bakyewaggula?

14 Okufaananako Abaleevi abeesigwa bali ab’omu kyasa eky’ekkumi E.E.T., abantu ba Katonda abeesigwa leero tebatwalirizibwa ndowooza za bakyewaggula. Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe beewalira ddala endowooza za bakyewaggula. (Soma Abaruumi 16:17.) Wadde tugondera ab’obuyinza era nga tetweyingiza mu ntalo za nsi eno, tukyolekera ddala nti ffe tuwagira Bwakabaka bwa Katonda. (Yok. 18:36; Bar. 13:1-8) Tusambajja ebyo ebyogerwa abo abeetwala okuba abaweereza ba Katonda naye ng’enneeyisa yaabwe temuweesa kitiibwa.​—Tito 1:16.

15. Lwaki tusaanidde okulaga obwesige eri ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’?

15 Lowooza ne ku ky’okuba nti Yakuwa asobozesezza abantu ab’emitima emirungi okuva mu nsi eno embi ne bayingira mu lusuku lwe olw’eby’omwoyo. (2 Kol. 12:1-4) N’emitima egijjudde essanyu, tuwagira ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi, mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo.’ Kristo yasigira omuddu oyo “ebintu bye byonna.” (Mat. 24:45-47) N’olwekyo, omuntu yenna ne bw’aba ng’alina ky’atategeera omuddu oyo ky’aba akoze, ekyo tekyandimuleetedde kumwesalako oba kuddayo mu nsi ya Setaani. Mu kifo ky’ekyo, tujja kulaga obwesige tulindirire Yakuwa atangaaze ensonga eyo.

Nga Bakola Omulimu gwa Katonda

16. Nnabbi omu okuva Yuda yatumibwa kugenda kukola ki?

16 Yakuwa yavunaana Yerobowaamu olw’okufuuka kyewaggula. Yatuma nnabbi okuva mu Yuda agende e Beseri ayogere eri Yerobowaamu ng’ali ku kyoto kye aweereza. Nnabbi oyo yalina okutuusa obubaka bw’omusango eri Yerobowaamu. Awatali kubuusabuusa, ekyo tekyali kyangu.​—1 Ki. 13:1-3.

17. Yakuwa yakuuma atya omubaka we?

17 Yerobowaamu yakwatibwa obusungu bwe yawulira obubaka obwo obuva eri Yakuwa. Yagololera omubaka wa Katonda omukono gwe nga bw’alagira abasajja abaali awo okumpi nti: “Mumukwate.” Naye amangu ago, nga tewannabaawo akolawo kintu kyonna, ‘omukono gwe yali amugololedde gwakala n’okuyinza n’atayinza kuguzza nate. Ekyoto nakyo kyayatika, evvu ne liyiika okuva ku kyoto.’ Yerobowaamu yawalirizibwa okwegayirira nnabbi oyo amusabire eri Yakuwa omukono gwe ogwali gukaze guwone. Nnabbi yamusabira era omukono gwe gwawona. Bw’atyo Yakuwa yakuuma nnabbi we n’atatuukibwako kabi.​—1 Bassek. 13:4-6.

18. Yakuwa atukuuma atya nga tukola omulimu gwe omutukuvu n’obuvumu?

18 Bwe tuba mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa, oluusi tusanga abantu abatatwagala oba abatukambuwalira. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Naye ekyo tekirina kutulemesa kukola mulimu gwaffe ogwo na bunyiikivu. Okufaananako nnabbi oyo atayogerwa linnya ow’omu kiseera kya Yerobowaamu, tulina ‘enkizo ey’okuweereza Yakuwa n’obwesigwa awatali kutya.’a (Luk. 1:74, 75) Wadde nga tabakolera byamagero, Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu ne bamalayika be okukuuma n’okuwagira Abajulirwa be. (Soma Yokaana 14:15-17; Okubikkulirwa 14:6.) Katonda tagenda kwabuulira abo ababuulira ekigambo kye n’obuvumu.​—Baf. 1:14, 28.

Yakuwa Ajja Kukuuma Abantu Be Abeesigwa

19, 20. (a) Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa tajja kutwabulira? (b) Bibuuzo ki bye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?

19 Yakuwa ye Katonda waffe omwesigwa. (Kub. 15:4; 16:5) “[Mwesigwa] mu mirimu gye gyonna.” (Zab. 145:17) Baibuli etukakasa nti: “Ajja kukuuma ekkubo ly’abantu be abeesigwa.” (Nge. 2:8, NW) Bwe boolekagana n’okugezesebwa oba ne bakyewaggula, oba bwe baba bakola omulimu ogutali mwangu, abantu ba Yakuwa abeesigwa baba bakakafu nti balina obulagirizi bwe era n’obuwagizi bwe.

20 Buli omu ku ffe ky’alina okufumiitirizaako kiri nti: Kiki ekinannyamba okusigala nga ndi mwesigwa eri Yakuwa nga ngezesebwa oba nga nkemebwa? Mu ngeri endala, nnyinza ntya okunyweza obwesigwa bwange eri Katonda?

[Obugambo obuli wansi]

a Mu kitundu ekiddako tujja kulaba obanga nnabbi ono ayongera okugondera Yakuwa oba nedda, na kiki ekyamutuukako.

Wandizzeemu Otya?

• Yakuwa alaze atya nti tayabulira bantu be abeesigwa nga banyigirizibwa?

• Twanditutte tutya bakyewaggula n’endowooza zaabwe?

• Yakuwa akuuma atya abantu be abeesigwa nga bali mu buweereza obw’Ekikristaayo?

[Mmaapu/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)

OBWAKABAKA OBW’EBUKIIKA KKONO(Yerobowaamu)

Ddaani

SEKEMU

Beseri

OBWAKABAKA OBW’EBUKIIKA DDYO(Lekobowaamu)

YERUSAALEMI

[Ekifaananyi]

Yakuwa teyayabulira bantu be abeesigwa nga Yerobowaamu atandiseewo okusinza ennyana

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

Okusobola okweyongera okufuna emikisa, Sulemaani n’abantu be baalina kye bateekwa okukola

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share