LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 8/15 lup. 7-11
  • Kuuma Obwesigwa ng’Olina Omutima Oguli Awamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kuuma Obwesigwa ng’Olina Omutima Oguli Awamu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘Nnaakuwa Ekirabo’
  • ‘Beera Mumativu’
  • Nnabbi Omukadde ‘Yamulimba’
  • ‘Yaddayo’ n’Omusajja Omukadde
  • Beera Mwetoowaze
  • Ba Mumalirivu Okukuuma Obwesigwa Bwo
  • Yakuwa Tajja Kwabulira Bantu Be Abeesigwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • ‘Ggwe Mwesigwa Wekka’
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Obwakabaka Bwawuddwamu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 8/15 lup. 7-11

Kuuma Obwesigwa ng’Olina Omutima Oguli Awamu

“N[n]aatambuliranga mu mazima go: ogatte wamu omutima gwange gutyeerinnya lyo.”​—ZAB. 86:11.

1, 2. (a) Okusinziira ku Zabbuli 86:​2, 11, kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa nga twolekaganye n’ebizibu oba nga tukemebwa? (b) Ddi lwe tusaanidde okuyiga okuba abeesigwa?

LWAKI Abakristaayo abamu abasibibwa mumakomera oba abayigganyizibwa ne basigala nga beesigwa okumala emyaka mingi oluvannyuma bajjamu omwoyo gw’okwagala ebintu? Kino kiva ku mutima gwaffe ogw’akabonero​—ekyo kyennyini kye tuli munda. Zabbuli 86 ekwataganya obwesigwa n’okubeera n’omutima oguli awamu; kwe kugamba, omutima ogwemalidde ku kintu ekimu. Omuwandiisi wa zabbuli Dawudi yasaba nti: “Okuume emmeeme yange: kubanga nze ntya Katonda: ai ggwe Katonda wange, olokole omuddu wo akwesiga.” Era yasaba nti: “Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; n[n]aatambuliranga mu mazima go: ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.”​—Zab. 86:​2, 11.

2 Singa tetwesiga Yakuwa na mutima gwaffe gwonna, ebintu ebitweraliikiriza bijja kuleetera obwesigwa bwaffe eri Katonda oyo ow’amazima okuddirira. Ebintu bye twagala mu bulamu biringa bubbomu obutegeddwa mu kkubo mwe tuyita. Ne bwe tuba nga tukuumye obwesigwa bwaffe eri Yakuwa mu mbeera enzibu, oluvannyuma tusobola okugwa mu mitego gya Setaani. Nga kikulu nnyo okuyiga okwesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna nga tetunnafuna bizibu oba okugezesebwa! Baibuli egamba nti: “Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo.” (Nge. 4:​23) Ku nsonga eno, tulina kye tuyiga mu ebyo ebyatuuka ku nnabbi omu ow’omu Yuda Yakuwa gwe yatuma eri Kabaka Yerobowaamu owa Isiraeri.

‘Nnaakuwa Ekirabo’

3. Yerobowaamu yakola atya nga nnabbi wa Katonda amutuusizzaako obubaka obw’omusango?

3 Lowooza ku kino ekyaliwo. Omusajja wa Katonda yaakamala okutuusa obubaka obw’omusango eri Kabaka Yerobowaamu eyali yateekawo okusinza ennyana mu bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi. Kabaka akwatibwa obusungu. Alagira basajja be okukwata omubaka oyo. Naye Yakuwa ali wamu n’omuweereza we. Amangu ago, omukono kabaka gw’agolodde n’obusungu gukala, n’ekyoto ekikozesebwa mu kusinza okw’obulimba kyatikamu. Yerobowaamu akkakkana. Agamba omusajja wa Katonda nti: “Weegayirire nno ekisa kya Mukama Katonda wo onsabire omukono gwange gumponyezebwe nate.” Nnabbi asaba era omukono gwa kabaka guwona.​—1 Bassek. 13:​1-6.

4. (a) Lwaki ekisuubizo kya kabaka kyagezesa obwesigwa bwa nnabbi? (b) Nnabbi yaddamu atya?

4 Kati Yerobowaamu agamba omusajja wa Katonda ow’amazima nti: “Tuddeyo nange eka oweereweere, nange n[n]aakuwa [ekirabo].” (1 Bassek. 13:7) Nnabbi ono akole atya? Akkirize okukyala ewa kabaka oluvannyuma lw’okumutuusaako obubaka bw’omusango? (Zab. 119:113) Oba agaane wadde nga kabaka alabika ng’eyeekubye mu kifuba? Tewali kubuusabuusa nti Yerobowaamu asobola bulungi okuwa mikwano gye ebirabo eby’omuwendo. Nnabbi wa Katonda ono bw’aba alimu omutima gw’okwagala ebintu, ekisuubizo kya kabaka kino kikemo kya maanyi. Kyokka, Yakuwa yalagidde nnabbi nti: “Tolya mmere so tonywa mazzi so toddayo mu kkubo ly’ofulumyemu.” Bw’atyo nnabbi amuddamu n’obuvumu nti: “Newakubadde ng’onompa ekitundu ky’ennyumba yo, si[i]yingire wamu naawe so siiriire mmere so sinywere mazzi mu kifo kino.” Era nnabbi akwata ekkubo eddala ng’ava e Beseri. (1 Bassek. 13:​8-​10) Nnabbi ono ky’asazeewo okukola kituyigiriza ki ku kuba abeesigwa n’omutima gwonna?​—Bar. 15:4.

‘Beera Mumativu’

5. Okwagala ennyo ebintu kikontana kitya n’okuba omwesigwa?

5 Okuba n’omwoyo gw’okwagala ebintu kiremesa omuntu okuba omwesigwa, wadde nga kino si kyangu kulaba. Ddala tulina obwesige nti Yakuwa ajja kutuwa bye twetaaga nga bwe yasuubiza? (Mat. 6:​33; Beb. 13:5) Tunaaba bamativu mu bulamu ng’ebintu ebimu “ebirungi” tetusobola kubyetuusaako mu kiseera kino? (Soma Abafiripi 4:​11-​13.) Tuwulira nti okukolerera bye twagala kikulu okusinga okugaziya ku buweereza bwaffe? Okuweereza Yakuwa n’obwesigwa kye tukulembeza mu bulamu bwaffe? Engeri gye tuddamu ebibuuzo ebyo ejja kulaga obanga tuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna oba nedda. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Okutya Katonda wamu n’obutayaayaananga ge magoba amangi: kubanga tetwaleeta kintu mu nsi, kubanga era tetuyinza kuggyamu kintu; naye bwe tuba n’emmere n’ebyokwambala, ebyo binaatumalanga.”​—1 Tim. 6:​6-8.

6. “Birabo” ki ebiyinza okutuweebwa, era kiki ekinaatuyamba okusalawo obanga kirungi okubikkiriza?

6 Ng’ekyokulabirako, mukama wo ayinza okwagala okukukuza ku mulimu ofune omusaala ogusingako nga kuliko n’ebintu ebirala. Oba tuyinza okukiraba nti tujja kuba bulungi mu by’ensimbi singa tufuna omulimu mu kitundu ekirala oba mu nsi endala. Mu kusooka, bino tuyinza okubiraba ng’emikisa egivudde eri Yakuwa. Naye nga tetunnabaako kye tusalawo, tekiba kya magezi okwekebera muli tulabe kiki ddala kye tuluubirira? Kye tulina okusooka okwebuuza kiri nti, “Kye njagala okukola kinaakwata kitya ku nkolagana yange ne Yakuwa?”

7. Lwaki kikulu nnyo okweggyamu omwoyo gw’okwagala ennyo ebintu?

7 Ensi ya Setaani ekuliriza nnyo eky’okufuna ebintu. (Soma 1 Yokaana 2:​15, 16.) Ekigendererwa ky’Omulyolyomi kwe kwonoona emitima gyaffe. N’olwekyo, tulina okufuba okwekebera tweggiremu ddala omwoyo gw’okwagala ebintu mu mitima gyaffe. (Kub. 3:​15-​17) Yesu teyasanga buzibu bwonna kugaana bwakabaka bwa nsi Setaani bwe yali amusuubiza. (Mat. 4:​8-​10) Yalabula nti: “Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw’omuntu si [bye bintu] ebingi by’aba nabyo.” (Luk. 12:15) Okuba abeesigwa kijja kutuyamba okwesigama ku Yakuwa mu kifo ky’okwesigama ku busobozi bwaffe.

Nnabbi Omukadde ‘Yamulimba’

8. Obwesigwa bwa nnabbi wa Katonda bwagezesebwa butya?

8 Singa nnabbi wa Katonda oyo yali atambudde lumu n’addayo ewaabwe, teyandifunye mutawaana gwonna. Naye mu kaseera katono, yayolekagana n’okugezesebwa okulala. Baibuli egamba: “Waaliwo nnabbi omukadde eyabeeranga mu Beseri; omu ku batabani be n’ajja n’amubuulira” byonna ebyali bibaddewo ku lunaku olwo. Bw’awulira ebyo alagira bamuteere amatandiiko ku ndogoyi agende asange nnabbi wa Katonda. Nga yaakatambulako kitono, asanga nnabbi wansi w’omuti ng’awummuddeko era amugamba nti: “Tuddeyo nange eka tulye ku mmere.” Omusajja wa Katonda ow’amazima bw’agaana, omusajja omukadde amuddamu nti: “Nange ndi nnabbi nga ggwe bw’oli; era malayika aŋŋambye n’ekigambo kya Mukama nti Mukomyewo mu nnyumba yo alye ku mmere anywe amazzi.” Naye ebyawandiikibwa biraga nti: ‘Yamulimba.’​—1 Bassek. 13:11-​18.

9. Ebyawandiikibwa byogera ki ku balimba, era boonoona nkolagana y’ani?

9 Nnabbi oyo omukadde k’abe nga yalina kigendererwa ki, ekituufu kiri nti yalimba. Kyandiba nti yaliko nnabbi wa Yakuwa omwesigwa. Naye kati bye yayogera byali bya bulimba. Ebyawandiikibwa bivumirira ekikolwa ng’ekyo. (Soma Engero 3:​32.) Abalimba tebakoma ku kwonoona nkolagana yaabwe ne Yakuwa yokka, naye era boonoona n’ey’abalala.

‘Yaddayo’ n’Omusajja Omukadde

10. Nnabbi wa Katonda yakola ki ng’omusajja omukadde amusabye bagende ewuwe, era biki ebyavaamu?

10 Nnabbi eyava mu Yuda teyandisanze buzibu kukiraba nti nnabbi omukadde yali alimba. Yali asobola okwebuuza, ‘Lwaki Yakuwa yandintumidde malayika okumpa ebiragiro eby’enjawulo ng’ayitira mu muntu omulala?’ Nnabbi oyo yali asobola okusaba Yakuwa atangaaze ku nsonga eyo, naye mu Byawandiikibwa temuli kiraga nti yakikola. Mu kifo ky’ekyo, ‘yaddayo ne nnabbi omukadde n’alya emmere n’anywa n’amazzi mu nnyumba ye.’ Kino tekyasanyusa Yakuwa. Nnabbi ono eyalimbibwa bwe yali addayo ewaabwe mu Yuda, yasanga empologoma n’emutta. Ng’obuweereza bwe bwakoma mu ngeri embi ennyo!​—1 Bassek. 13:19-​25.a

11. Akiya yateekawo kyakulabirako ki ekirungi?

11 Ku luuyi olulala, nnabbi Akiya eyatumibwa okufuka amafuta ku Yerobowaamu afuuke kabaka, yakuuma obwesigwa bwe okutuukira ddala mu bukadde. Akiya bwe yali akaddiye ng’azibye n’amaaso, Yerobowaamu yatuma mukazi we okumubuuza omwana waabwe omulwadde bw’anaaba. Akiya yamugamba butereevu nti mutabani wa Yerobowaamu yali agenda kufa. (1 Bassek. 14:​1-​18) Ogumu ku mikisa emingi Akiya gye yafuna kwe kuba nti ebiwandiiko bye byakozesebwa mu kuwandiika Ekigambo kya Katonda. Mu ngeri ki? Ezera eyali kabona yabikozesa ng’awandiika.​—2 Byom. 9:​29.

12-14. (a) Kiki kye tuyigira mu ebyo ebyatuuka ku nnabbi eyalimbibwa? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga nti kikulu okusaba era ne tufumiitiriza ku magezi abakadde ge batuwa okuva mu Byawandiikibwa.

12 Baibuli tetubuulira lwaki nnabbi eyalimbibwa teyasooka kwebuuza ku Yakuwa nga tannakkiriza kugenda kulya na kunywa ew’omusajja omukadde. Kyandiba nti omusajja omukadde yamubuulira kye yali ayagala okuwulira? Ekyo kituyigiriza ki? Tuteekwa okuba nga tuli bakakafu nti Yakuwa by’atwetaagisa ddala bye bituufu. Era tulina okuba abamalirivu okubikolerako mu buli ngeri.

13 Abantu abamu bwe baweebwa amagezi, bawulirizaako ebyo byokka bye baagala okuwulira. Ng’ekyokulabirako, omubuulizi ayinza okufuna omulimu ogutajja kumuganya kuba na biseera bimala okubeerako na ba mu maka ge, wadde okwenyigira mu mirimu gy’Ekikristaayo. Ayinza okutuukirira omukadde amuwe ku magezi. Omukadde ayinza okutandika ng’amugamba nti tasobola kumusalirawo ngeri gy’alina kulabiriramu maka ge. Ekyo bwe kiggwa, omukadde ayinza okulaga ow’oluganda oyo akabi akayinza okuva mu kukkiriza omulimu ogwo. Ow’oluganda oyo anajjukirako ebyo byokka omukadde bye yatandise nabyo, oba anaafumiitiriza ku byonna bye yamugambye? Awatali kubuusabuusa, ow’oluganda oyo alina okusalawo ekinaasinga okumuganyula mu by’omwoyo.

14 Ate lowooza ku mbeera eno endala. Mwannyinaffe ayinza okwebuuza ku mukadde obanga kya magezi okwawukana ne bba atali mukkiriza. Kya lwatu, omukadde amunnyonnyola nti eky’okwawukana ne bba ye y’alina okukyesalirawo. Oluvannyuma amulaga Baibuli ky’egamba ku nsonga eyo. (1 Kol. 7:​10-​16) Mwannyinaffe oyo anaafumiitiriza ku mukadde by’amugambye? Oba yasalawo dda okwawukana ne bba? Kiba kya magezi okufumiitiriza ku misingi gya Baibuli n’okusaba nga tannasalawo.

Beera Mwetoowaze

15. Kiki kye tuyigira ku nsobi ya nnabbi wa Katonda?

15 Kiki ekirala kye tuyigira ku nsobi nnabbi eyava mu Yuda gye yakola? Engero 3:5 wagamba nti: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe.” Mu kifo ky’okwongera okwesiga Yakuwa, ku mulundi guno nnabbi oyo yasalawo ku lulwe. Kino kyamuviiramu okufiirwa obulamu bwe n’erinnya eddungi lye yalina mu maaso ga Katonda. Nga kino kiraga bulungi obukulu bw’okuba abeetoowaze era abeesigwa nga tuweereza Yakuwa!

16, 17.Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa?

16 Kyangu omutima gwaffe okutulimba nga tulina bye twagala. “Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka.” (Yer. 17:9) Okusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, tulina okufuba okweyambula omuntu omukadde, nga muno mwe muli okwetulinkiriza n’okwemalirira. Era tuteekwa okwambala omuntu omuggya, “eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw’amazima.”​—Soma Abaefeso 4:​22-​24.

17 Engero 11:2 wagamba nti: “Amagezi gaba n’abeetoowaze.” Bwe tulaga obwetoowaze ne twesigama ku Yakuwa kituyamba okwewala okugwa mu nsobi ez’amaanyi. Kiba kyangu okusalawo obubi nga waliwo ekitumazeemu amaanyi. (Nge. 24:10) Ng’ekyokulabirako, wayinza okubaawo obuweereza bwe tukooye okwenyigiramu, nga tuwulira nti ekiseera kituuse okubulekera abalala. Oba tuyinza okuwulira nti twagala okubeera mu bulamu abalala bwe balaba ng’obwa bulijjo. Kyokka, bwe ‘tufuba’ era ne ‘tweyongeranga bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe,’ tujja kukuuma emitima gyaffe.​—Luk. 13:24; 1 Kol. 15:58.

18. Tuyinza kukola ki nga tetumanyi bulungi kya kusalawo?

18 Oluusi tuyinza okuzibuwalirwa okusalawo ebintu ebimu, era nga tetumanyi bulungi kye tulina kukola. Olwo kiba kitegeeza nti tuli ba ddembe okukola kye tulowooza nti kye kituufu? Buli lwe twesanga mu mbeera ng’eyo, kiba kya magezi okusaba Yakuwa atuwe obulagirizi. Yakobo 1:5 wagamba nti: “Oba ng’omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi, asabenga Katonda atamma awa bonna.” Kitaffe ow’omu ggulu ajja kutuwa omwoyo gwe omutukuvu tusobole okusalawo obulungi.​—Soma Lukka 11:​9, 13.

Ba Mumalirivu Okukuuma Obwesigwa Bwo

19, 20. Tulina kuba bamalirivu kukola ki?

19 Obwesigwa bw’abantu ba Katonda bwagezesebwa nnyo nga Sulemaani avudde ku kusinza okw’amazima. Kituufu nti bangi bekkiriranya mu ngeri emu oba endala. Wadde kyali kityo abamu baakuuma obwesigwa bwabwe eri Yakuwa.

20 Buli lunaku tulina ebintu bingi bye tusalawo ebigezesa obwesigwa bwaffe. Naffe tusobola okulaga nti tuli beesigwa. Ka bulijjo tukuume obwesigwa bwaffe eri Yakuwa nga tufuba okuba n’omutima oguli awamu, era nga tuli bakakafu nti ajja kwongera okuwa abantu be abeesigwa omukisa.​—2 Sam. 22:26.

[Obugambo obuli wansi]

a Baibuli teraga obanga Yakuwa yasalira nnabbi omukadde ogw’okufa.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki twandifubye okuggya omwoyo gw’okwagala ebintu mu mitima gyaffe?

• Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa?

• Okuba abeetoowaze kituyamba kitya okukuuma obwesigwa bwaffe eri Katonda?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]

Ozibuwalirwa okukola ekituufu ng’okemebwa?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]

Onoosaba era n’ofumiitiriza ku magezi agakuweebwa okuva mu Baibuli?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share