LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 9/15 lup. 29-31
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa eri Abasessaloniika ne Timoseewo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa eri Abasessaloniika ne Timoseewo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘MUTUNULENGA’
  • (1 Bas. 1:1–5:28)
  • “MUBE BANYWEVU”
  • (2 Bas. 1:1–3:18)
  • “KUUMANGA KYE WATERESEBWA”
  • (1 Tim. 1:1–6:21)
  • “BUULIRANGA EKIGAMBO, KIBUULIRE N’OBUNYIIKIVU”
  • (2 Tim. 1:1–4:22)
  • Timoseewo Yali Mwetegefu era ng’Ayagala Okuweereza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Ssa Omutima Gwo ku Buweereza Bwo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Tokkiriza ‘Ndowooza Yo Kutabulwatabulwa’!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • “Bazzaamu Ebibiina Amaanyi”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 9/15 lup. 29-31

Ekigambo kya Yakuwa Kiramu

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa eri Abasessaloniika ne Timoseewo

EKIBIINA ekipya eky’omu Sessaloniika kibadde kiyigganyizibwa okuva lwe kyatandikibwawo nga Pawulo akyaddeyo. N’olwekyo, Timoseewo, kati alabika ng’atemera mu 20, bw’aleeta alipoota ennungi okuva e Sessaloniika, Pawulo awandiikira Abasessaloniika ebbaluwa okubasiima n’okubazzaamu amaanyi. Eno ye bbaluwa eyaluŋŋamizibwa Pawulo gye yasooka okuwandiika, era kirabika agiwandiika ng’omwaka 50 E.E., gunaatera okuggwako. Wayita ekiseera kitono n’awandiikira Abakristaayo abo ab’omu Sessaloniika ebbaluwa ey’okubiri. Ku mulundi guno, abawabula olw’endowooza enkyamu abamu gye balina era abakubiriza okunywerera mu kukkiriza.

Kati wayise emyaka nga kkumi, Pawulo ali mu Makedoni ate ye Timoseewo ali mu Efeso. Pawulo awandiikira Timoseewo ng’amugamba okusigala mu Efeso asobole okuziyiza abo abayigiriza eby’obulimba mu kibiina. Abakristaayo bwe batandika okuyigganyizibwa olw’omuliro ogwokezza ennyo ekibuga Ruumi mu 64 E.E., Pawulo awandiikira Timoseewo ebbaluwa ey’okubiri. Eno ye bbaluwa eyaluŋŋamizibwa Pawulo gy’asembayo okuwandiika. Naffe leero tuganyulwa nnyo mu ebyo ebiri mu bbaluwa za Pawulo zino ennya.—Beb. 4:12.

‘MUTUNULENGA’

(1 Bas. 1:1–5:28)

Pawulo asiima nnyo Abasessaloniika ‘olw’omulimu gwabwe ogw’okukkiriza, okufuba kwabwe okw’okwagala, n’obugumiikiriza bwabwe.’ Agamba nti bo ‘lye ssuubi, lye ssanyu, era ye ngule ey’okwenyumiriza’ gy’ali.—1 Bas. 1:3; 2:19.

Bw’amala okukubiriza Abakristaayo b’omu Sessaloniika okuzziŋŋanamu amaanyi olw’essuubi ly’okuzuukira, Pawulo agamba nti: “Olunaku lwa Mukama waffe lujja ng’omubbi ekiro.” Abakubiriza ‘okutunulanga’ n’okubeera obulindaala.—1 Bas. 4:16-18; 5:2, 6.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

4:15-17​—Baani ‘abatwalibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga,’ era kino kibaawo kitya? Bano be Bakristaayo abaafukibwako amafuta abaliwo mu kiseera kino eky’okubeerawo kwa Kristo ng’afuga nga kabaka. ‘Basisinkana Mukama waffe’ Yesu mu ttwale ery’omu ggulu eritalabika. Naye kino okusobola okubaawo, balina kusooka kufa era ne bazuukizibwa ng’ebitonde eby’omwoyo. (Bar. 6:3-5; 1 Kol. 15:35, 44) Olw’okuba ekiseera ky’okubeerawo kwa Kristo kyatandika, Abakristaayo abaafukibwako amafuta abafa leero tebasigala nga bafu. ‘Batwalibwa’ oba bazuukizibwa mbagirawo.—1 Kol. 15:51, 52.

5:23​—Pawulo yali ategeeza ki bwe yasabira ab’oluganda nti ‘omwoyo gwabwe, obulamu bwabwe n’omubiri bikuumibwe’? Pawulo yali ayogera ku mwoyo, ku bulamu, ne ku mubiri gw’ekibiina Ekikristaayo kyonna awamu, nga muno mwe mwali n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ab’omu Sessaloniika. Mu kifo ky’okusaba obusabi nti ekibiina kikuumibwe, yasaba nti “omwoyo” gwakyo, ng’eno ye ndowooza y’abo abakirimu, gukuumibwe. Era yakisabira “obulamu,” nga kuno kwe kubeerawo kwakyo, n’asabira “n’omubiri” gwakyo, nga bano be Bakristaayo abaafukibwako amafuta bonna awamu. (1 Kol. 12:12, 13) N’olwekyo, essaala ya Pawulo eno eraga nti yali alumirirwa nnyo ekibiina.

Bye Tuyigamu:

1:3, 7; 2:13; 4:1-12; 5:15. Bw’oba obuulirira omuntu kiba kirungi okumusiima olw’ebyo by’akola obulungi, n’olyoka omulaga w’alina okulongoosaamu.

4:1, 9, 10. Abaweereza ba Yakuwa basaanidde okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo.

5:1-3, 8, 20, 21. Ng’olunaku lwa Yakuwa bwe lugenda lusembera, tulina okusigala nga tutegeera bulungi era “nga twambadde eky’omu kifuba eky’okukkiriza n’okwagala, n’enkuufiira, essuubi ery’obulokozi.” Ng’oggyeko ekyo, tulina okussaayo ennyo omwoyo ku Kigambo kya Katonda eky’obunnabbi, Baibuli.

“MUBE BANYWEVU”

(2 Bas. 1:1–3:18)

Nga bakyusa ebyo Pawulo bye yayogera mu bbaluwa ye eyasooka, abamu mu kibiina balabika bagamba nti ekiseera ‘ky’okubeerawo kwa Mukama waffe’ kituuse. Okusobola okutereeza endowooza eyo, Pawulo ababuulira ebirina ‘okusooka okubaawo.’—2 Bas. 2:1-3, NW.

Pawulo abakuutira nti: “Mube banywevu, era munywerere ku bintu bye mwayigirizibwa.” Abalagira ‘beeyawule ku buli wa luganda atatambula bulungi.’—2 Bas. 2:15, NW; 3:6.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

2:3, 8 (NW)​—“Omujeemu” y’ani era wa kumalibwawo atya? “Omujeemu” ono be bakulembeze ba Kristendomu bonna awamu. Oyo eyaweebwa obuyinza okulangirira omusango Katonda gwe yasalira ababi, n’okulagira bazikirizibwe ye “Kigambo”—Omwogezi wa Katonda Omukulu, Yesu Kristo. (Yok. 1:1) N’olwekyo, kiyinza okugambibwa nti Yesu ajja kuzikiriza omujeemu oyo ng’akozesa “omwoyo ogw’omu [amaanyi ag’omu] kamwa ke.”

2:13, 14​—Mu ngeri ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta gye ‘baalonderwa obulokozi okuva ku lubereberye’? Abaafukibwako amafuta baalondebwa ng’ekibiina Yakuwa bwe yagamba nti ezzadde ly’omukazi lyali lijja kubetenta omutwe gwa Setaani. (Lub. 3:15) Yakuwa era yalaga ebisaanyizo bye baalina okutuukiriza, omulimu gwe bandikoze, n’okugezesebwa kwe bandiyiseemu. Ebyo bye byabategekerwa.

Bye Tuyigamu:

1:6-9. Abo bokka abalina omusango Yakuwa b’abonereza.

3:8-12. Tetusaanidde kulagajjalira kukola kweyimirizaawo nga tuweereza Yakuwa olw’okuba olunaku lwe lunaatera okutuuka. Obutaba na bya kukola kiyinza okutuleetera okuba abagayaavu n’okutandika “okweyingiza mu nsonga z’abalala.”—1 Peet. 4:15, NW.

“KUUMANGA KYE WATERESEBWA”

(1 Tim. 1:1–6:21)

Pawulo akubiriza Timoseewo ‘okulwananga olutalo olulungi, ng’anyweza okukkiriza n’omwoyo omulungi.’ Omutume oyo alaga ebisaanyizo ebirina okutuukirizibwa abo abalondebwa okuweereza mu kibiina. Pawulo era alagira Timoseewo okwewala ‘enfumo ez’obusirusiru.’—1 Tim. 1:18, 19; 3:1-10, 12, 13; 4:7.

Pawulo agamba Timoseewo nti: “Omusajja omukadde tomunenyanga na bukambwe.” Era amukubiriza nti: “Kuumanga kye wateresebwa, nga weewala ebigambo ebitaliimu ebitali bya Katonda n’okulwana kw’ebigambo eby’okutegeera.”—1 Tim. 5:1, NW; 6:20.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

1:18; 4:14​—‘Bunnabbi’ ki obwayogerwa ku Timoseewo? Wandiba nga waaliwo obunnabbi obukwata ku ebyo Timoseewo bye yandikoze mu kibiina Ekikristaayo obwayogerwa nga Pawulo akyadde e Lusitula, bwe yali ku lugendo lwe olw’obuminsani olw’okubiri. (Bik. 16:1, 2) “Obunnabbi” obwo abakadde mu kibiina kwe baasinziira ‘okuteeka emikono’ ku Timoseewo, asobole okuweereza nga bwe kyali kiraguddwa.

2:15 (NW)​—Omukazi ‘akuumibwa atya olw’okuzaala’? Okuzaala abaana, okubakuza, wamu n’okulabirira awaka bisobola ‘okukuuma’ omukazi ne yeewala ‘olugambo n’okwogera ebitasaana.’—1 Tim. 5:11-15.

3:16​—Ekyama eky’okutya Katonda kye ki? Okumala ebbanga ddene nnyo, kyali kyama, kwe kugamba, kyali tekimanyiddwa obanga kisoboka abantu okugondera Yakuwa mu ngeri etuukiridde. Ekituufu kyeyoleka bulungi Yesu bwe yakuuma obwesigwa obutuukiridde eri Katonda okutuusizza ddala okufa.

6:15, 16​—Ebigambo bino byogera ku Yakuwa Katonda oba ku Yesu Kristo? Ebigambo ebyo byogera ku Yesu Kristo kubanga binnyonnyola ebikwata ku kulabika kwe. (1 Tim. 6:14) Bw’omugeraageranya ku abo abafuga nga bakabaka era ng’abaami, Yesu ye “Nannyini buyinza yekka” era ye yekka alina obutafa. (Dan. 7:14; Bar. 6:9) Okuva lwe yaddayo mu ggulu, tewali muntu yenna ku nsi asobola ‘kumulaba’ na maaso ge.

Bye Tuyigamu:

4:15. Ka tube nga tubadde Bakristaayo okumala ebbanga ddene oba ttono, ffenna tulina okufuba tweyongere okukulaakulana mu by’omwoyo.

6:2. Bwe tuba nga gwe tukolera mukkiriza munnaffe, tusaanidde okumukolera obulungi okusinga ne bwe twandikoledde abali ebweru w’ekibiina, mu kifo ky’okugayaala olw’okuba tukolera wa luganda.

“BUULIRANGA EKIGAMBO, KIBUULIRE N’OBUNYIIKIVU”

(2 Tim. 1:1–4:22)

Ng’amuyamba okwetegekera ebizibu ebijja mu maaso, Pawulo agamba Timoseewo nti: “Katonda teyatuwa ffe omwoyo ogw’okutya, wabula ogw’amaanyi era ogw’okwagala era ogw’okwegenderezanga.” Amuwa amagezi nti: “Omuddu wa Mukama waffe tekimugwanira kulwananga, wabula okubeeranga omukkakkamu eri bonna, omuyigiriza.”—2 Tim. 1:7; 2:24.

Pawulo akuutira Timoseewo nti: “Beeranga mu ebyo bye wayiga n’otegeerera ddala.” Olw’okuba enjigiriza za bakyewaggula zaali zeyongera kusaasaana, omutume agamba omulabirizi ono eyali akyali omuto nti: “Buuliranga ekigambo, kibuulire n’obunyiikivu . . . , nenyanga, wabulanga, buuliriranga.”—2 Tim. 3:14; 4:2, NW.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

1:13​—“Ebigambo eby’obulamu” bye biruwa? “Ebigambo eby’obulamu” by’ebyo ebya “Mukama waffe Yesu Kristo”—enjigiriza entuufu ez’Ekikristaayo. (1 Tim. 6:3) Olw’okuba ebintu Yesu bye yayigiriza ne bye yakola byali bituukana bulungi n’Ekigambo kya Katonda, ‘ebigambo by’obulamu’ bitwaliramu enjigiriza zonna eziri mu Baibuli. Enjigiriza ezo zituyamba okumanya Yakuwa by’ayagala. Tunywerera ku bigambo bino nga tussa mu nkola bye tuyiga okuva mu Baibuli.

4:13​—‘Ebitabo eby’amaliba’ bye biruwa? ‘Amaliba’ agoogerwako wano geego agaali gawandiikibwako. Pawulo yandiba nga yali asaba mizingo gya Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya asobole okugisoma ng’ali e Ruumi mu kkomera. Emizingo egimu giyinza okuba nga gyali gya bitoogo ate emirala nga gya maliba.

Bye Tuyigamu:

1:5; 3:15. Ensonga enkulu lwaki Timoseewo yakkiririza mu Kristo Yesu yali nti yayigirizibwa bulungi Ebyawandiikibwa okuviira ddala mu buto, era okukkiriza okwo kwe kwamukubiriza mu byonna bye yakola. Nga kikulu nnyo abazadde okulowooza ku ngeri gye batuukirizaamu obuvunaanyizibwa obwo bwe balina eri Katonda n’eri abaana baabwe!

1:16-18. Bakkiriza bannaffe bwe baba bagezesebwa, bayigganyizibwa oba nga bali mu makomera, tusaanidde okubasabira n’okukola kyonna kye tusobola okubayamba.—Nge. 3:27; 1 Bas. 5:25.

2:22. Si kirungi Abakristaayo, naddala abo abakyali abavubuka, okumalira ennyo ebiseera ku by’emizannyo, ku kuwuliriza ennyimba, ku kulambula, ku kunyumya ebitaliimu ne ku birala ebiri ng’ebyo, ne beemalako ebiseera mwe bandikoledde ebintu ebisanyusa Katonda.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Bbaluwa ki omutume Pawulo gye yasembayo okuwandiika?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share