Osobola Otya Okunywerera ku Mulimu gw’Okubuulira?
WALI owuliddeko ng’amaanyi gakuweddemu era nga n’omulimu gw’okubuulira tokyayagala kugwenyigiramu? Ebintu ng’okuyigganyizibwa, okweraliikirira, obulwadde, okupikirizibwa, n’okubuulira abantu nga tebeefiirayo biyinza okutuleetera okutendewererwa. Naye lowooza ku kyokulabirako kya Yesu. Yagumira ebigezo eby’amaanyi bingi “olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge.” (Beb. 12:2) Yali akimanyi nti yandireetedde omutima gwa Yakuwa okusanyuka bwe yandiraze nti Setaani bye yayogera ku Katonda byali bya bulimba.—Nge. 27:11.
Naawe osobola okusanyusa omutima gwa Yakuwa ng’onywerera ku mulimu gw’okubuulira. Naye watya nga waliwo ebintu ebikuleetera okuggwamu amaanyi mu by’omwoyo? Krystyna agamba nti: “Ntera okuwulira nga ndi mukoowu era nga nzenna nneetamiddwa. Olw’okuba nkaddiye, ntera okulwalalwala n’okufuna ebizibu ebirala mu bulamu ebindeetera okuwulira nga sikyayagala kugenda kubuulira.” Kati olwo osobola otya okunywerera ku mulimu gw’okubuulira ng’oyolekagana ne ebizibu ebiri ng’ebyo?
Koppa Bannabbi
Okusobola okunywerera ku mulimu gw’okubuulira, ababuulizi b’Obwakabaka abeesigwa basaanidde okukoppa bannabbi ab’edda. Lowooza ku kyokulabirako kya Yeremiya. Bwe yayitibwa okuweereza nga nnabbi, yalowooza nti ekyo yali tajja kukisobola. Naye Yeremiya yeesiga Katonda era yanywerera mu buweereza bwe obwali obuzibu ennyo okumala emyaka egisukka mu 40.—Yer. 1:6; 20:7-11.
Henryk addamu amaanyi bw’afumiitiriza ku kyokulabirako kya Yeremiya ekyo. Agamba nti: “Emyaka egisukka mu 70 gye mmaze mu buweereza, njolekaganye n’ebintu bingi ebimalamu amaanyi gamba ng’okuba nti abantu bakambwe era tebeefiirayo. Mu biseera ng’ebyo, nfumiitiriza ku kyokulabirako kya Yeremiya. Okwagala Yakuwa n’okuba n’enkolagana ennungi naye byamuyamba okweyongera okulangirira obubaka obwamuweebwa.” (Yer. 1:17) Rafał naye ekyokulabirako kya Yeremiya kimuzzaamu amaanyi. Agamba nti: “Mu kifo ky’okulowooza ku bizibu bye yali ayolekaganye nabyo, Yeremiya yeesiga Katonda. Yagenda mu maaso n’obuweereza bwe wadde nga waaliwo abalabe bangi. Kino nfuba okulaba nti sikyerabira.”
Nnabbi omulala eyassaawo ekyokulabirako ekiyambye abangi okunywerera ku mulimu gw’okubuulira ye Isaaya. Katonda yamugamba nti abantu baali tebajja kuwuliriza. Yakuwa yagamba: “Savuwaza omutima gw’abantu bano, era ggala amatu gaabwe.” Olwo ekyo kitegeeza nti Isaaya yamala bumazi biseera okulangirira obubaka bwe? Katonda bw’atyo si bwe yakitunuulira! Bwe kityo Isaaya bwe yayitibwa okuweereza nga nnabbi, yagamba nti: “Nzuuno: ntuma nze.” (Is. 6:8-10) Yanywerera ku mulimu ogwamuweebwa okukola. Ekiragiro ky’okubuulira naawe bw’otyo bw’okitwala?
Okusobola okunywerera ku mulimu gw’okubuulira nga Isaaya bwe yakola, tulina okwewala okumalira ebirowoozo byaffe ku bizibu bye tusanga nga tubuulira. Rafał bw’atyo bw’akola, era agamba nti: “Ngezaako okulaba nti simalira birowoozo byange ku bintu ebitasaana abantu bye boogera. Abantu b’omu kitundu mwe mbuulira ba eddembe okuddamu nga bwe baagala.” Anna naye agamba nti: “Simalira birowoozo byange ku bintu bimalamu maanyi. Ekinnyamba okukola ekyo kwe kusooka okusaba n’okwekenneenya ekyawandiikibwa ekya buli lunaku nga sinnagenda mu kubuulira. Kino kinnyamba okweggyamu ebirowoozo ebibi byonna.”
Ezeekyeri yaweereza nga nnabbi mu Bayudaaya abakakanyavu abaali mu buwambe e Babulooni. (Ez. 2:6) Singa nnabbi oyo yali talangiridde obubaka Katonda bwe yamutuma era ne wabaawo omubi yenna afa nga tabuwulidde, Ezeekyeri yandibadde n’omusango. Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: “Omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo.”—Ez. 3:17, 18.
Henryk afuba okuba n’endowooza ng’eya Ezeekyeri: “Ssaagala kuvunaanibwa musaayi gwa muntu yenna. Obulamu bw’abantu obw’omuwendo buli mu kabi.” (Bik. 20:26, 27) Zbigniew naye alina endowooza y’emu: “Ezeekyeri yalina okugenda mu maaso n’omulimu gwe awatali kufaayo ku balala kye balowooza. Kino kinnyamba okutunuulira omulimu gw’okubuulira ng’Omutonzi waffe bw’agutunuulira.”
Toba Wekka
Bw’oba okola omulimu gw’okubuulira toba wekka. Okufaananako omutume Pawulo, naffe tuyinza okugamba nti: “Tukolera wamu ne Katonda.” (1 Kol. 3:9, NW) Krystyna oluusi yeesanga ng’aweddemu amaanyi era agamba nti: “Eno ye nsonga lwaki nsaba Yakuwa buli kiseera ampe amaanyi. Era buli lwe mmusaba amaanyi agampa.” Yee, twetaaga obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda mu buweereza bwaffe!—Zek. 4:6.
Bwe tuba mu kubuulira, omwoyo omutukuvu gutuyamba okwoleka ‘ebibala byagwo.’ (Bag. 5:22, 23) Okwoleka ebibala ebyo kituyamba okunywerera ku mulimu gw’okubuulira, ka twolekagane na bizibu ki. Henryk agamba: “Okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira kinnyamba okulongoosa mu nneeyisa yange. Njiga obugumiikiriza, okufaayo ku balala n’obutalekulira mangu.” Okunywerera ku mulimu gw’okubuulira wadde ng’olina ebizibu kikuyamba okweyongera okwoleka ebibala by’omwoyo.
Yakuwa akozesa bamalayika be okutuwa obulagirizi nga tukola omulimu guno ogw’enjawulo. (Kub. 14:6) Baibuli eraga nti waliyo bamalayika “obukumi emirundi obukumi, mu enkumi emirundi enkumi.” (Kub. 5:11) Nga bakulemberwa Yesu, bamalayika bayamba abaweereza ba Katonda ku nsi. Kino okirowoozaako buli lw’oba mu kubuulira?
Anna agamba nti: “Okukimanya nti tuba ne bamalayika mu mulimu gw’okubuulira kinzizaamu nnyo amaanyi. Obuyambi bwe batuwa nga bakubirizibwa Yakuwa ne Yesu mbutwala nga bwa muwendo.” Nga nkizo ya maanyi okukolera awamu ne bamalayika abo abeesigwa!
Ate lowooza ku ky’okuba nti tulina babuulizi bannaffe ab’Obwakabaka be tukola nabo. Nkizo ya maanyi okuba nti tuli mu kibiina ekinene eky’Abajulirwa abeesigwa. Oteekwa okuba ng’olabye obutuufu ebigambo bino mu bulamu bwo: “Ekyuma kiwagala kyuma; bw’atyo omuntu awagala amaaso ga mukwano gwe.”—Nge. 27:17.
Okukola ne baganda baffe mu buweereza kituwa omukisa okuyiga engeri endala ennungi ez’okubuulira. Elżbieta agamba nti: “Okukola n’ababuulizi ab’enjawulo kimpa omukisa okulaga bakkiriza bannange okwagala awamu n’abantu be tusanga.” Okukola n’ababuulizi abatali bamu kijja kukuyamba okufuna essanyu mu buweereza bwo.
Weerabirire Bulungi
Okusobola okusigala nga tuli basanyufu mu buweereza bwaffe, tuteekwa okuba n’enteekateeka ennungi, okwesomesa, era n’okuwummula ekimala. Kino kitegeeza nti tulina okwerabirira obulungi mu by’omwoyo ne mu by’omubiri.
Baibuli egamba nti: “Enteekateeka z’omuntu omunyiikivu zivaamu ebirungi.” (Nge. 21:5, NW) Zygmunt ow’emyaka 88 agamba nti: “Okweteekerateekera obulungi obuweereza kinnyamba okutuuka ku biruubirirwa byange. Nfuba okulaba nti nfuna ebiseera ebimala okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira.”
Okutegeera obulungi Ebyawandiikibwa kituzzaamu amaanyi era kitusobozesa okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe. Nga bwe kitwetaagisa okulya emmere tusobole okufuna amaanyi, tuteekwa okweriisa obulungi mu by’omwoyo tusobole okweyongera okukola omulimu gw’okubuulira. Okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku n’okulya ‘emmere ejjira mu kiseera kyayo’ kijja kutuwa amaanyi ge twetaaga mu mulimu gw’okubuulira.—Mat. 24:45-47.
Okusobola okulongoosa mu buweereza bwe, Elżbieta yakola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwe. Agamba nti: “Nnakendeereza ddala ku biseera bye mmala nga ndaba ttivi nsobole okufuna ebiseera ebimala okweteekateeka obulungi nga ŋŋenda okubuulira. Bwe mba nsoma Baibuli buli kawungeezi, ndowooza ku bantu be nnayogeddeko nabo mu nnimiro. Nfuba okufuna ebyawandiikibwa n’ebitundu okuva mu bitabo byaffe ebisobola okubayamba.”
Okuwummula ekimala kijja kukuyamba okuba n’amaanyi osobole okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira mu bujjuvu. Ku luuyi olulala, okumala ebiseera ebingi nga weesanyusaamu kikulemesa okutuukiriza obulungi obuweereza bwo. Andrzej omubuulizi omunyiikivu agamba: “Obutawummula kimala kireetera omuntu okukoowa ennyo, era kiba kyangu okwetamwa okugenda mu kubuulira. Nkola buli kye nsobola okulaba nti ekyo tekintuukako.”—Mub. 4:6.
Wadde nga tufuba okubuulira amawulire amalungi, abantu batono nnyo abagasiima. Naye Yakuwa tajja kwerabira mulimu gwaffe. (Beb. 6:10) Ne bwe kiba nti bangi be tutuukirira tebaagala kwogera naffe, bwe tuvaawo bayinza okusigala nga batwogerako. Kino kikwataganako n’ekyo ekyayogerwa ku Ezeekyeri nti: Abantu bajja ‘kumanya nga mu bo mubaddemu nnabbi.’ (Ez. 2:5) Kituufu nti omulimu gwaffe ogw’okubuulira si mwangu, naye tugufunamu emiganyulo mingi era n’abatuwuliriza bwe batyo.
Zygmunt agamba nti: “Okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira kituyamba okwambala omuntu omuggya n’okulaga nti twagala Katonda ne baliraanwa baffe.” Andrzej ayongerako nti: “Nkizo ya maanyi okwenyigira mu mulimu guno oguwonyaawo obulamu. Tegugenda kuddamu kukolebwa ku kigero kwe guli kati, wadde embeera mwe gukolerwa.” Naawe ojja kufuna emikisa mingi bw’onoonywerera ku mulimu gw’okubuulira.—2 Kol. 4:1, 2.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Okwerabirira obulungi mu by’omwoyo ne mu by’omubiri kituyamba okunywerera ku mulimu gw’okubuulira