LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 6/15 lup. 11-15
  • ‘Nyiikirira Ebikolwa Ebirungi’!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Nyiikirira Ebikolwa Ebirungi’!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obunyiikivu mu Kubuulira ne mu Kuyigiriza
  • Abavubuka Abaweereza n’Obunyiikivu
  • Wuliriza Okulabula
  • Omuganyulo Oguli mu Kuba n’Empisa Ennungi
  • Yagala Nnyo Ennyumba ya Yakuwa!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • ‘Onyiikirira Ebikolwa Ebirungi’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Onossaayo Omwoyo ku Bintu Ebyawandiikibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 6/15 lup. 11-15

‘Nyiikirira Ebikolwa Ebirungi’!

“[Yesu yeewaayo] ku lwaffe asobole okutununula mu bujeemu obwa buli ngeri n’okwerongooseza abantu be abanyiikirira ebikolwa ebirungi.”​—TITO 2:14.

1. Yesu akola ki ng’atuuse mu yeekaalu nga Nisani 10, 33 E.E.?

OMWEZI gwa Nisani, nga 10, 33 Embala Eno (E.E.), era ebula ennaku ntono embaga y’Okuyitako etuuke. Abantu bangi abazze e Yerusaalemi okusinza mu yeekaalu, era bonna beesunga omukolo ogwo. Kiki ekinaabaawo nga Yesu atuuse? Abawandiisi b’enjiri basatu​—Matayo, Makko, ne Lukka​—bonna bagamba nti Yesu addamu okugoba abo abagula n’abatundira ebintu mu yeekaalu. Avuunika emmeeza z’abo abawaanyisa ssente, awamu n’entebe z’abo abatunda amayiba. (Mat. 21:12; Mak. 11:15; Luk. 19:45) Obunyiikivu bwa Yesu bwali tebukyuseeko kubanga ekyo kyennyini kye yali akoze emyaka esatu emabega.​—Yok. 2:13-17.

2, 3. Tumanya tutya nti obunyiikivu bwa Yesu tebwakoma ku kulongoosa yeekaalu kyokka?

2 Enjiri ya Matayo eraga nti Yesu teyakoma ku kulaga bunyiikivu mu kulongoosa yeekaalu kyokka, naye era yawonya abalwadde n’abalema abajja gy’ali. (Mat. 21:14) Enjiri ya Lukka eraga nti alina n’ekirala kye yakola ng’egamba nti ‘Yesu yayigirizanga mu yeekaalu buli lunaku.’ (Luk. 19:47; 20:1) Bwe kityo obunyiikivu bwa Yesu bweyolekera nnyo mu ngeri gye yakolamu omulimu gwe ogw’okubuulira.

3 Nga wayise ekiseera, omutume Pawulo yawandiikira Tito n’amugamba nti Yesu ‘yeewaayo ku lwaffe asobole okutununula mu bujeemu obwa buli ngeri era yeerongooseze abantu be abanyiikirira ebikolwa ebirungi.’ (Tito 2:14) Tuyinza tutya ‘okunyiikirira ebikolwa ebirungi’ leero? Era ebyokulabirako bya bakabaka ba Yuda abaali abalungi tubiyigamu ki?

Obunyiikivu mu Kubuulira ne mu Kuyigiriza

4, 5. Bakabaka ba Yuda abana baanyiikirira batya ebikolwa ebirungi?

4 Asa, Yekosofaati, Keezeekiya, ne Yosiya bonna baakola kaweefube ow’okumalawo okusinza okw’obulimba mu Yuda. Asa ‘yaggyawo ebyoto ebya bannaggwanga n’ebifo ebigulumivu, yamenya empagi ezaasinzibwanga era yatemaatema Baasera.’ (2 Byom. 14:3) Olw’okwagala ennyo okusinza okw’amazima, Yekosofaati ‘yaggyawo ebifo ebigulumivu ne Baasera mu Yuda.’​—2 Byom. 17:6; 19:3.a

5 Olwava ku mbaga y’Okuyitako eyali ey’ennaku omusanvu Keezeekiya gye yateekateeka mu Yerusaalemi, “[Abaisiraeri bonna] abaali bali awo ne bavaayo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne bamenyaamenya empagi, ne batemaatema Baasera, ne bamenyera ddala ebifo ebigulumivu n’ebyoto mu Yuda yonna ne Benyamini, era ne mu Efulayimu ne Manase, okutuusa lwe baabizikiriza byonna.” (2 Byom. 31:1) Yosiya yafuuka kabaka nga wa myaka munaana gyokka. Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Mu mwaka ogw’omunaana ogw’okufuga kwe, ng’akyali muto, n’atanula okunoonya Katonda wa Dawudi kitaawe: ne mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri mwe yatanulira okulongoosa Yuda ne Yerusaalemi okumalamu ebifo ebigulumivu ne Baasera n’ebifaananyi ebyole n’ebifaananyi ebisaanuuse.” (2 Byom. 34:3) N’olwekyo, bakabaka abo bonna abana baanyiikirira ebikolwa ebirungi.

6. Omulimu gwaffe gufaananako gutya kaweefube eyakolebwa bakabaka ba Yuda abeesigwa?

6 Okufaananako bakabaka abo, naffe tufuba okuyamba abantu okuva mu nzikiriza ez’obulimba, omuli n’okusinza ebifaananyi. Okubuulira nnyumba ku nnyumba kitusobozesa okwogera n’abantu aba buli ngeri. (1 Tim. 2:4) Omuwala omu ow’omu Asiya ajjukira ebintu maama we gye yakolanga ng’asinza ebifaananyi ebingi ebyali mu maka gaabwe. Olw’okuba yakiraba nti ebifaananyi ebyo byonna byali tebiyinza kuba nga bikiikirira Katonda ow’amazima, yasabanga nnyo asobole okumanya Katonda omutuufu. Lumu Abajulirwa babiri baagenda ewaabwe ne bamuyigiriza erinnya lya Katonda ow’amazima, Yakuwa. Era yasanyuka nnyo bwe yakitegeera nti okusinza ebifaananyi kyali kikyamu. Kati akola omulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu era ayamba abalala okumanya Yakuwa n’ebigendererwa bye.​—Zab. 83:18; 115:4-8; 1 Yok. 5:21.

7. Kiki kye tuyigira ku abo Yekosofaati be yatuma okuyigiriza abantu amateeka?

7 Bwe tuba tubuulira nnyumba ku nnyumba, tufuba okulaba nti tutuukirira buli omu ali kitundu kye tubuuliramu? Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwe, Yekosofaati yatuma abalangira bataano, Abaleevi mwenda ne bakabona babiri okugenda mu bibuga byonna bayigirize abantu amateeka ga Yakuwa. Omulimu ogwo baagukola bulungi nnyo ne kireetera n’abantu b’amawanga agaali gabeetoolodde okutya Yakuwa. (Soma 2 Ebyomumirembe 17:9, 10.) Bwe tukyusakyusa mu biseera n’ennaku mwe tugendera okubuulira nnyumba ku nnyumba kitusobozesa okwogera n’abantu abatali bamu.

8. Tuyinza tutya okugaziya ku buweereza bwaffe?

8 Abaweereza ba Katonda bangi mu kiseera kino balese amayumba gaabwe ne bagenda okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako. Naawe osobola okukola kye kimu? Ffe abatasobola kugenda mu bitundu birala tuyinza okufuba okubuulira abantu abali mu kitundu kyaffe aboogera ennimi endala. Olw’okuba mu kitundu mw’abeera mulimu abantu bangi aboogera ennimi ez’enjawulo, Ron ow’emyaka 81 yayiga okubuuza mu nnimi 32! Gye buvuddeko yasanga omwami ne mukyala we abaava mu Afirika n’ababuuza mu lulimi lwabwe Oluyoruba. Bwe baamubuuza obanga yali yagendako mu Afirika n’agamba nti nedda, baamubuuza engeri gye yayigamu olulimi lwabwe. Kino kyamuwa akakisa okubawa obujulirwa. Baatwala magazini ze yabawa, ne bamuwa n’endagiriro yaabwe n’agiweereza ab’omu kibiina ekiri mu kitundu kyabwe babayigirize Baibuli.

9. Lwaki kikulu okusomera abantu Ebyawandiikibwa nga tubuulira? Waayo ekyokulabirako.

9 Abo Yekosofaati be yalagira okugenda okuyigiriza abantu baatwala ‘ekitabo ky’amateeka ga Yakuwa.’ Naffe tukozesa Ekigambo kya Katonda, Baibuli, okuyigiriza abantu mu nsi yonna. Bwe tuba tubuulira, tufuba okulaba nti tubasomera Baibuli ne basobola okulaba ekyo kyennyini ky’egamba. Omukyala omu yagamba mwannyinaffe ayitibwa Linda nti bba yali yasannyalala era nti yali yeetaaga okulabirirwa buli kiseera. Yagamba nti: “Simanyi kye nnakola Katonda okuleka kino okuntuukako.” Linda yamuzzaamu amaanyi ng’amusomera Yakobo 1:13 era yamugamba nti: “Nkukakasa nti okubonaabona ffe n’abaagalwa baffe kwe tuyitamu Katonda si y’akuleeta.” Omukyala olwawulira ebyo n’agwa Linda mu kifuba n’amwebaza. Linda agamba nti: “Nnasobola okumubudaabuda nga nkozesa Baibuli. Ebyawandiikibwa bye tusomera abantu oluusi baba tebabiwulangako.” Omukyala oyo yatandika okuyiga Baibuli.

Abavubuka Abaweereza n’Obunyiikivu

10. Yosiya yateerawo atya abavubuka Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi?

10 Nga bwe twalabye, Kabaka Yosiya yatandika okunoonya Katonda ow’amazima ng’akyali muto, era yalina emyaka nga 20 we yatandikira kaweefube w’okumalawo okusinza okw’obulimba. (Soma 2 Ebyomumirembe 34:1-3.) Abavubuka bangi nnyo leero nabo balaga obunyiikivu ng’obwo mu buweereza bwabwe.

11-13. Biki by’oyinza okuyigira ku bavubuka abaweereza Yakuwa n’obunyiikivu leero?

11 Omuwala ow’omu Bungereza ayitibwa Hannah eyalina emyaka 13 era ng’asoma olulimi Olufalansa ku ssomero yawulira nti waaliwo ekibiina ky’Olufalansa ekyali kitandikiddwawo mu kibuga ekyabali okumpi. Taata we yakkiriza ne batandika okugendanga eyo mu nkuŋŋaana. Hannah kati wa myaka 18, era aweereza n’obunyiikivu nga payoniya owa bulijjo mu kibiina ekyo. Naawe osobola okuyiga olulimi olulala n’oyamba abantu abalwogera okuyiga ebikwata ku Yakuwa?

12 Omuwala ayitibwa Rachel yakwatibwako nnyo olw’ebyo bye yalaba mu vidiyo eyitibwa Pursue Goals That Honor God. Ng’ayogera ku ndowooza gye yalina nga yaakatandika okuweereza Yakuwa mu 1995, agamba nti: “Nnali mmanyi nti nnyimiridde bulungi mu by’omwoyo. Naye oluvannyuma lw’okulaba vidiyo eyo nnakizuula nti okumala emyaka nnali ntuusa butuusa mukolo. Nnalina okulwanirira amazima n’okunyiikirira obuweereza bwange n’okwesomesa.” Kati Rachel awulira nti ddala munyiikivu mu buweereza bwe eri Yakuwa era agamba nti: “Enkolagana yange ne Yakuwa yeeyongedde okunywera. Kati essaala zange zirimu amakulu, nneesomesa bulungi era ne bye nsoma mu Baibuli mpulira binkwatako nnyo. Kino kindeetedde okuba omusanyufu mu buweereza bwange, era kinzizaamu amaanyi okulaba engeri ekigambo kya Yakuwa gye kibudaabudamu abalala.”

13 Omuvubuka ayitibwa Luke naye yakwatibwako nnyo bwe yalaba vidiyo eyitibwa Young People Ask​—What Will I Do With My Life? Agamba nti: “Kyandeetera okulowooza ku biruubirirwa byange mu bulamu. Nnaweebwa amagezi nsooke nfune obuyigirize obwa waggulu era nneenyweze mu by’enfuna, ndyoke nnyiikirire eby’omwoyo. Okukolera ku magezi ng’ago tekiyamba muntu kukula mu bya mwoyo wabula kimuzza buzza mabega.” Baganda baffe ne bannyinaffe abavubuka, lwaki temulowooza ku ngeri gye muyinza okukozesa bye muyize mu ssomero okugaziya ku buweereza bwammwe nga Hannah bwe yakola? Era lwaki temukola nga Rachel ne mweteerawo ebiruubirirwa ebiweesa Katonda ekitiibwa? Mugoberere ekyokulabirako kya Luke, mwewale emitawaana abavubuka bangi gye bafuna.

Wuliriza Okulabula

14. Abantu ba Yakuwa balina kuba mu mbeera ki okusobola okumusinza mu ngeri gy’asiima, era lwaki kino si kyangu leero?

14 Abantu ba Yakuwa bwe baba ab’okumusinza mu ngeri gy’asiima, balina okuba abayonjo. Isaaya alabula nti: “Mugende, mugende, muve omwo, temukomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu; muve wakati mu ye [Babulooni]: mubeerenga balongoofu, mmwe abasitula ebintu bya Mukama.” (Is. 52:11) Emyaka mingi nga Isaaya tannawandiika bigambo ebyo, Kabaka Asa yakola kaweefube ow’okumalawo ebikolwa eby’obugwenyufu mu Yuda. (Soma 1 Bassekabaka 15:11-13.) Era nga wayise ebyasa ebiwerako, omutume Pawulo yagamba Tito nti Yesu yeewaayo n’atukuza abaweereza be bafuuke “abantu be abanyiikirira ebikolwa ebirungi.” (Tito 2:14) Mu nsi ya leero ejjudde ebikolwa eby’obugwenyufu, si kyangu kuba muyonjo mu mpisa, naddala ng’oli muvubuka. Abaweereza ba Katonda bonna abato n’abakulu balina okufuba okwewala ebintu eby’obugwenyufu ebiragibwa ku ttivi, mu firimu, oba ku Internet.

15. Kiki ekinaatuyamba okukyawa ebintu ebibi?

15 Bwe tufuba okukolera ku kulabula okuva eri Katonda kituyamba okukyawa ebintu ebibi. (Zab. 97:10; Bar. 12:9) Ng’Omukristaayo omu bwe yagamba, tulina okukyayira ddala okulaba oba okusoma ebintu eby’obugwenyufu okusobola “okweggiramu ddala omuze ogwo.” Bw’oba osika ekintu nga kikwatidde ku kinnaakyo, oba olina okukozesa amaanyi mangi nnyo. Mu ngeri y’emu, okusobola okweggyamu omuze gw’okulaba oba okusoma ebintu eby’obugwenyufu kyetaagisa okufuba ennyo. Okutegeera akabi akali mu kulaba oba okusoma ebintu ebyo kijja kutuyamba okubikyawa. Ow’oluganda omu eyalwanyisa ennyo omuze gw’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu ku Internet yaddira kompyuta ye n’agiteeka mu kifo ab’omu maka ge we baali basobola okumulabira. Ng’oggyeko ekyo, naye kennyini yafuba okulaba nti akuuma ebirowoozo bye nga biyonjo, era yanyiikirira ebikolwa ebirungi. Waliwo n’ekirala kye yakola. Bizineesi ye yali emwetaagisa okukozesa Internet, naye yasalawo okugikozesanga ng’ali ne mukyala we.

Omuganyulo Oguli mu Kuba n’Empisa Ennungi

16, 17. Abantu bakwatibwako batya olw’empisa zaffe ennungi? Waayo ekyokulabirako.

16 Abantu bakwatibwako nnyo bwe balaba empisa ennungi abavubuka abaweereza Yakuwa ze balina. (Soma 1 Peetero 2:12.) Oluvannyuma lw’okumala olunaku lulamba mu maka ga Beseri mu Bungereza ng’akanika ekyuma ekikuba ebitabo, omusajja omu yakyusa endowooza gye yalina ku Bajulirwa ba Yakuwa. Mukyala we eyali asoma Baibuli n’omu ku bannyinaffe yakiraba nga bba akyuse. Mu kusooka yali tayagalira ddala kulaba Bajulirwa ba Yakuwa mu maka ge, kyokka yagenda okudda okuva ku Beseri ng’aboogerako birungi byereere olw’engeri ennungi gye baamuyisaamu. Yagamba nti teyawulira muntu n’omu akozesa lulimi lubi, era nti bonna baali bakkakkamu era nga ba mirembe. Ekyasinga okumwewuunyisa kwe kulaba baganda baffe ne bannyinaffe abavubuka nga bakola n’obunyiikivu okuwagira omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi, wadde nga tebasasulwa musaala.

17 Mu ngeri y’emu, baganda baffe ne bannyinaffe abakola okuyimirizaawo ab’omu maka gaabwe nabo bakola n’obunyiikivu. (Bak. 3:23, 24) Kino kitera okubayamba obutafiirwa mirimu gyabwe olw’okuba bakama baabwe bakiraba nti bakozi balungi.

18. Tuyinza tutya okuba abantu “abanyiikirira ebikolwa ebirungi”?

18 Bwe tuteeka obwesige bwaffe mu Yakuwa, ne tugondera ebiragiro bye, era ne tulabirira bulungi ebifo byaffe mwe tukuŋŋaanira, tuba tulaga nti twagala nnyo ennyumba ya Yakuwa. Okugatta ku ekyo, tusaanidde okufuba nga bwe kisoboka okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa. Ka tube bato oba bakulu, bwe tukola buli kye tusobola okutambulira ku mitindo gy’obutuukirivu mu kusinza kwaffe, tujja kufuna emikisa mingi era tweyongere okuba abantu “abanyiikirira ebikolwa ebirungi.”​—Tito 2:14.

[Obugambo obuli wansi]

a Asa ayinza okuba nga yaggyawo ebifo ebigulumivu abantu we baasinzizanga bakatonda ab’obulimba, n’alekawo ebyo we baasinzizanga Yakuwa. Oba kiyinzika okuba nti ebifo ebigulumivu byazimbibwa mu kiseera ky’obufuzi bwe ekyasembayo, nga bino mutabani we Yekosofaati bye yaggyawo.​—1 Bassek. 15:14; 2 Byom. 15:17.

Ebyokulabirako by’omu Baibuli n’eby’omu kiseera kino bikuyigirizza ki ku

• kuba omunyiikivu mu kubuulira ne mu kuyigiriza?

• ngeri abavubuka Abakristaayo gye bayinza ‘okunyiikirira ebikolwa ebirungi’?

• ngeri abavubuka gye bayinza okweggyamu emize emibi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Okozesa Baibuli ng’obuulira?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Okuyiga olulimi olulala ng’oli mu ssomero kiyinza okukuyamba okugaziya ku buweereza bwo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share