LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 5/15 lup. 8-12
  • ‘Onyiikirira Ebikolwa Ebirungi’?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Onyiikirira Ebikolwa Ebirungi’?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • BA MUNYIIKIVU NGA YAKUWA NE YESU
  • BWE TWOLEKA OMWOYO GW’OKWEFIIRIZA TUWEESA YAKUWA EKITIIBWA
  • BWE TWEYISA OBULUNGI TUSIKIRIZA ABANTU OKUYIGA EBIKWATA KU KATONDA
  • YOLEKA ENGERI EZIWEESA KATONDA EKITIIBWA
  • ‘Nyiikirira Ebikolwa Ebirungi’!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Nyiikirira Okusinza okw’Amazima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Buulira n’Obunyiikivu nga Yesu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Ogoberera Kristo mu Bujjuvu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 5/15 lup. 8-12

‘Onyiikirira Ebikolwa Ebirungi’?

‘Kristo Yesu, yeewaayo ku lwaffe asobole okwerongooseza abantu be abanyiikirira ebikolwa ebirungi.’​—TIT. 2:13, 14.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Lwaki ogitwala nga nkizo okunyiikirira ebikolwa ebirungi?

  • Okusinziira ku Danyeri 2:41-45, lwaki tusaanidde okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira?

  • Bwe tuba n’empisa ennungi kiyinza kitya okuleetera abalala okwagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa.

1, 2. Nkizo ki Abajulirwa ba Yakuwa gye balina, era enkizo eyo ogitwala otya?

ABANTU bangi bagitwala nga nkizo okuweebwa ekirabo olw’ekintu eky’enjawulo kye baba bakoze. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu baweebwa ebirabo olw’okuyamba mu kutabaganya amawanga agaba gafunye obutategeeragana. Kyokka tewali nkizo esinga eyo ey’okutumibwa Katonda okuyamba abantu okutabagana naye!

2 Abajulirwa ba Yakuwa be bokka abalina enkizo eyo ey’ekitalo. Katonda ne Kristo batutumye okugenda okwegayirira abantu ‘okutabagana ne Katonda.’ (2 Kol. 5:20) Yakuwa atukozesa okuyamba abantu okuyiga ebimukwatako. N’ekivuddemu, abantu bukadde na bukadde mu nsi ezisukka mu 235 basobodde okufuuka mikwano gya Katonda n’okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Tit. 2:11) Tufuba okuyita ‘buli muntu ayagala okutwala amazzi ag’obulamu buwa.’ (Kub. 22:17) Olw’okuba omulimu Yakuwa gwe yatuwa tugutwala nga gwa muwendo nnyo era nga tugukola n’obunyiikivu tuyinza okugamba nti tuli bantu “abanyiikirira ebikolwa ebirungi.” (Tit. 2:14) Kati tugenda kulaba engeri okunyiikirira ebikolwa ebirungi gye kiyinza okuleetera abalala okwagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Engeri emu gye tunyiikirira ebikolwa ebirungi kwe kubuulira amawulire amalungi.

BA MUNYIIKIVU NGA YAKUWA NE YESU

3. Ebigambo “Obunyiikivu bwa Mukama” biraga ki?

3 Isaaya 9:7 walaga nti Omwana wa Katonda yandibadde Kabaka era nti yandikoledde abantu ebintu ebirungi bingi. Era walaga nti “obunyiikivu bwa Mukama ow’eggye” bwe bwandisobozesezza ekyo okubaawo. Ebigamba ebyo biraga nti Kitaffe ow’omu ggulu ayagala nnyo okuyamba abantu okulokolebwa. Tusaanidde okukola omulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu olw’okuba Yakuwa Katonda naye munyiikivu. Ng’abantu abakolera awamu ne Katonda, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, Nfuba okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu?​—1 Kol. 3:9.

4. Yesu yatuteerawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira?

4 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Wadde nga yayolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi, yasigala nga munyiikivu mu mulimu gw’okubuulira okutuukira ddala okufa. (Yok. 18:36, 37) Kyokka bwe yali anaatera okuttibwa, Yesu yayongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira.

5. Yesu yafaananako atya omusajja eyali alabirira ennimiro ayogerwako mu lugero lw’omutiini?

5 Mu mwaka gwa 32 E.E., Yesu yagera olugero olukwata ku musajja eyalina omutiini ogwasimbibwa mu nnimiro ye ey’emizabbibu naye ne gumala emyaka esatu nga tegussaako bibala. Omusajja oyo bwe yalagira oyo eyali alabirira ennimiro okutema omuti ogwo, oyo eyali alabirira ennimiro yamusaba agira agulekawo era amukkirize okuguteekako ebigimusa. (Soma Lukka 13:6-9.) Yesu we yagerera olugero olwo, waaliwo abantu batono nnyo abaali bafuuse abayigirizwa be. Naye ng’olugero olwo bwe lulaga, Yesu yakozesa ekiseera ekitono kye yali asigazza ku nsi okwongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira. Yabuulira n’obunyiikivu mu Buyudaaya ne mu Pereya okumala emyezi nga mukaaga. Ng’ebula ennaku ntono Yesu attibwe, Yesu yanakuwala olw’abantu abaawulira obubaka bwe naye ne batabaako kye bakolawo.​—Mat. 13:15; Luk. 19:41.

6. Lwaki tusaanidde okwongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira?

6 Okuva bwe kiri nti enkomerero eneetera okutuuka, naffe twetaaga okwongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira. (Soma Danyeri 2:41-45.) Tulina enkizo ya maanyi okuba nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa. Ffe bantu bokka ku nsi abasobola okuyamba abantu abalala okumanya engeri ebizibu ebiri mu nsi gye bijja okugonjoolwamu. Omuwandiisi w’amawulire omu yagamba nti: ‘Tewali muntu yenna asobola kunnyonnyola nsonga lwaki n’abantu abalungi babonaabona.’ Naye Bayibuli eraga ensonga lwaki abantu bonna babonaabona, era buvunaanyizibwa bwaffe okuyamba abantu okutegeera ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. Tusaanidde ‘okwaka n’omwoyo’ nga tukola omulimu Katonda gwe yatuwa. (Bar. 12:11) Bwe tubuulira n’obunyiikivu, Yakuwa ajja kutuwa emikisa era tujja kusobola okuyamba abalala okumumanya n’okumwagala.

BWE TWOLEKA OMWOYO GW’OKWEFIIRIZA TUWEESA YAKUWA EKITIIBWA

7, 8. Bwe twoleka omwoyo gw’okwefiiriza kiweesa kitya Yakuwa ekitiibwa?

7 Bwe yali akola omulimu gw’okubuulira, Pawulo yayolekagana n’ebizibu ebitali bimu gamba ‘ng’obuteebaka kiro n’obutaba na mmere.’ (2 Kol. 6:5) Ne leero waliwo baganda baffe ne bannyinaffe bangi abaliko ebintu bye beefiirizza okusobola okukulembeza omulimu gw’okubuulira mu bulamu bwabwe. Ng’ekyokulabirako, bapayoniya bafuba okukulembeza omulimu gw’okubuulira mu bulamu bwabwe wadde nga mu kiseera kye kimu balina okukola okusobola okweyimirizaawo. Abaminsani bakola nnyo okusobola okuyamba abantu mu nsi ezitali zaabwe. (Baf. 2:17) Abakadde mu kibiina oluusi tebalya na mmere oba tebeebaka okusobola okulabirira endiga za Yakuwa. Waliwo ne bakkiriza bannaffe bannamukadde oba abalwadde, abafuba okubeerawo mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Bwe tulowooza ku baganda baffe ng’abo abooleka omwoyo gw’okwefiiriza, kituzzaamu nnyo amaanyi. Bwe twoleka omwoyo gw’okwefiiriza, kikwata ne ku bantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa.

8 Mu lupapula lw’amawulire olumu olukubirwa mu Bungereza, omusajja omu atali Mujulirwa wa Yakuwa yagamba nti: ‘Abantu tebakyafaayo nnyo ku bya ddiini. Simanyi bakulembeze b’amadiini kye baliko. Tebagenda eri bantu kubabuulira nga Yesu bwe yakolanga. Eddiini yokka efaayo ku bantu ye y’Abajulirwa ba Yakuwa. Bafuba okugenda eri abantu ne babayigiriza amazima.’ Leero abantu abasinga obungi beefaako bokka, naye bwe twoleka omwoyo gw’okwefiiriza tuweesa Yakuwa Katonda ekitiibwa.​—Bar. 12:1.

Bw’oba mu buweereza bw’ennimiro, oba owa obujulirwa

9. Kiki ekiyinza okutuyamba okunyiikirira ebikolwa ebirungi nga tukola omulimu gw’okubuulira?

9 Naye kiki kye tuyinza okukola singa tukiraba nti tetukyali banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira? Kiba kirungi okufumiitiriza ku birungi ebiva mu mulimu gw’okubuulira Yakuwa gw’atuwadde. (Soma Abaruumi 10:13-15.) Abantu balina okukoowoola erinnya lya Yakuwa bwe baba ab’okulokolebwa, naye ekyo tebasobola kukikola nga tetubabuulidde. Okumanya ekyo kyanditukubirizza okunyiikirira ebikolwa ebirungi n’okweyongera okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu.

BWE TWEYISA OBULUNGI TUSIKIRIZA ABANTU OKUYIGA EBIKWATA KU KATONDA

Bw’oba omwesigwa era ng’okola bulungi emirimu gyo, abalala bakiraba

10. Empisa zaffe ennungi ziyinza zitya okusikiriza abantu okwagala okumanya ebikwata ku Katonda?

10 Okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira si kye kintu kyokka kye twetaaga okukola okusobola okusikiriza abantu okwagala okumanya ebikwata ku Katonda. Twetaaga n’okuba n’empisa ennungi. Pawulo yalaga ensonga lwaki twetaaga okuba n’empisa ennungi. Yagamba nti: “Tetwagala kukola kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okuvumirirwa.” (2 Kol. 6:3) Bwe twogera obulungi n’abalala era ne tweyisa bulungi, tusobola okulungiya obubaka bwe tubuulira era ekyo kisobola okusikiriza abantu okwagala okumanya ebikwata ku Yakuwa. (Tit. 2:10) Mu butuufu, waliwo abantu bangi abayize amazima oluvannyuma lw’okulaba empisa zaffe ennungi.

11. Lwaki tusaanidde okulowooza ku ngeri enneeyisa yaffe gy’eyinza okukwata ku balala?

11 Bwe tuba n’empisa ennungi kisobola okusikiriza abalala okwagala okumanya ebikwata ku Yakuwa. Naye bwe tuba n’empisa embi kiyinza okulemesa abantu okuyiga ebikwata ku Yakuwa. N’olwekyo, ka tube waka, ku ssomero, oba ku mulimu, tusaanidde okwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okulemesa abalala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Bwe tukola ekibi mu bugenderevu, ebivaamu tebiba birungi n’akamu. (Beb. 10:26, 27) Ekyo kyanditukubiriza okulowooza ennyo ku ngeri enneeyisa yaffe gy’eyinza okukwata ku balala. Empisa z’abantu mu nsi zigenda zeeyongera okwonooneka era ekyo kiyambye abantu ab’emitima emirungi okulaba ‘enjawulo eri wakati w’abo abaweereza Katonda n’abo abatamuweereza.’ (Mal. 3:18) Mu butuufu, bwe tweyisa obulungi tusobola okuyamba abalala okutabagana ne Katonda.

12-14. Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa nga tuyigganyizibwa kiyinza kitya okukwata ku balala? Waayo ekyokulabirako.

12 Bwe yali awandiikira Abakkolinso ebbaluwa, Pawulo yagamba nti yabonaabona nnyo, yayolekagana n’ebizibu bingi, yakubibwa, era yasibibwa mu kkomera. (Soma 2 Abakkolinso 6:4, 5.) Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa nga tuyigganyizibwa, kiyinza okuleetera abalala okwagala okuyiga amazima. Ng’ekyokulabirako: Emyaka mitono egiyise, waliwo abantu abaali baagala okusaanyaawo Abajulirwa ba Yakuwa mu kitundu ekimu ekya Angola. Lumu abantu abo baazingiza Abajulirwa ba Yakuwa babiri n’abayizi ba Bayibuli 30 nga bali mu nkuŋŋaana. Baakuŋŋaanya abantu b’omu kitundu era ne bakuba ab’oluganda abo n’abayizi ba Bayibuli ng’abantu bonna balaba. Baabakuba okutuusa lwe baatandika okutonnya omusaayi. Abakazi n’abaana nabo tebaabataliza. Baali baagala okutiisatiisa abantu baleme kuddamu kuwuliriza Bajulirwa ba Yakuwa. Naye oluvannyuma, abantu bangi abaali babeera mu kitundu ekyo baatuukirira Abajulirwa ba Yakuwa ne babasaba okutandika okubayigiriza Bayibuli. Omulimu gw’okubuulira gweyongera mu maaso mu kitundu ekyo, abantu bangi baayiga amazima, era ab’oluganda baafuna emikisa mingi.

13 Ekyokulabirako ekyo kiraga nti bwe tunywerera ku misingi gya Bayibuli nga tuyigganyizibwa kisobola okukwata ku balala. Obuvumu Peetero n’abatume abalala bwe baayoleka nga bayigganyizibwa buteekwa okuba nga bwaleetera abalala okwagala okuyiga ebikwata ku Katonda. (Bik. 5:17-29) Naffe bwe tunywerera ku kituufu, tusobola okuyamba bayizi bannaffe, bakozi bannaffe, oba ab’eŋŋanda zaffe okuyiga amazima.

14 Baganda baffe bangi mu bitundu by’ensi ebitali bimu bayigganyizibwa. Ng’ekyokulabirako, mu Armenia, ab’oluganda nga 40 basibiddwa mu makomera olw’okugaana okwenyigira mu by’obufuzi, era n’abalala bangi bayinza okusibibwa mu kiseera ekitali kya wala. Mu Eritrea, Abajulirwa ba Yakuwa 55 be bali mu makomera, kyokka ng’abamu ku bo basussa mu myaka 60 egy’obukulu. Mu South Korea, ab’oluganda nga 700 be basibiddwa mu makomera olw’okukkiriza kwabwe. Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi eyo bamaze emyaka 60 nga bayigganyizibwa. Tusuubira nti obwesigwa bwa baganda baffe abayigganyizibwa mu nsi ezitali zimu bujja kuleetera Yakuwa ettendo era buleetere abantu abaagala obutuukirivu okwagala okuyiga amazima.​—Zab. 76:8-10.

15. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri okuba abeesigwa gye kiyinza okuleetera abalala okwagala okuyiga amazima?

15 Bwe tuba abeesigwa nakyo kiyinza okuleetera abalala okwagala okuyiga amazima. (Soma 2 Abakkolinso 6:4, 7.) Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu bwe yali agenda okusasula ssente za bbaasi, waliwo omukazi eyamugamba nti yali teyeetaaga kusasula ssente ezo okuva bwe kiri nti yali agenda kumpi nnyo. Mwannyinaffe yamugamba nti wadde nga yali agenda kumpi nnyo yali alina okusasula ssente ezo. Omukazi oyo bwe yamala okuva mu bbaasi, omuvuzi wa bbaasi yabuuza mwannyinaffe nti, “Oli omu ku Bajulirwa ba Yakuwa?” Mwannyinaffe yamuddamu nti “Yee, ndi omu ku bo. Naye lwaki ombuuzizza ekibuuzo ekyo?” Omuvuzi wa bbaasi yamugamba nti, “Nkuwulidde ng’oliko omukazi gw’oyogera naye ku by’okusasula ssente za bbaasi, era nkimanyi nti Abajulirwa ba Yakuwa be bamu ku bantu abatono ennyo abatakumpanya ssente za bbaasi era abeesigwa mu bintu byonna.” Oluvannyuma lw’emyezi mitono, waliwo omusajja eyatuukirira mwannyinaffe nga bali mu nkuŋŋaana n’amugamba nti “Okyanzijukira? Nze muvuzi wa bbaasi eyayogerako naawe ku by’okusasula ssente za bbaasi. Oluvannyuma lw’okukiraba nti wali mwesigwa, nnasalawo okutandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa.” Abantu bwe bakiraba nti tuli beesigwa, kisobola okubaleetera okwagala okuyiga amazima.

YOLEKA ENGERI EZIWEESA KATONDA EKITIIBWA

16. Kiki ekiyinza okubaawo singa twoleka obugumiikiriza, okwagala, n’ekisa? Bintu ki ebikyamu abakulembeze b’amadiini bye bakola?

16 Bwe twoleka engeri ennungi, gamba ng’obugumiikiriza, okwagala, n’ekisa tuyinza okuleetera abalala okwagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa, ebigendererwa bye, awamu n’abantu be. Engeri Abakristaayo ab’amazima gye beeyisaamu eweesa Katonda ekitiibwa. Kyokka bo abakulembeze b’amadiini abamu beefuula abalungi naye nga balimbalimba abagoberezi baabwe era nga babakamulamu ssente. Abamu bakozesa ssente ze baba baggye ku bagoberezi baabwe okwegulira emmotoka ez’ebbeeyi n’okwezimbira amayumba ag’ebbeeyi. Omukulembeze w’eddiini omu yatuuka n’okuzimbira embwa ze ennyumba n’ateekamu ekyuma ekinnyogoza empewo. Abakulembeze b’amadiini bangi abeeyita abagoberezi ba Kristo tebakolera ku bigambo bye bino: “Mwaweebwa buwa nammwe muwenga buwa.” (Mat. 10:8) Okufaananako bakabona abajeemu abaali mu ggwanga lya Isiraeri, abakulembeze b’amadiini abo ‘bayigiriza basobole okufuna ebintu,’ era bingi ku ebyo bye bayigiriza tebyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. (Mi. 3:11) Mu butuufu, tebayambye bantu kutabagana ne Katonda.

17, 18. (a) Bwe twoleka engeri ennungi kiweesa kitya Yakuwa ekitiibwa? (b) Lwaki oli mumalirivu okunyiikirira ebikolwa ebirungi?

17 Abantu bwe bakiraba nti tuyigiriza amazima era nti tuyisa bulungi bantu bannaffe, ekyo kisobola okubasikiriza okuyiga amazima. Ng’ekyokulabirako, Payoniya omu bwe yali abuulira nnyumba ku nnyumba, nnamukadde omu yagaana okumuwuliriza. Nnamukadde oyo yamugamba nti w’akonkonedde ku luggi lwe, abadde waggulu ku ddaala ng’agezaako okussaayo ettaala ly’omu ffumbiro lye. Payoniya yamugamba nti: “Kya kabi nnyo okukola ekintu ng’ekyo ng’oli wekka.” Payoniya yamuteerayo ettaala lye oluvannyuma n’agenda ku nnyumba endala. Mutabani w’omukyala oyo bwe yategeera ekyo ekyali kibaddewo, yakwatibwako nnyo era n’ayagala okusisinkana ow’oluganda oyo amwebaze. N’ekyavaamu, mutabani w’omukyala oyo yatandika okuyiga Bayibuli.

18 Lwaki oli mumalirivu okweyongera okunyiikirira ebikolwa ebirungi? Oboolyawo okimanyi nti bwe tubuulira n’obunyiikivu era ne tufuba okweyisa obulungi, tuweesa Yakuwa ekitiibwa era tusobola okuyamba abalala okulokolebwa. (Soma 1 Abakkolinso 10:31-33.) Okugatta ku ekyo, bwe tubuulira n’obunyiikivu era ne tweyisa mu ngeri esanyusa Katonda, kiba kiraga nti twagala Katonda ne bantu bannaffe. (Mat. 22:37-39) Bwe tunyiikirira ebikolwa ebirungi, tujja kuba basanyufu era tujja kuba n’obulamu obumatiza. Ate era tujja kuba n’essuubi ery’okubaawo mu kiseera abantu bonna ku nsi lwe bajja okuba nga basinza Omutonzi waffe Yakuwa era nga bamuweesa ekitiibwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share