Abasomi Baffe Babuuza
Ddala Abasajja Abagezigezi Basatu Baagenda Okulaba Yesu nga Muwere?
Okwetooloola ensi yonna, ebyo ebyogerwa ku mazaalibwa ga Yesu, biraga nti waaliwo bakabaka basatu, oba abasajja abagezigezi abaaleetera Yesu ebirabo eby’omuwendo nga yaakazaalibwa. Ddala ebyo ebyogerwa bituufu? Ddala bikwatagana n’amazima agali mu Baibuli? Ka tulabe.
Ebyo ebiri Enjiri ya Matayo n’eya Lukka, byogera ku kuzaalibwa kwa Yesu. Biraga nti abasumba abaali okumpi awo ku ttale, be bokka abaagenda okulaba Yesu nga yakazaalibwa. Mu butuufu abo abagambibwa okuba bakabaka, oba abasajja abagezigezi, baali bantu abalaguzisa emmunyeenye, so si bakabaka, era Baibuli teraga muwendo gwabwe. Abantu abo abalaguzisa emmunyeenye tebaagenda eri Yesu nga yaakazaalibwa ng’azazikiddwa mu lutiba ebisolo mwe biriira, naye we baatuukira, Yesu yali takyali mwana muwere era mu kiseera ekyo yali abeera mu nju. Era okukyala kwabwe kwateeka obulamu bwa Yesu mu kabi!
Weetegereze bulungi ebyo Lukka omuwandiisi wa Baibuli bye yawandiika ku kuzaalibwa kwa Yesu, yagamba nti: “Waaliwo abasumba abaali ku ttale nga bakuuma ebisibo byabwe ekiro. Amangu ago malayika wa Yakuwa n’ajja n’ayimirira we bali, . . . n’abagamba nti: . . . ‘Mujja kusiŋŋaana omwana omuwere ng’abikiddwa mu ngoye, ng’azazikiddwa mu lutiba ebisolo mwe biriira.’ . . . Ne bagenda mangu ne basanga Maliyamu ne Yusufu, n’omwana omuwere ng’azazikiddwa mu lutiba ensolo mwe ziriira.”—Lukka 2:8-16.
Yusufu, Maliyamu, abasumba awamu ne Yesu nga muwere be bokka abaaliwo. Tewali muntu mulala yenna Lukka gw’ayogerako.
Kati ate weetegereze ebyo ebiri mu Matayo 2:1-11 mu Baibuli y’Oluganda eya 1968. Wagamba nti: “Awo Yesu bwe yazaalibwa mu Besirekemu eky’e Buyudaaya ku mirembe gya Kerode kabaka, laba, abagezigezi abaava ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi . . . Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ne Malyamu nnyina.”
Weetegereze nti ebyawandiikibwa bigamba nti “abagezigezi,” so si nti “abasajja basatu abagezigezi,” era nti baava buvanjuba ne bajja e Yerusaalemi, ate nga kino si kye kibuga Besirekemu Yesu gye yazaalibwa. We baatuukira e Besirekemu, Yesu yali takyali ‘mwana muwere’ era nga takyali mu lutiba ensolo mwe ziriira, naye yali abeera mu nnyumba.
Era wadde ng’enkyusa ya Baibuli eya 1968 ekozesa ekigambo “abagezigezi” ng’eyogera ku bagenyi abo, enkyusa endala zikozesa ekigambo “Magi” oba “abalaguzisa emmunyeenye.” Ekitabo ekiyitibwa A Handbook on the Gospel of Matthew kigamba nti: “ebigambo abasajja abagezigezi biva mu kigambo ky’Oluyonaani edda ekyakozesebwanga ku bakabona Abaperusi abaali abakugu mu kulaguzisa emmunyeenye.” Ate ekitabo ekiyitibwa The Expanded Vine’s Expository Dictionary of New Testament Words kinnyonnyola ekigambo ekyo nga “omulogo, omuganga, omusamize, omusawo.”
Wadde ng’abantu bakyettanira obulogo n’okulaguzisa emmunyeenye, Baibuli ebivumirira. (Isaaya 47:13-15) Bye bimu ku bikolwa eby’obusamize Yakuwa Katonda by’akyayira ddala. (Ekyamateeka 18:10-12) Eyo y’ensonga lwaki tewali malayika wa Katonda yenna eyalangirira okuzaalibwa kwa Yesu eri abasajja abo abalaguzisa emmunyeenye. Kyokka, Katonda yabalabula mu kirooto obutaddayo wa Kabaka Kerode kubanga yali ayagala okutta Yesu. N’olwekyo, “baddayo mu nsi yaabwe nga bayitira mu kkubo eddala.”—Matayo 2:11-16.
Ddala Abakristaayo ab’amazima bandikkirizza eby’obulimba ebikwata ku kuzaalibwa kwa Yesu? Mazima ddala, eky’okuddamu kiri nti, nedda.