Kozesa Bulungi Ekirabo kyo eky’Obwannamunigina
“Oyo asobola okusigala nga si mufumbo asigale bw’atyo.”—MAT. 19:12.
1, 2. (a) Yesu, Pawulo, n’abalala baatwala batya obwannamunigina? (b) Lwaki abamu obwannamunigina bayinza obutabutwala ng’ekirabo?
TEWALI kubuusabuusa nti obufumbo kye kimu ku birabo ebisingayo okuba eby’omuwendo Katonda by’awadde abantu. (Nge. 19:14) Kyokka, n’Abakristaayo bangi abali obwannamunigina nabo basanyufu. Harold, ow’oluganda ow’emyaka 95 ali obwannamunigina, agamba nti: “Wadde nga nnyumirwa nnyo okubeera n’abalala, bwe mbeera nzekka siwulira kiwuubaalo. Bwe kityo, nsobola okugamba nti nnina ekirabo eky’obwannamunigina.”
2 Mu butuufu, okufaananako obufumbo, Yesu Kristo n’omutume Pawulo baayogera ku bwannamunigina ng’ekirabo ekiva eri Katonda. (Soma Matayo 19:11, 12; 1 Abakkolinso 7:7.) Kyo kituufu nti si buli muntu ali obwannamunigina nti y’aba akyeyagalidde. Oluusi abamu baba babuliddwa omuntu omutuufu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa. Abalala beesanga nga basigadde bokka oluvannyuma lw’okugattululwa oba okufiirwa bannaabwe mu bufumbo. Kati olwo obwannamunigina buyinza butya okuba ekirabo? Era Abakristaayo abali obwannamunigina bayinza batya okukozesa obulungi ekirabo kino?
Ekirabo eky’Omuwendo Ennyo
3. Okuba obwannamunigina kiyinza kitya okuganyula Omukristaayo?
3 Omuntu ali obwannamunigina ebiseera ebisinga aba n’obudde bungi n’eddembe okusinga omufumbo. (1 Kol. 7:32-35) Kino kiyinza okumusobozesa okugaziya ku buweereza bwe, okugaziwa mu kwagala kwe eri abalala, n’okweyongera okusemberera Yakuwa. Abakristaayo bangi balabye emiganyulo egiri mu kuba obwannamunigina era basazeewo ‘okusigala nga si bafumbo,’ waakiri okumala ekiseera. Abalala kiyinza okuba nga tekyali kigendererwa kyabwe okuba obwannamunigina, naye embeera zaabwe bwe zaakyuka, baasaba Katonda era ne balowooza ku mbeera yaabwe bwe kityo ne bakiraba nti nabo Yakuwa asobola okubayamba okumalirira mu mutima gwabwe okusigala bwe batyo. Bwe kityo, bakkiriza embeera yaabwe era ne basalawo okusigala nga si bafumbo.—1 Kol. 7:37, 38.
4. Lwaki Abakristaayo abali obwannamunigina basaanidde okuwulira nti ba muwendo eri Katonda?
4 Abakristaayo abali obwannamunigina bakimanyi nti tekibeetaagisa kusooka kuwasa oba kufumbirwa okusobola okuba ab’omuwendo eri Yakuwa oba eri ekibiina kye. Ffenna Katonda atwagala. (Mat. 10:29-31) Tewali muntu yenna oba kintu kyonna kiyinza kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda. (Bar. 8:38, 39) Ka tube bafumbo oba nga tuli bwannamunigina, tulina ensonga nnyingi ezandituleetedde okuwulira nti tuli ba muwendo mu maaso ga Katonda.
5. Omuntu ayinza kukola ki okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu kirabo ky’obwannamunigina?
5 Kyokka okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu kirabo ky’obwannamunigina, omuntu aba alina okukikulaakulanya. Kati olwo Omukristaayo ali obwannamunigina—k’abe wa luganda oba mwannyinaffe, mukulu oba muto, nga kyali kigendererwa kye oba nedda—asobola atya okukozesa obulungi ekirabo ekyo? Ka twetegerezeeyo ebimu ku byokulabirako by’abo abaali mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka era tulabe kye tuyinza okubayigirako.
Okuba Obwannamunigina mu Buvubuka
6, 7. (a) Nkizo ki Katonda gye yawa bawala ba Firipo embeerera? (b) Timoseewo yakozesa atya ekirabo eky’obwannamunigina, era mikisa ki gye yafuna olw’okukozesa emyaka egy’obuvubuka bwe okuweereza Katonda?
6 Omubuulizi w’enjiri Firipo yalina abawala bana embeerera abaabuuliranga n’obunyiikivu nga kitaabwe. (Bik. 21:8, 9) Okwogera obunnabbi kye kimu ku birabo eby’omwoyo omutukuvu, era abawala bano baakozesa ekirabo ekyo mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu Yoweeri 2:28, 29.
7 Timoseewo y’omu ku bavubuka abaakozesa obulungi ekirabo kyabwe eky’obwannamunigina. Okuva mu buwere, maama we Ewuniike ne jjajjaawe Looyi baamuyigiriza “ebyawandiikibwa ebitukuvu.” (2 Tim. 1:5; 3:14, 15) Kirabika baafuuka Abakristaayo ku mulundi Pawulo gwe yasooka okugenda e Lusitula, ekibuga gye baali babeera, awo nga mu 47 E.E. Nga wayise emyaka ebiri, Pawulo we yaddirayo omulundi ogw’okubiri, kirabika Timoseewo yali anaatera okuweza emyaka 20 oba nga yakagisussaamu. Wadde nga yali akyali muto mu myaka ne mu mazima, abakadde mu Lusitula ne Ikoniyo “baali bamwogerako bulungi.” (Bik. 16:1, 2) Bw’atyo Pawulo yatwala Timoseewo okukola ng’omuyambi we mu mulimu gwe ogw’obuminsani. (1 Tim. 1:18; 4:14) Kyo kituufu nti tewali bukakafu bulaga nti Timoseewo teyawasa. Naye tukimanyi nti ng’akyali muvubuka, yakkiriza okukolera awamu ne Pawulo, era okuva olwo yamala emyaka mingi ng’aweereza ng’omuminsani era ng’omukadde mu kibiina, ng’ali bwannamunigina.—Baf. 2:20-22.
8. Kiki ekyayamba Yokaana Makko okutuuka ku biruubirirwa bye eby’omwoyo, era mikisa ki gye yafuna?
8 Ng’akyali muvubuka, Yokaana Makko naye yakozesa bulungi ekirabo kye eky’obwannamunigina. Ye ne maama we, Maliyamu, awamu ne Balunabba gwe yalinako oluganda, be bamu ku bantu abaasooka mu kibiina ky’e Yerusaalemi. Amaka Makko mwe yali ava galabika gaali bulungi mu by’enfuna, okuva bwe kiri nti baalina ennyumba mu kibuga n’omukozi w’awaka. (Bik. 12:12, 13) Wadde nga yali ava mu maka ng’ago, Makko teyali muntu eyeerowoozaako yekka, era teyalowooza ku kya kwefunira maka na kwezaalira baana. Okuba nti yali amaze ekiseera ng’akolagana n’abatume kiyinza okuba nga kye kyamuleetera okwagala okuweereza ng’omuminsani. Bw’atyo yeegatta ku Pawulo ne Balunabba nga bagenda ku lugendo lwabwe olw’obuminsani olwasooka n’aweereza ng’omuyambi waabwe. (Bik. 13:5) Oluvannyuma, yakolera wamu ne Balunabba, era olulala ayogerwako ng’akolera wamu ne Peetero e Babulooni. (Bik. 15:39; 1 Peet. 5:13) Tetumanyi myaka Makko gye yamala ng’ali bwannamunigina. Naye tumumanyi ng’omuntu eyalinga omwetegefu okuweereza abalala n’okukola ekisingawo mu buweereza bwe eri Katonda.
9, 10. Nkizo ki abavubuka Abakristaayo abali obwannamunigina ze basobola okufuna eziyinza okubayamba okugaziya ku buweereza bwabwe? Waayo ekyokulabirako.
9 Abavubuka bangi mu kibiina leero bakozesa ekiseera nga bakyali bwannamunigina okugaziya ku buweereza bwabwe. Okufaananako Makko ne Timoseewo, bakiraba nti okubeera obwannamunigina kibasobozesa “okuweereza Mukama waffe nga tewali kibataataaganya.” (1 Kol. 7:35) Guno muganyulo gwa maanyi nnyo. Basobola okuweereza nga bapayoniya, okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingako, okuyiga ennimi endala, okuyamba mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka oba ofiisi z’amatabi, okugenda mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza, era n’okuweereza ku Beseri. Bw’oba okyali muvubuka era nga tonnayingira bufumbo, ofuba okwefunira enkizo ng’ezo?
10 Ow’oluganda ayitibwa Mark yatandika okuweereza nga payoniya ng’akyali mutiini, yagenda mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza, era afunye enkizo okuweerezaako mu nsi ezitali zimu. Ng’ayogera ku myaka 25 gy’amaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna, Mark agamba nti: “Nfubye okuzzaamu amaanyi ab’oluganda mu kibiina, nga nkola nabo mu buweereza bw’ennimiro, nga mbakyalira, nga mbakyaza ewange, era nga nteekateeka obubaga okusobola okubazimba mu by’omwoyo. Bino byonna bindeetedde essanyu lingi.” Ng’ebigambo bya Mark bwe biraga, essanyu erya nnamaddala liva mu kugaba, era okwenyigira mu bujjuvu mu buweereza kituwa akakisa okugabira abalala. (Bik. 20:35) Ka babe na busobozi bwa ngeri ki oba bumanyirivu ki mu bulamu, abavubuka balina bingi bye basobola okukola mu mulimu gwa Mukama waffe.—1 Kol. 15:58.
11. Egimu ku miganyulo egiri mu butapapa kuyingira bufumbo gye giruwa?
11 Wadde ng’ebiseera bwe bigenda biyitawo abavubuka abasinga obungi batera okwagala okuwasa oba okufumbirwa, kiba kya magezi obutapapa kuyingira bufumbo. Pawulo akubiriza abavubuka okulindako okutuusa nga bayise mu kiseera “ekya kabuvubuka,” ekiseera okwegomba okw’okwetaba we kubeerera okw’amaanyi ennyo. (1 Kol. 7:36) Kitwala ekiseera ggwe kennyini okusobola okwetegeera n’okufuna amagezi ageetaagisa okulonda omuntu omutuufu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa. Obweyamo obukolebwa ng’abantu bafumbiriganwa busaanidde okutwalibwa ng’ekintu ekikulu ennyo.—Mub. 5:2-5.
Okuba Obwannamunigina mu Myaka egy’Obukulu
12. (a) Nnamwandu Anna yakozesa atya enkyukakyuka ezajjawo mu bulamu bwe? (b) Nkizo ki gye yafuna?
12 Anna, ayogerwako mu Njiri ya Lukka, kirabika yawulira ennaku y’amaanyi bwe yafiirwa bba nga baakamala emyaka musanvu gyokka mu bufumbo. Tetumanyi obanga baalina abaana era obanga yaddamu okulowooza ku ky’okufumbirwa. Naye Baibuli eraga nti ku myaka 84 egy’obukulu, Anna yali akyali nnamwandu. Okusinziira ku ekyo Baibuli ky’egamba, tusobola okugamba nti Anna yakozesa enkyukakyuka ezajjawo mu bulamu bwe okusemberera Yakuwa. ‘Teyayosanga kugenda mu yeekaalu, nga yeenyigira mu buweereza obutukuvu emisana n’ekiro, ng’asiiba, era nga yeegayirira Katonda.’ (Luk. 2:36, 37) Yakulembezanga ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwe. Ekyo kyali kimwetaagisa okufuba okw’amaanyi, naye kyamuviiramu emikisa mingi. Yafuna enkizo okulaba ku Yesu ng’akyali muwere, era n’okubuulira abalala ebikwata ku kununulibwa kw’abantu okuyitira mu Masiya.—Luk. 2:38.
13. (a) Kiki ekiraga nti Doluka yali wa mugaso nnyo mu kibiina? (b) Birungi ki ebyava mu bikolwa bya Doluka eby’ekisa?
13 Omukazi ayitibwa Doluka, oba Tabbiisa, yali abeera mu Yopa, omwalo ogwali ebukiika kkono bwa Yerusaalemi. Okuva bwe kiri nti Baibuli teyogera ku mwami we, kirabika teyali mufumbo mu kiseera ekyo. Doluka “yayitirira mu kukola ebikolwa ebirungi ne mu kugabira abaavu.” Yakolanga ebyambalo bingi n’abigabira bannamwandu n’abalala abaalinga mu bwetaavu, era kino kyabaleetera okumwagala ennyo. Bwe yalwala n’afa, ab’oluganda bonna mu kibiina baatumya Peetero ne bamwegayirira okujja okuzuukiza mwannyinaabwe oyo omwagalwa. Amawulire agakwata ku kuzuukira kwe bwe gaabuna mu Yopa yonna, bangi baafuuka abakkiriza. (Bik. 9:36-42) Doluka ayinza okuba nga yali ayambye abamu ku bo okuyitira mu bikolwa bye eby’ekisa.
14. Kiki ekireetera Abakristaayo abali obwannamunigina okwongera okusemberera Yakuwa?
14 Okufaananako Anna ne Doluka, ne leero waliwo ab’oluganda bangi abakulu mu myaka abali obwannamunigina. Abamu bayinza okuba nga babuliddwa omuntu omutuufu ow’okuwasa oba okufumbirwa. Abalala baagattululwa oba baafiirwako bannaabwe mu bufumbo. Okuva bwe kiri nti tebalina muntu gwe basobola kweyabiza, Abakristaayo abali obwannamunigina beesigama nnyo ku Yakuwa. (Nge. 16:3) Silvia, mwannyinaffe ali obwannamunigina amaze emyaka egisukka mu 38 ng’aweereza ku Beseri, okuba obwannamunigina akitwala ng’omukisa. Agamba nti: “Oluusi nange mba njagala okuzzibwamu amaanyi, naye nga nneebuuza, ‘Ani anaanzizaamu amaanyi?’” Agattako nti: “Okukimanya nti Yakuwa amanyi bye nneetaaga n’okunsinga, kinnyamba okwongera okumusemberera. Anzizaamu amaanyi mu ngeri nnyingi, nga kino oluusi akikola ne mu ngeri gye mba sisuubira.” Buli lwe tweyongera okusemberera Yakuwa, naye atubudaabuda era n’atufaako mu ngeri esingayo obulungi.
15. Abakristaayo abatali bafumbo bayinza batya ‘okugaziwa’ mu kwagala kwabwe?
15 Okubeera obwannamunigina kisobozesa omuntu ‘okugaziwa’ mu kwagala kwe. (Soma 2 Abakkolinso 6:11-13.) Jolene, mwannyinaffe ali obwannamunigina amaze emyaka 34 mu buweereza obw’ekiseera kyonna, agamba nti: “Nfubye okukola omukwano ku bantu ab’emyaka egitali gimu. Okuba obwannamunigina kisobola okukuwa akakisa okubaako ky’owa Yakuwa, ab’eŋŋanda zo, ab’oluganda mu kibiina, awamu ne baliraanwa bo. Gye nneeyongera okukula gye nneeyongera okusiima ekirabo kyange eky’obwannamunigina.” Bannamukadde, abalina obulemu ku mibiri gyabwe, abazadde abali obwannamunigina, abavubuka, n’abalala mu kibiina basiima nnyo obuyambi abo abali obwannamunigina bwe babawa. Mu butuufu, buli lwe tulaga abalala okwagala, twongera okuwulira nga tuli ba mugaso. Naawe osobola ‘okugaziwa’ mu kwagala kwo eri abalala?
Okusigala Obwannamunigina Obulamu Bwo Bwonna
16. (a) Lwaki Yesu yasalawo okusigala obwannamunigina obulamu bwe bonna? (b) Pawulo yakozesa atya ekirabo kye eky’obwannamunigina?
16 Yesu teyawasa; yalina okweteekerateekera obuweereza bwe n’okubutuukiriza. Yatambulanga eŋŋendo empanvu, yakolanga okuva ku makya okutuukira ddala ekiro, era oluvannyuma yawaayo obulamu bwe nga ssaddaaka. Okubeera obwannamunigina kyamuyamba okutuukiriza obuweereza bwe. Omutume Pawulo naye yatambulanga eŋŋendo empanvu era yayolekagana n’ebizibu bingi mu buweereza bwe. (2 Kol. 11:23-27) Wadde ng’ayinza okuba nga yali yawasaako emabega, Pawulo yasalawo okusigala nga ali bwannamunigina oluvannyuma lw’okulondebwa okuweereza ng’omutume. (1 Kol. 7:7; 9:5) Yesu ne Pawulo baakubiriza abalala okubakoppa, bwe kiba kisoboka, ekyo kibayambe okukola ekisingawo mu buweereza bwabwe. Kyokka tewali n’omu ku bo yagamba nti abaweereza ba Katonda tebalina kuwasa.—1 Tim. 4:1-3.
17. Abamu leero bakoppye batya ekyokulabirako kya Yesu ne Pawulo, era lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa asiima abo bonna abeefiiriza mu ngeri eyo?
17 Abamu leero nabo basazeewo okusigala obwannamunigina kibayambe okwemalira ku buweereza bwabwe. Harold, eyayogeddwako waggulu, kati amaze emyaka egisukka mu 56 ng’aweereza ku Beseri. Agamba nti: “Mu myaka gyange ekkumi egyasooka ku Beseri, nnalaba abafumbo bangi nga bava ku Beseri olw’obulwadde oba nga bagenda okulabirira bazadde baabwe abakaddiye. Bazadde bange bombi baali baafa. Nnali njagala nnyo Beseri ne kiba nti nnasalawo obutawasa, kubanga okuwasa kyali kiyinza okunteeka mu mbeera eyinza okunviirako okufiirwa enkizo eyo.” Mu ngeri y’emu, mwannyinaffe ayitibwa Margaret amaze ekiseera ekiwanvu ng’aweereza nga payoniya yagamba nti: “Wabaddewo bangi ababadde baagala okumpasa, naye nga sikkiriza. Mu kifo ky’ekyo, nnasalawo okukozesa eddembe omuntu ali obwannamunigina ly’aba nalyo okwemalira ku buweereza bwange, era kino kindeetedde essanyu lingi nnyo.” Mu butuufu, Yakuwa tasobola kwerabira abo bonna abeefiiriza mu ngeri eyo olw’okusinza okw’amazima.—Soma Isaaya 56:4, 5.
Kozesa Bulungi Embeera gy’Olimu
18. Abalala bayinza batya okuzzaamu amaanyi n’okuyamba Abakristaayo abali obwannamunigina?
18 Abakristaayo bonna abali obwannamunigina abafuba okuweereza Yakuwa tusaanidde okubasiima n’okubazzaamu amaanyi. Tubaagala nnyo era tusiima nnyo ebirungi byonna bye bakola mu kibiina. Tebayinza kuwulira kiwuubaalo singa tukiraga nti tuli ‘baganda baabwe, bannyinaabwe, bamaama baabwe, era baana baabwe’ ab’eby’omwoyo.—Soma Makko 10:28-30.
19. Oyinza kukola ki okusobola okukozesa obulungi ekirabo kyo eky’obwannamunigina?
19 Ka kibe nti ggwe weesalirawo okuba obwannamunigina oba nedda, ka ebyokulabirako bye tulabye bikuyambe okukiraba nti osobola okubeera n’obulamu obw’essanyu era obw’amakulu. Ebirabo ebimu tuba tusuubira okubifuna ate ebirala bijja nga tetubisuubira. Ebimu tuyinza okubisiimirawo, ate ebirala tuyinza okubisiima ekiseera bwe kigenda kiyitawo. N’olwekyo, okusiima ekirabo kisinziira nnyo ku ndowooza gye tuba nayo. Oyinza kukola ki okusobola okukozesa obulungi ekirabo kyo eky’obwannamunigina? Weeyongere okusemberera Yakuwa, ba n’eby’okukola bingi mu buweereza bwo eri Katonda, era gaziwa mu kwagala kwo eri abalala. Okufaananako obufumbo, ekirabo ky’obwannamunigina nakyo tusobola okukiganyulwamu singa tukitunuulira nga Katonda bw’akitunuulira era ne tukikozesa mu ngeri ey’amagezi.
Ojjukira?
• Mu ngeri ki okubeera obwannamunigina gye kiyinza okuba ekirabo?
• Okuba obwannamunigina kiyinza kitya okuba ekirabo mu buvubuka?
• Abakristaayo abali obwannamunigina bayinza batya okweyongera okusemberera Katonda n’okugaziwa mu kwagala kwabwe?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Okozesa bulungi ekirabo kyo eky’obwannamunigina?