‘Mukisiime’
1 Lumu, bwe yali ayogera n’abayigirizwa be ku bufumbo, Yesu yayogera ku kubeera obwannamunigina ‘ng’ekirabo.’ Awo n’alyoka agamba: ‘Oyo asobola okukisiima akisiime.’ (Matayo 19:10-12) Nga wayiseewo emyaka, omutume Pawulo yawandiika ku miganyulo egiri mu kubeera obwannamunigina era n’akubiriza abalala okugoberera ekyokulabirako kye eky’okusigala nga si mufumbo. (1 Kol. 7:7, 38) Bangi leero ‘basiimye’ ekirabo eky’okusigala obwannamunigina era bafuna emiganyulo mingi. Emiganyulo egimu ku egyo gye giruwa?
2 Okuweereza ‘Awatali Kuwugulibwa’: Pawulo yakitegeera nti obwannamunigina bwali bumuwa omukisa okuweereza Yakuwa ‘awatali kuwugilibwa.’ Mu ngeri y’emu leero, ow’oluganda ali obwannamunigina, asobola okusaba okugenda mu Ssomero Eritendeka Abaweereza n’Abakadde, ate era omuntu ali obwannamunigina kimwanguyira okuweereza nga payoniya, okuyiga olulimi olulala, okugenda obwetaavu gye businga obungi, okuweereza ku Beseri oba okuweereza mu ngeri endala yonna ey’enjawulo. Asobola okufuna ebiseera bingi n’emikisa okweyigiriza n’okufumiitiriza era n’okutuukirira Yakuwa mu kusaba. Omuntu atali mufumbo era asobola okufuna ebiseera bingi okuyamba abalala. Ebyo byonna bisobola ‘okumuganyula.’—1 Kol. 7:32-35; Bik. 20:35.
3 Okuweereza Katonda mu ngeri eyo nga tewaliwo kikuwugula, kikusobozesa okufuna emikisa mingi. Oluvannyuma lw’okubeera mu Kenya okumala emyaka 27, mwannyinaffe omu ali obwannamunigina yagamba: “Nnalina emikwano mingi nnyo era n’emirimu mingi egy’okukola! Twakoleranga wamu emirimu era n’okukyalira abalala. . . . Eddembe lye nnalina okugenda mu bifo ebitali bimu olw’okuba saali mufumbo, nnalikozesa bulungi mu buweereza era ekyo kindeetedde essanyu lingi. Era yagattako: “Emyaka bwe gizze giyitawo, enkolagana yange ne Yakuwa yeeyongedde okunywera.”
4 Okukozesa Obulungi Ekirabo ky’Okubeera Obwannamunigina: Yesu yagamba nti ekiruubirirwa eky’okubeera obwannamunigina kyandibadde ‘olw’obwakabaka obw’omu ggulu.’ (Mat. 19:12) Okufaananako ekirabo ekirala kyonna, obwannamunigina buteekwa okukozesebwa obulungi okusobola okuvaamu essanyu n’emiganyulo emirala. Bwe bakozesa buli kakisa ke bafuna olw’okubeera obwannamunigina, era ne beesiga Yakuwa okusobola okufuna amagezi n’amaanyi, abantu bangi abatali bafumbo bategedde emiganyulo egiri mu kubeera obwannamunigina.