Okkiriza Yakuwa Okuba Omugabo Gwo?
“Musooke munoonyenga obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebintu ebirala byonna biribongerwako.”—MAT. 6:33.
1, 2. (a) “Isiraeri wa Katonda” ayogerwako mu Abaggalatiya 6:16 be baani? (b) “Ebika bya Isiraeri ekkumi n’ebibiri” ebyogerwako mu Matayo 19:28 be baani?
BW’OLABA ekigambo Isiraeri mu Bayibuli, kiki ekikujjira mu birowoozo? Olowooza ku mutabani wa Isaaka Yakobo, oluvannyuma eyatuumibwa Isiraeri? Oba olowooza ku bazzukulu be, eggwanga lya Isiraeri ery’edda? Bayibuli era eyogera ku Isiraeri ow’omwoyo, oba “Isiraeri wa Katonda.” Bano be bantu 144,000, abaafukibwako amafuta okuba bakabaka era bakabona mu ggulu. (Bag. 6:16; Kub. 7:4; 21:12) Naye waliwo n’engeri endala ey’enjawulo ekigambo Isiraeri gye kikozesebwamu, nga bwe kiragibwa mu Matayo 19:28.
2 Yesu yagamba nti: “Omwana w’omuntu bw’alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa ng’ebintu byonna bizzibwa obuggya, nammwe abamugoberera mulituula ku ntebe ekkumi n’ebbiri ne mulamula ebika bya Isiraeri ekkumi n’ebibiri.” Mu lunyiriri luno, “ebika bya Isiraeri ekkumi n’ebibiri” beebo abajja okufuna obulamu obutaggwawo mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. Abaafukibwako amafuta 144,000 bajja kuweereza ng’abalamuzi era nga bakabona baabwe.
3, 4. Kyakulabirako ki ekirungi abaafukibwako amafuta kye bataddewo?
3 Okufaananako bakabona n’Abaleevi abaaliwo mu biseera by’edda, abaafukibwako amafuta leero obuweereza bwabwe babutwala nga bwa muwendo nnyo. (Kubal. 18:20) Abaafukibwako amafuta tebasuubira kuweebwa kitundu oba kifo ku nsi ng’obusika. Mu kifo ky’ekyo, Okubikkulirwa 4:10, 11 walaga nti bajja kugenda mu maaso n’obuweereza bwabwe eri Yakuwa mu ggulu, gye bajja okuweerereza nga bakaba era bakabona awamu ne Yesu Kristo.—Ez. 44:28.
4 Nga bali ku nsi, abaafukibwako amafuta beeyisa mu ngeri eraga nti Yakuwa gwe mugabo gwabwe. Obuweereza bwabwe eri Katonda kye kintu kye bakulembeza mu bulamu bwabwe. Bakkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo era tabalekera awo kumugoberera, bwe kityo ‘banyweza okuyitibwa kwabwe n’okulondebwa kwabwe.’ (2 Peet. 1:10) Wadde nga balina obusobozi bwa njawulo era nga n’embeera zaabwe za njawulo, tebakkiriza bunafu bwabwe kubaleetera kukola kitono mu buweereza bwabwe eri Katonda. Mu kifo ky’ekyo, obuweereza bwabwe eri Katonda bwe bakulembeza mu bulamu bwabwe, nga bakola kyonna kye basobola okumuweereza. Era bateekawo ekyokulabirako ekirungi eri abo abalina essuubi ery’okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi.
5. Abakristaayo bonna bayinza batya okukkiriza Yakuwa okuba omugabo gwabwe, era lwaki ekyo oluusi kiyinza obutaba kyangu?
5 Ka kibe nti tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, tulina ‘okulekera awo okwetwala ffekka tusitule omuti gwaffe ogw’okubonaabona tugobererenga Kristo.’ (Mat. 16:24) Abantu bukadde na bukadde abalina essuubi ery’okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi basinza Katonda era bagoberera Kristo mu ngeri eyo. Bwe bakiraba nti basobola okukola ekisingawo mu buweereza bwabwe, baba bamalirivu okukikola. Bangi baliko ebintu bye beerekerezza mu bulamu bwabwe ne basobola okuweereza nga bapayoniya. Abalala buli mwaka bafunayo emyezi ne baweerezaako nga bapayoniya abawagizi. Ate abalala, wadde nga tebasobola kuweereza nga bapayoniya, bakola kyonna kye basobola okugaziya ku buweereza bwabwe. Bafaananako Maliyamu eyafuka amafuta ag’omuwendo omungi ku mutwe gwa Yesu. Yesu yagamba nti: “Ankoledde ekintu ekirungi. . . . Akoze ky’asobola.” (Mak. 14:6-8) Olw’okuba tuli mu nsi efugibwa Sitaani, oluusi kiyinza okutuzibuwalira okukola kyonna kye tusobola. Naye tulina okufuba ennyo n’okwesiga Yakuwa. Lowooza ku ngeri nnya kino gye tusobola okukikolamu.
Okusooka Okunoonya Obwakabaka bwa Katonda
6. (a) Abantu bangi mu nsi bakiraze batya nti omugabo gwabwe guli mu bulamu buno bwokka? (b) Lwaki kya magezi okukoppa Dawudi?
6 Yesu yagamba abagoberezi be okusooka okunoonya Obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe. Leero, abantu bangi mu nsi bakulembeza byabwe ku bwabwe. Bayibuli eboogerako ‘ng’abantu ab’ensi, abalina omugabo gwabwe mu bulamu buno.’ (Soma Zabbuli 17:1, 13-15.) Abantu ng’abo tebalowooza ku Mutonzi waabwe, era basinga kulowooza ku kwefunira bya bugagga, kuzaala baana, na kulekera baana baabwe bya busika. Omugabo gwabwe guli mu bulamu buno bwokka. Kyokka ye Dawudi yali wa njawulo, yali ayagala okwekolera “erinnya eddungi” ne Yakuwa, nga ne mutabani we Sulemaani oluvannyuma bwe yatukubiriza okukola. (Mub. 7:1) Okufaananako Asafu, Dawudi yali akimanyi nti okuba mukwano gwa Yakuwa kye kintu ekisingayo okuba ekikulu mu bulamu. Ekyo kyamuleetera essanyu lingi. Ne mu kiseera kyaffe, waliwo Abakristaayo bangi abakiraze nti obuweereza bwabwe eri Yakuwa bwa muwendo nnyo okusinga emirimu gyabwe.
7. Mikisa ki ow’oluganda omu gye yafuna olw’okukulembeza Obwakabaka?
7 Lowooza ku Jean-Claude, abeera mu Central African Republic. Aweereza ng’omukadde mu kibiina, musajja mufumbo, era alina abaana basatu. Mu nsi eyo, kizibu okufuna omulimu, era abantu abasinga obungi beetegefu okukola kyonna ekisoboka okulaba nti tebafiirwa mirimu gyabwe. Lumu, mukama wa Jean-Claude yamugamba okutandika okukolanga ekiro—ng’atandika ku ssaawa 12:30 ez’akawungeezi, buli lunaku. Jean-Claude yamunnyonnyola nti ng’oggyeko okulabirira ab’omu maka ge mu by’omubiri, yalina n’okubalabirira mu by’omwoyo. Era yamugamba nti yalina n’obuvunaanyizibwa obulala mu kibiina. Mukama we yamuddamu nti: “Bw’ofuna akakisa n’ofuna omulimu, olina okwerabira ebintu ebirala byonna, omuli ne mukyala wo, abaana bo, n’ebizibu byo. Obulamu bwo bwonna olina kubumalira ku mulimu gwo—si ku kintu kirala kyonna. Londako kimu: eddiini yo oba omulimu gwo.” Singa wali ggwe wandikoze ki? Jean-Claude yali akimanyi nti ne bwe yandifiiriddwa omulimu ogwo, Katonda yandisobodde okumulabirira. Yali akyalina bingi eby’okukola mu buweereza bwe eri Katonda, era Yakuwa yandikoze ku byetaago by’amaka ge eby’omubiri. Bw’atyo, yasalawo okugenda mu lukuŋŋaana olwaddako. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, yatandika okwetegeka okugenda ku mulimu naye nga tamanyi obanga anaagusanga. Bwe yali akyeteekateeka, bakozi banne baamukubira essimu ne bamugamba nti mukama we oyo baali bamugobye ku mulimu naye nga Jean-Claude ye omulimu gwe gukyaliwo.
8, 9. Tuyinza tutya okukoppa bakabona n’Abaleevi bwe kituuka ku kufuula Yakuwa omugabo gwaffe?
8 Bw’oba wali obaddeko mu mbeera ng’eyo oyinza okuba nga weebuuza, ‘Nnaasobola ntya okulabirira ab’omu maka gange nga sirina mulimu?’ (1 Tim. 5:8) Ka kibe nti wali obaddeko mu mbeera ng’eyo oba nedda, oteekwa okuba ng’okimanyi nti Yakuwa tasobola kukwabulira singa omufuula omugabo gwo, era singa okumuweereza ky’okulembeza mu bulamu bwo. Yesu bwe yagamba abayigirizwa be okusooka okunoonya obwakabaka, yabakakasa nti: “Ebintu ebirala byonna”—gamba ng’eby’okulya, eby’okunywa, oba eby’okwambala—‘byandibongeddwako.’—Mat. 6:33.
9 Lowooza ku Baleevi abataaweebwa busika mu nsi. Olw’okuba baali balina okutwala obukulembeze mu kusinza okw’amazima, baalinanga okwesiga Yakuwa okubalabirira kubanga yabagamba nti: “Nze mugabo gwo.” (Kubal. 18:20) Wadde nga tetuweerereza mu yeekaalu nga bakabona n’Abaleevi mwe baaweererezanga, tusobola okubakoppa nga twesiga Yakuwa nti ajja kutulabirira. Nga bwe tweyongera okusemberera enkomerero, tusuubira nti obulamu bujja kwongera okutuzibuwalira ffe abagaana okuteekebwako “akabonero” k’ensolo. N’olwekyo, kikulu nnyo okwongera okwesiga Yakuwa nti ajja kutulabirira.—Kub. 13:17.
Okusooka Okunoonya Obutuukirivu bwa Katonda
10, 11. Abamu bakiraze batya nti beesiga Yakuwa bwe kituuse ku mirimu gyabwe? Waayo ekyokulabirako.
10 Yesu era yakubiriza abayigirizwa be ‘okusooka okunoonya obutuukirivu bwa Katonda.’ (Mat. 6:33) Kino kitegeeza okugoberera emitindo gya Yakuwa bwe kituuka ku kusalawo ekituufu n’ekikyamu, mu kifo ky’okugoberera emitindo gy’abantu. (Soma Isaaya 55:8, 9.) Abantu abamu bwe baali tebannafuuka Bakristaayo baakolanga emirimu, gamba ng’okulima oba okutunda taaba, okutendeka abalala okulwana mu ntalo, okukola eby’okulwanyisa oba okubitunda. Naye oluvannyuma lw’okuyiga amazima, baasalawo okuleka emirimu egyo ne bafuna emirala, bwe kityo ne basobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa.—Is. 2:4; 2 Kol. 7:1; Bag. 5:14.
11 Lowooza ku Andrew. Oluvannyuma lw’okuyiga ebikwata ku Yakuwa, ye ne mukyala we baasalawo okumuweereza. Wadde nga Andrew yali ayagala nnyo omulimu gwe, yasalawo okuguleka. Lwaki? Kubanga ekibiina kye yali akolera kyali kyenyigira mu ntalo ate nga ye yali amaliridde okukulembeza obutuukirivu bwa Katonda. Andrew we yalekera omulimu ogwo, yali alina abaana babiri, nga talina walala w’aggya ssente, kyokka nga ne ssente ze yalina zaali zisobola kubalabirira kumala myezi mitono. Mu ndaba y’obuntu, yalabika ng’ataalina ‘busika.’ Yeesiga Yakuwa era n’atandika okunoonya omulimu. Bwe bajjukira ekiseera ekyo ekizibu kye baayitamu, Andrew n’ab’omu maka ge bakikakasa nti ddala omukono gwa Yakuwa si mumpi. (Is. 59:1) Olw’okuba Andrew ne mukyala we baasalawo okwerekereza ebintu ebimu mu bulamu, basobodde n’okuweereza nga bapayoniya. Andrew agamba nti, “Ebiseera ebimu wabaddewo ebintu ebibadde bitweraliikiriza, gamba nga ssente, aw’okusula, obulwadde, n’okuba nti tweyongera okukaddiwa. Naye Yakuwa tatwabulirangako. . . . Awatali kubuusabuusa, tusobola okugamba nti okuweereza Yakuwa kye kintu ekisingayo okuba eky’omuwendo era kivaamu emikisa mingi.”a—Mub. 12:13.
12. Ngeri ki gye twetaaga okuba nayo eneetuyamba okusooka okunoonya obutuukirivu bwa Katonda? Waayo ekyokulabirako okuva mu kitundu kyo.
12 Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Singa muba n’okukkiriza okwenkana akaweke ka kalidaali, mujja kugamba olusozi luno nti, ‘Va wano odde wali,’ luveewo, era tewali kijja kubalema.” (Mat. 17:20) Oneeyongera okunoonya obutuukirivu bwa Katonda ne bwe kiba nti okukola ekyo kiyinza okukuteeka mu mbeera enzibu? Bw’oba nga teweekakasa obanga ekyo osobola okukikola, yogerako ne bakkiriza banno mu kibiina. Bwe banaakubuulira ku ngeri Yakuwa gy’abayambyemu, ekyo kijja kunyweza okukkiriza kwo.
Okusiima Ebintu eby’Omwoyo Yakuwa by’Atuwa
13. Bwe tufuba okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu, tuba bakakafu ku ki?
13 Bwe kiba nti enkizo yo ey’okuweereza Yakuwa ogitwala nga ya muwendo nnyo, ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukulabirira mu by’omubiri ne mu by’omwoyo nga bwe yalabirira Abaleevi. Lowooza ku Dawudi. Wadde nga yali yeekwese mu mpuku, yali mukakafu nti Yakuwa yali ajja kumulabirira. Naffe tusobola okwesiga Yakuwa ne bwe tuba nga tulaba nga gy’obeera tewali muntu yenna asobola kutuyamba. Jjukira nti Asafu bwe yagenda “mu watukuvu wa Katonda,” yasobola okufuna endowooza ennuŋŋamu. (Zab. 73:17) Mu ngeri y’emu, naffe tulina okwesiga Yakuwa nti ajja kutulabirira mu by’omwoyo. Ekyo kiba kiraga nti enkizo yaffe ey’okumuweereza tugitwala ng’ekintu ekikulu, ka tube mu mbeera ki. Olwo nno tuba tulaze nti tukkirizza Yakuwa okuba omugabo gwaffe.
14, 15. Twandyeyisizza tutya singa wabaawo enkyukakyuka eba ekoleddwa mu nnyinyonnyola y’Ebyawandiikibwa, era lwaki?
14 Weeyisa otya nga Yakuwa, ensibuko y’ekitangaala eky’eby’omwoyo, atuwadde ekitangaala ku “bintu bya Katonda eby’ebuziba” ebisangibwa mu Bayibuli? (1 Kol. 2:10-13) Omutume Peetero yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu ngeri gye yeeyisaamu Yesu bwe yagamba abo abaali bamuwuliriza nti: “Okuggyako nga mulidde omubiri gw’Omwana w’omuntu era ne munywa n’omusaayi gwe, temulina bulamu.” Olw’okuba baali tebategedde kye yali ategeeza, bangi ku bayigirizwa be baagamba nti: “Ebigambo ebyo byesisiwaza; ani ayinza okubiwuliriza?” N’ekyavaamu, “baddira ebintu bye baali balese.” Naye Peetero yagamba nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe olina ebigambo eby’obulamu.”—Yok. 6:53, 60, 66, 68.
15 Peetero naye yali tategedde bulungi bigambo bya Yesu. Naye yali mukakafu nti Katonda yali akozesa Yesu okuyamba abantu okutegeera amazima. Bwe wabaawo enkyukakyuka eba ekoleddwa mu nnyinyonnyola y’Ebyawandiikibwa leero, ofuba okutegeera ensonga lwaki enkyukakyuka eyo ebadde yeetaagisa? (Nge. 4:18) Ab’e Beroya abaaliwo mu kyasa ekyasooka “bakkiriza mangu ekigambo, era buli lunaku beekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa.” (Bik. 17:11) Okukoppa ekyokulabirako kyabwe kijja kukuyamba okwongera okusiima enkizo gy’olina ey’okuweereza Katonda, era Yakuwa ajja kuba mugabo gwo.
Okuwasa oba Okufumbirwa mu Mukama Waffe Mwokka
16. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 7:39, Abakristaayo abali obwannamunigina basobola batya okukkiriza Katonda okuba omugabo gwabwe?
16 Engeri endala Abakristaayo gye balaga nti bakuumira ekigendererwa kya Katonda mu birowoozo byabwe kwe kugondera etteeka lye erikwata ku kuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka.” (1 Kol. 7:39) Bangi basazeewo okusigala nga bali bwannamunigina mu kifo ky’okumenya etteeka lya Katonda eryo. Abantu ng’abo Katonda abalabirira. Dawudi yakola ki bwe yawulira ekiwuubaalo era ng’awulira nti tewali n’omu asobola kumuyamba? Yasaba Yakuwa amuyambe. Yagamba nti: “Nfuka mu maaso [ga Katonda] ebinneemulugunyisizza; ndaga mu maaso ge ebinnakuwazizza; omwoyo gwange bwe gwazirika munda yange.” (Zab. 142:1-3) Nnabbi Yeremiya eyaweereza Katonda n’obwesigwa okumala emyaka mingi ng’ali bwannamunigina naye ayinza okuba ng’oluusi yawuliranga ekiwuubaalo. Osobola okuganyulwa mu kyokulabirako kye ng’osoma essuula 8 mu katabo God’s Word for Us Through Jeremiah.
17. Kiki mwannyinaffe omu ali obwannamunigina ky’akola bw’awulira ekiwuubaalo?
17 Mwannyinaffe omu abeera mu Amerika agamba nti, “Sandyagadde kubeera bwannamunigina. Nnandyagadde okufumbirwa singa nfuna omuntu omutuufu. Maama wange atali mukkiriza yali ayagala nfumbirwe omuntu yenna gwe nsanze. Nnamubuuza obanga kyandimusanyusizza okulaba nga ndi mu bufumbo obutaliimu ssanyu. Nga wayise ekiseera maama wange yakiraba nti nnali nfunye omulimu omulungi, nga nsobola bulungi okwetuusaako bye nneetaaga, era nga ndi musanyufu, bw’atyo n’alekera awo okumpikiriza okufumbirwa.” Mwannyinaffe ono ebiseera ebimu awulira ekiwuubaalo. Naye agamba nti, “Mu biseera ng’ebyo, nneesiga Yakuwa era tanjabulirangako.” Kiki ekimuyambye okwesiga Yakuwa? Agamba nti, “Okusaba kunnyambye okukiraba nti Katonda wa ddala era aba nange buli kiseera. Bwe kiba nti Oyo Ali Waggulu Ennyo awulira okusaba kwange, kati olwo kiki ekiŋŋaana okuba omusanyufu n’okuwulira nti ndi wa muwendo?” Olw’okuba mukakafu nti “okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa,” mwannyinaffe oyo afuba okuyamba abalala nga talina ky’abasuubiramu. Era agamba nti, “Buli lwe nfuna akakisa okuyamba omuntu ali mu bwetaavu, muli mpulira essanyu.” (Bik. 20:35) Yee, mwannyinaffe oyo yakkiriza Yakuwa okuba omugabo gwe, era musanyufu olw’enkizo gy’alina okumuweereza.
18. Osobola otya okufuuka omugabo gwa Yakuwa?
18 K’obe ng’oli mu mbeera ki, osobola okukkiriza Katonda okuba omugabo gwo. Bw’onookola bw’otyo, naawe ojja kuba omu ku bantu be abasanyufu. (2 Kol. 6:16, 17) Olwo nno ojja kufuuka omugabo gwa Yakuwa, ng’abaweereza be ab’edda bwe baali. (Soma Ekyamateeka 32:9, 10.) Nga Isiraeri bwe yafuuka omugabo gwa Katonda mu mawanga, Katonda asobola okukulonda okuba omugabo gwe era n’akulabirira.—Zab. 17:8.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba Awake! eya Noovemba 2009, olupapula 12-14.
Wandizzeemu Otya?
Oyinza otya okukkiriza Yakuwa okuba omugabo gwo
• ng’osooka okunoonya Obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe?
• ng’olaga nti osiima ebintu eby’omwoyo Yakuwa by’atuwa?
• ng’ogondera etteeka lya Katonda erikwata ku kuwasa oba okufumbirwa mu Mukama waffe mwokka?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 13]
Yakuwa afuuka omugabo gwaffe bwe tukulembeza obuweereza bwe mu bulamu bwaffe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Ekyokulabirako kya Yeremiya kituzzaamu nnyo amaanyi