LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 9/15 lup. 7-11
  • Yakuwa Gwe Mugabo Gwange

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Gwe Mugabo Gwange
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yakuwa Yalabirira Abaleevi
  • Abaleevi Kinnoomu Baalina Yakuwa ng’Omugabo Gwabwe
  • N’Abantu Abalala Baalina Yakuwa ng’Omugabo Gwabwe
  • Okkiriza Yakuwa Okuba Omugabo Gwo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • “Nze Busika Bwo”
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Bye Tuyigira ku Ssaala Entegeke Obulungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Obuweereza bw’Abaleevi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 9/15 lup. 7-11

Yakuwa Gwe Mugabo Gwange

“Nze mugabo gwo n’obusika bwo mu baana ba Isiraeri.”​—KUBAL. 18:20.

1, 2. (a) Ebika bya Isiraeri bwe byali biweebwa obusika mu nsi, kiki ekyatuuka ku Baleevi? (b) Kiki Yakuwa kye yasuubiza Abaleevi?

OLUVANNYUMA lw’Abaisiraeri okuwamba ekitundu ekisinga obunene eky’Ensi Ensuubize, Yoswa yatandika okubagabanyizaamu ensi eyo. Ekyo yakikola ng’ali wamu ne Kabona Asinga Obukulu Eriyazaali awamu n’abakulu b’ebika. (Kubal. 34:13-29) Abaleevi bo tebaalina kuweebwa busika mu nsi ng’ebika ebirala. (Yos. 14:1-5) Lwaki Abaleevi tebaaweebwa busika oba mugabo mu Nsi Ensuubize? Beerabirwa?

2 Eky’okuddamu tukisanga mu bigambo Yakuwa bye yagamba Abaleevi. Ng’alaga nti baali tebeerabiddwa, Yakuwa yabagamba nti: “Nze mugabo gwo n’obusika bwo mu baana ba Isiraeri.” (Kubal. 18:20) Yakuwa bwe yabagamba nti: “Nze mugabo gwo,” yali abasuubiza ekintu eky’omuwendo ennyo! Wandiwulidde otya singa ebigambo ebyo Yakuwa abigamba ggwe? Mu kusooka oyinza okwebuuza, ‘Naye ddala ŋŋwanira enkizo eyo empeereddwa Omuyinza w’Ebintu Byonna?’ Era oyinza n’okwebuuza, ‘Naye ddala Yakuwa asobola okuba omugabo eri Omukristaayo atatuukiridde?’ Ebibuuzo ebyo bikukwatako ggwe awamu n’abaagalwa bo. Tugenda kwetegereza amakulu g’ebigambo bya Katonda ebyo. Ekyo kijja kutuyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’ayinza okuba omugabo gw’Abakristaayo leero. Okusingira ddala tujja kulaba engeri Yakuwa gy’asobola okuba omugabo gwo, ka kibe nti olina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera mu lusuku lwe ku nsi.

Yakuwa Yalabirira Abaleevi

3. Katonda yatuuka atya okulonda Abaleevi okumuweereza?

3 Yakuwa bwe yali tannawa Baisiraeri Mateeka, emitwe gy’amaka be baaweerezanga nga bakabona mu maka gaabwe. Yakuwa bwe yamala okubawa Amateeka, yalonda abantu abamu okuva mu kika kya Leevi okuweereza nga bakabona n’abayambi ba bakabona. Kino kyajja kitya okubaawo? Katonda bwe yamala okuzikiriza ababereberye b’Abamisiri, yatukuza ababereberye ba Isiraeri, n’abalonda okuba ababe. Oluvannyuma Katonda yasalawo ‘okutwala Abaleevi mu kifo ky’ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri.’ Okuva bwe kiri nti omuwendo gw’abaana ba Isiraeri ab’obulenzi ababereberye gwali gusinga ku gw’Abaleevi, Yakuwa yagamba Abaisiraeri okuwaayo ekinunulo olw’ababereberye ba Isiraeri abaali basukkamu. (Kubal. 3:11-13, 41, 46, 47) Bwe kityo, Abaleevi baali basobola okutandika obuweereza bwabwe eri Katonda wa Isiraeri.

4, 5. (a) Yakuwa okuba omugabo gw’Abaleevi kyali kitegeeza ki? (b) Yakuwa yalabirira atya Abaleevi?

4 Yakuwa bwe yalonda Abaleevi okumuweereza, yafuuka atya omugabo gwabwe? Mu kifo ky’okubawa obusika mu nsi, Yakuwa yabawa ekintu eky’omuwendo ennyo, omulimu omukulu ennyo ogw’okukola. “Obwakabona bwa [Yakuwa]” bwe bwali obusika bwabwe. (Yos. 18:7) Okubala essuula 18 etuyamba okulaba nti Abaleevi bandisobodde okufuna ebyetaago byabwe eby’omubiri. (Soma Okubala 18:19, 21, 24.) Abaleevi baalinanga okuweebwa “ebitundu byonna eby’ekkumi eby’omu Isiraeri okuba obusika, okuba empeera y’okuweereza kwabwe.” Baaweebwanga ekimu eky’ekkumi ku bintu Abaisiraeri bye baakungulanga ne ku muwendo gw’ebisolo ebyazaalibwanga. Abaleevi nabo baalinanga okuwaayo ekimu eky’ekkumi ku bintu bye baafunanga, “ku ebyo byonna ebisinga obulungi,” okusobola okuwagira obwakabona.a (Kubal. 18:25-29) Ate era bakabona baaweebwanga ‘ebintu byonna ebitukuvu’ abaana ba Isiraeri bye baawangayo eri Katonda mu kifo gye baamusinzizanga. Bwe kityo, bakabona baali bakakafu nti Yakuwa yali asobola bulungi okubalabirira.

5 Kirabika Amateeka ga Musa gaali geetaagisa Abaisiraeri okuwaayo ekimu eky’ekkumi ekirala, kye bandikozesezza okugula emmere, eby’okunywa, n’ebintu ebirala bye bandyetaaze nga bagenze mu nkuŋŋaana entukuvu ezaabangawo buli mwaka. (Ma. 14:22-27) Naye ekimu eky’ekkumi ekyo kyalina n’omugaso omulala. Abaisiraeri baakwatanga Ssabbiiti y’omwaka buli luvannyuma lw’emyaka musanvu. Ku buli nkomerero y’omwaka ogw’okusatu n’ogw’omukaaga mu buli myaka egyo omusanvu, Abaisiraeri baakozesanga ekimu eky’ekkumi ekyo okuyamba abaavu awamu n’Abaleevi. Lwaki Abaleevi nabo baafunanga ku kimu eky’ekkumi ekyo? Kubanga ‘tebaalina mugabo newakubadde obusika’ mu Isiraeri.​—Ma. 14:28, 29.

6. Okuva bwe kiri nti Abaleevi tebaalina busika mu nsi, kati olwo baaberanga wa?

6 Bwe kiba nti Abaleevi tebaalina busika mu nsi, kati olwo baabeeranga wa? Katonda yabalabiriranga. Yabawa ebibuga 48 n’amalundiro agaali gabyetoolodde. Muno mwe mwali n’ebibuga omukaaga eby’okuddukiramu. (Kubal. 35:6-8) Bwe kityo, Abaleevi baalinanga ebifo aw’okubeera bwe baabanga tebagenze kuweereza mu kifo kya Katonda ekitukuvu. Yakuwa yalabiriranga bulungi abo abeewangayo okumuweereza. Abaleevi baali basobola okukiraga nti Yakuwa ye yali omugabo gwabwe nga bamwesiga nti yali asobola okubawa bye beetaaga era nti yali mwetegefu okubalabirira.

7. Kiki Abaleevi kye baali beetaaga okukola okusobola okulaga nti Yakuwa ye yali omugabo gwabwe?

7 Mu Mateeka temwalimu kibonerezo kyandiweereddwa Muisiraeri atandiwaddeyo kimu kya kkumi. Abantu bwe baalagajjaliranga okuwaayo ekimu eky’ekkumi, bakabona n’Abaleevi baabonaabonanga. Ekyo kye kyaliwo mu kiseera kya Nekkemiya. N’ekyavaamu, Abaleevi baalinanga okugenda okukola mu nnimiro zaabwe, ne baba nga tebakyasobola kwemalira ku buweereza bwabwe. (Soma Nekkemiya 13:10.) Abaleevi bandisobodde okufuna bye beetaaga Abaisiraeri bwe bandigondedde Amateeka ga Yakuwa. Ate era, bakabona n’Abaleevi nabo baali beetaaga okwesiga Yakuwa n’okukkiririza mu ngeri gye yali akozesa okubalabirira.

Abaleevi Kinnoomu Baalina Yakuwa ng’Omugabo Gwabwe

8. Buzibu ki Omuleevi Asafu bwe yayolekagana nabwo?

8 Abaleevi ng’ekika baalina Yakuwa ng’omugabo gwabwe. Kyokka waaliwo n’Abaleevi kinnoomu abaakozesanga ebigambo “[Yakuwa] gwe mugabo gwange” okulaga nti baali beemalidde ku Katonda era nti baali bamwesigira ddala. (Kung. 3:24) Omu ku Baleevi abo yali muyimbi era ng’ayiiya ennyimba. Tujja kumuyita Asafu, wadde ng’ayinza okuba nga yali omu ku b’ennyumba ya Asafu, Omuleevi eyali akulira abayimbi mu kiseera kya Kabaka Dawudi. (1 Byom. 6:31-43) Mu Zabbuli 73 tusoma nti Asafu yakwatirwa obuggya abantu ababi era nga yeebuuza ensonga lwaki baali mu bulamu bulungi. Yatuuka n’okugamba nti: “Mazima nnongooserezza bwereere omutima gwange, ne nnaaba mu ngalo zange n’obutayonoona.” Oboolyawo okumala akaseera Asafu yalekera awo okutwala enkizo y’obuweereza gye yalina ng’ekintu ekikulu; yali yeerabidde nti Yakuwa ye yali omugabo gwe. Ebirowoozo bye tebyatereera ‘okutuusa lwe yagenda mu kifo kya Katonda ekitukuvu.’​—Zab. 73:2, 3, 12, 13, 17.

9, 10. Lwaki Asafu yali asobola okugamba nti Katonda yali ‘mugabo gwe emirembe gyonna’?

9 Bwe yagenda mu kifo ekitukuvu, Asafu yatandika okulaba ebintu nga Katonda bw’abiraba. Oyinza okuba nga naawe wali obaddeko mu mbeera ng’eyo. Oboolyawo waliwo ekiseera lwe walekera awo okutwala enkizo zo ez’obuweereza ng’ekintu ekikulu n’otandika okumalira ebirowoozo byo ku bintu bye wali owulira ng’oyagala okufuna. Naye okusoma Ekigambo kya Katonda n’okugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, kyakuyamba okulaba ebintu nga Yakuwa bw’abiraba. Asafu yasobola okutegeera ekyo ekyandituuse ku bantu ababi. Yafumiitiriza ku mikisa gye yalina era n’akiraba nti Yakuwa yali ajja kumukwata ku mukono ggwe ogwa ddyo era amuluŋŋamye. Bwe kityo, Asafu yali asobola okugamba Yakuwa nti: “Tewali mu nsi gwe njagala wabula ggwe.” (Zab. 73:23, 25) Oluvannyuma yayogera ku Katonda ng’omugabo gwe. (Soma Zabbuli 73:26.) Wadde ng’omubiri gw’omuwandiisi wa Zabbuli awamu n’omutima gwe byandinafuye, Katonda yandibadde ‘mugabo gwe emirembe gyonna.’ Omuwandiisi wa Zabbuli oyo yali mukakafu nti Yakuwa yandimujjukidde nga mukwano gwe emirembe gyonna era teyandyerabidde ngeri gye yali amuweerezzaamu n’obwesigwa. (Mub. 7:1) Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo Asafu amaanyi! Yagamba nti: “Kirungi nze nsemberere Katonda: Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange.”​—Zab. 73:28.

10 N’olwekyo Asafu okugamba nti Yakuwa gwe mugabo gwe, yali tayogera ku bintu bye yafunanga ng’Omuleevi byokka. Okusingira ddala yali ayogera ku nkizo gye yalina ey’okuweereza Yakuwa n’enkolagana gye yalina n’Omuyinza w’Ebintu Byonna. (Yak. 2:21-23) Okusobola okusigala ng’alina enkolagana eyo, Asafu yalina okweyongera okukkiririza mu Yakuwa n’okumwesiga. Yalina okuba omukakafu nti ebiseera bye eby’omu maaso byandibadde bitangaavu bwe yandifubye okutambulira ku mitindo gya Katonda. Naawe bw’onookola bw’otyo, Omuyinza w’Ebintu Byonna ajja kukuwa emikisa.

11. Kiki Yeremiya kye yali yeebuuza, era yafuna atya eky’okuddamu?

11 Omuleevi omulala eyagamba nti Yakuwa ye yali omugabo gwe, yali nnabbi Yeremiya. Ka twetegereze ekyo Yeremiya kye yali ategeeza. Yeremiya yali abeera mu Anasosi, ekimu ku bibuga by’Abaleevi ekyali okumpi ne Yerusaalemi. (Yer. 1:1) Lumu, Yeremiya yabuuza Yakuwa ensonga lwaki abantu ababi baali balaba omukisa ate ng’abatuukirivu babonaabona. (Yer. 12:1) Oluvannyuma lw’okwetegereza ebyo ebyali bigenda mu maaso mu Yerusaalemi ne mu Yuda, Yeremiya yatandika okwemulugunya. Yali akimanyi nti Yakuwa mutuukirivu. Yakuwa yaddamu ekibuuzo kya Yeremiya ng’amulagira okulangirira obunnabbi obukwata ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi ne Yuda, era oluvannyuma Yakuwa n’atuukiriza obunnabbi obwo. Abo abaagondera Yakuwa, ‘baafuna obulamu bwabwe ng’omunyago,’ so ng’ate abantu ababi abaagaana okukolera ku kulabula okwabaweebwa, baazikirizibwa.​—Yer. 21:9.

12, 13. (a) Kiki ekyaleetera Yeremiya okugamba nti: “Yakuwa gwe mugabo gwange,” era yali asuubirira mu ani? (b) Lwaki abantu bonna mu bika bya Isiraeri baalina okusuubirira mu Yakuwa?

12 Oluvannyuma, Yeremiya bwe yalaba engeri ensi ye gye yali ezikiriziddwamu era nga yonna esigadde matongo, yawulira ng’eyali atambulira mu kizikiza. Yawulira nga Yakuwa gwe yali atuuzizza “ng’abo abaafa edda.” (Kung. 1:1, 16; 3:6) Yeremiya yali akubirizza Abaisiraeri abajeemu okudda eri Kitaabwe ow’omu ggulu, naye baali boonoonese nnyo ne kiba nti Katonda yalina okuzikiriza Yerusaalemi ne Yuda. Ekyo kyanakuwaza nnyo Yeremiya, omusajja eyafubanga okukola ekituufu. Ng’ali mu nnaku eyo ey’amaanyi, Yeremiya yajjukira nti Katonda musaasizi nnyo. Yagamba nti: “Kwe kusaasira kwa Mukama ffe obutamalwawo.” Mu butuufu, obusaasizi bwa Yakuwa buba buggya buli lukya! Mu kiseera ekyo Yeremiya mwe yagambira nti: “[Yakuwa] gwe mugabo gwange.” Yali akyalina enkizo ye ey’ekitalo ey’okuweereza nga nnabbi wa Yakuwa.​—Soma Okukungubaga 3:22-24.

13 Abaisiraeri baali ba kumala emyaka 70 nga tebali mu nsi yaabwe. Ensi yaabwe yali ya kufuuka matongo. (Yer. 25:11) Yeremiya bwe yagamba nti “Yakuwa gwe mugabo gwange” yali alaga nti yali yeesiga Yakuwa, era ekyo kyamukubiriza ‘okusuubirira’ mu Yakuwa, kwe kugamba, okulindirira Yakuwa abeeko ky’akolawo. Abantu bonna ab’omu bika bya Isiraeri baali bafiiriddwa obusika bwabwe, bwe kityo nga balina okusuubirira mu Yakuwa nga Yeremiya. Yakuwa ye yekka eyali asobola okubayamba. Oluvannyuma lw’emyaka 70, abantu ba Katonda baddayo ku butaka ne bafuna enkizo okumusinziza ku butaka.​—2 Byom. 36:20-23.

N’Abantu Abalala Baalina Yakuwa ng’Omugabo Gwabwe

14, 15. Ng’oggyeko Abaleevi, ani omulala eyakkiriza Yakuwa okuba omugabo gwe, era lwaki?

14 Asafu ne Yeremiya bombi baali bava mu kika kya Leevi, naye Baleevi bokka be baalina enkizo okuweereza Katonda? Nedda. Dawudi, eyali agenda okufuuka kabaka wa Isiraeri, yagamba nti Katonda yali ‘mugabo gwe mu nsi ey’abalamu.’ (Soma Zabbuli 142:1, 5.) Mu kiseera Dawudi we yawandiikira zabbuli eyo, yali tali mu lubiri wadde mu nnyumba. Yali mu mpuku nga yeekwese abalabe be. Dawudi yeekwekako mu mpuku emirundi ng’ebiri—omulundi ogwasooka yeekweka mu mpuku eyali okumpi ne Adulamu ate omulundi omulala yeekweka mu eyo eyali mu ddungu lya Engedi. Kirabika Zabbuli 142 yagiwandiikira mu emu ku mpuku ezo.

15 Bwe kiba nga bwe kityo bwe kyali, Kabaka Sawulo ye yali anoonya Dawudi ng’ayagala okumutta. Dawudi yaddukira mu mpuku awaali awazibu okutuuka. (1 Sam. 22:1, 4) Ng’ali eyo, Dawudi ayinza okuba nga yali awulira nti yali talina muntu yenna asobola kumuyamba. (Zab. 142:4) Mu kiseera ekyo, Dawudi yasaba Katonda amuyambe.

16, 17. (a) Kiki ekyaleetera Dawudi okuwulira nti yali talina muntu yenna yali asobola kumuyamba? (b) Ani yali asobola okuyamba Dawudi?

16 Dawudi we yawandiikira Zabbuli 142, ayinza okuba nga yali amaze okutegeera ekyo ekyali kituuse ku Kabona Asinga Obukulu Akimereki, eyali yamuyamba ennyo bwe yali ng’adduka Sawulo. Kabaka Sawulo yatta Akimereki awamu n’ab’ennyumba ye. (1 Sam. 22:11, 18, 19) Dawudi yawulira nti yali avunaanyizibwa olw’okufa kwabwe. Yawulira nga gy’obeera ye yali asse kabona oyo eyali yamuyamba. Singa ggwe wali Dawudi, naawe bw’otyo bwe wandiwulidde? Ekintu ekirala ekyaleetera Dawudi ennaku kwe kuba nti yali takyawummula olw’okuba Sawulo yali amuyigga.

17 Waayita ekiseera kitono nnabbi Samwiri, eyali yafuka amafuta ku Dawudi okufuuka kabaka, naye n’afa. (1 Sam. 25:1) Ekyo kiteekwa okuba nga nakyo kyaleetera Dawudi okuwulira nga yali takyalina muntu yenna asobola kumuyamba. Naye, Dawudi yali akimanyi nti Yakuwa yali asobola okumuyamba. Dawudi yali talina nkizo y’emu ey’obuweereza ng’Abaleevi, naye yali aweereddwa enkizo endala ey’obuweereza, yali wa kuba kabaka w’abantu ba Katonda. (1 Sam. 16:1, 13) Bwe kityo, Dawudi yabuulira Yakuwa ebyo byonna ebyali bimweraliikiriza era ne yeeyongera okumwesiga. Naawe Yakuwa asobola okuba omugabo gwo. Osobola okumwesiga nga bwe weeyongera okukola kyonna ky’osobola ng’omuweereza.

18. Abaweereza ba Yakuwa aboogeddwako mu kitundu kino baalaga batya nti Yakuwa ye yali omugabo gwabwe?

18 Abaweereza ba Yakuwa bonna aboogeddwako mu kitundu kino, Yakuwa yali mugabo gwabwe mu ngeri nti bonna yali abawadde enkizo ez’enjawulo mu buweereza bwe. Baali bakakafu nti Katonda yali asobola okubalabirira nga bamuweereza. Abaleevi awamu n’abantu abalala abaali mu bika ebirala ebya Isiraeri, gamba nga Dawudi, bakkiriza Yakuwa okuba omugabo gwabwe. Kiki ky’oyinza okukola naawe okusobola okukkiriza Yakuwa okuba omugabo gwo? Ekyo kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya ebisingawo ku ngeri obwakabona gye bwayimirizibwangawo, laba ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, olupapula 684.

Wandizzeemu Otya?

• Mu ngeri ki Yakuwa gye yali omugabo eri Abaleevi?

• Kiki Asafu, Yeremiya, ne Dawudi kye baakola okulaga nti Yakuwa ye yali omugabo gwabwe?

• Ngeri ki gye weetaaga okuba nayo Katonda okusobola okuba omugabo gwo?

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 8]

Abaleevi tebaaweebwa busika mu nsi. Mu kifo ky’ekyo, Yakuwa ye yali omugabo gwabwe, kubanga baalina enkizo ey’ekitalo ey’okumuweereza

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Mu ngeri ki Yakuwa gye yali omugabo eri bakabona n’Abaleevi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Kiki ekyayamba Asafu okusigala ng’alina Yakuwa ng’omugabo gwe?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share