LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 8/15 lup. 20-24
  • Weekuume Emitego gy’Omulyolyomi!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weekuume Emitego gy’Omulyolyomi!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • WEEWALE OKUKOLEEZA OMULIRO MU KIBIINA
  • WEEWALE OKUTYA ABANTU N’OKWEKKIRIRANYA NG’OPIKIRIZIDDWA
  • OKULUMIZIBWA EKISUKKIRIDDE​—MUTEGO OGUMENYA
  • TUMANYI ENKWE ZA SITAANI
  • Osobola Okuva mu Mitego gya Sitaani!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • ‘Ziyiza Omulyolyomi’ nga Yesu Bwe Yakola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • “Muziyize Omulyolyomi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Muziyizenga Setaani, Naye Anaabaddukanga!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 8/15 lup. 20-24

Weekuume Emitego gy’Omulyolyomi!

“Bave mu mutego gw’Omulyolyomi.”​—2 TIM. 2:26.

WANDIZZEEMU OTYA?

Bwe tuba n’omuze ogw’okwogera obubi ku balala, kiki kye tulina okukola?

Bwe kituuka ku kutya abantu n’obutekkiriranya nga tupikiriziddwa, kiki kye tuyigira ku Piraato ne Peetero?

Oyinza otya okwewala okulumizibwa ekisukkiridde olw’ensobi ze wakola?

1, 2. Mitego ki Omulyolyomi gy’akozesa gye tugenda okulaba mu kitundu kino?

OMULYOLYOMI ayagala okukwasa abaweereza ba Yakuwa. Naye tali ng’omuyizzi atta ensolo z’aba akwasizza. Ekigendererwa kya Sitaani kwe kuleetera omuntu gw’aba akwasizza okukola by’ayagala.​—Soma 2 Timoseewo 2:24-26.

2 Okusobola okukwasa ensolo, omuyizzi ayinza okukozesa emitego egitali gimu. Ayinza okugezaako okuleetera ensolo okuva gy’ebadde yeekwese asobole okugikwasa ng’akozesa empuluttulizo. Oba ayinza okutega omutego awantu aweekusifu gusobole okukwasa ensolo nga temanyi. Omulyolyomi akozesa emitego ng’egyo okukwasa abaweereza ba Katonda. Okusobola okwewala okukwatibwa Sitaani, tulina okuba obulindaala n’okussaayo omwoyo ku kulabula okutuyamba okumanya emitego gye. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okwewalamu emitego esatu Omulyolyomi gy’akozesa okukwasa abantu ba Katonda. Emitego egyo gye gino (1) obutafuga lulimi, (2) okutya abantu n’okupikirizibwa, ne (3) okulumizibwa ekisukkiridde olw’ensobi ze twakola. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba emitego emirala ebiri Sitaani gy’akozesa.

WEEWALE OKUKOLEEZA OMULIRO MU KIBIINA

3, 4. Kiki ekiyinza okubaawo singa tulemererwa okufuga olulimi lwaffe? Waayo ekyokulabirako.

3 Okusobola okuleetera ensolo okuva mu kisiko gye ziba zeekwese, omuyizzi ayinza okukikoleezaako omuliro. Ensolo bwe zifubutukayo, olwo n’alyoka azikwata. Omulyolyomi naye ayagala okukoleeza omuliro mu kibiina ab’oluganda bakiddukemu asobole okubakwasa. Tuyinza tutya okumuyambako nga tetugenderedde, bw’atyo n’atukwasa mu mutego gwe?

4 Omuyigiriza Yakobo yageraageranya olulimi ku muliro. (Soma Yakobo 3:6-8.) Singa tulemererwa okufuga olulimi lwaffe, tusobola okukoleeza omuliro ogw’akabonero mu kibiina. Ekyo kiyinza kitya okubaawo? Lowooza ku mbeera eno: Mu lukuŋŋaana lw’ekibiina olumu, ow’oluganda alangirira nti mwannyinaffe omu alondeddwa okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, ababuulizi babiri batandika okwogera ku kirango ekyo. Omu alaga nti asanyuse nnyo okuba nti mwannyinaffe oyo alondeddwa okuweereza nga payoniya. Ate omulala ye agamba nti mwannyinaffe oyo asazeewo okuweereza nga payoniya olw’okwagala okweraga. Ani ku babuulizi abo gwe wandyagadde okuba mukwano gwo? Kyangu okulaba ani ku babuulizi abo ayagala okukoleeza omuliro mu kibiina.

5. Bwe tuba twagala okuzikiza omuliro oguva ku butafuga lulimi, kiki kye tusaanidde okukola?

5 Tuyinza tutya okuzikiza omuliro oguva ku butafuga lulimi? Yesu yagamba nti: “Ebintu ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.” (Mat. 12:34) N’olwekyo, ekintu kye tulina okusooka okukola kwe kukebera omutima gwaffe. Tusaanidde okwewala endowooza enkyamu eziyinza okutuviirako okwogera obubi ku bakkiriza bannaffe. Ng’ekyokulabirako, singa tuwulira nti waliwo ow’oluganda afuba okuluubirira enkizo mu kibiina, tutandika okulowooza nti alina bye yeenoonyeza? Bwe tuba tutera okulowooza nti baganda baffe baweereza Yakuwa nga beenoonyeza byabwe, kiba kikulu okukijjukira nti n’Omulyolyomi yabuusabuusa ebiruubirirwa by’omuweereza wa Katonda omwesigwa Yobu. (Yob. 1:9-11) Mu kifo ky’okubuusabuusa ebiruubirirwa bya muganda waffe, kiba kirungi okulowooza ku nsonga lwaki tubuusabuusa ebiruubirirwa bye. Ddala tulina ensonga entuufu eyandituleetedde okubuusabuusa ebiruubirirwa bya muganda waffe? Oba kyandiba nti omutima gwaffe gwonooneddwa omwoyo gw’ensi ogubunye buli wamu mu nnaku zino ez’oluvannyuma?​—2 Tim. 3:1-4.

6, 7. (a) Bintu ki ebiyinza okutuleetera okwogera obubi ku balala? (b) Kiki kye tusaanidde okukola singa abalala batuvuma?

6 Lowooza ku nsonga endala eyinza okutuleetera okwogera obubi ku bakkiriza bannaffe. Tuyinza okuba twagala okulaga abalala nti ebyo bye tukola birungi okusinga eby’abalala. Mu ngeri endala, tuba twagala okulaga nti tuli ba waggulu ku balala. Oba tuyinza okuba nga tugezaako kwekwasa busongasonga olw’okulemererwa okukola ekyo kye tusaanidde okukola. Ka kibe nti amalala, obuggya, oba ekintu ekirala kyonna kye kituleetedde okwogera obubi ku bakkiriza bannaffe, ebivaamu tebiba birungi.

7 Oluusi tuyinza okulowooza nti tulina ensonga entuufu okwogera obubi ku balala. Nabo bayinza okuba nga balina ebintu ebibi bye baatwogerako. Ne bwe kiba nti bye baatwogerako byatuyisa bubi, okwesasuza si kye kintu ekituufu kye tusaanidde okukola. Singa twesasuza, tuba ng’abongera amafuta mu muliro era tuba tukola ekyo Omulyolyomi ky’ayagala, so si Katonda ky’ayagala. (2 Tim. 2:26) Tusaanidde okukoppa Yesu. “Bwe yavumibwa ye teyavuma.” Mu kifo ky’ekyo, “yeewaayo eri oyo asala omusango mu butuukirivu.” (1 Peet. 2:21-23) Yesu yali mukakafu nti Yakuwa yandibadde abaako ky’akolawo mu kiseera kye ekituufu. Naffe tusaanidde okwesiga Katonda. Bwe tukozesa obulungi olulimi lwaffe, kiyamba mu kukuuma emirembe n’obumu mu kibiina.​—Soma Abeefeso 4:1-3.

WEEWALE OKUTYA ABANTU N’OKWEKKIRIRANYA NG’OPIKIRIZIDDWA

8, 9. Lwaki Piraato yasalira Yesu ogw’okufa?

8 Ensolo eba ekwatiddwa mu mutego eba tekyasobola kwetaaya. Mu ngeri y’emu, omuntu atya abantu era eyekkiriranya ng’apikiriziddwa aba alese abalala okufuga obulamu bwe. (Soma Engero 29:25.) Kati ka tulabe ebyokulabirako by’abantu babiri abekkiriranya nga bapikiriziddwa era abaatya abantu era tulabe n’ekyo kye tuyinza okubayigirako.

9 Gavana wa Rooma Pontiyo Piraato yali akimanyi nti Yesu teyalina musango gwonna era ayinza okuba nga yali tayagala kumutuusaako kabi konna. Mu butuufu, Piraato yagamba nti ‘tewali kintu Yesu kye yali akoze kyali kimugwanyiza kufa.’ Wadde kyali kityo, yamusalira ogw’okufa. Lwaki? Kubanga Piraato yekkiriranya ng’apikiriziddwa abantu. (Luk. 23:15, 21-25) Abantu baagezaako okupikiriza Piraato okukola kye baali baagala nga boogerera waggulu nti: “Bw’ota omusajja ono nga toli mukwano gwa Kayisaali.” (Yok. 19:12) Piraato ayinza okuba nga yatya nti bwe yanditadde Kristo, yandifiiriddwa ekifo kye, oboolyawo n’attibwa n’okuttibwa. Piraato yekkiriranya ng’apikiriziddwa, bw’atyo n’akola ekyo Omulyolyomi kye yali ayagala.

10. Kiki ekyaleetera Peetero okwegaana Kristo?

10 Omutume Peetero yali omu ku mikwano gya Yesu ab’oku lusegere. Yali akkiriza nti Yesu ye Masiya. (Mat. 16:16) Abayigirizwa abalala bwe baaleka Yesu olw’okuba waliwo ebintu bye yayogera bye baali batategedde, Peetero yamunywererako. (Yok. 6:66-69) Era abantu bwe bajja okukwata Yesu, Peetero yakozesa ekitala okulwanirira Mukama we. (Yok. 18:10, 11) Kyokka oluvannyuma, okutya abantu kwaleetera Peetero okwegaana Yesu Kristo. Okutya abantu gulinga omutego. Okumala akaseera katono, Peetero yagwa mu mutego ogwo, bw’atyo n’alemererwa okukola ekituufu n’okusigala nga mwesigwa eri Yesu.​—Mat. 26:74, 75.

11. Tuyinza kupikirizibwa tutya nga tuli ku mulimu oba ku ssomero?

11 Ng’Abakristaayo, tulina okwewala okwekkiriranya nga tupikiriziddwa okukola ebintu ebitasanyusa Katonda. Bakama baffe oba abantu abalala bayinza okugezaako okutuleetera obutaba beesigwa ku mulimu oba bayinza okutusendasenda okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Bayizi bannaffe bayinza okutupikiriza okubba ebigezo, okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu, okunywa sigala, okunywa enjaga, okwekamirira omwenge, oba okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Kati olwo kiki ekiyinza okutuyamba okwewala okutya abantu n’okwewala okwekkiriranya nga tupikiriziddwa okukola ebintu ebitasanyusa Yakuwa?

12. Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Piraato ne Peetero?

12 Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Piraato ne Peetero? Piraato yali amanyi kitono nnyo ku Kristo. Wadde kyali kityo yali akimanyi nti Yesu teyalina musango era nti teyali muntu wa bulijjo. Naye Piraato teyali mwetoowaze era yali tayagala Katonda ow’amazima. Bwe kityo, kyali kyangu Omulyolyomi okumukwasa. Peetero yali amanyi amazima era yali ayagala nnyo Katonda. Naye ebiseera ebimu yalemererwanga okumanya obusobozi bwe we bukoma era yatyanga abantu n’alemererwa okukola ekituufu. Yesu bwe yali tannakwatibwa, Peetero yagamba nti: “Abalala bonna ne bwe baneesittala, nze sijja kwesittala.” (Mak. 14:29) Singa Peetero yeesiga Katonda ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe yakola, ekyo kyandimuyambye okwetegekera embeera gye yayolekagana nayo. Omuwandiisi wa Zabbuli oyo yagamba nti: “Mukama ali ku luuyi lwange; siritya: abantu bayinza kunkola ki?” (Zab. 118:6) Bwe yali anaatera okuttibwa, Yesu yatwala Peetero awamu n’abatume abalala babiri mu nnimiro y’e Gesusemane. Mu kifo ky’okusigala nga batunula, Peetero n’abatume abalala beebaka. Yesu yabazuukusa era n’abagamba nti: “Mutunule, musabe muleme kugwa nga mukemeddwa.” (Mak. 14:38) Kyokka Peetero yaddamu okwebaka era oluvannyuma yatya abantu n’alemererwa okukola ekituufu.

13. Kiki ekiyinza okutuyamba okwewala okwekkiriranya nga tupikiriziddwa okukola ekintu ekikyamu?

13 Waliwo n’ekintu ekirala kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Piraato ne Peetero: Bwe tuba ab’okwewala okutya abantu oba okwekkiriranya nga tupikiriziddwa, twetaaga okuba n’okumanya okutuufu, okuba abeetoowaze, okumanya obusobozi bwaffe we bukoma, okwagala Katonda, n’okutya Yakuwa. Bwe tuba n’okukkiriza okwesigamiziddwa ku kumanya okutuufu, tetujja kutya kwogera bikwata ku nzikiriza yaffe. Ekyo kijja kutuyamba okwewala okutya abantu n’obutekkiriranya nga tupikiriziddwa. Tusaanidde okumanya obusobozi bwaffe we bukoma. Tulina okukimanya nti twetaaga obuyambi bwa Katonda bwe tuba ab’okuziyiza okupikirizibwa. Tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu. Era okwagala kwe tulina gy’ali kusaanidde okutukubiriza okunywerera ku mitindo gye n’okugulumiza erinnya lye. Ate era twetaaga okweteekerateekera okupikirizibwa nga tekunnaba kututuukako. Ng’ekyokulabirako, twetaaga okusabira abaana baffe n’okubateekateeka nga bukyali kibayambe okumanya eky’okukola nga baana bannaabwe babapikirizza okukola ebintu ebikyamu.​—2 Kol. 13:7.a

OKULUMIZIBWA EKISUKKIRIDDE​—MUTEGO OGUMENYA

14. Bwe kituuka ku nsobi ze twakola emabega, kiki Omulyolyomi ky’ayagala tulowooze?

14 Oluusi omuyizzi atega omutego gwe ng’asiba ekiti ekinene oba ejjinja eddene waggulu mu kkubo ensolo we zitera okuyita. Ensolo bw’eba eyitawo, ekoona ku muguwa, olwo ekiti ekiba kisibiddwa waggulu oba ejjinja ne ligigwako, n’ebetentebwa. Omuntu bw’alumirizibwa ekisukkiridde olw’ensobi gye yakola, abanga eyeetisse ekiti ekinene oba ejjinja eddene. Bwe tulowooza ennyo ku nsobi gye twakola emabega, tuyinza okuwulira nga ‘tumenyesemenyese.’ (Soma Zabbuli 38:3-5, 8.) Sitaani ayagala tulowooze nti ensobi gye twakola ya maanyi nnyo ne kiba nti Yakuwa tasobola kutusonyiwa era nti tetusobola kutuukiriza Katonda by’atwetaagisa.

15, 16. Oyinza otya okwewala okulumizibwa ekisukkiridde olw’ensobi gye wakola?

15 Oyinza otya okwewala okulumizibwa ekisukkiridde olw’ensobi gye wakola? Bwe kiba nti wakola ekibi eky’amaanyi, baako ky’okolawo okutereeza enkolagana yo ne Yakuwa. Tuukirira abakadde bakuyambe. (Yak. 5:14-16) Kola kyonna ekisoboka okutereeza ebyasoba. (2 Kol. 7:11) Bw’okangavvulwa, toggwamu maanyi kubanga ekyo kiba kiraga nti Yakuwa akwagala. (Beb. 12:6) Ba mumalirivu obutaddamu kukola kibi ekyo era weewale ebintu ebyakuviirako okukola ekibi ekyo. Bw’omala okwenenya n’oleka amakubo go amabi, ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukusonyiwa ng’asinziira ku ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu Kristo.​—1 Yok. 4:9, 14.

16 Abantu abamu beeyongera okulumizibwa olw’ebibi bye baakola emabega ng’ate Yakuwa yabibasonyiwa dda. Bw’oba ng’oli omu ku bantu abo, kijjukire nti Yakuwa yasonyiwa Peetero n’abatume abalala abaayabulira Omwana we omwagala mu kiseera mwe yali asinga okubeetaagira. Ate era Yakuwa yasonyiwa omusajja eyali agobeddwa mu kibiina ky’e Kkolinso olw’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu ebyesisiwaza naye oluvannyuma ne yeenenya. (1 Kol. 5:1-5; 2 Kol. 2:6-8) Bayibuli eyogera ku bantu abaakola ebibi eby’amaanyi naye Katonda n’abasonyiwa olw’okuba beenenya.​—2 Byom. 33:2, 10-13; 1 Kol. 6:9-11.

17. Ekinunulo kiyinza kukuyamba kitya?

17 Yakuwa ajja kukusonyiwa ensobi ze wakola emabega era azeerabirire ddala singa weenenya mu bwesimbu era n’okkiriza nti ajja kukusaasira. Tosaanidde kulowooza nti ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu tesobola kubikka ku bibi byo. Singa olowooza bw’otyo, olwo nno Sitaani aba akukwasizza. Omulyolyomi ayagala olowooze nti ekinunulo tekisobola kubikka ku bibi byonna, naye kijjukire nti Yakuwa asobola okusonyiwa abo ababa bakoze ebibi singa beenenya mu bwesimbu. (Nge. 24:16) Bw’olumizibwa ekisukkiridde olw’ensobi gye wakola oba ng’eyeetisse ekintu ekizitowa ennyo, naye okukkiririza mu kinunulo kisobola okukuyamba okukyetikkulako n’okufuna amaanyi okuweereza Katonda n’omutima gwo gwonna, n’amagezi go gonna, n’obulamu bwo bwonna.​—Mat. 22:37.

TUMANYI ENKWE ZA SITAANI

18. Tuyinza tutya okwewala emitego gy’Omulyolyomi?

18 Sitaani tafaayo ku mutego ki gw’aba akozesezza okutukwasa; ye ky’ayagala kwe kutukwasa. Okuva bwe kiri nti tumanyi enkwe z’Omulyolyomi, tusobola okumuziyiza n’atatuwangula. (2 Kol. 2:10, 11) Singa tusaba Yakuwa atuwe amagezi nga tugezesebwa, Sitaani tajja kusobola kutukwasa. Yakobo yagamba nti: “Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda, kubanga agabira bonna nga talina gw’alangira; era gajja kumuweebwa.” (Yak. 1:5) Bwe tuba twagala Yakuwa okutuwa amagezi tusaanidde okusoma Ekigambo kye obutayosa n’okukolera ku ebyo bye tusoma. Ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi bituyamba okutegeera emitego gy’Omulyolyomi n’okumanya engeri y’okugyewalamu.

19, 20. Lwaki tusaanidde okukyawa ebintu ebibi?

19 Okusaba n’okusoma Bayibuli bituyamba okwagala ebintu ebirungi n’okukyawa ebintu ebibi. (Zab. 97:10) Okufumiitiriza ku ebyo ebiyinza okuva mu kukola ebintu ebibi kisobola okutuyamba okubyewala. (Yak. 1:14, 15) Bwe tuyiga okukyawa ebintu ebibi era ne tuyiga okwagala ebintu ebirungi, olwo ebintu Sitaani by’akozesa okutukwasa biba tebikyatusikiriza.

20 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Katonda atuyamba obutagwa mu mitego gya Sitaani! Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu, Ekigambo kye, n’ekibiina kye okutulokola “okuva eri omubi.” (Mat. 6:13) Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri gye tuyinza okwewala emitego emirala ebiri Omulyolyomi gy’akozesa okukwasa abaweereza ba Katonda.

[Obugambo obuli wansi]

a Abazadde basaanidde okukubaganya ebirowoozo n’abaana baabwe ku kipande “Okwetegekera Okupikirizibwa” ekiri mu katabo Questions Young People Ask​—Answers That Work, Omuzingo 2, olupapula 132-133. Abazadde bayinza okukozesa ekitundu ekyo mu Kusinza kw’Amaka.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Obutafuga lulimi kiyinza okukoleeza omuliro mu kibiina

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Bw’olumizibwa ekisukkiridde oba ng’eyeetisse ekintu ekizitowa ennyo, naye osobola okukyetikkulako

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share