EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU: OKUZUUKIRA KWA YESU KUKUGANYULA KUTYA?
Ddala Yesu Yazuukira?
MUNNABYAFAAYO Omuyonaani ayitibwa Herodotus eyaliwo emyaka 2,500 egiyise yayogera ku ndowooza Abamisiri abaaliwo mu kiseera kye gye baalina ku bulamu. Yagamba nti: “Ku bijjulo by’abagagga, omusajja asitula ekiti kye baabajjira ddala ng’omulambo nga kiweza obuwanvu bwa ffuuti nga bbiri oba ssatu, nga bakisiize bulungi era nga bakitadde mu ssanduuko y’abafu. Agenda akiraga buli aliwo nga bw’amugamba nti, ‘Weenywere osanyuke, . . . ; kubanga bw’oti bw’olibeera ng’ofudde.’”
Abamisiri si be bokka abaalina endowooza ng’eyo. Leero, enjogera egamba nti “Tulye, tunywe, era tusanyuke” efuuse ya bulijjo. Bangi bagamba nti, ‘Bwe kiba nti okufa y’enkomerero ya byonna, ka tunyumirwe obulamu nga tukyaliwo.’ Era nti ‘Bwe kiba nti omuntu bw’afa ebibye biba bikomye, ka tunyumirwe obulamu mu bujjuvu.’ N’omutume Pawulo bwe yali ayogera ku ndowooza abantu abaali batakkiririza mu kuzuukira gye baalina, yagamba nti: “Bwe kiba nti abafu tebajja kuzuukizibwa, ‘ka tulye era tunywe, kubanga enkya tujja kufa.’”—1 Abakkolinso 15:32.
Kyo kituufu omutume Pawulo yali takkiriza nti okufa y’enkomerero y’omuntu. Yali mukakafu nti abafu bajja kuzuukira babeere balamu emirembe gyonna. Ekyamuleetera okuba omukakafu ku ekyo, kwe kuzuukira kwa Kristo Yesu.a Mu butuufu, okuzuukira okwo kwe kwasinga okunyweza okukkiriza kw’abagoberezi ba Yesu abaasooka.
Naye, okuzuukira kwa Yesu kutuganyula kutya? Ye abaffe, tukakasiza ku ki nti Yesu yazuukira? Ka tulabe engeri omutume Pawulo gy’addamu ebibuuzo ebyo mu bbaluwa gye yawandiikira Abakristaayo ab’e Kkolinso.
WATYA SINGA KRISTO TEYAZUUKIZIBWA?
Abamu ku Bakristaayo ab’e Kkolinso baali tebategeera bulungi bikwata ku kuzuukira, n’abalala baali tebakukkiririzaamu. Mu bbaluwa gye yasooka okubawandiikira, omutume Pawulo yababuulira kye kyandibadde kitegeeza singa teri kuzuukira. Yabagamba nti: “Bwe kiba nti ddala teri kuzuukira, ne Kristo teyazuukizibwa. Era bwe kiba nti Kristo teyazuukizibwa, okubuulira kwaffe kwa bwereere, n’okukkiriza kwaffe kwa bwereere. Ate era, naffe tuba tuwa obujulirwa obw’obulimba ku Katonda . . . Okukkiriza kwammwe tekugasa; era mukyali mu bibi byammwe. . . . N’abo abeebaka mu kufa nga bali mu Kristo baasaanawo.”—1 Abakkolinso 15:13-18.
“Yalabikira ab’oluganda abasukka mu bikumi bitaano omulundi gumu . . . Oluvannyuma n’alabikira Yakobo, n’azzaako abatume bonna; oluvannyuma lwa bonna n’alabikira nange.”—1 Abakkolinso 15:6-8
Ebigambo by’omutume Pawulo ebyo bikulu nnyo. Bwe kiba nti teri kuzuukira, kyandibadde kitegeeza nti Kristo teyazuukizibwa. Bwe kiba nti Kristo teyazuukizibwa, okubuulira amawulire amalungi kwandibadde tekugasa. Okuzuukira kwa Kristo y’emu ku njigiriza z’Ekikristaayo enkulu, era ekwatagana bulungi n’enjigiriza endala enkulu eziri mu Bayibuli; gamba ng’Obwakabaka bwa Katonda, erinnya lye, n’obulokozi bwaffe. Bwe kiba nti Yesu teyazuukira, kyandibadde kitegeeza nti obubaka Pawulo n’abatume abalala bwe baabuuliranga bwali bwa bulimba.
Ate era bwe kiba nti Kristo teyazuukizibwa, okukkiriza kw’Abakristaayo kwandibadde kwa bwereere, nga kwesigamiziddwa ku bulimba. N’ekirala, omutume Pawulo n’abalala bandibadde baayogera bya bulimba, si ku Yesu yekka, naye era ne ku Yakuwa Katonda gwe baagambanga nti ye yamuzuukiza. Okugatta ku ebyo, okugamba nti Kristo “yafa ku lw’ebibi byaffe,” nakyo tekyandibadde kituufu. Gwe ate, bwe kiba nti Omulokozi teyazuukira yandirokodde atya abalala. (1 Abakkolinso 15:3) Ekyo kyandibadde kitegeeza nti n’Abakristaayo abattibwa olw’okukkiriza mu Yesu nga basuubira nti bajja kuzuukizibwa, baafiira bwereere.
Omutume Pawulo yawunzika agamba nti: “Bwe kiba nti mu bulamu buno mwokka mwe tusuubirira mu Kristo, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna.” (1 Abakkolinso 15:19) Okufaananako Abakristaayo abalala, omutume Pawulo yeefiiriza ebintu bingi, yayigganyizibwa, yagumira ebizibu bingi, era emirundi mingi yawoneranga watono okufa olw’okukkiririza mu kuzuukira. Singa teri kuzuukira, yandibadde yabonaabonera bwereere.
ENSONGA LWAKI OSAANIDDE OKUKKIRIZA
Omutume Pawulo yabuulira Abakkolinso obukakafu obulaga nti Yesu yazuukizibwa. Yabagamba nti: “Kristo yafa ku lw’ebibi byaffe ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba; era . . . yaziikibwa, n’azuukizibwa ku lunaku olw’okusatu ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba; era yalabikira Keefa, ate n’alabikira n’ekkumi n’ababiri.”b Era yagattako nti: “Oluvannyuma yalabikira ab’oluganda abasukka mu bikumi bitaano omulundi gumu, abasinga obungi bakyaliwo naye abamu beebaka mu kufa. Oluvannyuma n’alabikira Yakobo, n’azzaako abatume bonna; oluvannyuma lwa bonna n’alabikira nange.”—1 Abakkolinso 15:3-8.
Omutume Pawulo yayogera n’obuvumu nti Kristo yafa olw’ebibi byaffe, yaziikibwa, era yazuukizibwa. Biki ebyaleetera Pawulo okuba omukakafu? Ekimu ku byo, kwe kuba nti waliwo bangi abaalaba Yesu ng’azuukidde. Yalabikira abantu kinnoomu (nga mw’otwalidde ne Pawulo kennyini), yalabikira abantu abaali mu bubinja obutonotono, yalabikira n’abantu 500 omulundi gumu, era abamu ku bo bayinza okuba nga baasooka kubuusabuusa bwe baawulira nti Yesu azuukidde. (Lukka 24:1-11) Mu kiseera kya Pawulo, abasinga obungi ku abo abaalaba Yesu baali bakyali balamu era omuntu yenna yali asobola okubabuuza n’akakasa. (1 Abakkolinso 15:6) Obujulizi bw’omuntu omu oba ababiri buyinza okubuusibwabuusibwa, naye toyinza kubuusabuusa bujulizi bw’abantu abasukka mu 500 abeerabirako n’agaabwe.
Ate era weetegereze nti omutume Pawulo yakyogerako emirundi ebiri nti okufa kwa Yesu, okuziikibwa kwe, n’okuzuukira kwe, byaliwo “ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba.” Ebyo ebyatuuka ku Yesu byatuukiriza obunnabbi obuli mu Bayibuli obukwata ku Masiya, ne bikakasa nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa.
Wadde nga waliwo obukakafu obwenkukunala obulaga nti Yesu yazuukizibwa, waliwo abakyabuusabuusa. Abamu bagamba nti abatume be babba omulambo gwe oluvannyuma ne bagamba nti azuukidde. Naye tewali ngeri yonna abatume ba Yesu gye bandisobodde kuyita ku basirikale Abaruumi abaateekebwawo okukuuma entaana mwe baali batadde omulambo gwa Yesu. Ate abalala bagamba nti abo abaagamba nti Yesu yabalabikira, baaloota buloosi. Naye ekyo si kituufu, kubanga Yesu yalabikira abantu bangi mu biseera eby’enjawulo. Abantu abo bonna tebayinza kuba nga baaloota ekirooto kye kimu mu biseera eby’enjawulo.—Yokaana 21:9-14.
Waliwo n’abagamba nti okuzuukira kwa Yesu lwali lugero bugero abayigirizwa be lwe baayiiya. Naye ddala ekyo kyandibaganyudde? Abatume baasekererwa, baabonaabona, abamu ne batuuka n’okuttibwa, olw’okubuulira ebikwata ku kuzuukira kwa Yesu. Lwaki baateeka obulamu bwabwe mu kabi bwe kiba nti bye baali babuulira byali bya bulimba? Baasooka na kubuulira mu Yerusaalemi, awaali abalabe baabwe lukulwe abaali banoonya ensonga kwe bandisinzidde okubavunaana.
Okuzuukira kwa Yesu kwe kwaleetera abatume abo okubuulira n’obuvumu wadde nga baali bayigganyizibwa nnyo. Okuzuukira okwo yafuuka njigiriza nkulu nnyo mu njigiriza z’Ekikristaayo. Abakristaayo abaasooka baabuuliranga ebikwata ku kuzuukira kwe, kubanga okuzuukira okwo kwakakasa nti ye Kristo Omwana wa Katonda, eyabawanga obulagirizi. Ate era kwabaleetera okuba abakakafu nti nabo bandizuukiziddwa. Mu butuufu singa Yesu teyazuukira, Obukristaayo tebwandibaddewo. Oboolyawo, tetwandiwulidde na bimukwatako.
Naye, okuzuukira kwa Kristo kutuganyula kutya leero?
a Mu Bayibuli, ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “okuzuukira” kitegeeza “okuyimirira nate.” Kitegeeza nti omuntu addamu okuba omulamu, ng’alina engeri ze yalina ng’akyali mulamu, era ng’ategeera bulungi.
b Wadde ng’oluvannyuma lw’okufa kwa Yuda Isukalyoti abatume baali 11 bokka okumala akaseera, baayitibwanga “ekkumi n’ababiri.” Olulala baayogerwako ng’ekkumi n’ababiri wadde nga baali kkumi bokka kubanga Tomasi teyaliiwo.—Yokaana 20:24.