Erisa Yalaba Amagaali ag’Omuliro—Naawe Ogalaba?
Kabaka wa Busuuli yali anoonya nnabbi wa Katonda Erisa ng’ayagala okumukwata. Yakitegeerako nti Erisa yali mu Dosani, ekibuga ekyali waggulu ku lusozi era nga kiriko bbugwe. Ekiro, kabaka wa Busuuli yasindika endogoyi, amagaali, n’abasajja abalwanyi e Dosani. Obudde we bwakeerera, eggye lye lyali lyetoolodde ekibuga.—2 Bassek. 6:13, 14.
Omuddu wa Erisa bwe yafuluma ebweru, yalaba eggye ly’abalabe. Yatya nnyo era n’agamba nti: “Zitusanze, mukama wange! Tunaakola tutya?” Erisa yamuddamu nti: “Totya: kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.” Oluvannyuma Erisa yasaba Yakuwa ng’agamba nti: ‘Yakuwa, nkwegayiridde, muzibule amaaso ge alabe.’ Bayibuli egamba nti: “Awo Mukama n’azibula amaaso g’omulenzi; n’alaba: awo, laba, olusozi nga lujjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro ageetoolodde Erisa.” (2 Bassek. 6:15-17) Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo ku olwo awamu n’ebintu ebirala ebyaliwo mu bulamu bwa Erisa?
Wadde nga Erisa yali yeetooloddwa eggye lya Busuuli, yasigala nga mukkakkamu olw’okuba yali yeesiga Yakuwa era yali mukakafu nti yali amukuuma. Tetusuubira nti Yakuwa ajja kutukuuma mu ngeri ey’ekyamagero leero, naye tuli bakakafu nti Yakuwa akuuma abantu be ng’ekibiina. Naffe tulinga abeetooloddwa embalaasi n’amagaali ag’omuliro. Bwe ‘tulaba’ ebintu ebyo n’amaaso gaffe ag’okukkiriza era nga twesiga Katonda, tujja kuba “mu mirembe” era Yakuwa ajja kutuwa emikisa. (Zab. 4:8) Kati ka tulabe bye tuyigira ku bintu ebirala ebyaliwo mu bulamu bwa Erisa.
ERISA ATANDIKA OKUWEEREZA ERIYA
Lumu, Erisa bwe yali ng’alima, nnabbi Eriya yajja gy’ali n’amusuulako ekyambalo kye. Erisa yategeera ekyo Eriya kye yali ategeeza. Bwe kityo, Erisa yateekateeka embaga, n’asiibula kitaawe ne nnyina, n’ava awaka waabwe n’agenda okuweereza Eriya. (1 Bassek. 19:16, 19-21) Olw’okuba Erisa yali mwetegefu okuweereza Katonda mu bujjuvu, Yakuwa yamukozesa okukola ebintu bingi era oluvannyuma yamulonda okuba nnabbi eyadda mu bigere bya Eriya.
Erisa yaweereza Eriya, oboolyawo okumala emyaka mukaaga. Mu kiseera ekyo, ye ‘yafukiriranga amazzi mu ngalo za Eriya.’ (2 Bassek. 3:11) Mu biseera by’edda, abantu baaliisanga ngalo. Oluvannyuma lw’okulya emmere, omuweereza yafukiriranga mukama we amazzi mu ngalo. Ekyo kiraga nti emirimu egimu Erisa gye yakolanga gyali gya wansi. Kyokka, Erisa yagitwala nga nkizo okuweereza Eriya.
Okufaananako Eriya, Abakristaayo bangi leero, beetegefu okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna obutali bumu. Ekyo bakikola olw’okuba beesiga Yakuwa era baagala okumuwa ekyo ekisingayo obulungi. Ng’ekyokulabirako, abamu bava ewaabwe okusobola okuweereza mu maka ga Beseri n’okuyamba mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, emirimu bangi gye batwala okuba egya wansi. Kyokka tewali Mukristaayo n’omu asaanidde kutwala mirimu ng’egyo okuba egya wansi kubanga Yakuwa agitwala nga gya muwendo.—Beb. 6:10.
ERISA YANYWERERA KU BUWEEREZA BWE
Katonda bwe yali ‘tannalinnyisa Eriya mu ggulu,’ yagamba nnabbi oyo okuva e Girugaali agenda e Beseri. Eriya bwe yagamba Erisa okusigala, Erisa yamuddamu nti: “Sijja kukuleka.” Bwe baali bagenda, emirundi ebiri, Eriya yagamba Erisa obutamugoberera naye Erisa n’agaana. (2 Bassek. 2:1-6) Nga Luusi bwe yanywerera ku Nawomi, ne Erisa yanywerera ku Eriya. (Luus. 1:8, 16, 17) Erisa yagitwala nga nkizo ya maanyi okuweereza Eriya, kubanga yali amaanyi nti Katonda ye yali amuwadde omulimu ogwo.
Erisa yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Bwe tufuna enkizo yonna mu kibiina kya Katonda, tujja kugitwala nga ya muwendo singa tukijjukira nti tuweereza Yakuwa. Tewali nkizo esinga eyo ey’okuweereza Yakuwa.—Zab. 65:4; 84:10.
“SABA KYE NNAAKUKOLERA”
Bwe baali batambula, Eriya yagamba Erisa nti: “Saba kye nnaakukolera nga sinnaba kukuggibwako.” Okufaananako Sulemaani, Erisa yasaba ekintu ekyandimuyambye okuweereza obulungi Yakuwa. Yasaba ‘emigabo ebiri egy’omwoyo gwa Eriya gibeere ku ye.’ (1 Bassek. 3:5, 9; 2 Bassek. 2:9) Mu Isiraeri, omwana ow’obulenzi omubereberye yaweebwanga emigabo ebiri egy’obusika. (Ma. 21:15-17) Bwe kityo, Erisa yali asaba okufuuka omusika wa Eriya oba okudda mu kifo kye nga nnabbi. Ate era, Erisa yali ayagala okuba omuvumu era omunyiikivu nga Eriya.—1 Bassek. 19:13, 14.
Eriya yaddamu atya omuweereza we oyo? Yamugamba nti: ‘Ekintu ky’osabye kizibu nnyo. Naye bw’onondaba nga nkuggibwako kinaaba bwe kityo; naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.’ (2 Bassek. 2:10) Ebyo Eriya bye yamuddamu biyinza okuba nga byalina amakulu ga mirundi ebiri. Biyinza okuba nga byali bitegeeza nti Katonda yekka ye yali alina okusalawo obanga Erisa aweebwa ekyo kye yali asabye. Oba biyinza okuba nga byali bitegeeza nti Erisa okusobola okufuna ekyo kye yali asabye, yalina okunywerera ku Eriya mu mbeera zonna.
ERISA KYE YALABA
Yakuwa yawa Erisa ekyo kye yali asabye? Bayibuli egamba nti: “Awo olwatuuka nga bakyatambula nga balojja, laba, ne walabika eggaali ery’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula bombi; Eriya n’alinnya mu ggulu n’embuyaga. . . . Era Erisa n’akiraba.”a Bw’atyo Yakuwa bwe yaddamu okusaba kwa Erisa. Erisa yalaba Eriya ng’atwalibwa, yaweebwa emigabo ebiri egy’omwoyo gwa Eriya, era yadda mu kifo kya Eriya nga nnabbi.—2 Bassek. 2:11-14.
Erisa yalonda ekyambalo kya Eriya ekyali kimuvuddeko ne kigwa wansi, n’akyambala. Abantu bwe baalaba Erisa ng’ayambadde ekyambalo ekyo, baakitegeera nti yali afuuse nnabbi wa Katonda. Ekirala ekyalaga nti yali alondeddwa okuba nnabbi kwe kuba nti yakuba ku mazzi g’Omugga Yoludaani ne geeyawulamu.
Ebyo Erisa bye yalaba nga Eriya atwalibwa embuyaga, biteekwa okuba nga byamukwatako nnyo. Ekyo kiri kityo, kubanga si kya bulijjo okulaba eggaali ery’olutalo ery’omuliro n’embalaasi ez’omuliro! Yakiraba nti Yakuwa yali azzeemu okusaba kwe. Katonda bw’addamu essaala zaffe, tetulaba ggaali lya lutalo ery’omuliro n’embalaasi ez’omuliro. Naye tulaba obukakafu obw’enkukunala obulaga nti Yakuwa akozesa amaanyi ge amangi okutuyamba n’okukakasa nti ebyo by’ayagala bikolebwa. Ate era bwe tulaba engeri Yakuwa gy’awaamu omukisa ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kye, tuba ‘ng’abalaba’ eggaali lye nga litambula.—Ez. 10:9-13.
Waliwo ebintu bingi ebyayamba Erisa okukiraba nti Yakuwa alina amaanyi mangi nnyo. Mu butuufu, omwoyo gwa Katonda gwamusobozesa okukola ebyamagero 16, nga bikubisaamu emirundi ebiri ebyo Eriya bye yakola.b Omulundi ogw’okubiri Erisa lwe yalaba embalaasi n’amagaali ag’olutalo ag’omuliro, yali Dosani nga yeetooloddwa eggye lya Busuuli, nga bwe twalabye ku ntandikwa y’ekitundu kino.
ERISA YEESIGA YAKUWA
Wadde nga yali yeetooloddwa abalabe e Dosani, Erisa yasigala nga mukkakkamu. Lwaki? Kubanga yalina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa. Naffe twetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. N’olwekyo, ka bulijjo tusabe Katonda atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okwoleka okukkiriza n’engeri endala eziri mu kibala ky’omwoyo.—Luk. 11:13; Bag. 5:22, 23.
Ebyo ebyaliwo e Dosani era byayamba Erisa okwongera okwesiga Yakuwa awamu n’eggye lye erya bamalayika. Katonda yatuma bamalayika be ne beetooloola ekibuga ekyo era ne baziba amaaso g’abalabe ba Erisa. Bw’atyo Yakuwa yawonyaawo Erisa n’omuweereza we. (2 Bassek. 6:17-23) Mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo, nga bwe kyali ne mu biseera ebirala byonna, Erisa yakiraga nti yalina okukkiriza okw’amaanyi era nti yali yeesiga nnyo Yakuwa.
Okufaananako Erisa, naffe tusaanidde okwesiga Yakuwa Katonda. (Nge. 3:5, 6) Bwe tunaakola bwe tutyo, ‘Katonda ajja kutusaasira era ajja kutuwa emikisa.’ (Zab. 67:1) Kyo kituufu nti tetwetooloddwa mbalaasi na magaali ag’omuliro. Naye tuli bakakafu nti mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene,’ Yakuwa ajja kutukuuma ffenna ng’ekibiina. (Mat. 24:21; Kub. 7:9, 14) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka bulijjo tukijjukire nti “Katonda kye kiddukiro” kyaffe.—Zab. 62:8.
a Eriya teyagenda mu ggulu Yakuwa awamu ne bamalayika gye babeera. Laba Watchtower eya Ssebutemba 15, 1997, olupapula 15.
b Laba Watchtower eya Agusito 1, 2005, olupapula 10.