LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 52 lup. 126-lup. 127 kat. 1
  • Eggye lya Yakuwa Eryalina Amagaali ag’Omuliro

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eggye lya Yakuwa Eryalina Amagaali ag’Omuliro
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Erisa Yalaba Amagaali ag’Omuliro​—Naawe Ogalaba?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Ebirimu
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • Abali Naffe Bangi Okusinga Abali Nabo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 52 lup. 126-lup. 127 kat. 1
Erisa n’omuweereza we nga beetooloddwa eggye lya Busuuli

ESSOMO 52

Eggye lya Yakuwa Eryalina Amagaali ag’Omuliro

Beni-kadadi, kabaka wa Busuulu, yalumbanga Isirayiri. Naye buli lwe yakikolanga nga nnabbi Erisa alabula kabaka wa Isirayiri, n’atatuusibwako kabi. Bwe kityo, Beni-kadadi yasalawo okukwata Erisa. Yakimanyaako nti Erisa yali mu Dosani, era n’asindika eggye lya Busuuli okumukwata.

Amagye ga Busuuli gaazingiza Dosani ekiro. Ku makya, omuweereza wa Erisa bwe yafuluma ebweru yalaba ng’ekibuga kyetooloddwa eggye eddene. Yatya nnyo era n’agamba nti: ‘Erisa, tukole ki?’ Erisa yamuddamu nti: ‘Abali naffe bangi okusinga abali nabo.’ Mu kiseera ekyo, Yakuwa yazibula amaaso g’omuweereza wa Erisa n’alaba nga ku nsozi zonna ezaali zeetoolodde ekibuga Dosani kujjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro.

Erisa n’omuweereza we nga balaba eggye lya bamalayika eddene nga libeetoolodde

Abasirikale ba Busuuli bwe baagezaako okukwata Erisa, Erisa yasaba Yakuwa n’agamba nti: ‘Nkwegayiridde Yakuwa, ziba amaaso gaabwe.’ Amangu ago, Yakuwa yabaziba amaaso ne kiba nti wadde ng’abasirikale abo baali batunula, baali tebakyategeera we bali. Erisa yagamba abasirikale abo nti: ‘Muli mu kibuga kikyamu. Mungoberere mbatwale eri omusajja gwe munoonya.’ Abasirikale abo baagoberera Erisa okutuuka e Samaliya, kabaka wa Isirayiri gye yali abeera.

Abasirikale ba Busuuli baagenda okuddamu okutegeera nga bali wakati mu Samaliya. Kabaka wa Isirayiri yabuuza Erisa nti: ‘Abantu bano mbatte?’ Erisa teyakozesa kakisa ako kwesasuza basajja abo abaali baagala okumukolako akabi. Mu kifo ky’ekyo yagamba kabaka nti: ‘Tobatta. Bawe emmere era obaleke bagende.’ Bwe kityo kabaka yabawa emmere ne balya era oluvannyuma n’abaleka ne baddayo mu nsi yaabwe.

Abasirikale ba Busuuli nga balya ekijjulo mu Samaliya

“Buno bwe bwesige bwe tulina mu ye, nti bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.”​—1 Yokaana 5:14

Ebibuuzo: Yakuwa yakuuma atya Erisa n’omuweereza we? Olowooza naawe Yakuwa asobola okukukuuma?

2 Bassekabaka 6:8-24

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share