Weewale Okuluubirira ‘Ebitagasa’
1 Engeri emu ey’empuliziganya ecaase ennyo ebiro bino, ye y’okukozesa kompyuta. Wadde nga kiyinza okuba ekirungi okukozesa engeri eno ey’empuliziganya okutegeeza ab’omu maka go ne mikwano gyo ebikukwatako, bintu ki ‘ebitagasa’ ebiyinza okukwataganyizibwa n’okukozesa obubi engeri eno ey’empuliziganya?—Nge. 12:11.
2 Bye Tulina Okwegendereza nga Tukozesa Kompyuta mu Mpuliziganya: Abamu bagamba nti baba n’empuliziganya ennungi okusingawo n’ekibiina kya Yakuwa bwe bafuna obubaka bwe batwala ng’obuppya okuyitira ku kompyuta. Obubaka ng’obwo buyinza okuzingiramu ebintu ebyatuuka ku balala, ebyogeddwa ku Beseri, lipoota ezikwata ku butyabaga oba okuyigganyizibwa, wadde n’ebintu eby’ekyama ebiba birangiddwa mu Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka. Abamu baagala nnyo okuweereza obubaka ng’obwo, basobole okubeera abasoose okubutegeeza mikwano gyabwe.
3 Ebiseera ebimu, obubaka ng’obwo bunyoolebwanyoolebwa oba bukyusibwamu. Oboolyawo, olw’okwagala okuwuniikiriza abalala, abamu bawa ekifaananyi ekitali kituufu. Emirundi mingi, abo abanguyiriza okubikkula ebintu ng’ebyo, baba tebalina bukakafu bujjuvu. (Nge. 29:20) Ebiseera ebimu ekyogerwako ne bwe kiba nga kibuusibwabuusibwa, bo tebalonzalonza kukitegeeza balala. Obubaka ng’obwo obutali butuufu oba obubuzaabuza buyinza okufaanagana ‘n’enfumo ez’obulimba,’ ezitakubiriza kutya Katonda okwa nnamaddala.—1 Tim. 4:6, 7.
4 Singa oweereza abalala obubaka obutali butuufu, gw’oba ovunaanyizibwa olw’ennaku oba okubuzaabuzibwa kwe bayinza okufuna. Dawudi bwe yafuna obubaka obukyamu nti abaana be bonna battiddwa, ‘yayuza engoye ze’ mu nnaku empitirivu. Naye ng’ate ekituufu kyali nti, mwana we omu yekka ye yali afudde. Ekyo ku bwakyo kyali kinakuwaza nnyo, naye okusavuwaza okwo kwaleetera Dawudi okunakuwala ekisukkiridde. (2 Sam. 13:30-33) Mazima ddala, tetwandyagadde kukola kintu kyonna ekiyinza okubuzaabuza oba okumalamu baganda baffe amaanyi.
5 Omukutu Katonda gw’Akozesa: Mukijjukire nti Kitaffe ow’omu ggulu alina omukutu gw’ayitiramu, “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” “Omuddu” oyo y’alina obuvunaanyizibwa okusalawo ebirina okutegeezebwa abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza, era ‘n’ekiseera ekituufu’ kye balina okutegeezebwamu. Emmere eyo ey’eby’omwoyo esangibwa mu kibiina kya Yakuwa mwokka. Buli kiseera twandibadde tutunuulira omukutu Katonda gw’akozesa okusobola okufuna obubaka obwesigika, so si okuyitira ku mikutu gya Internet.—Mat. 24:45.
6 Emikutu gya Internet: Tulina omukutu gwa Internet omutongole: www.watchtower.org. Omukutu guno gusobola bulungi nnyo okutuusa obubaka ku bantu bonna. Tekyetaagisa muntu yenna, akakiiko oba ekibiina okubaako bye bategeka ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa okubiteeka ku mukutu gwa Internet. Abamu batadde ku mikutu gya Internet ebintu ebiri mu bitabo byaffe n’ebyawandiikibwa byonna awamu n’ebitabo ebirala ebiba bijuliziddwa, era n’emboozi ez’omu lukuŋŋaana olunene. Ka babe nga balina kye bafuna mu ekyo oba nedda, omuze ogw’okukoppolola n’okubunyisa ebiri mu bitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa ku kompyuta, guba gumenya etteeka erikwata ku bwannannyini obw’okukuba ebitabo mu kyapa. Wadde ng’abamu bayinza okugamba nti baba bayamba baganda baabwe, ekyo tekikkirizibwa era kisaanidde okukomezebwa.
7 Singa tukozesa bulungi kompyuta mu mpuliziganya, obwo bujja kuba bukakafu obulaga nti ebirowoozo byaffe bijjuziddwa ‘obugagga bwonna obw’omuwendo era obusanyusa.’—Nge 24:4.