Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Kisaanira okuteeka endagiriro ezaffe ku bwaffe ku bitabo bye tugabira abantu?
Ababuulizi abamu bateeka endagiriro zaabwe ku magazini oba ku tulakiti ze bagabira abantu. Kino kisobozesa abo ababa baweereddwa ebitabo byaffe okuwuliziganya n’ababuulizi abo, okusobola okumanya ebisingawo. Ebyo byonna bikolebwa okusobola okuyamba abo abaagala okumanya ebisingawo. Wadde kiri kityo, ku lupapula olusembayo olwa magazini zaffe ne tulakiti kubaako omukutu gwaffe omutongole ogwa Internet. N’olwekyo, kiba kirungi ne tutassa ndagiriro zaffe ku bwaffe ku bitabo bye tuwa abantu.
Kiri eri buli mubuulizi okwesalirawo obanga anaawandiika endagiriro ye ku lupapula olwawufu n’agiwa abo b’abuulira, naddala ku mulundi gw’aba azzeeyo okubakyalira. Ffe tusaanidde okuddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo mu kifo ky’okubaleka bo ne batunoonya. Kyangu okwoleka okufaayo okwannamaddala bw’oyogera n’omuntu maaso ku maaso.