Obuweereza obw’Ekikristaayo—Omulimu Gwaffe Ogusingayo Obukulu
1 Ffenna tulina emirimu egitali gimu gye tuteekwa okukola. Okulabirira ab’omu maka gaffe buvunaanyizibwa Katonda bw’atusuubira okutuukiriza. (1 Tim. 5:8) Kyokka, mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo tetusaanidde kusuula muguluka obuvunaanyizibwa obukulu obw’okubuulira obwakabaka n’okufuula abayigirizwa.—Mat. 24:14; 28:19, 20.
2 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako eky’okugoberera ku bikwata ku ‘kusooka okunoonya obwakabaka.’ (Mat. 6:33; 1 Peet. 2:21) Wadde teyalina bya bugagga bingi, yeemalira mu kukola Kitaawe by’ayagala. (Luk. 4:43; 9:58; Yok. 4:34) Yafuba okuwa obujulirwa buli wonna we yafuniranga akakisa. (Luk. 23:43; 1 Tim. 6:13) Yakubiriza abayigirizwa be okulaga obunyiikivu bwe bumu mu mulimu gwa makungula.—Mat. 9:37, 38.
3 Okukoppa Yesu Leero: Tusobola okukoppa ekyokulabirako kya Yesu nga tunyiikirira obuweereza obw’Ekikristaayo. Bwe tuba n’ebyetaago eby’obulamu, ka tusseyo omwoyo ku kubuulirira kwa Baibuli nga tetwemalira ku kukuŋŋaanya bintu eby’ensi eno. (Mat. 6:19, 20; 1 Tim. 6:8) Nga kiba kirungi nnyo okusingawo bwe tunoonya engeri ey’okugaziyaamu omulimu gwaffe ogw’okubuulira! Bwe twolekagana n’embeera enzibu, ka tulage obunyiikivu nga Yesu bwe yalaga ebizibu by’obulamu bireme kutwerabiza omulimu gwaffe omukulu ogw’okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka.—Luk. 8:14; 9:59-62.
4 N’abo abalina obuvunaanyizibwa obungi basobola okussa omulimu gw’okubuulira mu kifo ekisooka. Ow’oluganda omu alina amaka amanene, n’omulimu ogw’obuvunaanyizibwa, era aweereza ng’omukadde mu kibiina Ekikristaayo agamba: “Okubuulira nkutwala ng’omulimu gwange ogusinga obukulu.” Mwannyinaffe omu aweereza nga payoniya agamba: “Obwapayoniya bukulu nnyo okusinga omulimu omulala gwonna.”
5 Ka tubeere mu mbeera ki, tuyinza okugoberera ekyokulabirako kya Yesu. Tutya? Nga tufuula obuweereza obw’Ekikristaayo omulimu gwaffe ogusingayo obukulu.