LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 7/10 lup. 1
  • Kye Tusinga Okutwala ng’Ekikulu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kye Tusinga Okutwala ng’Ekikulu
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Similar Material
  • Otuukiriza Obuweereza Bwo mu Bujjuvu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Kiki ky’Okulembeza?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • ‘Tambulira mu Bigere Bye’
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Obuweereza obw’Ekikristaayo—Omulimu Gwaffe Ogusingayo Obukulu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
km 7/10 lup. 1

Kye Tusinga Okutwala ng’Ekikulu

1. Yesu yakyoleka atya nti obuweereza kye kintu ekyali kisinga obukulu mu bulamu bwe?

1 Obuweereza kye kintu ekyali kisinga obukulu mu bulamu bwa Yesu. Yali munyiikivu nnyo, ng’atambula ebikumi n’ebikumi bya mayiro okwetooloola Palesitayini asobole okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka. Obulamu bwe teyabumalira ku kunoonya bintu wabula ebiseera bye ebisinga obungi yabimalira mu buweereza. (Mat. 8:20) Ebibiina by’abantu bwe baali bagezaako okumukuumira mu kifo kimu nga baagala awonye abalwadde baabwe, yagamba nti: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga nnatumibwa lwa nsonga eyo.”—Luk. 4:43.

2. Lwaki obuweereza kyali kintu kikulu nnyo mu bulamu bwa Yesu?

2 Lwaki obuweereza kyali kintu kikulu nnyo mu bulamu bwa Yesu? Ekiruubirirwa kye ekikulu kwali kutukuza linnya lya Yakuwa. (Mat. 6:9) Yayagala nnyo Kitaawe ow’omu ggulu era okwagala okwo kwe kwamukubiriza okutuukiriza Kitaawe by’ayagala n’okugondera amateeka ge gonna. (Yok. 14:31) Okugatta ku ekyo, yafangayo nnyo ku bantu era yayagala okubayamba.—Mat. 9:36, 37.

3. Tuyinza tutya okukyoleka nti obuweereza bwe tutwala ng’ekintu ekisinga obukulu?

3 Koppa Yesu: Okukulembeza obuweereza nga Yesu bwe yakola kiyinza obutaba kyangu kubanga ensi etutwalako ebiseera bingi era erina ebintu bingi ebiyinza okutuwugula. (Mat. 24:37-39; Luk. 21:34) N’olwekyo, tusaanidde okumanya ebintu ebisinga obukulu, nga tufissaawo akadde okweteekerateekera n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira obutayosa. (Baf. 1:10) Tufuba obutamalira bulamu bwaffe ku kunoonya bintu era ne twewala n’okukozesa ensi mu bujjuvu.—1 Kol. 7:31.

4. Lwaki kikulu nnyo kati okweyongera okutwala obuweereza bwaffe nga kye kintu ekisinga obukulu?

4 Ebiseera bwe biba ebitono, omuntu omugezi asooka kukola ekyo ekisinga obukulu. Ng’ekyokulabirako, bw’amanya nti akatyabaga kajja, amaanyi ge n’ebiseera bye ajja kusinga kubimalira ku kuteekateeka ngeri ya kuwonyawo ba mu maka ge era n’okulabula baliraanwa be. Asooka n’aleka ebintu ebitali bikulu nnyo. Ekiseera ekisigaddeyo Kalumagedoni atuuke kitono ddala. (Zef. 1:14-16; 1 Kol. 7:29) Okusobola okwerokola n’okulokola abo abatuwuliriza, tusaanidde okussaayo omwoyo ku bintu ebitukwatako ne kukuyigiriza kwaffe, ka tube mu kibiina oba awantu awalala. (1 Tim. 4:16) Yee, okusobola okuwonawo tulina okutwala obuweereza bwaffe nga kye kintu ekisinga obukulu!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share