Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Okuyiga kwa Baibuli ng’amaka kwandiragiddwa ku lipoota y’ekibiina?
Singa omuzadde Omukristaayo akubiriza okuyiga kwa Baibuli okw’amaka ge, nga mulimu abaana abatali babatize, omuzadde oyo awaayo essaawa emu yokka buli wiiki, okuddiŋŋana kwa mulundi gumu, era n’abala omuyizi wa Baibuli omu buli mwezi. Kino bwe kityo bwe kirina okuba ne bwe kiba nti okuyiga kw’amaka kusukka mu ssaawa emu, kubaawo emirundi egisukka mu gumu mu wiiki, oba nga buli mwana asomesebwa kinnoomu.—Laba akatabo Our Ministry, lup. 104.
Bwe kiba nti ab’omu maka bonna Bajulirwa ababatize, awo nno essaawa n’okuyiga tebigattibwa ku lipoota y’obuweereza bw’ennimiro (okuggyako ng’omwana akyasoma akatabo ak’okubiri oluvannyuma lw’okubatizibwa). Kino kiri bwe kityo olw’okuba lipoota y’obuweereza ey’ekibiina eraga ebyo byokka ebituukiddwako mu kubuulira amawulire amalungi n’okuyigiriza amazima ga Baibuli eri abo abatannaba kwewaayo era ne babatizibwa ng’abaweereza ba Yakuwa. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Kyokka, ekyo tekiggyawo bukulu bwa kuyiga Baibuli ng’amaka obutayosa.
Buvunaanyizibwa bw’abazadde Abakristaayo okuyiga n’abaana baabwe. Abo abeetaaga obuyambi okusobola okuba n’okuyiga kw’amaka oba okukulongoosaamu, basobola okusaba abakadde okubayamba. Bwe kiba kyetaagisa omubuulizi omulala okuyiga Baibuli n’omwana atannabatizibwa ava mu maka Amakristaayo ag’omu kibiina ekyo, omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde oba omulabirizi w’obuweereza alina okwebuuzibwako. Singa okuyigiriza omuntu ng’oyo kukkirizibwa, oyo aba amuyigiriza ayinza okuwaayo lipoota nga bwe yandikoze ku muyizi omulala yenna owa Baibuli.
Okutendeka abaana mu kkubo lya Yakuwa kitwala ebiseera n’okufuba kwa maanyi nnyo okusinga bwe kiragibwa ku lipoota y’obuweereza bw’ennimiro. (Ma. 6:6-9; Nge. 22:6) Abazadde Abakristaayo balina okwebazibwa ennyo olw’okwetikka obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okukuliza abaana baabwe “mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa [Yakuwa].”—Bef. 6:4.