Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jan. 15
“Olw’okuba ebisuubizo bingi tebituukirizibwa ennaku zino, bangi bakisanga nga kizibu okwesiga omuntu yenna. Olowooza waliwo ebisuubizo by’omuntu yenna bye tuyinza okwesiga? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Yoswa 23:14.] Magazini eno eraga engeri gye tuyinza okwesiga ebisuubizo bya Katonda ebiri mu Baibuli.”
Awake! Jan. 22
“Erinnya lya Katonda lifaanana bwe liti mu lulimi Olwebbulaniya. [Mulage eddiba lya magazini.] Abantu abamu bagamba nti erinnya lino teririna kwatulwa. Kyokka abalala tebalina nkenyera mu kulikozesa. Magazini eno eya Awake! eyogera ku nsonga eno. Ate era ennyonnyola engeri gye tuyinza okumanyamu Katonda nga tukozesa erinnya lye.” Soma Zabbuli 83:18.
The Watchtower Feb. 1
“Abasinga obungi ku ffe tufaayo ku mbeera y’obulamu bwaffe. Kyokka, okunoonyereza okukoleddwa gye buvuddeko awo kulaga nti embeera y’obulamu bwaffe ekwatibwako embeera yaffe ey’eby’omwoyo. Olowooza ekyo kituufu? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Matayo 5:3.] Magazini eno eya Watchtower ennyonnyola engeri gye tuyinza okukola ku byetaago byaffe eby’eby’omwoyo.”
Awake! Feb. 8
“Abantu bangi bakola nnyo ennaku zino ne kiba nti beetaaga okuwummulamu ekisingawo. Oboolyawo ojja kukkiriziganya n’ebigambo bino ebyawandikiibwa emyaka egissuka mu 3,000 emabega. [Soma Omubuulizi 4:6. Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eya Awake! etuyamba okumanya era n’okwaŋŋanga ekizibu ky’obuteebaka kimala.”