Okubuulira Amawulire ag’Obwakabaka—Nkizo ya Muwendo
1 Buli lunaku, obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu baganyulwa mu bintu Yakuwa bye yakola ebisobozesa obulamu okubaawo ku nsi. (Mat. 5:45) Kyokka, batono nnyo abasiima Omutonzi waabwe nga babuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Mat. 24:14) Enkizo eno ogitwala nga ya muwendo kwenkana wa?
2 Okubuulira amawulire ag’Obwakabaka, kiweesa Katonda ekitiibwa era ne kireetera abanakuwadde olw’embeera embi eziriwo, okufuna essuubi n’emirembe. (Beb. 13:15) Abo abasiima obubaka buno, bafuna essuubi ery’obulamu obutaggwaawo. (Yok. 17:3) Mulimu ki mu nsi oguvaamu emiganyulo ng’egyo? Engeri omutume Pawulo gye yatuukirizaamu obuweereza bwe yalaga nti yali abusiima. Yabutwala nga bwa muwendo.—Bik. 20:20, 21, 24; 2 Kol. 4:1, 7.
3 Okutwala Enkizo Yaffe nga ya Muwendo nnyo: Engeri emu gye tulagamu nti tusiima enkizo ey’okubuulira, kwe kufaayo ennyo ku ngeri gye tutuukirizaamu obuweereza bwaffe. Tuwaayo ebiseera ebimala okuteekateeka ennyanjula eneetuuka ku mitima gy’abo abanaatuwuliriza? Tusobola okulongoosa mu ngeri gye tukozesaamu Ebyawandiikibwa ne mu ngeri gye tukubaganyaamu ebirowoozo n’abantu? Tufuba okutuuka ku buli muntu mu kitundu kye tubuuliramu? Tumanyi engeri y’okutandikamu okuyigiriza abantu Baibuli? Okufaananako Abakristaayo abeesigwa, ab’edda n’ab’omu kiseera kino, tukubirizibwa endowooza ennungi gye tulina ku mulimu guno era enkizo yaffe tugitwala nga ya muwendo.—Mat. 25:14-23.
4 Bwe tuba nga tukaddiye, nga tuli balwadde, oba nga tuli mu mbeera endala yonna enzibu, kituzzaamu nnyo amaanyi bwe tumanya nti tusiimibwa nnyo olw’okufuba okwenyigira mu buweereza. Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti Yakuwa atusiima nnyo bwe tufuba okumuweereza, ka kibe nga kye tukola kiyinza okulabika ng’ekitono mu maaso g’abalala.—Luk. 21:1-4.
5 Okubuulira amawulire ag’Obwakabaka kireeta obumativu. Mwannyinaffe ow’emyaka 92 yagamba: “Nga nkizo ya maanyi okumala emyaka egisukka mu 80 nga mpeereza Katonda—awatali kwejjusa! Singa nnali nsobola okudda obuto, obulamu bwange nnandibukozesezza mu ngeri y’emu, kubanga ‘ekisa kya Katonda kisinga obulamu.’” (Zab. 63:3) Ka enkizo eno Katonda gy’atuwadde ey’okubuulira ku Bwakabaka tugitwale nga ya muwendo.