Enkizo Yo ey’Obuweereza Gitwale nga ya Muwendo
1. Abantu bangi mu nsi batwala batya omulimu gwaffe ogw’okubuulira?
1 Abantu bangi mu nsi ya Sitaani batwala omulimu gwaffe ogw’okubuulira ng’ekintu ‘eky’obusirusiru.’ (1 Kol. 1:18-21) Bwe tuteegendereza, endowooza eno enkyamu eyinza okutumalamu amaanyi oba okutuleetera okuddirira. (Nge. 24:10; Is. 5:20) Nsonga ki ezituleetera okutwala enkizo yaffe ey’okuba Abajulirwa ba Yakuwa nga ya muwendo?—Is. 43:10.
2. Lwaki okubuulira ‘mulimu mutukuvu’?
2 ‘Omulimu Omutukuvu’: Omutume Pawulo yayogera ku buweereza bwe nga ‘omulimu omutukuvu.’ (Bar. 15:15, 16) Lwaki okubuulira ‘mulimu mutukuvu’? Okugwenyigiramu kitusobozesa ‘okukolera awamu’ ne Yakuwa “Omutukuvu,” era kitukuza erinnya lye. (1 Kol. 3:9; 1 Peet. 1:15) Okubuulira kwaffe Yakuwa akutwala nga “ssaddaaka ez’okutendereza,” n’olwekyo okubuulira kintu kikulu nnyo mu kusinza kwaffe.—Beb. 13:15.
3. Lwaki okubuulira amawulire amalungi nkizo ya kitalo?
3 Okubuulira amawulire amalungi nkizo ya maanyi nnyo era nga bantu batono nnyo abaweereddwa enkizo eno. Bamalayika bandibadde basanyufu nnyo okukola omulimu guno era bandigukoze mu ngeri esingirayo ddala obulungi. (1 Peet. 1:12) Wadde kiri kityo, enkizo eno ey’ekitalo Yakuwa agiwadde ffe abantu abatatuukiridde, ‘ebibya eby’ebbumba’!—2 Kol. 4:7.
4. Tuyinza kulaga tutya nti okubuulira tukutwala nga kwa muwendo?
4 Ekisinga Obukulu: Olw’okuba tutwala enkizo yaffe nga ya muwendo, okubuulira tukutwala ng’ekimu ku ‘bintu ebisinga obukulu’ mu bulamu bwaffe. (Baf. 1:10) N’olwekyo, tuwaayo ebiseera buli wiiki okubuulira. Omukubi w’ebivuga asiima enkizo ey’okukolera awamu n’abakubi b’ebivuga abamanyiddwa mu nsi yonna yeeteekateeka bulungi buli lwe baba bagenda okukubira abantu ebivuga era afuba nnyo okwongera ku bumanyirivu bw’alina. Mu ngeri y’emu, tujja kweteekateeka bulungi nga tetunnagenda kubuulira kitusobozese ‘okukwata ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu,’ era tujja kufuba okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu.—2 Tim. 2:15; 4:2.
5. Ani asiima obuweereza bwaffe?
5 Tokkiriza ndowooza y’abantu abasinga obungi kukumalamu maanyi. Kijjukire nti wakyaliyo abantu bangi mu kitundu kyaffe abasiima obubaka bwaffe. Ate era, tetunoonya kusiimibwa bantu. Ekisinga obukulu y’engeri Yakuwa gy’atwalamu obuweereza bwaffe, obunyiikivu bwaffe abutwala nga bwa muwendo.—Is. 52:7.