LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 6/06 lup. 3-4
  • Lindirira Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lindirira Yakuwa
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Similar Material
  • Ekiseera eky’Okuliisibwa mu by’Omwoyo n’Okusanyuka
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Goberera Kristo nga Weeyisa mu Ngeri Eweesa Yakuwa Ekitiibwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Tendereza Yakuwa mu Kibiina Ekinene
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Enkuŋŋaana za Disitulikiti—Ekiseera eky’Okusinza okw’Essanyu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 6/06 lup. 3-4

Lindirira Yakuwa

1. Omutwe gw’olukuŋŋaana lwa disitulikiti gwe guluwa, era lwaki gutuukirawo?

1 Isaaya yawandiika nti: “Mukama Katonda alaba ensonga; balina omukisa bonna abamulindirira.” (Is. 30:18b) Baibuli erimu ebyokulabirako bingi ebiraga nga Katonda azikiriza abalabe be era ng’anunula abaweereza be abeesigwa. Ebyokulabirako ng’ebyo biyigiriza ki abasinza ba Yakuwa leero? Tuyinza kukola ki okweteekerateekera ‘olunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa’? (Yo. 2:31, 32) Olukuŋŋaana lwaffe olwa Disitulikiti olulina omutwe “Okununulibwa Kuli Kumpi!” lujja kutuyamba okufumiitiriza ku bibuuzo ebyo era n’okwekebera ffekka. Era lujja kutuyamba okusigala nga tulindirira Yakuwa.

2. Tusobola tutya okulaga nti olukuŋŋaana lwa disitulikiti tulutwala nga lukulu?

2 Okoze enteekateeka ezinaakusobozesa okubeerawo ennaku zonna essatu osobole okuganyulwa? Ng’ekyokulabirako, osabye olukusa ku mulimu obutakola ennaku ezo essatu osobole okubaawo mu lukuŋŋaana? Kino olina okukikola nga bukyali. Nga tonnaba kusaba lukusa, ensonga eno sooka ogitegeeze Yakuwa mu kusaba. (Nek. 2:4, 5) Mu ngeri y’emu, tusaanidde okukola enteekateeka ezikwata ku by’entambula, eby’ensula, n’ebintu ebirala ebyetaagisa nga bukyali. Bwe tukola bwe tutyo, kiba kiraga nti tusiima emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atutegekedde. Abakadde balina okufaayo ku abo abali mu kibiina abeetaaga okuyambako mu kwetegekera olukuŋŋaana, naddala bannamukadde.​—Bag. 6:10.

3. Abantu ba Yakuwa basaanidde kwoleka ngeri ki nga bali mu kibuga awali olukuŋŋaana?

3 Empisa Ennungi Ziweesa Katonda Ekitiibwa: Bwe tuba awamu mu nkuŋŋaana ennene, empisa zaffe ennungi ziwa abantu abatulaba obujulirwa. Kino kiba kitwetaagisa kukola ki? Bwe tuba mu wooteeri, oba mu bifo omuliirwa emmere, n’ebyo omukolerwa bizineesi ebiri mu kitundu awali olukuŋŋaana, abo be tukolagana nabo balina okulabawo enjawulo olw’engeri zaffe ez’Ekikristaayo gamba ng’obugumiikiriza, obuwombeefu, okwefuga, n’obutaba bakakanyavu. (Bag. 5:22, 23; Baf. 4:5) Ffenna tusaanidde okwoleka okwagala okwogerwako nti “tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo.” Ne bwe tuba tufunye obuzibu oba nga tukaluubiriziddwa, twagala ‘okukola byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.’​—1 Kol. 10:31; 13:5.

4. Abazadde basobola batya okuyamba abaana baabwe okweyisa mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa?

4 Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olumu, maneja wa wooteeri yakwatibwako nnyo olw’engeri ennungi abavubuka gye baali beeyisaamu n’endabika yaabwe, bwe kityo n’agamba nti mwetegefu “okusuza Abajulirwa ba Yakuwa mu wooteeri ye wonna we baba bajjidde.” Ebigambo ebyo nga bizzaamu nnyo amaanyi! Kino kiraga nti abazadde bakola kinene nnyo mu kutendeka n’okuwa abaana baabwe obulagirizi. Tekyandibadde kya magezi abazadde okuleka abaana baabwe okusula mu wooteeri oba mu kisulo nga tebaliiko abalabirira. Abaana tebeetaaga kuggibwako liiso. (Nge. 29:15) Ka empisa zaabwe ennungi ziweese Yakuwa ekitiibwa era zisanyuse omutima gwe!​—Nge. 27:11.

5. Engeri gye twambalamu ne gye twekolako eyinza etya okuweesa Yakuwa ekitiibwa?

5 Ennyambala n’Okwekolako Ebisaanira: Buli omu ku ffe asobola okuwa ekifaananyi ekirungi ku lukuŋŋaana nga yeewala emisono gy’engoye n’okwekolako ebitasaana. Kino kirina kuba bwe kityo nga tugenda oba nga tuva ku lukuŋŋaana, nga tulongoosa ekifo awanaabeera olukuŋŋaana, oba nga tuli mu lukuŋŋaana. Ng’abaweereza ba Katonda, tetukulembeza ebyo ffe bye twagala wabula tufaayo nnyo obutassa kivume ku linnya lya Yakuwa. Oyo atwala obukulembeze mu maka alina okukakasa nti ab’omu maka ge baambala era ne beekolako mu ngeri esaanira.​—1 Tim. 2:9.

6. Lwaki engeri gye twambalamu nga tuli mu lukuŋŋaana ne mu biseera byaffe eby’eddembe yandibadde eweesa ekitiibwa?

6 Tulina okwambala n’okwekolako mu ngeri esaanira mu biseera byaffe eby’eddembe gamba nga tuli mu bifo gye tusula, nga tugenze ku maduuka ne mu bifo omuliirwa emmere. Kirungi ne tusigala mu ngoye ze twagendeddemu ku lukuŋŋaana bwe tuba nga tulinako we tugenda okulya. Bwe tusigala nga twambadde baagi zaffe, kireetawo akakisa ak’okubuulira embagirawo.​—2 Kol. 6:3, 4.

7. Tuyinza kukola ki okuweesa olukuŋŋaana lwa disitulikiti ekitiibwa n’okulaba nti luba lwa ssanyu? (Laba “Eby’Okujjukira Ebikwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti.”)

7 Isaaya yagamba nti: ‘Mukama kyaliva alinda, abakwatirwe ekisa era yeetegese okubasaasira.’ (Is. 30:18a) Bwe tusiima ekisa kya Yakuwa ekitatusaanira, kituleetera okweyisa era n’okwambala mu ngeri emuweesa ekitiibwa nga tugenze mu nkuŋŋaana ennene. Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti luno, “Okununulibwa Kuli Kumpi!” ka luweese Katonda waffe ekitiibwa era lutuyambe okumulindirira!

[Akasanduuko akali ku olupapula 5]

Eby’Okujjukira Ebikwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti

◼ Aw’Okusimba Mmotoka: Buli awanaabeera olukuŋŋaana, wajja kubaawo ekifo ekirungi aw’okusimba mmotoka ku bwereere, era anaasooka y’ajja okusooka okufiibwako. Bubaagi bwe bujja okusinziirwako okukuwa ekifo w’onoosimba emmotoka yo.

◼ Aw’Okutuula: Abo bokka be watambudde nabo oba ab’omu maka go b’oyinza okukwatira ebifo.

◼ Ebifo Omuliirwa Emmere: Mu bitundu ebimu kiba kya mpisa okuwa akasiimo oyo aba atuweerezza.

◼ Eky’emisana: Osabibwa okuleeta eby’okulya mu kifo ky’okugenda okubigula mu biseera by’okuwummula. Oyinza okubissa mu ka konteyina akatonotono akagya wansi w’entebe yo. Eby’okuteekamu emmere ebinene ennyo, ebyatika n’ebitamiiza tebikkirizibwa mu lukuŋŋaana.

◼ Essaawa za Programu: Buli lunaku, Programu ejja kutandikanga ku ssaawa 3:30. Abantu bayinza okutandika okutuuka awanaaba olukuŋŋaana okuva ku ssaawa 2:00. Ng’ekyabulayo eddakiika ntonotono ekitundu kitandike, ssentebe ajja kutuula ku pulatifomu era obuyimba butandike. Ffenna tusaanidde okukkalira mu bifo byaffe mu kiseera ekyo, programu esobole okutandika mu ngeri eweesa ekitiibwa. Ku Lwokutaano programu ejja kufundikirwa ku ssaawa 11:15, ku Lwomukaaga ku ssaawa 11:05, ate ku Ssande efundikirwe ku ssaawa 10:10.

◼ Foomu Ezikwata ku Baagala Okumanya Ebisingawo: Foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) esaanidde okujjuzibwa bwe wabaawo ayagala okumanya ebisingawo aba abuuliddwa embagirawo mu lukuŋŋaana olunene. Ababuulizi basaanidde okujja ne foomu emu oba bbiri ku lukuŋŋaana. Foomu zino tusobola n’okuzifuna mu Kitongole Ekikola ku Bitabo. Foomu ezimaze okujjuzibwa zisobola okuweebwayo mu Kitongole Ekikola ku Bitabo oba okuweebwa omuwandiisi w’ekibiina kyo.​—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali 2005, lup. 6.

◼ Obubenje n’Ebizibu Ebigwawo Obugwi: Singa wabaawo omuntu afuna obulwadde obw’amangu ng’ali ku lukuŋŋaana, musabibwa okutuukirira omu ku baaniriza abagenyi, ajja okutegeeza Ekitongole Ekiwa Obujjanjabi obw’Amangu omulwadde asobole okufuna obuyambi. Bwe kiba kyetaagisa, omulwadde asobola okutwalibwa mu ddwaliro eriri okumpi.

◼ Obusimu obw’Omu Ngalo: Bw’oba olina akasimu ak’omu ngalo, kakasa nti tekataataaganya balala.

◼ Obuwoowo: Enkuŋŋaana ezimu zibeera mu bizimbe ebitaliimu biwujja mpewo. Mu mbeera bw’etyo, kyandibadde kirungi ne tuteekuba buwoowo buwunya nnyo obuyinza okuyisa obubi abalala.​—1 Kol. 10:24.

◼ Okukuba Ebifaananyi: Bw’oba okuba ebifaananyi ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso, tokozesa bimyanso.

◼ Okukwata Amaloboozi n’Ebifaananyi: Bw’oba olina ebyuma ebikwata amaloboozi n’ebifaananyi, toteekwa kubiyunga ku masannyalaze oba ebyuma by’amaloboozi ebikozesebwa mu kifo awali olukuŋŋaana. Bw’oba okozesa ebyuma byo, olina okulaba nti totaataaganya balala.

◼ Okuwaayo: Ssente ezisaasaanyizibwa okutegeka olukuŋŋaana lwa disitulikiti ziba nnyingi. Tuyinza okulaga okusiima nga tuwaayo kyeyagalire okuwagira omulimu gw’ensi yonna ogw’okubuulira nga tuli mu Kizimbe ky’Obwakabaka oba nga tuli mu lukuŋŋaana olunene.

◼ Wooteeri: (1) Saba ebisenge byokka bye munaakozesa, era abasulamu tebalina kusukka muwendo ogukkirizibwa. (2) Singa weesanga ng’ekisenge ky’osabye tojja kukikozesa, tegeerezaawo abo be kikwatako. (3) Tofumbira mu kifo singa kiba tekikkirizibwa. (4) Oyo alabirira ekifo w’osula muwe akasiimo. (5) Fuba okwoleka ebibala eby’omwoyo bw’oba okolagana n’abo abakola mu wooteeri, naddala mu biseera ng’abagenyi ab’okukolako bangi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share