Enkuŋŋaana za Disitulikiti—Ekiseera eky’Okusinza okw’Essanyu
1. Embaga ezaabangawo mu Isiraeri zifaananako zitya n’enkuŋŋaana zaffe eza Disitulikiti?
1 Yusufu, Maliyamu, abaana baabwe, n’abantu abalala baagendanga e Yerusaalemi okukwata embaga ezaabangawo buli mwaka. Ku mikolo nga gino, bo n’abalala abaagendanga okusinza tebaaganyanga bizibu byabwe kubalemesa kufaayo ku bintu eby’omwoyo ebyali bisinga obukulu mu bulamu bwabwe. Embaga zino zaabasobozesanga okulowooza ennyo n’okwogera ku bulungi bwa Yakuwa era n’okufumiitiriza ku mateeka ge. Mu ngeri y’emu, enkuŋŋaana zaffe eza Disitulikiti ezinaatera okubaawo zijja kutusobozesa okusinza Yakuwa n’essanyu.
2. Kiki kye tusaanidde okukola okweteekerateekera olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olunaatera okubaawo?
2 Kitwetaagisa Okweteekateeka: Okuva e Nazaaleesi okugenda e Yerusaalemi n’okudda, Yesu n’abo be yabeeranga nabo awaka kyabeetaagisanga okutambula mayiro nga 120. Wadde nga tetumanyi muwendo gwa baganda ba Yesu ne bannyina, tusobola okulowooza ku kufuba n’enteekateeka Yusufu ne Maliyamu ze baalinanga okukola. Omaze okukola enteekateeka ezeetaagisa okusobola okubeerawo mu nnaku zonna essatu ez’olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olunaatera okubaawo? Kino kiyinza okukwetaagisa obutakola oba okusaba olukusa okuva eri mukama wo oba okutegeeza omusomesa nti omwana wo tajja kubeerayo ku ssomero mu nnaku ezo. Omaze okufuna wooteeri mw’onoosula bwe kiba nga kyetaagisa? Bwe wabaawo omuntu yenna mu kibiina alina obwetaavu obw’enjawulo, oyinza okubaako ne ky’okolawo okumuyamba asobole okubeerawo mu lukuŋŋaana olwo?—1 Yok. 3:17, 18.
3. Embaga za lsiraeri zaasobozesanga zitya abo abaasinzanga Yakuwa okuzziŋŋanamu amaanyi?
3 Emikwano Egizimba: Embaga z’Abayudaaya zaasobozesanga abo abaasinzanga Yakuwa okuzziŋŋanamu amaanyi. Awatali kubuusabuusa, Yesu n’abo be yabeeranga nabo awaka beesunganga nnyo okuddamu okulaba ku mikwano gyabwe. Era baanyumirwanga okukola emikwano mu bibiina by’Abayudaaya n’abakyufu abaabangawo oba be baabanga nabo nga bagenda oba nga bakomawo okuva e Yerusaalemi.
4. Tuyinza tutya okulaga nti oluganda lwaffe olw’ekikristaayo oluli obumu tulutwala nga lwa muwendo?
4 Emu ku nsonga lwaki omuddu omwesigwa era ow’amagezi akola enteekateeka ne tukuŋŋaana wamu okuwuliriza emboozi mu nkuŋŋaana za Disitulikiti mu kifo ky’okutuweereza emboozi ng’ezo mu bitabo eri nti tusobole okuzziŋŋanamu amaanyi. (Beb. 10:24, 25) N’olwekyo, kola enteekateeka osobole okutuuka mu lukuŋŋaana nga bukyali buli lunaku kikusobozese okunyumyamu n’abalala nga ssentebe tannayanjula buyimba obututegeeza nti kye kiseera okutuula mu bifo byaffe. Ekitundu ekyokumakya nga kiwedde, mu kifo ky’okuva awali olukuŋŋaana okugenda okunoonya eky’okulya, tukubirizibwa okujja n’eky’okulya ekitonotono tusobole okusigala awali olukuŋŋaana nga tunyumyamu n’abalala. Oluganda lwaffe olw’Ekikristaayo oluli obumu kirabo okuva eri Yakuwa era ffenna tusaanidde okukisiima.—Mi. 2:12.
5. Kiki ekinaatuyamba okuganyulwa mu bujjuvu mu lukuŋŋaana?
5 Ekiseera eky’Okuyiga: Okuviira ddala mu buto, Yesu bwe yabeeranga ku mbaga ezo yafangayo nnyo okuyiga ebikwata ku Kitaawe ow’omu ggulu. (Luk. 2:41-49) Ffe n’ab’omu maka gaffe, kiki ekinaatuyamba okuganyulwa mu bujjuvu mu lukuŋŋaana luno? Ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso, sigala mu kifo kyo era weewale okwogera we kiteetaagisiza. Fuba okulaba nti essimu yo n’ebirala ebiri ng’ebyo tebikutaataaganya oba okutaataaganya abalala. Tunuulira omwogezi era obeeko ne by’owandiika. Mutuule wamu ng’amaka okukakasa nti n’abaana bammwe bawuliriza bulungi. Akawungeezi mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebibadde mu lukuŋŋaana.
6. Kiki kye tusaanidde okulowoozaako ku bikwata ku nnyambala n’okwekolako?
6 Ennyambala n’Okwekolako: Abasuubuzi abagwira abaatambuliranga ku luguudo olugenda e Yerusaalemi, kyabanguyiranga okutegeera Yesu n’abo be yabeeranga nabo awaka awamu n’abayudaaya abalala abaabanga bagenda ku mbaga kubanga baayambalanga ebyambalo okwabanga amatanvuuwa ku nkugiro zaabyo n’akaguwa aka bbulu. (Kubal. 15:37-41) Wadde nga Abakristaayo tebambala byambalo bya njawulo, tumanyiddwa ng’abantu abambala mu ngeri esaanira era abayonjo. Tusaanidde okufaayo ennyo ku ndabika yaffe nga tugenda mu lukuŋŋaana, nga tuvaayo, era nga tuli mu kitundu olukuŋŋaana olwo mwe lunaabeera. Ne bwe tuba ab’okukyusa engoye oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, tusaanidde okwambala mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa era n’okussaako bbaagi zaffe. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kubeera ba njawulo okuva ku bantu abatali Bajulirwa era kino kijja kusikiriza abo abatulaba.
7. Lwaki twandirowoozezza ku ky’okukola nga bannakyewa ku lukuŋŋaana luno?
7 Bannakyewa Beetaagibwa: Olukuŋŋaana okusobola okutambula obulungi abakozi bangi beetaagibwa. Osobola okukola nga nnakyewa? (Zab. 110:3) Omulimu ogukolebwa ku nkuŋŋaana ennene kitundu kya buweereza bwaffe obutukuvu era guwa obujulirwa. Akulira ekifo ekimu olukuŋŋaana lwa disitulikiti we lwali yakwatibwako nnyo olwa bannakyewa abaayonja ekifo ekyo era yawandiika nti: “Njagala okubeebaza olw’omukolo guno ogunnewunyisizza ennyo okusinga emikolo emirala gyonna egyali gibaddeko mu kifo kino. Bulijjo mpulira bagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa bantu ba njawulo abaludde nga bamanyiddwa nti be bantu abaleka ekifo kino nga kiyonjo okusinga bwe baba bakisanze. Mwe n’ekibiina kyammwe mufudde ekifo kino ekifo ekirungi mu kitundu kyaffe era kino mukikoze nga muyambibwako abantu abasingayo obulungi mu bonna be twali tukolaganyeko nabo.”
8. Kakisa ki ak’okuwa obujulirwa ke tunaaba nako mu kitundu awanaaba olukuŋŋaana?
8 Emikisa egy’Okuwa Obujulirwa: Abantu bangi abali mu kitundu omunaabeera olukuŋŋaana bajja kutulaba nga twambadde bulungi, tuli bayonjo, era nga tutaddeko ne bbaagi zaffe. Kino kiyinza okubaleetera okwagala okumanya ebitukwatako, ekijja okutuwa omukisa okubabuulira ebikwata ku lukuŋŋaana. Omulenzi ow’emyaka ena yatwala ekitabo kye ekipya ekyali kifulumiziddwa ku lukuŋŋaana n’akiraga omukyala aweereza mu kifo awatundirwa emmere. Kino kyasobozesa bazadde b’omulenzi ono okuyita omukyala oyo mu lukuŋŋaana.
9. Tuyinza tutya okukoppa Yesu n’abo be yabeeranga nabo awaka abaalaga okusiima olw’enkuŋŋaana Yakuwa ze yabategekeranga?
9 Abayudaaya abaafangayo ku by’omwoyo beesunganga embaga ez’omu biseera eby’edda kubanga ekiseera ekyo kyabanga kya ssanyu. (Ma. 16:15) Yesu n’abo be yabeeranga nabo awaka baabanga basanyufu nnyo okwefiiriza ekintu kyonna okusobola okubeerayo n’okuganyulwa mu bujjuvu. Mu ngeri y’emu, naffe tusiima enkuŋŋaana za disitulikiti era tuzitwala ng’ekirabo okuva eri Kitaffe ow’omu ggulu ow’okwagala. (Yak. 1:17) Kino kye kiseera okweteekerateekera omukolo guno ogujja okutuwa akakisa okusinza Yakuwa n’essanyu!
[Akasanduuko akali ku lupapula 3]
Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti
◼ Essaawa za Programu: Buli lunaku, programu ejja kutandikanga ku ssaawa 3:20 ez’oku makya. Abantu bayinza okutandika okutuuka awanaaba olukuŋŋaana ku ssaawa 2:00 ez’oku makya. Obuyimba obuggulawo bwe butandika, ffenna tusaanidde okutuula mu bifo byaffe kisobozese olukuŋŋaana okutandika mu ngeri entegeke obulungi. Ku Lwokutaano ne ku Lwomukaaga, programu ejja kufundikirwa ku ssaawa 10:55 ez’olweggulo ate ku Ssande efundikirwe ku ssaawa 9:40 ez’olweggulo.
◼ Aw’Okusimba Ebidduka: Buli awanaabeera olukuŋŋaana wajja kubaawo ekifo ekirungi aw’okusimba ebidduka ku bwereere, era ng’anaasooka okutuuka y’ajja okusooka okufiibwako.
◼ Okukwata Ebifo eby’Okutuulamu: Abo bokka be watambudde nabo, ab’omu maka go, oba abayizi bo aba Baibuli b’oyinza okukwatira ebifo.—1 Kol. 13:5.
◼ Eky’Emisana: Osabibwa okujja n’eby’okulya mu kifo ky’okugenda okubigula mu biseera eby’okuwummulamu. Oyinza okubissa mu kantu akatonotono akagya wansi w’entebe yo. Eby’okuteekamu emmere ebinene ennyo n’ebyatika, tebikkirizibwa mu kifo awali olukuŋŋaana.
◼ Okuwaayo: Bwe tuba mu Kizimbe ky’Obwakabaka oba mu nkuŋŋaana ennene, tusobola okulaga okusiima kwaffe eri enteekateeka z’olukuŋŋaana lwa disitulikiti nga tuwaayo kyeyagalire okuwagira omulimu gw’ensi yonna ogw’okubuulira. Ceeke zonna ezinaaweebwayo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, zisaanidde kuweebwayo mu linnya lya The Registered Trustees of Christian Congregation of Jehovah’s Witnesses.
◼ Obubenje n’Ebizibu Ebigwawo Obugwi: Singa wabaawo omuntu afuna obulwadde obw’amangu ng’ali mu lukuŋŋaana, musabibwa okutuukirira omu ku abo abaaniriza abagenyi. Ow’oluganda oyo ajja kutegeeza Ekitongole Ekiwa Obujjanjabi Obusookerwako kisobozese omulwadde okufuna obuyambi. Bwe kiba kyetaagisa, ekitongole ekyo kijja kusalawo eky’okukola mu mbeera ng’eyo.
◼ Engatto ez’Okwambalwa: Buli mwaka abantu bafuna ebisago bingi ebiva ku ngatto ze baba bambadde. Mu kifo ky’okwambala engatto ez’ekisaazisaazi oba ezo ezitwalibwa ng’eziri ku mulembe, kiba kirungi ne twambala engatto ezisaanira era ezitutuuka obulungi ezinaatusobozesa okutambula obulungi ku madaala oba awalala wonna.
◼ Eby’amaloboozi: Tokkirizibwa kuyunga byuma ebikwata amaloboozi ku masannyalaze agali mu kifo awali olukuŋŋaana oba ku byuma by’amaloboozi ebikozesebwa mu lukuŋŋaana, naye oyinza okubikozesa mu ngeri etetaataaganye balala.
◼ Obuwoowo: Enkuŋŋaana ezimu zibeera munda mu bizimbe ebirimu ebyuma ebiyingiza empewo. N’olwekyo, kyandibadde kirungi ne tuteekuba buwoowo buwunya nnyo obuyinza okuyisa obubi abalala.—1 Kol. 10:24.
◼ Foomu Ezikwata ku Baagala Okumanya Ebisingawo: Foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) esaanidde okujjuzibwamu bwe wabaawo omuntu yenna abuuliddwa embagirawo ku lukuŋŋaana era ng’ayagala okumanya ebisingawo. Ababuulizi basaanidde okujja ne foomu emu oba bbiri ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Foomu ezijjuziddwamu osobola okuziwaayo eri Ekitongole Ekikola ku Bitabo oba okuziwa omuwandiisi w’ekibiina kyo ng’ozzeeyo.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2009, lup. 4.
◼ Ebifo Awatundirwa Emmere: Weeyise mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa ng’oli mu bifo ng’ebyo. Mu bitundu bingi, kiba kya buntu bulamu okulekawo akasiimo, okusinziira ku ebyo bye baba bakukoledde.
◼ Wooteeri: (1) Saba ebisenge ebyo byokka bye munaakozesa, era abasulamu tebalina kusukka muwendo ogukkirizibwa. (2) Singa weesanga ng’ekisenge ky’osabye tojja kukikozesa, tegeerezaawo abo be kikwatako. (3) Tofumbira mu bisenge bwe kiba nga tekikkirizibwa. (4) Oyo ayonja ekisenge mw’osula mulekerewo akasiimo. (5) Tosaanidde kudiibuuda ebyo ebiba bikuweereddwa okukozesa ku ky’enkya. (6) Fuba okwoleka ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo ng’okolagana n’abo abakola mu wooteeri. Bakola ku bagenyi bangi era basiima bwe tubalaga ekisa, obugumiikiriza n’obukkakkamu. (7) Singa ofuna ekizibu mu kisenge kya wooteeri ekiba kikuweereddwa, kakasa nti otegeeza Ekitongole Ekikola ku By’Ensula ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti.
◼ Okuweereza nga Bannakyewa: Essanyu lye tufuna nga tuli mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti lijja kweyongera singa tuweereza nga bannakyewa. (Bik. 20:35) Buli yenna eyandyagadde okuweereza nga nnakyewa asobola okutegeeza Ekitongole Ekikola ku Bannakyewa ku lukuŋŋaana. Abaana abali wansi w’emyaka 16 basobola okuyambako nga bakolera wansi w’obulagirizi bwa bazadde baabwe oba abo ababa bazze nabo mu lukuŋŋaana.