“Mukolenga Bwe Mutyo Okunjijukiranga Nze” Okufa kwa Yesu Kujja Kujjukirwa nga Apuli 2
1. Lwaki Apuli 2, 2007, lujja kuba lunaku lukulu nnyo?
1 Nga Apuli 2, 2007, obukadde n’obukadde bw’abantu bajja kukuŋŋaana okujjukira okufa kwa Yesu. Yesu yafa kubanga yali awagira obufuzi bwa Kitaawe, era kino kyawa obukakafu nti Setaani Omulyolyomi yali mulimba bwe yagamba nti abantu baweereza Katonda olw’okwefaako bokka. (Yobu 2:1-5) Omukolo ogw’Eky’ekiro kya Mukama waffe gutujjukiza nti okufa kwa Yesu ng’omuntu atuukiridde kwamusobozesa ‘okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo eky’abangi.’ (Mat. 20:28) N’olwekyo, Yesu yalagira abayigirizwa be nti: “Mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.” (Luk. 22:19) Okusiima kw’olina eri ekirabo kya Katonda kino eky’omuwendo ennyo kukuleetedde okutandika okukola enteekateeka ez’okujjukira ekikolwa kino ekirungi ennyo eky’oleka okwagala?—Yok. 3:16.
2. Nga twetegekera Ekijjukizo, tusobola tutya okuteekateeka omutima gwaffe?
2 Teekateeka Omutima Gwo: Bwe tufumiitiriza ku ebyo ebyaliwo mu nnaku ezaasembayo mu bulamu bwa Yesu ku nsi, kijja kutusobozesa okuteekateeka emitima gyaffe tusobole okuganyulwa mu mukolo gw’Ekijjukizo. Okusobola okukola kino, tujja kugoberera enteekateeka ey’enjawulo eri mu katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa—2007 ne mu 2007 Calendar. Enteekateeka eno ey’okusoma etuukagana bulungi n’ennaku ezaaliko ebyo ebyaliwo mu nnaku ezo nga Yesu anaatera okufa okusinziira ku kalenda gye tugoberera leero. Ennaku z’omwezi ezoogerwako mu Baibuli zeesigamiziddwa ku kalenda ey’Ekiyudaaya, etwala olunaku okuba nga lutandika ng’enjuba egudde era ne lukoma ng’ezzeemu okugwa. Eky’okutwala olunaku mu ngeri eno kirowoozeddwako era kiragiddwa bulungi mu nteekateeka ey’okusoma Baibuli mu kiseera eky’Ekijjukizo. Bwe tunaasoma ebyawandiikibwa ebyo era ne tufumiitiriza ku kwagala kwa Katonda, kijja kutuyamba okuganyulwa ennyo mu mukolo gw’Ekijjukizo.
3. Tusobola tutya okuyamba abappya n’abo abaddiridde mu by’omwoyo okuganyulwa mu mukolo gw’Ekijjukizo?
3 Yita Abalala Okubaawo: Olupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali lwalimu ebikwata ku kaweefube ow’enjawulo ow’okuyita abantu okubaawo ku mukolo guno omukulu ennyo. Omaze okukola enteekateeka ey’okwenyigira mu kaweefube ono mu bujjuvu? Okoze olukalala lw’abo b’omanyi be wandyagadde okuyita, era otandise okubatuukirira? Kola enteekateeka okutuuka nga bukyali ng’omukolo gw’Ekijjukizo tegunnatandika osobole okwaniriza abo be wayita awamu n’abagenyi abalala abannajja. Oyinza okutuula nabo kikusobozese okukakasa nti balina Baibuli n’akatabo k’ennyimba. Banjule eri abalala mu kibiina. Oluvannyuma lw’omukulo ogwo fuba okuddamu ebibuuzo byabwe. Bayite babeewo ku kwogera okw’enjawulo okunaaweebwa nga Apuli 15. Abakadde kijja kubeetaagisa okufuba ennyo okulaba nti ababuulizi bonna abaddiridde mu by’omwoyo bayitibwa okubaawo ku Kijjukizo ne ku kwogera okw’enjawulo.
4. Tusobola tutya okuyamba abantu okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo ng’Ekijjukizo kiwedde?
4 Yamba Abappya n’Abo Abaddiridde mu by’Omwoyo Okukulaakulana: Oyo anaawa emboozi ey’Ekijjukizo ajja kunnyonnyola mu bufunze enteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Baibuli era akubirize abappya okweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Ng’osinziira ku ebyo by’anaayogera, oyinza okweyongera okuwa abo be wayita obuyambi obw’eby’omwoyo. Bwe kiba nti tebannatandika kuyiga Baibuli, kakasa nti obakyalira amangu ddala ng’omukolo gw’Ekijjukizo guwedde obannyonnyole enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Baibuli ku bwereere. Okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo, kijja kubeetaagisa n’okubeerangawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina. (Beb. 10:24, 25) N’olw’ensonga eyo, bakubirize okutandika okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Abakadde basaanidde okukola enteekateeka okukyalira Abakristaayo abaddiridde mu by’omwoyo abaaliwo ku Kijjukizo, era babayambe okwongera okulowooza ku ebyo ebyayogerwa mu mboozi. Kino kiyinza okubayamba okuddamu okuba abanyiikivu mu by’omwoyo.
5. Okubeerawo ku mukolo gw’Ekijjukizo kituganyula kitya?
5 Ekijjukizo kituwa akakisa okufumiitiriza ennyo ku ebyo Yakuwa ne Yesu bye batukoledde. Okufumiitiriza okw’engeri eyo kutuleetera okweyongera okubaagala era n’okweyisa obulungi. (2 Kol. 5:14, 15; 1 Yok. 4:11) Kino kye kiseera okutandika okwetegeka n’okuyamba abo abaagala amazima okwetegekera omukolo guno omukulu kwe ‘tulangiririra okufa kwa Mukama waffe.’—1 Kol. 11:26.