Programu Empya ey’Olukuŋŋaana lw’Ekitundu
Yakuwa agwanidde okuweebwa ekitiibwa. Tumuwa tutya ekitiibwa? Abamu kino bakisangamu buzibu ki? Abo abawa Katonda ekitiibwa mu kiseera kino, bafuna mikisa ki? Olukuŋŋaana lw’ekitundu olw’omwaka gw’obuweereza 2008 lujja kuddamu ebibuuzo ebyo mu ngeri ematiza. Olukuŋŋaana olwo lujja kuba n’omutwe ogugamba nti: “Mukolenga Byonna olw’Ekitiibwa kya Katonda.” (1 Kol. 10:31) Weetegereze emmere ey’eby’omwoyo gye twesunga okufuna mu lukuŋŋaana olwo.
Omulabirizi wa disitulikiti ajja kuwa emboozi egamba nti: “Lwaki Tusaanidde Okuwa Katonda Ekitiibwa?” ne “Ssaawo Ekyokulabirako Ekirungi mu Kutuukiriza Ebyo Katonda By’Atwetaagisa.” Ajja kuwa okwogera kwa bonna okulina omutwe “Baani Abawa Katonda Ekitiibwa?,” era awe n’okwogera okufundikira olukuŋŋaana olwo okulina omutwe, “Okuwa Katonda Ekitiibwa mu Nsi Yonna nga Tuli Bumu.” Ate era ajja kukubiriza n’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda. Omulabirizi w’ekitundu ajja kuwa emboozi egamba nti “Funa Essanyu mu Kwoleka Ekitiibwa kya Katonda,” “Okussaayo Omwoyo ku Byetaago by’Ekitundu,” ne “Sigala ‘ng’Onyweredde mu Mazima,’” nga yeesigamiziddwa ku 2 Peetero 1:12. Okugatta ku ebyo, wajja kubaawo okwogera okulina omutwe ogugamba nti “Okuweereza nga Payoniya Kiweesa Katonda Ekitiibwa.” Okwogera okwawuziddwamu okusooka okulina omutwe “Okuwa Katonda Ekitiibwa mu Mbeera Zonna ez’Obulamu Bwaffe,” kujja kutuyamba okutegeera amakulu g’ebigambo ebyaluŋŋamizibwa ebiri mu 1 Abakkolinso 10:31. Okwogera okwawuziddwamu okw’omulundi ogw’okubiri okulina omutwe “Okwenyigira mu Buweereza Obutukuvu Tusobole Okutendereza Yakuwa” kujja kuba kukwata ku ngeri ezitali zimu ez’okusinza kwaffe. Ate era wajja kubaawo okuwumbawumba Omunaala gw’Omukuumi, n’okwekenneenya ekyawandiikibwa ky’olunaku ku Ssande. Era wajja kubaawo n’okubatizibwa.
Abantu abasinga obungi bagaanye okutegeera Katonda. Bangi batwaliriziddwa enteekateeka z’abantu ne kibaviirako obutalowooza ku kuwa Yakuwa kitiibwa. (Yok. 5:44) Obutafaananako bantu abo, ffe tukimanyi nti kikulu nnyo okuwaayo ebiseera okwekenneenya engeri gye tuyinza ‘Okukola Byonna olw’Ekitiibwa kya Katonda.’ Kola enteekateeka ezinaakusobozesa okubaawo era n’okuganyulwa mu bitundu byonna ebina eby’olukuŋŋaana olwo.