Baani Abawa Katonda Ekitiibwa Leero?
“Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza.”—OKUBIKKULIRWA 4:11.
1, 2. (a) Byakulabirako ki ebiraga engeri bannasayansi gye bakoppyemu ebintu ebyatondebwa? (b) Kibuuzo ki ekiyinza okubuuzibwa, era eky’okuddamu kye kiruwa?
LUMU mu myaka gya 1940, yinginiya omu ayitibwa George de Mestral ow’omu Switzerland yatwala embwa ye okutambulako. Ng’azeeyo eka, yalaba nga ku ngoye ze ne ku byoya by’embwa ye kuliko ssere. Olw’okwagala okumanya ebikwata ku ssere oyo, yamwekenneenya ng’akozesa ekyuma ekigezza ebintu ebisirikitu era yawuniikirira nnyo bwe yalaba nga ssere oyo alina obulobo obutono ennyo obusobola okukwata ku bintu. Oluvannyuma lw’ekyo, yayiiya ekintu ekyefaananyirizaako ssere ekiyinza okukwata ku kintu ekirala. Yinginiya oyo si ye yekka eyakoppa ebintu ebyatondebwa. Mu Amerika, ab’oluganda ababiri abayitibwa Wilbur Wright ne Orville Wright, baayiiya ennyonyi oluvannyuma lw’okwetegeereza ebinnyonyi ebinene nga bibuuka. Yinginiya Omufalansa ayitibwa Alexandre-Gustave Eiffel, yakuba pulaani y’omunaala oguli mu kibuga Paris oguliko erinnya lye, oluvannyuma lw’okwekenneenya engeri eggumba ly’oku kisambi gye liwaniriramu omubiri gw’omuntu.
2 Ebyokulabirako ebyo byoleka bulungi engeri bannasayansi gye bakoppamu ebintu ebyatondebwa. Kyokka, kiba kirungi okwebuuza ekibuuzo kino: Mirundi emeka abo abayiiya ebintu gye batendereza Oyo eyatonda ssere, ebinnyonyi ebinene, eggumba ery’oku kisambi ky’omuntu awamu n’ebintu ebirala byonna ebyatondebwa, abantu kwe basinzidde okuyiiya ebintu? Eky’ennaku kiri nti, mu nsi ey’akakyo kano, Katonda taweebwa kitiibwa ky’agwanidde kuweebwa.
3, 4. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “ekitiibwa,” kitegeeza ki, era kiba kikiikirira ki bwe kikozesebwa ku Yakuwa?
3 Abamu bayinza okwebuuza nti, ‘kyetaagisa okuwa Katonda ekitiibwa? Katonda si wa kitiibwa? Kyo kituufu nti Yakuwa y’asingayo okuba ow’ekitiibwa mu butonde bwonna, naye ekyo tekitegeeza nti abantu bonna bwe batyo bwe bamutwala. Mu Baibuli, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “ekitiibwa” kitegeeza “obuzito.” Kikwata ku kintu kyonna ekireetera omuntu okuwulira nti wa kitalo oba nti wa mugaso eri abalala. Bwe kikozesebwa ku Katonda, kiba kikiikirira ekyo ekimufuula okuba ow’ekitalo eri abantu.
4 Bantu batono leero abamanyi ekyo ekifuula Katonda okuba ow’ekitalo. (Zabbuli 10:4; 14:1) Mu butuufu, abantu abassibwamu ekitiibwa, ng’ate bayinza n’okuba nga tebakkiririza mu Katonda, baleetedde abantu abalala obutawa kitiibwa Omutonzi ow’obutonde bwonna. Ekyo bakikoze batya?
‘Tebalina kya Kwewolereza’
5. Bannasayansi bangi bannyonnyola batya engeri ebitonde gye byajjawo?
5 Bannasayansi bangi tebakkiriza nti Katonda gy’ali. Kati olwo bayinza batya okunnyonnyola engeri ebintu ebyatondebwa gye byajjawo nga mw’otwalidde n’omuntu? Bagamba nti tebyatondebwa butondebwa wabula byabaawo mu butanwa. Ng’ekyokulabirako, omusajja ayitibwa Stephen Jay atakkiririza mu kutondebwa yawandiika bw’ati: “Abantu baava mu kika ky’ekyennyanja ekimu ekyagenda nga kikyukakyuka okutuusa bwe kyafuuka ekitonde ekirina amagulu ag’okutambulira ku lukalu . . . Twandyetaaze eky’okuddamu ekisingako ku ekyo—naye tekiriiwo.” Mu ngeri y’emu, Richard E. Leakey ne Roger Lewin nabo baawandiika: “Kyandiba nti okubeerawo kw’olulyo lw’omuntu kwajjawo mu butanwa.” Ne bannasayansi abamu abasiima ebintu ebyatondebwa n’engeri gye byatondebwamu, tebawa Katonda kitiibwa.
6. Kiki ekireetera abantu bangi obutawa Katonda kitiibwa ky’agwanidde kuweebwa ng’Omutonzi?
6 Abantu abayivu bwe bagamba nti ebintu tebyatondebwa, wabula byajjawo mu butanwa, baba nga abagamba nti abo abatakkiriza ndowooza eyo baba tebalina kye bamanyi. Endowooza eyo ekutte etya ku bantu? Emyaka egiyise, omusajja omu omukugu mu njigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa, yabuuza ebibuuzo abantu abaali bakkiririza mu njigiriza eyo. Yagamba: “Nnakizuula nti abantu abasinga obungi bakkiriza nti ebintu tebyatondebwa butondebwa olw’okuba baagambibwa nti abantu abayivu bonna bwe batyo bwe bakkiriza.” Yee, abantu abayivu bwe bagamba nti ebintu tebyatondebwa, kiviirako abalala bangi obutawa Katonda kitiibwa.—Engero 14:15, 18.
7. Okusinziira ku Abaruumi 1:20, ebitonde bitutegeeza ki, era lwaki?
7 Bannasayansi balina obujulizi kwe basinziira okugamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa? N’akatono! Waliwo bingi ebitwetoolodde ebiwa obujulizi nti Omutonzi waali. Omutume Pawulo yamwogerako bw’ati: “Kubanga ebibye ebitalabika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwaawo n’obwakatonda bwe; babeere nga tebalina kya kuwoza.” (Abaruumi 1:20) Tusobola okutegeera nti Katonda waali okuyitira mu bintu bye yatonda. N’olwekyo, Pawulo agamba nti okuviira ddala ku ntandikwa y’omuntu, kibadde kisoboka ‘okutegeera’ obujulizi obulaga nti Katonda waali. Obujulizi obwo buli ludda wa?
8. (a) Eggulu liwa litya obujulizi nti Katonda alina amaanyi era wa magezi? (b) Kiki ekiraga nti obwengula bwalina entandikwa?
8 Eggulu erijjudde emmunyeenye lituwa obujulizi nti Katonda waali. “Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda,” bw’etyo Zabbuli 19:1 bw’egamba. “Eggulu,” kwe kugamba, enjuba, omwezi, n’emmunnyeenye, biwa obujulizi nti Katonda alina amaanyi n’amagezi. Obungi bw’emmunnyeenye butuwuniikiriza nnyo. Era ebintu ebyo ebiri mu bwengula tebimala gatambula, naye byonna bitambula nga bigoberera amateeka agafuga obutonde.a (Isaaya 40:26) Kiba kya magezi okugamba nti ebintu ebyo byabaawo mu butanwa? Ekyewuunyisa kiri nti, bannasayansi bangi bagamba nti obutonde bw’alina entandikwa. Ng’annyonnyola ebikwata ku nsonga eyo, profesa omu yagamba nti: “Abo abatakkiririza mu Katonda oba ababuusabuusa nti gy’ali, bayinza okukkiriza nti obwengula bubaddewo emirembe gyonna. Mu ngeri y’emu, okugamba nti obwengula bwalina entandikwa, kiba kitegeeza nti waliwo eyabutonda; ani ayinza okugamba nti obutonde ng’obwo bwajjawo bwokka?”
9. Amagezi ga Yakuwa galabikira gatya mu bisolo?
9 Ne ku nsi tulabako obujulizi obulaga nti Katonda waali. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Mukama, emirimu gyo nga gya ngeri nnyingi! Wagikola gyonna mu magezi: ensi ejjudde obugagga bwo [“ebitonde byo,” NW].” (Zabbuli 104:24) ‘Ebitonde’ bya Yakuwa nga mw’otwalidde n’ensolo, biwa obujulizi nti alina amagezi. Nga bwe twalabye mu ntandikwa, ebintu ebiramu byatondebwa bulungi nnyo ne kiba nti bannasayansi babikoppa. Lowooza ku byokulabirako ebirala. Bannasayansi beekenneenya amayembe g’ensolo eri mu kikka ky’enjobe nga baagala okukola enkuufiira eŋŋumu ennyo; era beekenneenya ekika ky’ensowera erina obusobozi bw’okuwulira ennyo nga baagala okulongoosaamu mu bintu ebyeyambisibwa mu kuwulira; okugatta ku ebyo, era beekenneenya ebyoya ebiri ku biwaawaatiro by’ekiwuugulu nga baagala okulongoosa mu nkola y’ennyonyi ennwanyi. Naye, omuntu ne bwannaakola kyonna ky’asobola, tasobola kukoppera ddala mu bujjuvu ebintu ebyatondebwa. Ekitabo ekiyitibwa Biomimicry—Innovation Inspired by Nature kigamba: “Ebintu ebiramu bikoze buli kimu kye twagala okukola awatali kwonoona ebintu ebiri mu ttaka, kwonoona nsi oba okuteeka mu kabi ebiseera byabyo eby’omu maaso.” Ekyo nga kyoleka amagezi mangi!
10. Lwaki tekiba kya magezi okugamba nti Omutonzi taliiwo? Waayo ekyokulabirako.
10 K’obe nti otunuudde ku ggulu oba ng’otunuulidde ebitonde ebiri ku nsi, waliwo bingi ebiwa obujulizi nti Omutonzi waali. (Yeremiya 10:12) Tulina okukkiriziganya n’ebitonde eby’omu ggulu ebigamba nti: “Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.” (Okubikkulirwa 4:11) Kyokka, bannasayansi bangi balemererwa okulaba obujulizi obwo ‘n’amaaso ag’omutima gwabwe,’ wadde nga bayinza okuwuniikirira bwe balaba engeri ebintu gye byatondebwamu. (Abaefeso 1:18) Ekyo tusobola okukinnyonnyola mu ngeri eno: Okusiima ebitonde olw’obulungi bwabyo n’engeri gye byakolebwamu, kyokka n’otakkiriza nti waliwo Omutonzi ow’Ekitalo, tekiba kya magezi. Kifaananako okusiima ekifaananyi ekisiige obulungi kyokka n’ogamba nti tewaliiwo muntu eyakisiiga. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti abo abatakkiririza mu Katonda boogerwako nga ‘abatalina kya kwewolereza’!
‘Abakulembeze Abatalaba’ Bakyamya Bangi
11, 12. Enjigiriza egamba nti Katonda yateekateeka dda buli kimu ekinaabaawo yeesigamiziddwa ku ndowooza ki, era kiki ekiraga nti enjigiriza eno teweesa Katonda kitiibwa?
11 Bannaddiini bangi bakkiriza mu bwesimbu nti engeri gye basinzaamu eweesa Katonda ekitiibwa. (Abaruumi 10:2, 3) Kyokka, amadiini okutwalira awamu, ge galeetedde obukadde n’obukadde bw’abantu obutawa Katonda kitiibwa. Mu ngeri ki? Ka twekenneenye ebintu bibiri.
12 Okusooka, amadiini galemesa abantu okuwa Katonda ekitiibwa nga gayigiriza eby’obulimba. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku njigiriza egamba nti buli kimu kyategekerwa dda ekirikituukako nga tekinnabaawo. Enjigiriza eyo yeesigamiziddwa ku ndowooza nti okuva Katonda bw’alina obusobozi okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, ateekwa okumanya ekiyinza okutuuka ku buli kintu. N’olwekyo, enjigiriza eno egamba nti Katonda yateekateeka dda byonna ebirituuka ku bantu ka bibe birungi oba bibi. Okusinziira ku ndowooza eno, Katonda gwe bavunaana olw’okubonaabona n’obubi obuli mu nsi leero. Mazima ddala tekiweesa Katonda kitiibwa singa avunaanibwa mu kifo ky’okuvunaana Setaani, Omulabe we Lukulwe Baibuli gw’eyita “omufuzi w’ensi eno”!—Yokaana 14:30; 1 Yokaana 5:19.
13. Lwaki tekiba kya magezi okulowooza nti Katonda tasobola kufuga busobozi bwe obw’okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso? Waayo ekyokulabirako.
13 Enjigiriza eyo si ya mu byawandiikibwa era eteeka ekivume ku linnya lya Katonda. Ebuzaabuza abantu ku ekyo Katonda ky’asobola okukola n’ekyo ky’akola. Baibuli eraga bulungi nti Katonda asobola okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. (Isaaya 46:9, 10) Kyokka, tekiba kya magezi okulowooza nti Katonda tasobola kufuga busobozi bwe obw’okumanya ebinaabaawo oba nti y’avunaanyizibwa ebyo byonna ebibaawo. Okuwaayo ekyokulabirako: Singa walina amaanyi mangi nnyo, wandisituddenga buli kintu ekizito ky’olaba? Kya lwatu, si bwe wandikoze! Mu ngeri y’emu, okuba nti Katonda alina obusobozi bw’okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, tekitegeeza nti ateekwa okumanya buli kimu ekinaabaawo. Obusobozi obwo obw’okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso abukozesa mu ngeri ey’amagezi.b Mazima ddala, enjigiriza ez’obulimba nga mw’otwalidde n’eyo egamba nti buli ekibaawo Katonda aba yakiteekateeka dda, teziweesa Katonda kitiibwa.
14. Ngeri ki amadiini gye gatawadde Katonda kitiibwa?
14 Engeri ey’okubiri amadiini gye gataweesaamu Katonda kitiibwa, z’empisa embi ez’abagoberezi baago. Abakristaayo basuubirwa okugoberera enjigiriza za Yesu. Awamu n’ebintu ebirala bingi, Yesu yayigiriza abagoberezi be “okwagalananga” era ‘n’obutaba kitundu kya nsi.’ (Yokaana 15:12; 17:14-16) Naye kiri kitya eri abakulembeze mu Kristendomu? Bagoberedde enjigiriza ezo?
15. (a) Abakulembeze b’amadiini beenyigidde batya mu ntalo z’amawanga? (b) Empisa z’abakulembeze b’amadiini zikoze ki ku bukadde n’obukadde bw’abantu?
15 Lowooza ku ebyo abakulembeze b’amaddiini bye bakola mu biseera eby’entalo. Bawagidde era ne beenyigira mu ntalo nnyingi eziri mu mawanga. Bawadde omukisa ab’amagye era ne babakubiriza okutta. Kino kituleetera okwebuuza, ‘Abakulembeze b’amaddiini ng’abo tebakirowoozangako nti bannaddiini bannaabwe abali ku ludda olulala nabo bakola ekintu kye kimu?’ (Laba akasanduuko akalina omutwe “Katonda Ali ku Ludda Ki?”) Abakulembeze b’amadiini baba tebawa Katonda kitiibwa bwe bagamba nti Katonda abawagira mu ntalo. Era baba tebamuwa kitiibwa bwe bagamba nti emitindo gya Baibuli gyava dda ku mulembe era ne basemba ebikolwa eby’obugwenyufu obwa buli ngeri. Mazima ddala batujjukiza abakulembeze b’amadiini Yesu be yayita “abakola eby’obujeemu” era ‘abakulembeze abatalaba.’ (Matayo 7:15-23; 15:14) Empisa embi ez’abakulembeze b’amadiini zireetedde okwagala abantu kwe baalina eri Katonda okuddirira.—Matayo 24:12.
Ddala Baani Abawa Katonda Ekitiibwa?
16. Lwaki tulina okukozesa Baibuli okusobola okumanya baani abawa Katonda ekitiibwa?
16 Bwe kiba nti abantu abassibwamu ennyo ekitiibwa mu nsi okutwalira awamu balemereddwa okuwa Katonda ekitiibwa, kati olwo baani abakikola? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, tulina okukozesa Baibuli. Kyo kiri nti, Katonda y’alina okutubuulira engeri y’okumuwaamu ekitiibwa era atuteerawo emisingi egy’okugoberera mu Kigambo kye, Baibuli. (Isaaya 42:8) Ka twekenneenye engeri satu ez’okuwaamu Katonda ekitiibwa, nga buli emu eraga abawa Katonda ekitiibwa leero.
17. Yakuwa kennyini yakiraga atya nti okuwa ekitiibwa erinnya lye kintu kikulu nnyo, era baani leero abalitendereza mu nsi yonna?
17 Okusooka, tusobola okuwa Katonda ekitiibwa nga tutendereza erinnya lye. Ebyo Yakuwa bye yagamba Yesu biraga nti kikulu nnyo okutendereza erinnya lya Katonda. Ng’ebulayo ennaku ntono afe, Yesu yasaba: “Kitange, gulumiza erinnya lyo.” Awo eddoboozi ne liryoka limuddamu: “Nnaligulumiza, era ndirigulumiza nate.” (Yokaana 12:28) Awatali kubuusabuusa, oyo eyayogera ebigambo ebyo yali Yakuwa kennyini. Okusinziira ku bye yaddamu, kitegeerekeka bulungi nti kikulu nnyo okugulumiza erinnya lye. Kati olwo, baani leero abawa Yakuwa ekitiibwa nga bamanyisa erinnya lye era nga balitendereza mu nsi yonna? Be Bajulirwa ba Yakuwa, era bakikolera mu nsi 235!—Zabbuli 86:11, 12.
18. Tusobola tutya okumanya abo abasinza Katonda ‘mu mazima,’ era baani ababadde bayigiriza amazima g’omu Baibuli okumala emyaka egisukka mu kikumi?
18 Ekyokubiri, tusobola okuwa Katonda ekitiibwa nga tuyigiriza amazima agamukwatako. Yesu yagamba nti abasinza ab’amazima ‘bandisinziza [Katonda] mu mazima.’ (Yokaana 4:24) Tusobola tutya okumanya abo abasinza Katonda mu “mazima”? Balina okwesamba enjigiriza eziteesigamiziddwa ku Baibuli era eziwa ekifaananyi ekibi ku Katonda era ezitakwatagana na by’ayagala. Ate era, balina okuyigiriza amazima agali mu Kigambo kya Katonda, nga mwe muli ne gano wammanga: Yakuwa ye Katonda ali Waggulu ennyo era ye yekka agwanidde okuweebwa ekitiibwa olw’ekifo ekyo ky’alimu (Zabbuli 83:18); Yesu ye Mwana wa Katonda era omufuzi w’Obwakabaka bwa Katonda eyalondebwa (1 Abakkolinso 15:27, 28); Obwakabaka bwa Katonda bujja kutukuza erinnya lye era butuukirize ebigendererwa bye eri ensi era n’eri abantu abagiriko (Matayo 6:9, 10); amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka buno galina okubuulirwa mu nsi yonna. (Matayo 24:14) Okumala emyaka egisukka mu kikumi, eddiini emu yokka, kwe kugamba, Abajulirwa ba Yakuwa, be babadde bayigiriza amazima ago ag’omuwendo ennyo!
19, 20. (a) Lwaki empisa ennungi ez’Abakristaayo ziyinza okuweesa Katonda ekitiibwa? (b) Bibuuzo ki ebiyinza okutuyamba okumanya abo leero abawa Katonda ekitiibwa olw’empisa zaabwe ennungi?
19 Eky’okusatu, tusobola okuwa Katonda ekitiibwa nga tutuukanya obulamu bwaffe n’emisingi gye. Omutume Peetero yawandiika: ‘Mubeere n’empisa ennungi mu b’amawanga, nga bwe baboogerako ng’abakola obubi, olw’ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw’okulabirwamu.’ (1 Peetero 2:12) Empisa z’Omukristaayo zooleka okukkiriza kw’alina. Abantu bwe balaba nti Abakristaayo beeyisa bulungi olw’okukkiriza kwabwe, kiweesa Katonda ekitiibwa.
20 Baani leero abawa Katonda ekitiibwa okuyitira mu mpisa zaabwe ennungi? Kibiina ki eky’eddiini gavumenti nnyingi ze kitendereza olw’okubeera ab’emirembe, olw’okubeera abatuuze abagondera amateeka era abasasula emisolo? (Abaruumi 13:1, 3, 6, 7) Bantu ki abamanyiddwa mu nsi yonna olw’okuba obumu ne bakkiriza bannaabwe ab’ennimi endala, langi n’amawanga ag’enjawulo? (Zabbuli 133:1; Ebikolwa 10:34, 35) Kibiina ki ekimanyiddwa mu nsi yonna olw’omulimu gwakyo ogw’okuyigiriza Baibuli ogukubiriza abantu okussa ekitiibwa mu mateeka, okwoleka empisa ennungi mu maka, era n’okugoberera emisingi gya Baibuli? Waliwo eddiini emu yokka erina empisa eziwa obukakafu ku bintu ebyo. Be Bajulirwa ba Yakuwa!
Owa Katonda Ekitiibwa?
21. Lwaki tulina okwebuuza obanga kinnoomu tuwa Yakuwa ekitiibwa?
21 Kiba kirungi buli omu ku ffe okwebuuza, ‘Nze mpa Yakuwa ekitiibwa?’ Okusinziira ku Zabbuli 148, ebitonde ebisinga obungi biwa Katonda ekitiibwa. Bamalayika, eggulu, ensi n’ebisolo, byonna biwa Yakuwa ekitiibwa. (Ennyiriri 1-10) Nga kya nnaku nnyo okulaba nti abantu abasinga obungi leero tebawa Katonda kitiibwa! Bwe weeyisa mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa, oba bumu n’ebitonde ebirala byonna ebitendereza Yakuwa. (Ennyiriri 11-13) Tewaliiwo ngeri ndala nnungi esinga eyo gy’oyinza kukozesaamu bulamu bwo.
22. Mikisa ki gy’osobola okufuna bw’owa Yakuwa ekitiibwa, era osaanidde kumalirira kukola ki?
22 Bw’owa Yakuwa ekitiibwa, ofuna emikisa mu ngeri nnyingi. Bw’okkiririza mu ssaddaaka ya Kristo, otabagana ne Katonda, era mu ngeri eyo ne kikusobozesa okufuna enkolagana ennungi ne Kitaawo ow’omu ggulu. (Abaruumi 5:10) Bw’owa Katonda ekitiibwa, weeyongera okubeera n’endowooza ennuŋŋamu era n’okumusiima. (Yeremiya 31:12) Mu ngeri eyo, oba osobola okuyamba abalala okubeera n’obulamu obw’essanyu era obulina ekigendererwa. (Ebikolwa 20:35) Beera omu ku abo abamalirivu okuwa Katonda ekitiibwa kaakano n’emirembe gyonna!
[Obugambo obuli wansi]
a Okusobola okumanya ebisingawo ku ngeri eggulu gye lyolekamu amagezi n’amaanyi ga Katonda, laba essuula 5 ne 17 mu katabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Laba Omuzingo 1, empapula 853, mu kitabo Insight on the Scriptures, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Ojjukira?
• Lwaki tuyinza okugamba nti bannasayansi okutwalira awamu tebayambye bantu kuwa Katonda kitiibwa?
• Mu ngeri ki ebbiri amadiini gye galemesezza abantu okuwa Katonda ekitiibwa?
• Tusobola tutya okuwa Katonda ekitiibwa?
• Lwaki olina okwebuuza obanga ddala owa Yakuwa ekitiibwa?
[Akasanduuko akali ku lupapula 26]
“Katonda Ali ku Ludda Ki?”
Omusajja eyali mu ggye ly’Abagirimaani ery’omu bbanga mu kiseera kya Ssematalo II kyokka oluvannyuma n’afuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa agamba:
“Ekyasinga okumpisa obubi ennyo mu myaka egyo . . . kwe kulaba ng’abakulembeze b’amadiini okuva kumpi mu buli ddiini, kwe kugamba, Abakatoliki, Abaprotestanti n’abalala bangi, nga bawa omukisa ennyonyi ennwanyi n’abavuzi baazo nga tezinnaba kugenda kusuula eby’okulwanyisa nnamuzisa. Buli kiseera nneebuuzanga, ‘Katonda ali ku ludda ki?’
“Ab’amaggye Abagirimaani baayambalanga emisipi nga giriko ebigambo Gott mit uns (ebitegeeza nti Katonda ali naffe). Naye nneebuuzanga, ‘Lwaki Katonda tawagira b’amaggye ab’oku ludda olulala nabo abaali mu ddiini y’emu ate nga nabo baali basaba Katonda y’omu?’”