LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 11/07 lup. 4
  • Tolonzalonza!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tolonzalonza!
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Similar Material
  • Buulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Amosi
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yoweeri n’Ekya Amosi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Weenyigire mu Buweereza mu Bujjuvu—Wadde ng’Olina eby’Okukola Bingi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 11/07 lup. 4

Tolonzalonza!

1. Tuyinza tutya ‘obutamma balala birungi’?

1 Okubuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katanda, kitusobozesa ‘obutamma birungi’ abo abali mu bitundu bye tubuuliramu. (Nge. 3:27) Tewali bubaka bulungi bwe tuyinza kutuusa ku bantu obusinga obwo obukwata ku mbeera ennungi ezinaaba wansi w’obufuzi bwa Katonda. Ne bwe kiba nti oli munyiikivu mu kubuulira embagirawo era ng’ogaba n’ebitabo bingi, lwaki tokifuula kiruubirirwa kyo okufuna gw’oyigiriza Baibuli, bw’oba nga tomulina?

2. Kiki ekiyinza okutuleetera okulonzalonza okuyigiriza abantu Baibuli?

2 Oluusi, ekimu ku bizibu ebisingira ddala okutulemesa okuyigiriza abantu Baibuli y’enneewulira gye tuba nayo. Abamu balonzalonza okuyigiriza abantu Baibuli olw’okuba beetya oba olw’okuba n’eby’okukola ebingi. Amagezi gano wammanga gayinza okukuyamba obutalonzalonza kuyigiriza bantu Baibuli.​—Mat. 28:19; Bik. 20:20.

3. Kiki ekitusobozesa okuyigiriza abantu Baibuli?

3 Okwetya: Oboolyawo wafuna obuyigirize butono oba nga waliwo ensonga endala ezikuleetera okutya okuyigiriza abantu Baibuli. Abakristaayo abaakola obulungi omulimu gw’okubuulira mu kyasa ekyasooka baali “abantu abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo.” Kiki ekyabasobozesa okuyigiriza abalala amazima? “Baali wamu ne Yesu.” (Bik. 4:13) Baayigira ku Muyigiriza Omukulu, Yesu, era ng’enjigiriza ze awamu n’engeri gye yayigirizangamu bikuumiddwa mu Byawandiikibwa n’okutuusiza ddala leero tusobole okubiganyulwamu. K’obe nga wafuna obuyigirize butono, obuyigirize obw’eby’omwoyo bw’ofuna mu kiseera kino tebugeraageranyizika.​—Is. 50:4; 2 Kol. 3:5.

4. Kiki kye tusobola okuyigira ku kyokulabirako kya Amosi?

4 Ebiseera ebimu, Yakuwa yakozesanga bannabbi okunenya abafuzi oba abantu abalala abaalinga mu bifo ebya waggulu. Abamu ku bannabbi abo, gamba nga Amosi, baali bantu ba wansi. Amosi yagamba bw’ati: “Nnali siri nnabbi, so saali mwana wa nnabbi, naye nnali musumba era musalizi w’emisukomooli.” (Am. 7:14) Wadde kyali kityo, Amosi teyalonzalonza kutwala bubaka bwa Yakuwa obw’omusango eri kabona Amaziya eyali asinza ennyana. (Am. 7:16, 17) Tuteekwa okukijjukira bulijjo nti omulimu gwe tukola gwa Katonda era ajja kutusobozesa okugukola obulungi.​—2 Tim. 3:17.

5. Lwaki twandifubye nnyo okutandika okuyigiriza abantu Baibuli wadde nga tulina eby’okukola bingi?

5 Bw’Oba n’Eby’Okukola Ebingi: Ne bwe kiba nti olina eby’okukola bingi, wandiba nga wakola dda enteekateeka ezikusobozesa okwenyigira mu buweereza obutayosa. Okuyigiriza omuntu Baibuli kye kimu ku bintu ebisinga okuleeta essanyu mu buweereza. Nkizo y’amaanyi nnyo okulaba ng’ekigambo kya Yakuwa kireetera omuntu okukola ekyukakyuka mu bulamu bwe. (Beb. 4:12) Yakuwa asanyuka nnyo bwe tubaako ne bye twerekereza okusobola okuyamba omuntu “okutuuka mu kutegeerera ddala amazima.” (1 Tim. 2:4) Ne bamalayika basanyuka nnyo omuntu bw’aleka ekkubo lye ebbi n’atandika okukulaakulana mu by’omwoyo.​—Luk. 15:10.

6. Nkizo ki gye tulina mu kutuukiriza ebyo Katonda by’ayagala?

6 Katonda “ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima.” (1 Tim. 2:4) Nga tulina enkizo ya maanyi okutuukiriza ebyo Katonda by’ayagala, nga tetulonzaalonza kuyigiriza bantu Baibuli!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share