Weenyigire mu Buweereza mu Bujjuvu—Wadde ng’Olina eby’Okukola Bingi
1. Lwaki abamu batya okuyigiriza abantu Bayibuli?
1 Ababuulizi abamu abalina eby’okukola bingi batya okuyigiriza abantu Bayibuli. Kyetaagisa ebiseera okusobola okuyigiriza omuntu Bayibuli. Ate era kyetaagisa ebiseera okutegeka by’ogenda okumuyigiriza n’okumuyamba okuvvuunuka ebiyinza okumulemesa okukulaakulana. Omutume Pawulo yagamba nti yawaayo obulamu bwe okusobola okuyamba abantu b’omu Ssessaloniika okumanya Yakuwa. (1 Bas. 2:7, 8) Tuyinza tutya okuyigiriza abantu Bayibuli wadde nga tulina eby’okukola bingi?
2. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kwanditukubirizza kukozesa tutya ebiseera byaffe?
2 Okuweereza Yakuwa Kyetaagisa Ebiseera: Ekituufu kiri nti okuweereza Yakuwa kyetaagisa ebiseera. Ng’ekyokulabirako, tuwaayo ebiseera okujja mu nkuŋŋaana, okugenda okubuulira, okusoma Bayibuli, n’okusaba. Wadde ng’omufumbo ayinza okuba n’eby’okukola bingi, afuba okufissizaawo munne akadde olw’okuba amwagala. Olw’okuba twagala Yakuwa, naffe tusaanidde okwegulira ebiseera okusobola okumuweereza. (Bef. 5:15-17; 1 Yok. 5:3) Yesu yalaga nti okufuula abantu abayigirizwa kikulu nnyo mu buweereza bwaffe. (Mat. 28:19, 20) Bwe tunaafumiitiriza ku ekyo, tetujja kutya kuyigiriza bantu Bayibuli.
3. Tuyinza tutya okweyongera okuyamba abayizi baffe aba Bayibuli bwe kiba nti embeera tezitusobozesa kugenda kubayigiriza?
3 Watya singa kituzibuwalira okufuna akadde ak’okuyigiriza abantu Bayibuli olw’omulimu gwe tukola, olw’okuba tulina obulwadde obw’olukonvuba, oba olw’okuba tulina obuvunaanyizibwa bungi mu kibiina? Ababuulizi abamu abali mu mbeera ng’ezo bayigiriza abayizi baabwe nga bakozesa essimu. Abo abalina obulwadde obw’olukonvuba bayinza n’okuyita abayizi baabwe bayigire awaka. Ate era abamu bwe baba tebaasobole kuyigiriza bayizi baabwe, basaba ababuulizi abalala babayambeko.
4. Miganyulo ki egiva mu kuyigiriza abantu Bayibuli?
4 Pawulo yafuna essanyu lingi olw’okukozesa ebiseera bye n’amaanyi ge okuyamba abalala okuyiga amazima. (Bik. 20:35) Bwe yalowooza ku birungi ebyava mu kuyamba ab’e Ssessaloniika okuyiga amazima, yeebaza Yakuwa. (1 Bas. 1:2) Bwe tunaafuba okuyigiriza abantu Bayibuli wadde nga tulina eby’okukola bingi, tujja kweyongera okufuna essanyu mu buweereza bwaffe.