Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Ddesemba 1
“Okyetegerezza nti abantu balina endowooza ez’enjawulo ku buyonjo? [Muleke abeeko kyaddamu.] Ka tulabeyo ensonga emu lwaki kikulu okuba abayonjo. [Soma 1 Peetero 1:16.] Ekitundu kino kiraga engeri gye tusobola okwekuuma nga tuli bayonjo.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 9.
Awake! Ddesemba
“Bangi bagezaako okuwa Yesu ekitiibwa mu kiseera kino eky’omwaka. Naye okusinziira ku lunyiriri luno, olowooza ngeri ki esingayo obulungi gye twandiwaddemu Yesu ekitiibwa? [Soma Yokaana 14:15. Muleke abeeko ky’addamu.] Olunaku lwennyini Yesu lwe yazaalibwako terumanyiddwa, era kiyinza okukwewuunyisa okumanya ensonga lwaki Ddesemba 25 lwafuulibwa olunaku olw’amazaalibwa ga Yesu.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 10.
The Watchtower Jjanwali 1
“Abantu okwetooloola ensi yonna balina endowooza ez’enjawulo ku Maliyamu, nnyina wa Yesu. Ggwe olina ndowooza ki? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli eraga nti Maliyamu yalina obuvunaanyizibwa bwa njawulo nnyo mu byafaayo. [Soma Lukka 1:30-32.] Magazini eno eraga ekyo kye tuyinza okuyigira ku kyokulabirako kye.”
Awake! Jjanwali
“Okwetooloola ensi yonna, ennyanja nnyingi n’emigga bigenda bikalira, era obukadde n’obukadde bw’abantu tebakyasobola kufuna mazzi mayonjo ga kunywa. Ggwe olowooza abantu balina obusobozi okumalirawo ddala ekizibu kino? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Yeremiya 10:23.] Magazini eno eraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku ngeri ekizibu kino gye kinaagonjoolwamu.”