Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jjanwali 1
“Olowooza Katonda afaayo ku kwonoonebwa kw’obutonde? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Okubikkulirwa 11:18.] Ekitundu kino kirimu ensonga ezeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa ezituyamba okumanya nti ensi ejja kuba nnungi mu biseera eby’omu maaso.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula 18.
Awake! Jjanwali
“Abantu bangi bwe bafuna ebizibu, balowooza nti Katonda aba ababonereza. Wali obaddeko n’endowooza ng’eyo? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Yakobo 1:13.] Ekitundu kino kinnyonnyola ensibuko y’ebizibu bye twolekagana nabyo era n’ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti ebizibu byaffe byonna biri kumpi okuggwaawo.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 28.
The Watchtower Febwali 1
“Olowooza eddiini zonna zisiimibwa Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ebigambo bino Yesu bye yayogera. [Soma Matayo 15:8, 9.] Ekitundu kino kiraga obanga ddala Katonda asiima eddiini zonna.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula 9.
Awake! Febwali
“Buli kintu ekiri ku nsi kiraga nti kyakolebwa okubeesaawo obulamu. Ggwe olowooza ebintu bino byajjawo mu butanwa, oba waliwo eyabitonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abantu bangi bakkiriziganya n’ekyawandiikibwa kino. [Soma Zabbuli 104:24.] Magazini eno ewa obukakafu obwesigamiziddwa ku sayansi n’Ebyawandiikibwa obulaga nti waliwo Omutonzi.”