Brocuwa Empya gye Tunaagaba!
1. Kiki kye tujja okugaba mu Noovemba, era brocuwa eno erina kigendererwa ki?
1 Ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa 2009 olwalina omutwe, “Beera Bulindaala!” twafuna brocuwa empya eyitibwa The Bible—What Is Its Message? Mu Noovemba, ebibiina byonna okwetoloola ensi lwe bijja okutandika okugaba brocuwa eno. Brocuwa eno eneeganyula etya abantu b’omu kitundu kyaffe? Abantu abasinga obungi, naddala abali mu ddiini ezitali za Kikristaayo, bamanyi kitono nnyo ku Baibuli. N’olwekyo, ku lupapula 3 olwa brocuwa eno walaga nti etegekeddwa “okunnyonnyola mu bumpimpi ebyo ebiri mu Baibuli.”
2. Brocuwa eno tuyinza kugigaba tutya?
2 Engeri y’Okugigabamu: Tuyinza okwogera bwe tuti: “Twandyagadde okumanya endowooza yo ku kyawandiikibwa kino. [Soma 2 Timoseewo 3:16.] Abantu bangi be twogerako nabo bakkiriziganya n’ebigambo bino; abalala balowooza nti Baibuli kitabo butabo ekirungi. Ggwe Baibuli ogitwala otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ka tubeere nga tuli ba nzikiriza ki, waliwo ensonga ennungi lwaki ffe kennyini tulina okwekenneenya Baibuli. [Soma akatundu akasookera ddala ku lupapula 3 akanjula brocuwa eno.] Bw’onooba osoma brocuwa eno ennyuvu ennyo era ennyonnyola mu bufunze ebyo ebiri mu Baibuli, ojja kulaba ekintu ekyewuunyisa: Baibuli erina obubaka n’omutwe gumu omukulu gw’ekulaakulanya.”
3. Nyanjula ki endala gye tuyinza okukozesa, naddala nga tubuulira mu kitundu omuli abantu ab’eddiini ezitali za Kikristaayo?
3 Eno y’engeri endala gye tuyinza okugabamu brocuwa eno, naddala bwe tuba tubuulira mu kitundu omuli abantu ab’eddiini ezitali za Kikristaayo: “Twandyagadde okumanya endowooza yo ku ekyo ekyogerwako wano mu Byawandiikibwa (oba mu kitabo kino ekitukuvu). [Soma Zabbuli 37:11.] Ggwe olowooza ensi eriba efaanana etya ng’obunnabbi buno butuukiriziddwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Lino lye limu ku ssuubi n’okubudaabuda abantu ab’amawanga gonna n’enzikiriza ez’enjawulo lye bayinza okufuna mu Baibuli.” Soma akatundu akasookera ddala ku lupapula 3 akanjula brocuwa eno era ogimuwe.
4. Tuyinza kukozesa tutya brocuwa empya okutandika okuyigiriza abantu Baibuli?
4 Tandika Okumuyigiriza Baibuli: Bwe tuba tuzzeeyo tuyinza okujjukiza nnyinimu ebyo bye twayogerako ku mulundi ogwayita era ne tusoma akatundu kamu oba bubiri obukwata ku ekyo kye twayogerako, nga tukozesa ebibuuzo ebiri ku nkomerero y’ekitundu ekyo. Oba bwe tuba twagadde okutandika butereevu okumuyigiriza mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza, tuyinza okumusomera ebyo ebiri ku lupapula lwa brocuwa olw’emabega, ne tumuwa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, ne tumusaba alondemu essuula emusanyusizza era ne tusoma akatundu kamu oba bubiri okuva mu ssuula gy’aba alonze. Ka ffenna tufube okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube ono ow’okugaba brocuwa eno mu Noovemba!