LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb17 Jjanwali lup. 8
  • Teweerabira Kusabira Bakristaayo Bannaffe Abayigganyizibwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Teweerabira Kusabira Bakristaayo Bannaffe Abayigganyizibwa
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Similar Material
  • Musanyuke nga Muyigganyizibwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Basanyufu Wadde nga Bayigganyizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Teweerabira Kusabira Balala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Funa Amagezi Agasobola Okukuyamba mu Bulamu Obwa Bulijjo ku JW.ORG
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Jjanwali lup. 8

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Teweerabira Kusabira Bakristaayo Bannaffe Abayigganyizibwa

Bayibuli eraga nti Sitaani yandituyigganyizza ng’ayagala okutulemesa okuweereza Yakuwa. (Yok 15:20; Kub 12:17) Tuyinza tutya okuyamba Bakristaayo bannaffe abayigganyizibwa, abali mu nsi endala? Tuyinza okubasabira. Bayibuli egamba nti: “Okusaba kw’omutuukirivu kulina amaanyi mangi.”​—Yak 5:16.

Ow’oluganda asibiddwa empingu ng’atwalibwa mu kkomera; ab’oluganda ne bannyinaffe; ow’oluganda asaba

Biki bye tuyinza okusaba Yakuwa abakolere? Tuyinza okusaba Yakuwa abawe obuvumu era abayambe baleme kutya. (Is 41:10-13) Tuyinza n’okusaba Yakuwa akwate ku mitima gy’ab’obuyinza baleme kuziyiza mulimu gwaffe ogw’okubuulira, “tusobole okubeera mu bulamu obuteefu era obw’emirembe.”​—1Ti 2:1, 2.

Pawulo ne Peetero bwe baali bayigganyizibwa, Bakristaayo bannaabwe baabasabira. (Bik 12:5; Bar 15:30, 31) Ne bwe tuba nga tetumanyi mannya ga baganda baffe ne bannyinaffe bonna abayigganyizibwa, bwe tuba tubasabira, tuyinza okwogera amanya g’ebibiina mwe bali, ebitundu mwe bali, oba ensi mwe bali.

  • Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa abayigganyizibwa bisangibwa ku jw.org. (Genda ku NEWSROOM > LEGAL DEVELOPMENTS.)

  • Ekitundu ku jw.org ekirina omutwe ogugamba nti “Jehovah’s Witnesses Imprisoned for Their Faith​—By Location,” kiraga omuwendo gw’Abajulirwa ba Yakuwa abasibiddwa mu makomera n’ensi mwe bali. (Genda ku NEWSROOM > LEGAL DEVELOPMENTS. Nyiga ku linnya ly’ensi omanye ebisingawo era ofune fayiro ya PDF erimu amannya g’ab’oluganda abasibiddwa mu nsi eyo.)

Wandiika amannya g’ensi omuli Abakristaayo abayigganyizibwa b’oyagala okusabira.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share