OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Musanyuke nga Muyigganyizibwa
Abakristaayo basuubira okuyigganyizibwa. (Yok 15:20) Wadde ng’okuyigganyizibwa kuleeta obulumi n’okweraliikirira, tusobola okuba abasanyufu singa tukugumira.—Mat 5:10-12; 1Pe 2:19, 20.
MULABE VIDIYO, TUSOBOLA OKUBA ABASANYUFU WADDE NGA TUYIGGANYIZIBWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Biki by’oyigidde ku w’Oluganda Bazhenov ku bikwata ku bukulu
bw’okusoma Bayibuli buli lunaku?
bw’okufuna obuyambi okuva eri Bakristaayo bannaffe?a
bw’okusaba obutayosa?
bw’okuyimba ennyimba z’Obwakabaka?
bw’okubuulira abalala ebyo bye tukkiririzaamu?
a Tusobola okusabira bakkiriza bannaffe abali mu makomera nga twogera amannya gaawe. Kyokka, ofiisi y’ettabi tesobola kutuweerereza mabaluwa gaffe eri ab’oluganda abali mu makomera.