EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | KOSEYA 1-7
Yakuwa Ayagala Tube n’Okwagala Okutajjulukuka
Okwagala kuno kuva mu kuba omumalirivu okunywerera ku kintu n’okunywerera ku misingi. Yakuwa yakozesa ekyokulabirako kya nnabbi Koseya ne mukyala we Gomeri ataali mwesigwa, okuyigiriza abantu be kye kitegeeza okuba n’okwagala okutajjulukuka era n’okusonyiwa.—Kos 1:2; 2:7; 3:1-5.
Wandiika eby’okuddamu mu mabanga ago wammanga.
Gomeri yalaga atya nti teyalina kwagala okutajjulukuka?
Abayisirayiri baakola ki ekyalaga nti tebaalina kwagala okutajjulukuka?
Koseya yayoleka atya okwagala okutajjulukuka?
Yakuwa yayoleka atya okwagala okutajjulukuka?
EKY’OKUFUMIITIRIZAAKO: Nnyinza ntya okukyoleka nti okwagala kwe nnina eri Yakuwa tekujjulukuka?