OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Okubaako Kye Tuwa Yakuwa”
Leero tuyinza tutya ‘okubaako kye tuwa Yakuwa’? (1By 29:5, 9, 14) Ka tulabe engeri ez’enjawulo ze tuyinza okuyitiramu okubaako kye tuwaayo okuwagira omulimu ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu kitundu kyaffe ne mu nsi yonna.
SSENTE ZE TUWAAYO OKUYITIRA KU INTANEETI OBA NGA TUKOZESA AKASANDUUKO MU KIZIMBE KY’OBWAKABAKA ZIWAGIRA:
OMULIMU OGUKOLEBWA MU NSI YONNA
okuzimba n’okuddukanya ofiisi z’amatabi ne ofiisi awavvuunulirwa ebitabo
okuteekateeka amasomero g’ekibiina
okulabirira abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna
okuyamba abakoseddwa obutyabaga
okukuba ebitabo, n’okufulumya vidiyo
ENSAASAANYA Y’EKIBIINA
okusasula ebyetaagisa mu kibiina, n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka
omutemwa ekibiina gwe kisalawo okuweerezebwanga ku ofiisi y’ettabi okuwagira:
omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’ebizimbe ebituuza enkuŋŋaana ennene mu nsi yonna
ensawo ey’ebigwa bitalaze (Global Assistance Arrangement)
emirimu gy’obwakabaka emirala egikolebwa mu nsi yonna
ENKUŊŊAANA ENNENE
Ssente eziweebwayo ku nkuŋŋaana ennene ez’ennaku essatu ziweerezebwa ku kitebe ekikulu ne ziteekebwa mu nsawo ewagira omulimu ogukolebwa mu nsi yonna. Oluvannyuma ssente ezikozesebwa okuteekateeka enkuŋŋaana ennene ez’ennaku essatu, enkuŋŋaana ez’enjawulo, n’enkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna, ziggibwa mu nsawo eyo.
Ssente eziweebwayo okuwagira ensawo y’ekitundu (circuit) zikozesebwa okupangisa, okuddukanya, n’okuddaabiriza ebizimbe ebituuza enkuŋŋaana ennene ez’olunaku olumu, era n’okukola ku byetaago by’ekitundu ebirala. Ekitundu kiyinza okusalawo okuwaayo ssente eziba zifisseewo okuwagira omulimu ogukolebwa mu nsi yonna.