LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb23 Jjulaayi lup. 3
  • “Okulwanirira Amawulire Amalungi n’Okuganyweza Okuyitira mu Mateeka”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Okulwanirira Amawulire Amalungi n’Okuganyweza Okuyitira mu Mateeka”
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Similar Material
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Okusalawo mu Ngeri Eraga nti Twesiga Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olubaako Omulabirizi Akyalira Ebibiina Olwa 2025-2026
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olwa 2025-2026 Olubaako Akiikiridde Ettabi
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
mwb23 Jjulaayi lup. 3
Ebifaananyi: 1. Gathie ne Marie Barnett. 2. Ow’oluganda Kokkinakis n’abalala nga bali mu Kkooti ya Bulaaya Ekola ku Ddembe ly’Obuntu. 3. Abajulirwa ba Yakuwa nga bali mu Kkooti mu Russia. 4. Ab’oluganda nga bali wabweru wa Kkooti mu South Korea.

Kokkinakis v. Greece: Droit réservé

Okuva ku kkono waggulu: Omusango wakati wa Virginia State Board of Education ne Barnette; Kokkinakis ne Greece; Taganrog LRO n’Abalala ne Russia; Cha n’Abalala ne South Korea

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

‘Okulwanirira Amawulire Amalungi n’Okuganyweza Okuyitira mu Mateeka’

Abalabe bwe baagezaako okukomya omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu, Abayisirayiri baakozesa amateeka okusobola okweyongera okuzimba. (Ezr 5:11-16) Abakristaayo nabo bafubye okulwanirira amawulire amalungi n’okuganyweza okuyitira mu mateeka. (Baf. 1:7) Eyo y’ensonga lwaki Ekitongole Ekikola ku by’Amateeka kyatandikibwawo ku kitebe kyaffe ekikulu mu 1936. Leero Ekitongole Ekikola ku by’Amateeka ekiri ku Kitebe Ekikulu kiyamba ab’oluganda mu nsi yonna okulwanirira mu mateeka omulimu gw’Obwakabaka. Biki ekitongole kino bye kikoze ebiyambye omulimu gw’Obwakabaka okugenda mu maaso era ebiganyudde abantu ba Katonda?

MULABE VIDIYO OKUKYALIRA EKITONGOLE EKIKOLA KU BY’AMATEEKA KU KITEBE KYAFFE EKIKULU, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO WAMMANGA:

  • Kusoomooza ki Abajulirwa ba Yakuwa kwe bazze boolekagana nakwo?

  • Misango ki gye tuwangudde? Waayo ekyokulabirako

  • Kiki buli omu ku ffe ky’asobola okukola “okulwanirira amawulire amalungi era n’okuganyweza okuyitira mu mateeka”?

  • Wa ku mukutu gwaffe we tusobola okusoma ku misango egikwata ku bantu ba Katonda n’amannya g’Abajulirwa ba Yakuwa abasibiddwa olw’okukkiriza kwabwe?

Bw’oba obuulira ab’obuyinza ne bakugamba nti omenya amateeka, togezaako kukalambira ng’obategeeza nti olina eddembe okubuulira. Mu kifo ky’ekyo, bawulirize. Oyo aba akulagidde okulekera awo okubuulira bw’aba nga wa poliisi, mu ngeri ey’amagezi weetegereze ebimukwatako ebiri ku bbaagi ye, bwe kiba kisoboka. Oluvannyuma, mu bwangu ddala tegeezaako abakadde era nabo bajja kutegeezaako ofiisi y’ettabi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share