EKITUNDU EKY’OKUSOMA 10
Okwagala Yakuwa n’Okusiima by’Akukolera Kijja Kukuleetera Okubatizibwa
“Kiki ekiŋŋaana okubatizibwa?”—BIK. 8:36.
OLUYIMBA 37 Okuweereza Yakuwa n’Omutima Gwaffe Gwonna
OMULAMWAa
1-2. Nga bwe kiragibwa mu Ebikolwa 8:27-31, 35-38, kiki ekyaleetera Omwesiyopiya omulaawe okubatizibwa?
OYAGALA okubatizibwa ofuuke omuyigirizwa wa Kristo? Okwagala n’okusiima bireetedde bangi okusalawo okubatizibwa. Lowooza ku musajja omu eyali omukungu wa kabaka omukazi owa Esiyopiya.
2 Omwesiyopiya oyo bwe yakimanya okuva mu Byawandiikibwa nti yali yeetaaga okubatizibwa, amangu ddala yabatizibwa. (Soma Ebikolwa 8:27-31, 35-38.) Kiki ekyamukubiriza okubatizibwa? Yali ayagala nnyo Ekigambo kya Katonda. Bwe yali mu ggaali lye ng’addayo ewaabwe, yali asoma ekitundu ekimu okuva mu kitabo kya Isaaya. Ate era Firipo bwe yayogera naye, omusajja oyo yasiima ekyo Yesu kye yamukolera. Naye lwaki omukungu oyo yali agenze e Yerusaalemi? Kubanga yali ayagala Yakuwa. Ekyo tukimanya tutya? Yali ava kusinza Yakuwa mu Yerusaalemi. Kirabika omusajja oyo yali avudde mu ddiini gye yazaalibwamu n’asalawo okusinziza awamu n’eggwanga eryali lyewaddeyo eri Katonda ow’amazima. Okwagala okwo kwe yalina eri Yakuwa, kwe kwamukubiriza n’okusalawo okubatizibwa n’afuuka omuyigirizwa wa Kristo.—Mat. 28:19.
3. Kiki ekiyinza okulemesa omuntu okubatizibwa? (Laba akasanduuko “Kiki Ekiri mu Mutima Gwo?”)
3 Okwagala kw’olina eri Yakuwa kusobola okukuleetera okubatizibwa. Naye era okwagala kusobola okukulemesa okubatizibwa. Mu ngeri ki? Lowooza ku byokulabirako bino. Oyinza okuba ng’oyagala nnyo ab’eŋŋanda zo ne mikwano gyo abatali baweereza ba Yakuwa era ng’otya nti bw’onoobatizibwa bajja kukukyawa. (Mat. 10:37) Oba oyinza okuba ng’olina emize egimu gy’oyagala era gy’omanyi nti Katonda tagyagala naye nga kikuzibuwalira okugirekayo. (Zab. 97:10) Oba oyinza okuba nga wakula okuza emikolo egimu egikwatibwa mu madiini ag’obulimba. Oyinza okuba ng’olina ebintu ebikusanyusa ku mikolo egyo era ng’ozibuwalirwa okulekera awo okugyenyigiramu. (1 Kol. 10:20, 21) N’olwekyo olina okusalawo kiki ky’osinga okwagala oba ani gw’osinga okwagala.
OKWAGALA OKUSINGA OBUKULU
4. Kintu ki ekisingira ddala obukulu ekinaakuleetera okubatizibwa?
4 Olina ebintu bingi ebirungi by’osobola okwagala era n’okusiima. Ng’ekyokulabirako, ne bwe wali nga tonnaba kutandika kuyiga na Bajulirwa ba Yakuwa oyinza okuba nga wali oyagala nnyo Bayibuli. Era oyinza okuba nga wali oyagala nnyo Yesu. Ate kati okuva lwe wategeera Abajulirwa ba Yakuwa oyinza okuba ng’oyagala okubeerangako awamu nabo. Naye okwagala ebintu ebyo ebirungi kuyinza obutakuleetera kwewaayo eri Yakuwa n’obatizibwa. Ekintu ekisingira ddala obukulu ekisobola okukuleetera okubatizibwa kwe kwagala Yakuwa Katonda. Bw’oyagala Yakuwa okusinga ekintu kyonna oba omuntu omulala yenna, toyinza kukkiriza kintu kyonna oba muntu yenna kukulemesa kumuweereza. Okwagala kw’olina eri Yakuwa kujja kukuleetera okubatizibwa, era kujja kukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali oluvannyuma lw’okubatizibwa.
5. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?
5 Yesu yagamba nti tulina okwagala Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna, n’amaanyi gaffe gonna. (Mak. 12:30) Oyinza otya okweyongera okwagala ennyo Yakuwa n’okumussaamu ekitiibwa? Bwe tufumiitiriza ku kwagala Yakuwa kw’alina gye tuli naffe kituleetera okumwagala. (1 Yok. 4:19) Bw’onoofuna okwagala okwo okusingayo obukulu, bintu ki by’ojja okukola era nneewulira ki endala z’ojja okufuna?b
6. Okusinziira ku Abaruumi 1:20, engeri emu gy’oyinza okuyiga ebikwata ku Yakuwa y’eruwa?
6 Yiga ebikwata ku Yakuwa okuyitira mu bintu bye yatonda. (Soma Abaruumi 1:20; Kub. 4:11) Lowooza ku ngeri ebimera n’ensolo gye biraga nti Yakuwa alina amagezi mangi nnyo. Lowooza ku ngeri eyeewuunyisa omubiri gwo gye gwakolebwamu. (Zab. 139:14) Ate era lowooza ku maanyi amangi ennyo Yakuwa ge yassa mu njuba, ate ng’enjuba y’emu bumu ku buwumbi n’obuwumbi bw’emmunyeenye ze yatonda.c (Is. 40:26) Bw’ofumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda, ojja kweyongera okumussaamu ekitiibwa. Naye okumanya nti Yakuwa alina amagezi n’amaanyi mangi si kye kyokka ekijja okukuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Okusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, weetaaga okuyiga ebirala ebimukwatako.
7. Okusobola okwagala ennyo Yakuwa, olina kuba mukakafu ku ki?
7 Olina okuba omukakafu nti Yakuwa akufaako kinnoomu. Kikuzibuwalira okukkiriza nti Omutonzi w’eggulu n’ensi akimanyi nti gy’oli era nti akufaako? Bwe kiba kityo, kijjukire nti Yakuwa “tali wala wa buli omu ku ffe.” (Bik. 17:26-28) “Akebera emitima gyonna.” Era nga Dawudi bwe yagamba Sulemaani, akusuubiza nti “bw’onoomunoonya ajja kukkiriza omuzuule.” (1 Byom. 28:9) Mu butuufu, okuba nti kati oyigirizibwa Bayibuli kiraga nti Yakuwa ‘akusembezza gy’ali.’ (Yer. 31:3) Gy’okoma okumanya n’okusiima ebyo byonna Yakuwa by’akukoledde, okwagala kw’olina gy’ali gye kujja okukoma okweyongera.
8. Oyinza otya okulaga nti osiima okwagala Yakuwa kw’akulaga?
8 Engeri emu gy’oyinza okulagamu nti osiima okwagala Yakuwa kw’akulaga kwe kwogera naye mu kusaba. Okwagala kw’olina eri Katonda kujja kweyongera singa omubuulira ebikweraliikiriza era n’omwebaza olw’ebirungi by’akukolera. Ate era enkolagana gy’olina ne Yakuwa ejja kweyongera bw’onoolaba engeri gy’addamu okusaba kwo. (Zab. 116:1) Ojja kuba mukakafu nti akutegeera bulungi. Naye okusobola okwongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa, olina okumanya endowooza ye. Era weetaaga okumanya by’akwetaagisa okukola. Ebyo okusobola okubimanya, olina okuyiga Ekigambo kye, Bayibuli.
Engeri esingayo obulungi gye tuyinza okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda n’okumanya by’atwetaagisa kwe kuyiga Bayibuli (Laba akatundu 9)d
9. Oyinza otya okukiraga nti osiima Bayibuli?
9 Ekigambo kya Katonda, Bayibuli, kitwale nga kya muwendo. Bayibuli yokka y’erimu amazima agakwata ku Yakuwa n’ekyo ky’akwagaliza. Okiraga nti osiima Bayibuli ng’ogisoma buli lunaku, ng’otegeka bulungi ekitundu ky’oba ogenda okusoma n’omusomesa wo, era ng’okolera ku by’oyiga. (Zab. 119:97, 99; Yok. 17:17) Olina enteekateeka eyiyo ku bubwo ey’okusoma Bayibuli? Ogoberera enteekateeka eyo ng’ofuba okulaba nti osoma Bayibuli buli lunaku?
10. Ekimu ku bintu ebifuula Bayibuli okuba ey’enjawulo kye kiruwa?
10 Ekimu ku bintu ebifuula Bayibuli okuba ey’enjawulo ennyo kwe kuba nti erimu ebintu ebikwata ku Yesu ebyayogerwa oba ebyawandiikibwa abantu abaamulabirako ddala. Bayibuli kye kitabo kyokka ekyesigika ekiraga ekyo Yesu kye yakukolera. Bw’oyiga ku ebyo Yesu bye yayigiriza ne bye yakola, ojja kumwagala.
11. Kiki ekiyinza okukuleetera okwagala Yakuwa?
11 Bw’oneeyongera okwagala Yesu, ojja kweyongera okwagala Yakuwa. Lwaki? Kubanga Yesu ayolekera ddala engeri za Kitaawe. (Yok. 14:9) N’olwekyo, gy’okoma okuyiga ebikwata ku Yesu gy’okoma okweyongera okutegeera n’okusiima Yakuwa. Lowooza ku kisa Yesu kye yalaga abantu abaali banyoomebwa abalala, gamba ng’abaavu, abalwadde, n’abanafu. Ate era lowooza ku magezi amalungi g’akuwa n’engeri obulamu bwo gye buyinza okweyongera okulongooka singa ogakolerako.—Mat. 5:1-11; 7:24-27.
12. Bw’oyiga ebikwata ku Yesu kijja kukuleetera kukola ki?
12 Bw’ofumiitiriza ku ssaddaaka Yesu gye yawaayo tusobole okusonyiyibwa ebibi byaffe, ojja kweyongera okumwagala. (Mat. 20:28) Bw’okimanya nti Yesu kyeyagalire yakufiirira, kiyinza okukuleetera okwenenya ebibi byo era n’osaba Yakuwa akusonyiwe. (Bik. 3:19, 20; 1 Yok. 1:9) Bw’oneeyongera okwagala Yesu ne Yakuwa, ojja kuwulira ng’oyagala okubeera n’abo ababaagala.
13. Kiki Yakuwa ky’akuwadde?
13 Yagala ab’omu maka ga Yakuwa. Ab’eŋŋanda zo n’abo abaali mikwano gyo abataweereza Yakuwa bayinza obutategeera nsonga lwaki oyagala kwewaayo eri Yakuwa. Bayinza n’okukuyigganya. Yakuwa ajja kukuyamba ng’akuwa baganda bo ab’eby’omwoyo. Bw’onoonywerera ku bakkiriza banno, bajja kukulaga okwagala era bajja kukuyamba. (Mak. 10:29, 30; Beb. 10:24, 25) Ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo, ab’eŋŋanda zo bayinza okukwegattako mu kuweereza Yakuwa n’okutambulira ku mitindo gye.—1 Peet. 2:12.
14. Nga bwe kiragibwa mu 1 Yokaana 5:3, kiki ky’ozudde ku mitindo gya Yakuwa?
14 Yagala emitindo gya Yakuwa era gikolereko. Bwe wali tonnayiga bikwata ku Yakuwa oyinza okuba nga walina emitindo gyo kw’otambuliza obulamu bwo, naye kati okiraba nti emitindo gya Yakuwa gye gisinga. (Zab. 1:1-3; soma 1 Yokaana 5:3.) Lowooza ku kubuulirira okuli mu Bayibuli okukwata ku baami, abakyala, abazadde, n’abaana. (Bef. 5:22–6:4) Bw’okoledde ku kubuulirira okwo, okirabye nti obulamu bw’amaka go bulongoose? Bw’okoledde ku bulagirizi Katonda bw’awa obukwata ku kulonda emikwano, okirabye nti enneeyisa yo erongoose? Weeyongedde okuba omusanyufu? (Nge. 13:20; 1 Kol. 15:33) Oyinza okuba ng’ebibuuzo ebyo byonna obizzeemu nti yee.
15. Kiki ekiyinza okukuyamba okumanya engeri y’okukolera ku misingi gya Bayibuli?
15 Oluusi kiyinza okukuzibuwalira okumanya engeri y’okukolera ku misingi gya Bayibuli. Eyo ye nsonga lwaki ekibiina kya Yakuwa kikuba ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli, ebisobola okukuyamba okwawulawo ekituufu ku kikyamu. (Beb. 5:13, 14) Bw’osoma ebitabo ebyo, ojja kulaba engeri y’okukolera ku misingi egyo, era ekyo kijja kukuleetera okwongera okwagala ekibiina kya Yakuwa.
16. Yakuwa ategese atya abantu be?
16 Yagala nnyo ekibiina kya Yakuwa era kiwagire. Yakuwa ategese abantu be mu bibiina eby’enjawulo, era Omwana we Yesu gwe mutwe gw’ebibiina ebyo byonna. (Bef. 1:22; 5:23) Yesu yalonda abasajja abatonotono abaafukibwako amafuta okuwoma omutwe mu kutegeka omulimu gw’ayagala gukolebwe leero. Abasajja abo Yesu yabayita “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” era obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okukuliisa n’okukukuuma mu by’omwoyo babutwala nga bukulu nnyo. (Mat. 24:45-47) Emu ku ngeri omuddu omwesigwa gy’akufaako kwe kukakasa nti abasajja abalina ebisaanyizo balondebwa okuba abakadde okusobola okukulabirira. (Is. 32:1, 2; Beb. 13:17; 1 Peet. 5:2, 3) Abakadde beetegefu okukola kyonna ekisoboka okukubudaabuda n’okukuyamba okweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Naye ekimu ku bintu ebisinga obukulu bye bayinza okukola kwe kukuyamba okumanya engeri y’okuyigirizaamu abalala ebikwata ku Yakuwa.—Bef. 4:11-13.
17. Okusinziira ku Abaruumi 10:10, 13, 14, lwaki tubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa?
17 Yamba abalala okwagala Yakuwa. Yesu yagamba abagoberezi be okuyigiriza abalala ebikwata ku Yakuwa. (Mat. 28:19, 20) Kyangu okukolera ku kiragiro kya Yesu ekyo ng’otuukiriza butuukiriza luwalo. Naye okwagala kw’olina eri Yakuwa bwe kweyongera, otandika okuwulira ng’omutume Peetero ne Yokaana abaagamba nti: “Tetuyinza kulekera awo kwogera ku bintu bye twalaba ne bye twawulira.” (Bik. 4:20) Okuyamba abalala okwagala Yakuwa kireeta essanyu lingi. Lowooza ku ssanyu Firipo, omubuulizi w’enjiri, lye yafuna bwe yayamba Omwesiyopiya okuyiga amazima agali mu Byawandiikibwa era n’abatizibwa! Bw’okoppa Firipo n’ogondera ekiragiro kya Yesu eky’okubuulira, kiba kiraga nti oyagala okuba Omujulirwa wa Yakuwa. (Soma Abaruumi 10:10, 13, 14.) Ekyo kijja kukuleetera okwebuuza ekibuuzo kino Omwesiyopiya kye yabuuza: “Kiki ekiŋŋaana okubatizibwa?”—Bik. 8:36.
18. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu ekiddako?
18 Bw’osalawo okubatizibwa, ojja kuba osazeewo ekintu ekisinga obukulu mu bulamu bwo. Olw’okuba okubatizibwa kukulu nnyo, olina okulowooza ennyo ku biki ebizingirwamu. Kiki ky’osaanidde okumanya ku kubatizibwa? Biki by’osaanidde okukola nga tonnabatizibwa n’oluvannyuma lw’okubatizibwa? Ebibuuzo bino bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
OLUYIMBA 2 Erinnya Lyo Ggwe Yakuwa
a Abantu abamu abaagala Yakuwa babuusabuusa obanga batuuse okubatizibwa bafuuke Abajulirwa ba Yakuwa. Bw’oba nga naawe bw’otyo bw’owulira, ekitundu kino kigenda kukuyamba okulaba ebimu ku bintu by’osobola okukola osobole okubatizibwa.
b Buli muntu wa njawulo. N’olwekyo abantu abamu bayinza okukolera ku magezi ge tugenda okulaba mu kitundu kino nga tebagoberedde ngeri gye gasengekeddwamu.
c Ebyokulabirako ebirala osobola okubisanga mu brocuwa Was Life Created? ne The Origin of Life—Five Questions Worth Asking.
d EKIFAANANYI: Mwannyinaffe agenze okugula ebintu awa omukazi tulakiti.