Ennyanjula
Wali osabyeko Katonda n’owulira nti tazzeemu kusaba kwo? Bwe kiba bwe kityo, toli wekka. Bangi basabye Katonda abayambe nga balina ebizibu, naye ebizibu byabwe ne bitavaawo. Mu katabo kano, tugenda kulaba obukakafu obulaga nti Katonda awulira okusaba kwaffe, ensonga lwaki essaala ezimu taziddamu, era n’engeri gye tuyinza okusabamu okusobola okuwulirwa Katonda.