LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp21 Na. 1 lup. 5-7
  • Ddala Katonda Awulira Essaala Zaffe?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ddala Katonda Awulira Essaala Zaffe?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KATONDA AWULIRIZA ESSAALA ZO.
  • KATONDA AYAGALA OMUSABE.
  • KATONDA AKUFAAKO.
  • “NJAGALA YAKUWA, OLW’OKUBA AWULIRA EDDOBOOZI LYANGE”
  • Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Enkizo ey’Okusaba
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Ennyanjula
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Okusaba Kukuyamba Okusemberera Katonda
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
wp21 Na. 1 lup. 5-7
Omuwala amwenya.

“Musemberere Katonda, naye anaabasemberera.”​—Yakobo 4:8

Ddala Katonda Awulira Essaala Zaffe?

Wali weebuuzizzaako obanga Katonda awulira essaala zo? Bwe kiba bwe kityo, toli wekka. Abantu bangi basabye Katonda abayambe nga balina ebizibu, naye ebizibu ebyo ne bitavaawo. Ekyo kitegeeza nti Katonda tawuliriza ssaala zaffe? Nedda! Bayibuli etukakasa nti Katonda awuliriza okusaba kwaffe, bwe tumusaba mu ngeri entuufu. Ka tulabe Bayibuli ky’egamba ku nsonga eyo.

KATONDA AWULIRIZA ESSAALA ZO.

“Ai ggwe awulira okusaba, abantu aba buli kika banajjanga gy’oli.”​—Zabbuli 65:2.

Abantu abamu bagamba nti basaba olw’okuba okusaba kubaleetera okuwulira obulungi, wadde nga tebakkiriza nti Katonda awuliriza essaala zaabwe. Naye okusaba si kye kintu kye tukola okuwulira obuwulizi obulungi nga tulina ebizibu. Bayibuli egamba nti: “Yakuwaa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola, abo bonna abamukoowoola mu mazima. . . . Awulira okuwanjaga kwabwe.”​—Zabbuli 145:18, 19.

N’olwekyo, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa Katonda awulira okusaba kw’abaweereza be. Agamba nti: “Mujja kunkoowoola era mujja kujja munsabe, nange nja kubawuliriza.”​—Yeremiya 29:12.

KATONDA AYAGALA OMUSABE.

Taata atudde okumpi ne muwala we azannya.

“Munyiikirirenga okusaba.”​​—Abaruumi 12:12.

Bayibuli etukubiriza “okusaba buli kiseera.” Ekyo kiraga nti Yakuwa Katonda ayagala tumusabe.​—Abeefeso 6:18; Matayo 26:41.

Lwaki Katonda ayagala tumusabe? Lowooza ku kino: Muzadde ki atawulira bulungi, omwana we bw’amusaba abeeko ky’amukolera? Kyo kituufu nti omuzadde ayinza okuba ng’amanyi omwana we bye yeetaaga. Naye omwana we bw’amusaba okubaako ky’amukolera, kimulaga nti omwana oyo amwesiga era nti balina enkolagana ennungi. Mu ngeri y’emu, bwe tusaba Yakuwa Katonda, kiba kiraga nti tumwesiga era nti twagala okuba n’enkolagana ennungi naye.​—Engero 15:8; Yakobo 4:8.

KATONDA AKUFAAKO.

Omusajja atudde ku madaala nga munakuwavu. Akutte bokisi erimu ebintu.

‘Mukwase byonna ebikweraliikiriza, kubanga akufaako.’​—1 Peetero 5:7.

Katonda ayagala tumusabe kubanga atwagala nnyo era atufaako. Amanyi ebintu byonna ebitweraliikiriza, era ayagala okutuyamba.

Kabaka Dawudi yasabanga nnyo Yakuwa Katonda amuyambe, era yamubuuliranga byonna ebyamuli ku mutima. (Zabbuli 23:1-6) Katonda yali atwala atya Dawudi? Yali ayagala nnyo Dawudi, era yawulirizanga essaala ze. (Ebikolwa 13:22) Naffe bwe tusaba, Katonda awulira essaala zaffe, kubanga atufaako.

“NJAGALA YAKUWA, OLW’OKUBA AWULIRA EDDOBOOZI LYANGE”

Ebigambo ebyo byayogerwa omu ku abo abaawandiika ekitabo kya zabbuli. Yali mukakafu nti Katonda yali awuliriza essaala ze, era ekyo kyamugumya. Olw’okuba yali awulira nti ali kumpi ne Katonda, kyamuyamba okugumira ebizibu bye yalina.​—Zabbuli 116:1-9.

Bwe tuba abakakafu nti Katonda awulira essaala zaffe, tujja kweyongera okumusaba. Lowooza ku Pedro, abeera mu bukiikakkono bwa Sipeyini. Mutabani we ow’emyaka 19 yafiira mu kabenje. Pedro yawulira ennaku ya maanyi olw’okufiirwa mutabani we, era yasaba Katonda emirundi n’emirundi amugumye. Katonda yaddamu essaala ze? Pedro agamba nti: “Yakuwa yaddamu essaala zange ng’akozesa Bakristaayo bannaffe okutubudaabuda, nze ne mukyala wange.”

Omusajja omwennyamivu akutte ekifaananyi nga mikwano gye bamubudaabuda.

Oluusi Katonda addamu essaala zaffe ng’akozesa mikwano gyaffe okutuyamba n’okutubudaabuda

Okusaba kwayamba nnyo Pedro n’ab’omu maka ge mu nnaku gye baalimu. Mukyala we ayitibwa María agamba nti: “Okusaba kwannyamba okugumira ennaku gye nnalimu. Nnali mukakafu nti Yakuwa Katonda yaddamu essaala zange kubanga bwe nnamalanga okumusaba, nnawuliranga obuweerero.”

Ebyo bye tusoma mu Bayibuli, n’ebyo bangi bye bayiseemu, biraga nti Katonda awulira essaala zaffe. Kyokka, waliwo essaala Katonda z’ataddamu. Lwaki Katonda addamu essaala ezimu, ate endala n’ataziddamu?

a Yakuwa lye linnya lya Katonda.​—Zabbuli 83:18.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share