EKITUNDU EKY’OKUSOMA 23
Kuuma “Ennimi z’Omuliro gwa Ya” nga Zibumbujja
“Okwagala kulinga ennimi z’omuliro ogubumbujja, ennimi z’omuliro gwa Ya.”—LUY. 8:6.
OLUYIMBA 131 “Katonda ky’Agasse Awamu”
OMULAMWAa
1. Bayibuli ennyonnyola etya okwagala okwa nnamaddala?
OKWAGALA kulinga “ennimi z’omuliro ogubumbujja, ennimi z’omuliro gwa Ya. Amazzi agayira tegasobola kuzikiza kwagala, n’emigga tegisobola kukutwala.”b (Luy. 8:6, 7) Ebigambo ebyo nga binnyonnyola bulungi okwagala okwa nnamaddala! Ebigambo ebyo bizzaamu abafumbo amaanyi. Biraga nti buli omu asobola okulaga munne okwagala okwa nnamaddala.
2. Kiki abafumbo kye balina okukola okwagala kwe balina kuleme kukendeera?
2 Kyetaagisa okufuba abafumbo okusobola okulagaŋŋana okwagala ekiseera kyonna. Ng’ekyokulabirako, omuliro okusobola okweyongera okwaka, gulina okwongerwamu enku. Bwe kitaba kityo, omuliro ogwo gusobola okuzikira. Mu ngeri y’emu, okwagala okubeerawo wakati w’omwami n’omukyala okusobola okusigala nga kunywevu, balina okweyongera okunyweza enkolagana yaabwe. Ebiseera ebimu abafumbo bayinza okuwulira nti okwagala kwabwe kukendedde, naddala bwe baba nga boolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna, obulwadde, oba obuzibu mu kukuza abaana. Bw’oba ng’oli mufumbo, oyinza otya okukuuma “ennimi z’omuliro gwa Ya” nga zibumbujja mu bufumbo bwo? Mu kitundu kino, tugenda kulaba amagezi ga mirundi esatu agajja okuyamba abafumbo okunyweza enkolagana yaabwe, basobole okuba n’obufumbo obulimu essanyu.c
MWEYONGERE OKUNYWEZA ENKOLAGANA YAMMWE NE YAKUWA
Okufaananako Yusufu ne Maliyamu, omwami n’omukyala basaanidde okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa (Laba akatundu 3)
3. Abafumbo bwe baba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kiyinza kitya okubayamba okweyongera okwagalana? (Omubuulizi 4:12) (Laba n’ekifaananyi.)
3 Okusobola okukuuma “ennimi z’omuliro gwa Ya” nga zibumbujja mu bufumbo bwabwe, omwami n’omukyala balina okufuba okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Ekyo kiyinza kubayamba kitya mu bufumbo bwabwe? Abafumbo bwe baba nga batwala enkolagana yaabwe ne Kitaabwe ow’omu ggulu nga nkulu, bafuba okukolera ku magezi g’abawa. Ekyo kibayamba okwewala, n’okuvvuunuka ebizibu ebiyinza okuviirako okwagala kwabwe okukendeera. (Soma Omubuulizi 4:12.) Abantu abalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa bafuba okumukoppa era bafuba okukulaakulanya engeri ng’ezize, gamba ng’ekisa, obugumiikiriza, n’okusonyiwa. (Bef. 4:32–5:1) Abafumbo bwe booleka engeri ng’ezo, okwagala mu bufumbo bwabwe kweyongera. Mwannyinaffe Lena eyaakamala emyaka egisukka mu 25 mu bufumbo agamba nti, “Kyangu okwagala n’okuwa ekitiibwa omuntu ow’eby’omwoyo.”
4. Lwaki Yakuwa yalonda Yusufu ne Maliyamu okuba bazadde ba Masiya?
4 Lowooza ku kyokulabirako ekimu mu Bayibuli. Yakuwa bwe yali alonda abo abandibadde bazadde ba Masiya, mu bantu bonna abaali mu lunyiriri lwa Dawudi, yalondamu Yusufu ne Maliyamu. Lwaki? Kubanga bonna baalina enkolagana ey’oku lusegere naye, era yakimanya nti bandimukulembezza mu bufumbo bwabwe. Kiki abafumbo kye bayinza okuyigira ku Yusufu ne Maliyamu?
5. Kiki abaami kye bayinza okuyigira ku Yusufu?
5 Yusufu yakoleranga ku bulagirizi bwa Yakuwa era ekyo kyamufuula omwami omulungi. Emirundi ng’esatu, yafuna obulagirizi okuva eri Katonda obwali bukwata ku maka ge. Ku mirundi egyo gyonna yakoleranga mangu ku bulagirizi obwamuweebwa ne bwe kyabanga ekizibu. (Mat. 1:20, 24; 2:13-15, 19-21) Olw’okuba yakoleranga ku bulagirizi bwa Katonda, kyamusobozesa okukuuma Maliyamu, n’okumulabirira. Ekyo kiteekwa okuba nga kyaleetera Maliyamu okweyongera okumwagala, n’okumuwa ekitiibwa! Abaami, musobola okukoppa Yusufu nga munoonya obulagirizi okuva mu Bayibuli obusobola okubayamba okulabirira ab’omu maka gammwe.d Bw’okolera ku bulagirizi obwo ne bwe kiba nga kikwetaagisa okukola enkyukakyuka, kiba kiraga nti oyagala mukyala wo, era ekyo kijja kunyweza obufumbo bwammwe. Mwannyinaffe abeera mu Vanuatu amaze emyaka egisukka mu 20 mu bufumbo, agamba nti: “Omwami wange bw’anoonya obulagirizi okuva eri Yakuwa era n’abukolerako, nneeyongera okumussaamu ekitiibwa. Mpulira nga nnina obukuumi, era mmwesiga mu byonna by’asalawo.”
6. Kiki abakyala abafumbo kye bayinza okuyigira ku Maliyamu?
6 Maliyamu yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, era yafubanga okunyweza okukkiriza kwe. Yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa, era yawangayo obudde okubifumiitirizaako. (Luk. 2:19, 51) Olw’okuba yali muntu wa bya mwoyo, awatali kubuusabuusa ekyo kyamufuula omukyala omulungi ennyo. Leero abakyala bangi abafumbo bafuba okukoppa Maliyamu. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe ayitibwa Emiko agamba nti: “Bwe nnali sinnayingira bufumbo, nnalina enteekateeka yange ey’eby’omwoyo. Kyokka oluvannyuma lw’okuyingira obufumbo, enteekateeka eyo yaggwaawo. Omwami wange ye yakulemberangamu mu kusaba n’okusinza kw’amaka. Nnakiraba nti nnalina okunyweza enkolagana eyange ku bwange ne Yakuwa. N’olwekyo nneeteerawo obudde obw’okusaba, okusoma Bayibuli, n’okufumiitiriza.” (Bag. 6:5) Abakyala abafumbo, bwe mweyongera okunyweza enkolagana yammwe ne Yakuwa, abaami bammwe bajja kweyongera okubatendereza n’okubaagala.—Nge. 31:30.
7. Kiki abafumbo kye basobola okuyigira ku Yusufu ne Maliyamu ku bikwata ku kusinziza awamu Yakuwa?
7 Yusufu ne Maliyamu era baakolera wamu okusobola okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Okusinziza awamu ng’amaka baali bakitwala nga kikulu. (Luk. 2:22-24, 41; 4:16) Kiyinza okuba tekyababeerera kyangu naddala bwe baazaala abaana abalala, naye baasobola okukikola. Baateerawo abafumbo leero ekyokulabirako ekirungi. Bwe muba nga mulina abaana nga bwe kyali eri Yusufu ne Maliyamu, kiyinza obutababeerera kyangu okubangawo mu nkuŋŋaana, n’okufuna ebiseera by’okusinza kw’amaka. Ate era kiyinza okubazibuwalira okufuna ebiseera okwesomesa n’okusabirako awamu ng’abafumbo. Kyokka musaanidde okukijjukira nti bwe musinziza awamu Yakuwa, mweyongera okumusemberera, era enkolagana yammwe ng’abafumbo yeeyongera okunywera. N’olwekyo mukulembeze okusinza Yakuwa mu maka gammwe.
8. Kiki abo abalina ebizibu mu bufumbo kye bayinza okukola okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu kusinza kw’amaka?
8 Naye watya singa obufumbo bwammwe bulimu ebizibu? Muyinza okuwulira nga temusobola kusinza nga muli wamu. Bwe kiba kityo, muyinza okufunayo ekintu kimu mwenna ekibanyumira ne mukikubaganyaako ebirowoozo okumala eddakiika ntonotono. Ekyo kiyinza okubayamba okweyongera okunyweza enkolagana yammwe, era kiyinza okubaleetera okwagala okwenyigira mu bintu eby’omwoyo nga muli mwembi.
MUFUNEEYO AKADDE OKUBEERAKO AWAMU
9. Lwaki abafumbo balina okufunayo akadde okubeerako awamu?
9 Abafumbo era musobola okunyweza enkolagana yammwe nga mufunayo akadde okubeerako awamu. Bwe mukola bwe mutyo, kibayamba okumanya engeri buli omu gy’awuliramu. (Lub. 2:24) Weetegereze ekyo Lilia ne Ruslan kye baazuula emyaka egisukka mu 15 emabega nga baakafumbiriganwa. Lilia agamba nti: “Twakiraba nti twali tetugenda kufuna biseera bingi kubeerako wamu nga bwe twali tulowooza. Ebiseera ebingi twabimaliranga ku kukola mirimu gituyimirizaawo, emirimu egy’awaka, n’oluvannyuma ku baana baffe. Twakitegeera nti singa tetufunayo kadde kubeerako wamu ng’abafumbo, okwagala buli omu kw’alina eri munne kwandikendedde.”
10. Abafumbo bayinza batya okukolera ku magezi agali mu Abeefeso 5:15, 16?
10 Abafumbo, kiki kye muyinza okukola okusobola okufunayo akadde okubeerako awamu? Muyinza okukola enteekateeka ne mufunayo obudde okubeerako awamu. (Soma Abeefeso 5:15, 16.) Ow’oluganda abeera mu Nigeria ayitibwa Uzondu agamba nti: “Bwe mba nteekateeka ebintu bye nnaakola n’essaawa ze nnaabikoleramu, n’ekiseera kye nnaamala ne mukyala wange nakyo nkiteekamu, era ekyo nkitwala nga kikulu.” (Baf. 1:10) Ate lowooza ku ngeri Anastasia, mukyala w’omulabirizi akyalira ebibiina mu Moldova gy’akozesaamu obulungi ebiseera bye. Agamba nti: “Ekiseera omwami wange w’abeerera n’eby’okukola ebingi olw’obuvunaanyizibwa bw’alina, nkikozesa okukola emirimu gye nteekeddwa okukola. Oluvannyuma tuba tusobola okufuna akadde okubeerako awamu.” Naye watya singa muba n’eby’okukola bingi ne kiba nti kizibu okufunayo akadde okubeerako awamu?
Biki bye muyinza okukolera awamu ng’abafumbo? (Laba akatundu 11-12)
11. Bintu ki Akula ne Pulisikira bye baakolanga nga bali wamu?
11 Abafumbo balina kye basobola okuyigira ku Akula ne Pulisikira, abafumbo abaayagalwa ennyo Abakristaayo bangi mu kyasa ekyasooka. (Bar. 16:3, 4) Wadde nga Bayibuli tewa kalonda yenna akwata ku bufumbo bwabwe, eraga nti baakoleranga wamu omulimu ogw’okweyimirizaawo, baagendanga bonna okubuulira, era baayambanga abalala nga bali bonna. (Bik. 18:2, 3, 24-26) Mu butuufu emirundi gyonna Bayibuli gy’eboogerako, eboogerako nga bali wamu.
12. Kiki abafumbo kye bayinza okukola okweyongera okufuna akadde okubeerako awamu? (Laba n’ekifaananyi.)
12 Abafumbo bayinza batya okukoppa Akula ne Pulisikira? Lowooza ku bintu ebingi ggwe ne munno mu bufumbo bye mukola. Lwaki ebintu ebimu temubikolera wamu, mu kifo kya buli omu okukola ng’ali yekka? Ng’ekyokulabirako, Akula ne Pulisikira baagendanga bonna okubuulira. Nammwe mutera okubuulirirako awamu? Akula ne Pulisikira era baakolanga bonna omulimu ogwalinga gubayimirizaawo. Ggwe ne munno mu bufumbo bwe muba ng’emirimu gye mukola okweyimirizaawo gya njawulo, lwaki temukolera wamu emirimu gya waka? (Mub. 4:9) Bwe mukolera wamu, mujja kunyumirwa nnyo, era mujja kufuna akakisa okunyumyako. Robert ne Linda bamaze mu bufumbo emyaka egisukka mu 50. Robert agamba nti: “Amazima gali nti tetufuna biseera kugenda kwesanyusaamu ne mukyala wange. Naye bwe mba njoza ebintu, nga ye abisiimuula, oba bwe mba nnima naye n’anneegattako ne tukolera wamu, kinsanyusa nnyo. Bwe tukolera wamu emirimu, kinyweza enkolagana yaffe. Mu butuufu omukwano gwaffe gweyongera okunywera.”
13. Kiki abafumbo kye basaanidde okukola enkolagana yaabwe okusobola okweyongera okunywera?
13 Kyokka kijjukire nti okubeera obubeezi awamu tekitegeeza nti enkolagana wakati w’omukyala n’omwami ejja kweyongera okunywera. Omukyala omu omufumbo mu Brazil agamba nti: “Olw’okuba tulina eby’okukola bingi, kyangu okutandika okulowooza nti olw’okuba tubeera mu nnyumba emu ekyo kye kitegeeza okubeerako awamu. Nkirabye nti okubeera obubeezi awamu tekimala, nneetaaga okuwa omwami wange obudde.” Lowooza ku ngeri Bruno ne mukyala we Tays, buli omu gy’awaamu munne ebiseera. Bruno agamba nti: “Akaseera ke tuba tuwaddeyo okubeerako awamu, tweggyako amasimu ne tusobola okunyumirwa obulungi akaseera ako.”
14. Kiki Abafumbo kye bayinza okukola bwe baba nga tebanyumirwa kubeerako wamu?
14 Naye watya singa ggwe ne munno mu bufumbo temunyumirwa kubeerako wamu? Kiyinza okuba nti ebintu ebibanyumira bya njawulo, oba nga bwe mubeerako awamu buli omu akola ebintu ebinyiiza munne. Kiki kye muyinza okukola? Lowooza ku kyokulabirako ky’omuliro ekyayogeddwako waggulu. Omuliro bw’oba waakagukuma guba tegwaka nnyo. Okusobola okwaka ennyo olina okweyongera okuguteekamu enku. Mu ngeri y’emu, lwaki nammwe tumutandika nga mufunayo obudde butonotono okubeerako awamu buli lunaku? Mufube okukola ebintu mwenna bye munyumirwa so si ebyo ebinaabaleetera enkaayana. (Yak. 3:18) Bwe munaakola bwe mutyo, okwagala kwammwe kujja kukomawo mpolampola.
MUWAŊŊANE EKITIIBWA
15. Okuwaŋŋana ekitiibwa kiyamba kitya abafumbo okweyongera okwagalana?
15 Kikulu okuwaŋŋana ekitiibwa mu bufumbo. Kiringa empewo esobozesa omuliro okwaka. Awatali mpewo, omuliro guzikira. Mu ngeri y’emu abafumbo bwe baba nga tebawaŋŋana kitiibwa, okwagala kwabwe kusobola okukendeera. Ku luuyi olulala, omwami n’omukyala bwe bafuba okuwaŋŋana ekitiibwa, okwagala kwabwe kweyongera. Kijjukire nti, tosaanidde kulowooza bulowooza nti munno omuwa ekitiibwa, naye munno asaanidde okukiraba nti ddala omuwa ekitiibwa. Penny ne Aret bamaze emyaka egisukka mu 25 nga bafumbo. Penny agamba nti: “Olw’okuba tuwaŋŋana ekitiibwa, amaka gaffe galimu okwagala. Buli omu tatya kweyabiza munne, kubanga buli omu endowooza ya munne agitwala nga nkulu.” Kati olwo kiki ky’oyinza okukola munno asobole okuwulira nti ddala omussaamu ekitiibwa? Lowooza ku Ibulayimu ne Saala.
Omwami Omukristaayo asaanidde okukiraga nti assa ekitiibwa mu ndowooza ya mukyala we ng’amuwuliriza bulungi (Laba akatundu 16)
16. Kiki abaami abafumbo kye bayigira ku Ibulayimu? (1 Peetero 3:7) (Laba n’ekifaananyi.)
16 Ibulayimu yali assaamu Ssaala ekitiibwa. Yamuwulirizanga, era yafangayo ku ndowooza ye. Lumu waliwo ekintu ekyanyiiza Saala n’akibuulirako Ibulayimu, era Saala yamunenya olw’ekintu ekyo. Ibulayimu yanyiiga era n’ayogera naye mu ngeri etali ya kisa? Nedda. Yali akimanyi nti Saala muwulize, era nti amuwagira mu ebyo bye yabanga asazeewo. Ibulayimu yawuliriza Saala era n’agezaako okugonjoola ekizibu ekyali kizzeewo. (Lub. 16:5, 6) Ekyo tukiyigirako ki? Abaami, mulina obuvunaanyizibwa okusalirawo ab’omu maka gammwe. (1 Kol. 11:3) Kyokka kiba kikolwa kya kwagala okusooka okumanya endowooza ya mukyala wo nga tonnaba kusalawo, naddala ng’ekyo ky’oba ogenda okusalawo kimukwatako. (1 Kol. 13:4, 5) Ebiseera ebimu mukyala wo ayinza okuba n’ekintu ekimutawaanya era ng’ayagala kukikubuulirako. Okiraga nti ofaayo ku nneewulira ye ng’omuwuliriza bulungi? (Soma 1 Peetero 3:7.) Angela ne Dmitry kumpi bamaze emyaka 30 mu bufumbo. Angela ayogera ku ngeri omwami we gy’akiraga nti amussaamu ekitiibwa. Agamba nti: “Dmitry aba mwetegefu okumpuliriza bwe waba nga waliwo ekinnyiizizza oba nga nnina kye njagala okwogera. Aŋŋumiikiriza ne bwe njogera mu ngeri etali ya kisa.”
17. Kiki abakyala abafumbo kye bayinza okuyigira ku Saala? (1 Peetero 3:5, 6)
17 Saala yakiraga nti awa Ibulayimu ekitiibwa ng’amuwagira mu ebyo bye yabanga asazeewo. (Lub. 12:5) Lumu Ibulayimu yasalawo okusembeza abagenyi be baali batasuubira. Yagamba Saala okulekera awo bye yali akola, afumbire abagenyi abo emmere. (Lub. 18:6) Ekyo Saala yakikola mu bwangu, bw’atyo n’awagira omwami we. Abakyala abafumbo, musobola okukoppa Saala nga muwagira ebyo abaami bammwe bye baba basazeewo. Bwe mukola bwe mutyo, ekyo kinyweza obufumbo bwammwe. (Soma 1 Peetero 3:5, 6.) Dmitry, ayogeddwako waggulu alaga engeri mukyala we gy’amuleetera okuwulira nti amussaamu ekitiibwa. Agamba nti: “Nsiima nnyo Angela olw’okuba ampagira mu ebyo bye mba nsazeewo, wadde ng’olumu endowooza zaffe ziba za njawulo. Ebiva mu ebyo bye mba nsazeewo ne bwe bitaba birungi, tannenya.” Kyangu okwagala omuntu akussaamu ekitiibwa!
18. Abafumbo baganyulwa batya bwe bafuba okunyweza enkolagana yaabwe?
18 Sitaani tayagala bufumbo bw’Abakristaayo bubeemu kwagala. Akimanyi nti singa abafumbo balekera awo okwagalana bayinza okuva ku Yakuwa. Kyokka okwagala okwa nnamaddala tekusobola kuggwaawo! N’olwekyo, okwagala mu bufumbo bwammwe ka kube ng’okwo okwogerwako mu kitabo ky’Oluyimba lwa Sulemaani. Mubeere bamalirivu okukulembeza Yakuwa mu bufumbo bwammwe, mufunengayo akadde okubeerako awamu, era buli omu afeeyo ku ngeri munne gy’awuliramu. Bwe mukola bwe mutyo, obufumbo bwammwe bujja kuweesa Yakuwa, Ensibuko y’okwagala, ekitiibwa. Ng’omuliro ogwongerwamu enku, okwagala kwammwe kujja kubeerawo ekiseera kyonna.
OLUYIMBA 132 Tufuuse Muntu Omu
a Yakuwa yawa abantu ekirabo ky’obufumbo. Ekirabo ekyo kisobozesa abafumbo okwagalana ennyo. Kyokka emirundi egimu okwagala okwo kusobola okukendeera. Bw’oba ng’oli mufumbo, ekitundu kino kigenda kukuyamba okweyongera okwagala munno mu bufumbo, obufumbo bwammwe busobole okubaamu essanyu.
b Okwagala okwa nnamaddala, era nga kwe kwagala okubeerawo ekiseera kyonna, kuyitibwa “ennimi z’omuliro gwa Ya,” kubanga Yakuwa ye nsibuko y’okwagala okwo.
c Ne bwe kiba nti munno mu bufumbo taweereza Yakuwa, amagezi aganaaweebwa naawe gajja kukuyamba okunyweza enkolagana yammwe.—1 Kol. 7:12-14; 1 Peet. 3:1, 2.
d Ng’ekyokulabirako, laba amagezi ku jw.org wansi wa enjigiriza za Bayibuli, wansi wa “Obufumbo n’Amaka.”