LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Apuli lup. 2-7
  • “Mweronderewo . . . Gwe Munaaweerezanga”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Mweronderewo . . . Gwe Munaaweerezanga”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENSONGA LWAKI YESU YASALAWO OKUWEEREZA YAKUWA
  • ENSONGA LWAKI YAKUWA Y’AGWANIDDE OKUSINZIBWA
  • ENSONGA LWAKI TUSALAWO OKUWEEREZA YAKUWA
  • WEEYONGERE OKUWEEREZA YAKUWA
  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olubaako Omulabirizi Akyalira Ebibiina Olwa 2025-2026
  • Kijjukirenga nti Yakuwa “Ye Katonda Omulamu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Okusalawo mu Ngeri Eraga nti Twesiga Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Apuli lup. 2-7

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 14

OLUYIMBA 8 Yakuwa Kye Kiddukiro Kyaffe

“Mweronderewo . . . Gwe Munaaweerezanga”

“Nze n’ab’omu nnyumba yange tunaaweerezanga Yakuwa.”—YOS. 24:15.

EKIGENDERERWA

Ekitundu kino kigenda kutuyamba okwejjukanya ensonga lwaki twasalawo okuweereza Yakuwa.

1. Kiki kye tulina okukola okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala, era lwaki? (Isaaya 48:​17, 18)

KITAFFE ow’omu ggulu atwagala nnyo era ayagala tunyumirwe obulamu kati, era ne mu biseera eby’omu maaso. (Mub. 3:​12, 13) Yatutonda nga tulina obusobozi okukola ebintu ebitali bimu, naye teyatutonda nga tulina obusobozi obw’okwefuga oba okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu. (Mub. 8:9; Yer. 10:23) Akimanyi nti abantu okusobola okufuna essanyu erya namaddala, balina okumuweereza n’okutambulira ku mitindo gye.—Soma Isaaya 48:​17, 18.

2. Kiki Sitaani ky’ayagala tulowooze, naye kiki Yakuwa ky’akoze?

2 Sitaani ayagala tulowooze nti tusobola okuba abasanyufu awatali bulagirizi bwa Yakuwa, era nti abantu basobola okuba obulungi nga beefuga bokka. (Lub. 3:​4, 5) Okusobola okulaga nti Sitaani mulimba, Yakuwa yaleka abantu okwefuga bokka okumala ekiseera. Ebiriwo mu nsi bikyoleka lwatu nti abantu tebasobola kwefuga bokka. Ku luuyi olulala, mu Byawandiikibwa mulimu ebyokulabirako bingi eby’abasajja n’abakazi abaafuna essanyu erya nnamaddala olw’okuweereza Yakuwa. Omu ku bantu abo ye Yesu Kristo. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ensonga lwaki yasalawo okuweereza Yakuwa. Era tugenda kulaba ensonga lwaki Kitaffe ow’omu ggulu y’agwanidde okusinzibwa. Oluvannyuma tugenda kulaba ensonga lwaki naffe twasalawo okuweereza Yakuwa.

ENSONGA LWAKI YESU YASALAWO OKUWEEREZA YAKUWA

3. Kiki Sitaani kye yasuubiza Yesu, naye kiki Yesu kye yasalawo?

3 Yesu bwe yali ku nsi, yalina okusalawo ani gwe yandiweerezza. Amangu ddala nga yaakamala okubatizibwa, Sitaani yamusuubiza okumuwa obwakabaka bwonna obw’omu nsi singa yandivunnamye n’amusinza omulundi gumu gwokka. Yesu yagamba Sitaani nti: “Vaawo genda Sitaani! Kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza, era ye yekka gw’olina okuweereza.’” (Mat. 4:​8-10) Lwaki Yesu yasalawo okuweereza Yakuwa? Ka tulabe ezimu ku nsonga lwaki yasalawo bw’atyo.

4-5. Ezimu ku nsonga lwaki Yesu yasalawo okuweereza Yakuwa ze ziruwa?

4 Okusingira ddala okwagala kwe kwaleetera Yesu okusalawo okuweereza Yakuwa. Yesu ayagala nnyo Kitaawe. (Yok. 14:31) Ate era Yesu aweereza Yakuwa kubanga ekyo kye kintu ekituufu okukola. (Yok. 8:​28, 29; Kub. 4:11) Akimanyi nti Yakuwa ye Nsibuko y’obulamu, yeesigika, era mugabi. (Zab. 33:4; 36:9; Yak. 1:17) Bulijjo Yakuwa yabuuliranga Yesu amazima era ye yamuwa buli kimu ky’alina. (Yok. 1:14) Ku luuyi olulala, Sitaani wa njawulo nnyo ku Yakuwa. Ye yaleetera abantu ekibi n’okufa. Mulimba, wa mululu, era yeenoonyeza bibye. (Yok. 8:44) Yesu yali amanyi bulungi Yakuwa era yali amanyi bulungi ne Sitaani. N’olwekyo, yali tayagala kujeemera Yakuwa nga Sitaani bwe yakola.—Baf. 2:​5-8.

5 Ensonga endala eyaleetera Yesu okuweereza Yakuwa eri nti yali amanyi ebirungi ebyandivuddemu. (Beb. 12:2) Yali akimanyi nti bwe yandisigadde nga mwesigwa yanditukuzza erinnya lya Kitaawe, era nti yandisobozesezza ekibi n’okufa okuggibwawo.

ENSONGA LWAKI YAKUWA Y’AGWANIDDE OKUSINZIBWA

6-7. Lwaki abantu bangi leero tebaweereza Yakuwa, naye lwaki Yakuwa y’agwanidde okusinzibwa?

6 Bangi leero tebaweereza Yakuwa kubanga tebamanyi ngeri ze ennungi era tebamanyi na birungi by’abakoledde. Bafaananako abantu b’omu Asene, omutume Pawulo be yabuulira.—Bik. 17:​19, 20, 30, 34.

7 Pawulo yagamba abantu abo nti Katonda ow’amazima “y’awa abantu bonna obulamu, omukka gwe bassa, n’ebintu byonna.” Ate era yagattako nti: “Ku bw’oyo tuli balamu, tutambula, era weetuli.” Olw’okuba Katonda ye Mutonzi eyakola “okuva mu muntu omu amawanga gonna ag’abantu,” y’agwanidde okusinzibwa.—Bik. 17:​25, 26, 28.

8. Kiki Yakuwa ky’atasobola kukola? Nnyonnyola.

8 Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye Mutonzi era Omufuzi w’obutonde bwonna, yandibadde awaliriza abantu okumuweereza. Naye ekyo tasobola kukikola. Mu kifo ky’ekyo, atuwadde obukakafu obulaga nti gy’ali era nti ayagala abantu bonna. Ayagala abantu bangi nnyo nga bwe kisoboka okuba mikwano gye emirembe gyonna. (1 Tim. 2:​3, 4) Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa atutendese okuyigiriza abantu ku bintu ebirungi by’ajja okubakolera mu biseera eby’omu maaso era n’engeri ekyo gy’ajja okukikolamu. (Mat. 10:​11-13; 28:​19, 20) Ate era atuteereddewo ebibiina mwe tumusinziza era atuwadde n’abakadde okutuyamba.—Bik. 20:28.

9. Yakuwa akiraze atya nti ayagala abantu bonna?

9 Okwagala kwa Yakuwa era kweyolekera mu ngeri gy’ayisaamu abo abagaana okukkiriza nti gy’ali. Lowooza ku kino: Okumala emyaka nkumi na nkumi, abantu bangi bazze beesalirawo ekituufu n’ekikyamu mu kifo ky’okugondera Yakuwa. Wadde kiri kityo, Yakuwa asigadde abawa bye beetaaga okusigala nga balamu n’okunyumirwa obulamu. (Mat. 5:​44, 45; Bik. 14:​16, 17) Olw’okuba Yakuwa abafaako mu ngeri eyo, basobodde okubeera n’emikwano, amaka, okukuza abaana, n’okweyagalira mu ebyo ebiva mu mirimu gye bakola. (Zab. 127:3; Mub. 2:24) Kyeyoleka lwatu nti Kitaffe ow’omu ggulu ayagala abantu bonna. (Kuv. 34:6) Kati ka tulabe ezimu ku nsonga lwaki twasalawo okuweereza Yakuwa n’engeri gy’atuwaamu emikisa.

ENSONGA LWAKI TUSALAWO OKUWEEREZA YAKUWA

10. (a) Okusingira ddala nsonga ki etuleetera okuweereza Yakuwa? (Matayo 22:37) (b) Oganyuddwa otya mu bugumiikiriza bwa Yakuwa? (Zabbuli 103:​13, 14)

10 Okufaananako Yesu, naffe okusingira ddala okwagala kwe kutuleetera okuweereza Yakuwa. (Soma Matayo 22:37.) Bwe tuyiga ku ngeri za Yakuwa tweyongera okumwagala. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa mugumiikiriza nnyo gye tuli. Abayisirayiri bwe baamujeemeranga enfunda n’enfunda, yabagamba nti: “Muleke amakubo gammwe amabi.” (Yer. 18:11) Yakuwa akimanyi nti tetutuukiridde, era nti tuli nfuufu. (Soma Zabbuli 103:​13, 14.) Bw’ofumiitiriza ku bugumiikiriza bwa Yakuwa n’engeri ze endala ennungi, towulira ng’oyagala okumuweereza emirembe gyonna?

11. Ensonga endala ezituleetera okuweereza Kitaffe ow’omu ggulu ze ziruwa?

11 Ate era tuweereza Yakuwa olw’okuba kye kintu ekituufu okukola. (Mat. 4:10) Era tumanyi ebirungi ebivaamu bwe tumuweereza n’obwesigwa. Bwe tumuweereza n’obwesigwa, tutukuza erinnya lye, tukiraga nti Sitaani mulimba, era tusanyusa omutima gwe. Ate era bwe tusalawo okuweereza Yakuwa leero, tuba n’essuubi ery’okumuweereza emirembe gyonna!—Yok. 17:3.

12-13. Kiki kye tuyigira ku Jane ne Pam?

12 Ne bwe tuba tukyali bato tusobola okwagala Yakuwa, era bwe tugenda tukula okwagala okwo kusobola okweyongera okuba okw’amaanyi. Lowooza ku bannyinaffe babiri, Jane ne Pam.a We baatandikira okuyiga Bayibuli Jane yalina emyaka 11 ate Pam yalina emyaka 10. Wadde nga bazadde baabwe baali tebaagala kuyiga Bayibuli, bakkiriza Jane ne Pam okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa naye nga ku wiikendi baalina okugenda mu kkanisa n’abalala bonna awaka. Jane agamba nti: “Ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye banjigiriza mu Bayibuli byannyamba okwewala okukozesa ebiragalalagala n’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu ng’abaana abasinga obungi bwe baakolanga.”

13 Jane ne Pam bwe baavubuka baafuuka ababuulizi. Oluvannyuma baatandika okuweereza nga bapayoniya nga bwe balabirira bazadde baabwe abaali bakaddiye. Jane bw’aba ayogera ku ebyo Yakuwa by’abakoledde agamba nti: “Nkirabye nti Yakuwa afaayo nnyo ku mikwano gye. Era nga 2 Timoseewo 2:19 bwe wagamba, ‘Yakuwa amanyi ababe.’” Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa afaayo nnyo ku abo abasalawo okumwagala n’okumuweereza!

14. Tuyinza tutya okuggya ekivume ku linnya lya Yakuwa okuyitira mu bye twogera ne bye tukola? (Laba n’ebifaananyi.)

14 Twagala okuggya ekivume ku linnya lya Yakuwa. Lowooza ku kino: Olina mukwano gwo ow’ekisa, omugabi, era asonyiwa. Naye lumu owulira omuntu ng’agamba abalala nti mukwano gwo oyo wa ttima era si mwesigwa. Kiki ky’okola? Omuwolereza. Mu ngeri y’emu, bwe tuwulira abantu nga boogera ebintu eby’obulimba ku Yakuwa, tumuwolereza nga twogera amazima agamukwatako. (Zab. 34:1; Is. 43:10) Tukiraga nti twagala okuweereza Yakuwa n’obulamu bwaffe bwonna okuyitira mu bye twogera ne bye tukola.

Ebifaananyi: 1. Omukyala ayita okumpi n’ekifo awali olukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa, awulira bakyewaggula nga boogera eby’obulimba ku kibiina kya Yakuwa. 2. Oluvannyuma agenda awali akagaali era bamubuulira amazima.

Onoobuulira abalala amazima agakwata ku Yakuwa nga waliwo abamwogerako eby’obulimba? (Laba akatundu 14)b


15. Omutume Pawulo yaganyulwa atya bwe yabaako enkyukakyuka z’akola mu bulamu bwe? (Abafiripi 3:​7, 8)

15 Okusobola okuweereza Yakuwa mu ngeri gy’asiima oba okukola ekisingawo nga tumuweereza, kitwetaagisa okubaako enkyukakyuka ze tukola mu bulamu. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yali assibwamu nnyo ekitiibwa mu ddiini y’Ekiyudaaya. Naye yava mu ddiini eyo okusobola okubeera omugoberezi wa Kristo n’okuweereza Yakuwa. (Bag. 1:14) N’ekyavaamu, yafuna emikisa mingi mu buweereza bwe. Era yafuna enkizo ey’okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. Pawulo teyejjusa kusalawo kuweereza Yakuwa, era naffe tetujja kwejjusa.—Soma Abafiripi 3:​7, 8.

16. Kiki kye tuyigira ku Julia? (Laba n’ebifaananyi.)

16 Bwe tukulembeza okuweereza Yakuwa mu bulamu bwaffe, atuwa emikisa kati era ajja kutuwa n’emikisa mingi mu biseera eby’omu maaso. Lowooza ku mwannyinaffe Julia. Bwe yali tannayiga mazima, yali muyimbi mu kkanisa okuviira ddala ng’akyali muwala muto. Olw’okuba yali ayimba bulungi, waliwo omuyimbi omukugu eyamutwala okweyongera okumutendeka eby’okuyimba. Mu kiseera kitono Julia yafuuka muyimbi mututumufu nnyo era yayimbiranga mu bifo eby’ebbeeyi. Bwe yali mu ssomero erimu eritendeka eby’okuyimba, muyizi munne yamubuulira ebikwata ku Katonda era yamugamba nti Katonda alina erinnya, ye Yakuwa. Nga wayise ekiseera kitono, Julia yatandika okuyiga Bayibuli emirundi ebiri mu wiiki. Oluvannyuma yasalawo okukozesa amaanyi ge n’ebiseera bye okuweereza Yakuwa mu kifo ky’okubeera omuyimbi. Kyokka ekyo kye yasalawo tekyali kyangu. Agamba nti: “Abantu bangi baŋŋamba nti kyali kya busirusiru okusalawo okuweereza Yakuwa mu kifo ky’okuyimba. Naye nze nnali njagala okukozesa obulamu bwange okuweereza Yakuwa mu bujjuvu.” Julia awulira atya olw’ekyo kye yasalawo emyaka egisukka mu 30 emabega? Agamba nti: “Nnina emirembe ku mutima, era ndi mukakafu nti mu biseera eby’omu maaso Yakuwa ajja kumpa byonna bye njagala.”—Zab. 145:16.

Ebifaananyi: Ebifaananyi ebiraga ebyo ebyogerwa ku Julia. 1. Julia ng’ayimbira ku siteegi. 2. Julia n’omwami we bayimba nga bali mu nkuŋŋaana.

Bwe tukulembeza okuweereza Yakuwa mu bulamu bwaffe, tufuna essanyu lingi (Laba akatundu 16)c


WEEYONGERE OKUWEEREZA YAKUWA

17. Okuba nti enkomerero enaatera okutuuka kikwata kitya ku abo abaasalawo okuweereza Yakuwa n’abo abatannasalawo?

17 Enkomerero enaatera okutuuka. Omutume Pawulo yagamba nti: “Wasigaddeyo ‘akaseera katono nnyo,’ era ‘oyo ow’okujja ajja era tajja kulwa.’” (Beb. 10:37) Ekyo kyanditukutteko kitya? Tukiraba nti ekiseera ekisigaddeyo abantu okusalawo okuweereza Yakuwa kitono nnyo. (1 Kol. 7:29) Ate bwe tuba nga twasalawo dda okuweereza Yakuwa, tukimanyi nti wadde nga tulina okugumira ebizibu, tujja kubigumira okumala “akaseera katono nnyo.”

18. Kiki Yesu ky’ayagala tukole?

18 Yesu yakubiriza abantu okufuuka abayigirizwa be n’okweyongera okumugobereranga. (Mat. 16:24) N’olwekyo bwe tuba tumaze emyaka nga tuweereza Yakuwa, tusaanidde okuba abamalirivu okweyongera okumuweereza. Okusobola okweyongera okuweereza Yakuwa tulina okufuba ennyo. Wadde nga kiyinza obutaba kyangu, ne mu kiseera kino tufuna essanyu lingi n’emikisa mingi bwe tweyongera okumuweereza!—Zab. 35:27.

19. Kiki kye tuyigira ku Gene?

19 Abamu balowooza nti bwe basalawo okuweereza Yakuwa tebajja kunyumirwa bulamu. Bw’oba oli muvubuka, owulira nti olina by’osubwa olw’okuba oweereza Yakuwa? Ow’oluganda omu omuvubuka ayitibwa Gene agamba nti: “Nnawuliranga nti okubeera Omujulirwa wa Yakuwa kikugira nnyo. Abaana be nnakula nabo baali balabika ng’abanyumirwa obulamu nga beenyigira mu bintu gamba ng’okugenda ku bubaga, okukwana abawala, oba okuzannya emizannyo gy’oku kompyuta egirimu ebikolwa eby’obukambwe; kyokka nga nze ebiseera byange mbimalira mu kubuulira n’okugenda mu nkuŋŋaana.” Kiki ekyavaamu? Gene agamba nti: “Nnatandika okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri, era okumala ekiseera nnawulira nga nnyumirwa. Naye essanyu eryo lyali lya kaseera buseera. Nnatandika okufumiitiriza ku ebyo bye nnali njize mu Bayibuli, era n’ensalawo okuweereza Yakuwa n’omutima gwange gwonna. Okuva ku olwo nkirabye nti Yakuwa azze addamu essaala zange zonna.”

20. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

20 Omuwandiisi wa zabbuli yayimbira Yakuwa ng’agamba nti: “Alina essanyu oyo gw’olonda era n’omusembeza okubeera mu mpya zo.” (Zab. 65:4) Naffe ka tubeere bamalirivu okweyongera okuweereza Yakuwa nga Yoswa eyagamba nti: “Nze n’ab’omu nnyumba yange tunaaweerezanga Yakuwa.”—Yos. 24:15.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Lwaki Yesu yasalawo okuweereza Yakuwa?

  • Lwaki Yakuwa y’agwanidde okusinzibwa?

  • Lwaki wasalawo okuweereza Yakuwa?

OLUYIMBA 28 Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa

a Amannya agamu gakyusiddwa.

b EBIFAANANYI: Omukyala ayita okumpi n’ekifo awali olukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa, awulira bakyewaggula nga boogera eby’obulimba ku kibiina kya Yakuwa. 2. Oluvannyuma agenda awali akagaali era bamubuulira amazima.)

c EBIFAANANYI: Ekifaananyi kituyamba okutegeera enkyukakyuka Julia gye yakola okusobola okuweereza Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share