LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Jjuuni lup. 14-19
  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • TETUMANYI DDI NKOMERERO LW’ENEJJA
  • TETUMANYI NGERI YAKUWA GY’ANAATUYAMBAMU
  • TETUMANYI BINAABAAWO NKYA
  • TETUSOBOLA KUTEGEERERA DDALA NGERI YAKUWA GY’ATUMANYIIMU
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olubaako Omulabirizi Akyalira Ebibiina Olwa 2025-2026
  • Okusalawo mu Ngeri Eraga nti Twesiga Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Kijjukirenga nti Yakuwa “Ye Katonda Omulamu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olwa 2025-2026 Olubaako Akiikiridde Ettabi
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Jjuuni lup. 14-19

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 26

OLUYIMBA 123 Okugoberera Enteekateeka Katonda gy’Ataddewo

Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera

“Omuyinza w’Ebintu Byonna tetuyinza kumutegeera.”—YOB. 37:23.

EKIGENDERERWA

Ne bwe tuba nga tetumanyi buli kimu ekigenda okubaawo, tusobola okugumira ebizibu bwe tufumiitiriza ku bintu bye tumanyi era ne twesiga Yakuwa.

1. Busobozi ki Yakuwa bwe yatuwa, era lwaki?

YAKUWA yatutonda nga tulina obusobozi bw’okulowooza, okuyiga ebintu ebipya, okutegeera n’okukolera ku ebyo bye tuba tuyize. Lwaki yatutonda bw’atyo? Ayagala ‘tuvumbule okumanya okukwata ku Katonda’ era tumuweereze nga tukozesa obusobozi bwaffe obw’okulowooza.—Nge. 2:​1-5; Bar. 12:1.

2. (a) Kiki kye tusaanidde okukkiriza? (Yob. 37:​23, 24) (Laba n’ekifaananyi.) (b) Tuganyulwa tutya bwe tukkiriza nti ebintu ebimu tetubimanyi?

2 Wadde nga Yakuwa yatutonda nga tulina obusobozi okuyiga ebintu bingi, waliwo ebintu bingi nnyo bye tutamanyi. (Soma Yobu 37:​23, 24.) Lowooza ku Yobu. Yakuwa yamubuuza ebibuuzo bingi nnyo ebyamuyamba okukitegeera nti waaliwo ebintu bingi nnyo by’atamanyi. Ekyo kyayamba Yobu okwetoowaza n’okutereeza endowooza ye. (Yob. 42:​3-6) Naffe tuganyulwa nnyo bwe tuba abeetoowaze ne tukkiriza nti waliwo ebintu bingi nnyo bye tutamanyi. Obwetoowaze obwo bujja kutuyamba okwesiga Yakuwa nti ajja kutuyamba okumanya ebyo bye twetaaga okumanya tusobole okusalawo obulungi.—Nge. 2:6.

Ekitangaala kikubye mu Yobu nga Yakuwa ayogera naye. Eriku ne mikwano gya Yobu abasatu abaali bamumalamu amaanyi bali kumpi awo.

Okufaananako Yobu, tuganyulwa bwe tukikkiriza nti waliwo ebintu bye tutamanyi (Laba akatundu 2)


3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Mu kitundu kino tugenda kulaba ebimu ku bintu bye tutamanyi, era n’okusoomooza okuyinza okubaawo olw’obutamanya bintu ebyo. Ate era tugenda kulaba ensonga lwaki kirungi okuba nti ebintu ebimu tetubimanyi. Okwekenneenya ensonga ezo kijja kutuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa nti atubuulira ebyo bye tuba twetaaga okumanya, kubanga y’oyo “eyatuukirira mu kumanya.”—Yob. 37:16.

TETUMANYI DDI NKOMERERO LW’ENEJJA

4. Okusinziira ku Matayo 24:​36, kiki kye tutamanyi?

4 Soma Matayo 24:36. Tetumanyi ddi nkomerero lw’enejja. Ne Yesu bwe yali ku nsi, yali tamanyi ‘lunaku na kiseera’ nkomerero lwe yandizze.a Yagamba abatume be nti Yakuwa, Omukuumi w’Ebiseera Omukulu, y’alina obuyinza okusalawo ddi ebintu ebitali bimu lwe birina okubaawo. (Bik. 1:​6, 7) Yakuwa yasalawo dda ddi lw’anaazikiriza ensi ya Sitaani eno embi, naye tetumanyi kiseera kyennyini ekyo lwe kinaabaawo.

5. Tuyinza kukwatibwako tutya olw’obutamanya ddi enkomerero lw’enejja?

5 Okusinziira ku ekyo Yesu kye yayogera, tetumanyi kiseera kyenkana wa kye tunaamala nga tulindirira okutuusa enkomerero lw’enejja. Ekyo kiyinza okutuleetera obutaba bagumiikiriza oba okuggwaamu amaanyi, naddala bwe tuba nga tumaze ekiseera ekiwera nga tulindirira olunaku lwa Yakuwa. Ate era tuyinza okuggwaamu amaanyi singa ab’eŋŋanda zaffe oba abantu abalala batusekerera olw’okuba enkomerero gye twabagamba tennajja. (2 Peet. 3:​3, 4) Tuyinza n’okutandika okulowooza nti singa twali tumanyi olunaku lwennyini enkomerero lw’enejja, kyandibadde kyangu okulindirira n’obutaggwaamu maanyi ng’abalala batusekerera.

6. Lwaki kirungi okuba nti tetumanyi ddi enkomerero lw’enejja?

6 Olw’okuba Yakuwa tatubuulidde lunaku lwennyini lw’anaaleeta nkomerero, kituwa akakisa okukiraga nti tumuweereza lwa kuba tumwagala era nti tumwesiga. Ekigendererwa kyaffe kya kuweereza Yakuwa emirembe gyonna, so si kumuweereza okutuuka enkomerero lw’enejja. Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byaffe ku ddi ‘olunaku lwa Yakuwa’ lwe lunajja, tusaanidde okubimalira ku bintu ebirungi ebinaabaawo ng’olunaku olwo luzze. Bwe tukola tutyo, kijja kutuyamba okweyongera okusemberera Yakuwa n’okukola ebimusanyusa.—2 Peet. 3:​11, 12.

7. Kiki kye tumanyi?

7 Kikulu nnyo okussa ebirowoozo byaffe ku ebyo bye tumanyi. Tukimanyi nti ennaku ez’enkomerero zaatandika mu 1914. Mu Bayibuli Yakuwa yatuwa obunnabbi obulaga nti ennaku ez’enkomerero zanditandise mu 1914. Ate era yatubuulira ebintu bingi ebyandibaddewo mu nsi oluvannyuma lw’omwaka ogwo. Ekyo kituyambye okuba abakakafu nti “olunaku lwa Yakuwa olukulu” luli kumpi. (Zef. 1:14) Ate era tumanyi omulimu omukulu Yakuwa gw’ayagala tukole, nga gwe gw’okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka.’ (Mat. 24:14) Amawulire gano gabuulirwa mu nsi nga 240, mu nnimi ezisukka mu 1,000. Tekitwetaagisa kumanya ‘lunaku na kiseera’ okusobola okuba abanyiikivu mu mulimu guno omukulu.

TETUMANYI NGERI YAKUWA GY’ANAATUYAMBAMU

8. Ebigambo ‘omulimu gwa Katonda ow’amazima’ bitegeeza ki? (Omubuulizi 11:5)

8 Oluusi tetumanya “mulimu gwa Katonda ow’amazima.” (Soma Omubuulizi 11:5.) Ebigambo omulimu gwa Katonda bitegeeza ekyo Yakuwa ky’aleetera okubaawo oba ekyo ky’akkiriza okubaawo okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye. Tuyinza obutamanyira ddala nsonga lwaki Yakuwa aleka ebintu ebimu okubaawo, oba engeri yennyini gy’ajja okutuyambamu. (Zab. 37:5) Obutamanya mulimu gwa Katonda, Bayibuli ekigeraageranya ku butamanya ngeri mwana gy’akulira mu lubuto lwa nnyina. Ne bannassaayansi tebamanyidde ddala ngeri mwana gy’akulira mu lubuto lwa nnyina. Mu ngeri y’emu, naffe tetumanyidde ddala ngeri Yakuwa gy’akolamu bintu.

9. Okuba nti tetumanyidde ddala ngeri Yakuwa gy’anaatuyambamu, kiyinza kutuleetera kuwulira tutya?

9 Eky’obutamanya ngeri Yakuwa gy’anaatuyambamu kiyinza okutuleetera okulonzalonza okusalawo ebintu ebimu. Tuyinza okulonzalonza okubaako bye twefiiriza okusobola okugaziya ku buweereza bwaffe. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okulemererwa okweggyako ebintu ebimu tusobole okugenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Oba tuyinza okulowooza nti Yakuwa tatusiima singa tukola kyonna kye tusobola okutuuka ku biruubirirwa byaffe, naye ne tutabituukako. Oba tuyinza okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira naye nga tetufuna bayizi ba Bayibuli. Ate era tuyinza okuba nga tukola nnyo mu mulimu gw’okuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe ebikozesebwa ekibiina, naye nga tulina ebitusoomooza bingi. Ebintu ebyo byonna biyinza okutuleetera okuwulira nti Yakuwa tatuyamba.

10. Ngeri ki ze tuyinza okukulaakulanya olw’obutamanya ngeri Yakuwa gy’anaatuyambamu?

10 Obutamanya ngeri Yakuwa gy’anaatuyambamu, kituyamba okukulaakulanya engeri gamba ng’obwetoowaze. Tukitegeera nti ebirowoozo bya Yakuwa n’amakubo ge bya waggulu nnyo ku byaffe. (Is. 55:​8, 9) Ate era tweyongera okwesigira ddala Yakuwa, nga tuli bakakafu nti ajja kukola ekisingirayo ddala obulungi. Bwe tufuna ebibala mu mulimu gw’okubuulira oba mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, Yakuwa gwe tutendereza. (Zab. 127:1; 1 Kol. 3:7) Singa ebintu tebitambula nga bwe tubadde tusuubira, tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa amanyi buli kimu. (Is. 26:12) Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa obulagirizi bwe twetaaga ne bwe kiba nti takikoze mu ngeri ya kyamagero nga bwe yakolanga mu biseera eby’edda.—Bik. 16:​6-10.

11. Bintu ki ebikulu bye tumanyi?

11 Tukimanyi nti bulijjo Yakuwa wa kwagala, mwenkanya, era wa magezi. Asiima nnyo ebyo bye tukola nga tumuweereza n’ebyo bye tukolera bakkiriza bannaffe. Ate era tukimanyi nti bulijjo Yakuwa awa empeera abo abamuweereza n’obwesigwa.—Beb. 11:6.

TETUMANYI BINAABAAWO NKYA

12. Kiki kye tuyigira ku Yakobo 4:​13, 14?

12 Soma Yakobo 4:​13, 14. Ekituufu kiri nti tetumanyi kinaatutuukako nkya. Mu nsi eno gye tulimu, ffenna “ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa” bitutuukako. (Mub. 9:11) N’olwekyo, tetumanyidde ddala obanga ebyo bye tuteekateeka binaatuukirira oba nti tunaaba balamu okulaba nga bituukirira.

13. Ebiseera ebimu tuwulira tutya olw’okuba tetumanyi byonna binaabaawo mu biseera eby’omu maaso?

13 Olw’okuba tetumanyidde ddala binaabaawo mu biseera eby’omu maaso, kiyinza okutubeerera ekizibu okugumiikiriza. Lwaki? Tuyinza okweraliikirira ebyo ebiyinza okubaawo era ekyo ne kitumalako essanyu. Ebizibu eby’amaanyi ebigwaawo obugwi biyinza okutuleetera obulumi n’okusoberwa. Ate era ebintu bwe bitagenda nga bwe tubadde tusuubira, kiyinza okutuleetera okuwulira obubi n’okuggwaamu amaanyi.—Nge. 13:12.

14. Essanyu erya nnamaddala lisinziira ku ki? (Laba n’ebifaananyi.)

14 Bwe tugumira ebizibu tuba tulaga nti ka kibe ki ekibaawo, tuweereza Kitaffe ow’omu ggulu Yakuwa olw’okuba tumwagala so si olw’okuba tulina bye twenoonyeza. Bayibuli eraga nti tetusaanidde kulowooza nti Yakuwa ajja kuziyiza buli kizibu kyonna okututuukako. Era eraga nti teyateekateeka ebyo ebitutuukako mu bulamu. Akimanyi nti essanyu lyaffe terisinziira ku kumanya ebyo ebinaatutuukako mu biseera eby’omu maaso, naye lisinziira ku kunoonya bulagirizi bwe n’okumugondera. (Yer. 10:23) Bwe tunoonya obulagirizi bwa Yakuwa nga tulina bye tusalawo, tuba ng’abagamba nti: “Yakuwa bw’anaaba ayagadde, tujja kubeerawo era tukole kino oba kiri.”—Yak. 4:15.

Ebifaananyi: 1. Taata ne mutabani we nga bateeka ebintu mu nsawo bye banaakozesa nga waguddewo akatyabaga. 2. Taata, maama, n’omwana waabwe nga beggamye enkuba mu weema. Bakozesa ebintu bye baatereka mu nsawo yaabwe.

Bwe tunoonya obulagirizi bwa Yakuwa era ne tumugondera, tuba n’obukuumi obwa nnamaddala (Laba akatundu 14-15)b


15. Kiki kye tumanyi ku biseera eby’omu maaso?

15 Wadde nga tetumanyi binaabaawo nkya, tukimanyi nti Yakuwa atusuubizza okutuwa obulamu obutaggwaawo mu ggulu oba ku nsi. Tukimanyi nti tasobola kulimba era nti tewali kintu kyonna kisobola kumulemesa kutuukiriza bisuubizo bye. (Tit. 1:2) Ye yekka ‘alangirira ebintu ebiribaawo,’ era ‘okuva edda n’edda alangirira ebintu ebitannaba kukolebwa.’ Ekyo bwe kibadde mu biseera eby’emabega era bwe kijja okuba mu biseera eby’omu maaso. (Is. 46:10) Tukimanyi bulungi nti tewali kiyinza kulemesa Yakuwa kutwagala. (Bar. 8:​35-39) Ajja kutuwa amagezi, ajja kutubudaabuda, era ajja kutuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okugumira ekizibu kyonna ekiyinza okututuukako. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba era ajja kutuwa emikisa.—Yer. 17:​7, 8.

TETUSOBOLA KUTEGEERERA DDALA NGERI YAKUWA GY’ATUMANYIIMU

16. Biki Yakuwa by’akumanyiiko, era ekyo kikuleetera kuwulira otya? (Zabbuli 139:​1-6)

16 Soma Zabbuli 139:​1-6. Omutonzi waffe amanyi buli kimu ekitukwatako. Amanyi ensonga lwaki tulowooza mu ngeri gye tulowoozaamu, era n’ensonga lwaki twewulira mu ngeri gye twewuliramu. Amanyi ebintu bye twogera, n’ebyo ebiri mu mitima gyaffe. Ate era amanyi buli kimu kye tukola, n’ensonga lwaki tukikola. Kabaka Dawudi yagamba nti bulijjo Yakuwa mwetegefu okutuyamba era asobola okutuyamba. Kyewuunyisa nnyo okuba nti Mukama Omufuzi w’Obutonde Bwonna, era Omutonzi w’eggulu n’ensi, atufaako bw’atyo! Tekyewuunyisa nti Dawudi yagamba nti: “Okumanya ng’okwo kusukkiridde okutegeera kwange. Kuli waggulu nnyo, kunneewuunyisa nnyo.”—Zab. 139:​6, obugambo obuli wansi.

17. Lwaki kiyinza okutuzibuwalira okukikkiriza nti Yakuwa atumanyi bulungi?

17 Oboolyawo olw’amaka mwe twakulira, obuwangwa bwe twakuliramu, oba ebyo bye twali tukkiririzaamu nga tetunnayiga mazima, kiyinza okutuzibuwalira okukkiriza nti Yakuwa Kitaffe atwagala nnyo era nti atufaako. Oba tuyinza okuwulira nti ensobi ze twakola emabega zaali za maanyi nnyo ne kiba nti Yakuwa tasobola kwagala kumanya bitukwatako, era nti atuli wala nnyo. Ne Kabaka Dawudi ebiseera ebimu yawuliranga bw’atyo. (Zab. 38:​18, 21) Ate era omuntu afuba ennyo okukyusa obulamu bwe asobole okutambulira ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu ayinza okwebuuza nti, ‘Katonda bw’aba ng’ammanyi bulungi, lwaki ansuubira okukola enkyukakyuka zino ezinzibuwalira ennyo?’

18. Lwaki kikulu okukikkiriza nti Yakuwa atumanyi bulungi okusinga bwe twemanyi? (Laba n’ebifaananyi.)

18 Tusobola okuyiga okukkiriza nti Yakuwa atumanyi bulungi okusinga bwe twemanyi era nti atulabamu ebirungi bye tutasobola kwerabamu. Wadde ng’alaba ensobi zaffe, amanyi ekyo kye twagala okubeera era atwagala nnyo. (Bar. 7:15) Bwe tukijjukira nti bulijjo Yakuwa alaba ekyo kye tusobola okubeera, kituyamba okweyongera okumuweereza n’obwesigwa era nga tuli basanyufu.

Ebifaananyi: 1. Ow’oluganda awaddemu amaanyi atunudde mu ddirisa era ebweru enkuba etonnya. 2. Mu Nsi Empya, ow’oluganda oyo atambula ne mikwano gye nga bali mu kifo ekirabika obulungi.

Yakuwa atuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe mu bintu ebirungi by’atusuubiza mu biseera eby’omu maaso. Ekyo kituyamba okugumira ebizibu ebitasuubirwa bye tufuna mu kiseera kino (Laba akatundu 18-19)c


19. Kiki kye tumanyi ku Yakuwa?

19 Tukimanyi nti Yakuwa kwagala. Ekyo tetukirinaamu kubuusabuusa kwonna. (1 Yok. 4:8) Tukimanyi nti emitindo gye egy’obutuukirivu gyoleka nti atwagala era ayagala tube n’obulamu obusingayo obulungi. Era tukimanyi nti Yakuwa ayagala tufune obulamu obutaggwaawo. Yawaayo ekinunulo tusobole okufuna obulamu obwo. Olw’okuba Yesu yatufiirira, tusobola okuba abakakafu nti wadde nga tukola ensobi tusobola okuweereza Yakuwa mu ngeri gy’ayagala tumuweerezeemu. (Bar. 7:​24, 25) Ate era tukimanyi nti “Katonda asinga emitima gyaffe era amanyi ebintu byonna.” (1 Yok. 3:​19, 20) Yakuwa amanyi byonna ebitukwatako era mukakafu nti tusobola okukola ebyo by’ayagala.

20. Kiki ekinaatuyamba obuteeraliikirira nnyo bintu bye tutamanyi?

20 Olw’okuba Yakuwa atubuulira ebintu byonna bye twetaaga okumanya, tetusaanidde kweraliikirira ebyo bye tutamanyi. Mu kifo ky’ekyo, ebirowoozo byaffe tusaanidde kubissa ku bintu ebikulu. Bwe tukola bwe tutyo tukiraga nti twesigira ddala Yakuwa, “oyo eyatuukirira mu kumanya.” (Yob. 36:4) Wadde nga tulina bye tutamanyi mu kiseera kino, tukimanyi nti Yakuwa ajja kweyongera okutuyigiriza ebintu ebipya emirembe gyonna. Ate era tuli basanyufu kubanga tetujja kulekera awo kuyiga bintu bipya ebikwata ku Katonda waffe ow’Ekitalo.—Mub. 3:11.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Lwaki kirungi okuba nti tetumanyi ddi enkomerero lw’enejja?

  • Lwaki tekitwetaagisa kumanya binaabaawo nkya okusobola okuba abasanyufu?

  • Lwaki kikulu okukimanya nti Yakuwa atumanyi bulungi?

OLUYIMBA 104 Omwoyo Omutukuvu Kirabo Katonda ky’Atuwa

a Yakuwa bw’anaaba azikiriza ensi ya Sitaani, Yesu y’ajja okuwoma omutwe mu lutalo olwo. N’olwekyo kituukirawo okugamba nti kati Yesu amanyi ddi olutalo Amagedoni lwe lunaabaawo, na ddi ‘lw’anaamaliriza okuwangula kwe.’—Kub. 6:​2, 19:​11-16.

b EBIFAANANYI: Taata ne mutabani we nga bateeka ebintu mu nsawo bye banaakozesa nga waguddewo akatyabaga.

c EBIFAANANYI: Ow’oluganda alina ebizibu akuba akafaananyi ku bulamu obulungi bw’ajja okubeeramu mu nsi empya.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share