LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Apuli lup. 20-25
  • Tetuli Ffekka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tetuli Ffekka
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YAKUWA ATUWA OBULAGIRIZI
  • YAKUWA AKOLA KU BYETAAGO BYAFFE EBY’OMUBIRI
  • YAKUWA ATUKUUMA
  • YAKUWA ATUBUDAABUDA
  • BULIJJO YAKUWA WAALI OKUTUYAMBA
  • Kijjukirenga nti Yakuwa “Ye Katonda Omulamu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Yakuwa “Awonya Abamenyese Omutima”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Funa Essanyu Erisingawo Eriva mu Kugaba
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Apuli lup. 20-25

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 17

OLUYIMBA 99 Ab’Oluganda Bukadde na Bukadde

Tetuli Ffekka

“Nja kukuyamba.”—IS. 41:10.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba ebintu bina ebiraga nti Yakuwa atufaako.

1-2. (a) Lwaki tuli bakakafu nti bwe tuba twolekagana n’ebizibu tetuba ffekka? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

BWE tuba twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, tuyinza okuwulira ng’omuntu ali yekka mu kibira ekikutte era ng’abuliddwa ekkubo. Naye tetuba ffekka. Bwe tuba twolekagana n’ebizibu, Kitaffe ow’omu mu ggulu atwagala ennyo aba alaba era asuubiza okutuyamba. Yakuwa asuubiza okuyamba abaweereza be abeesigwa. Agamba nti: “Nja kukuyamba.”—Is. 41:10.

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu (1) ng’atuwa obulagirizi, (2) ng’akola ku byetaago byaffe eby’omubiri, (3) ng’atukuuma, ne (4) ng’atubudaabuda. Yakuwa atukakasa nti ka tube nga twolekagana na bizibu ki, tayinza kutwerabira era tayinza kutwabulira. N’olwekyo tetuba ffekka.

YAKUWA ATUWA OBULAGIRIZI

3-4. Yakuwa atuwa atya obulagirizi? (Zabbuli 48:14)

3 Soma Zabbuli 48:14. Yakuwa akimanyi nti tetusobola kwewa bulagirizi, era nti twetaaga obulagirizi bwe. Awa atya abaweereza be obulagirizi leero? Ekimu ku ebyo by’akozesa okutuwa obulagirizi ye Bayibuli. (Zab. 119:105) Okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli, Yakuwa atuyamba okusalawo obulungi n’okukulaakulanya engeri ennungi ezitusobozesa okweyongera okufuna essanyu kati, era n’obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso.a Ng’ekyokulabirako, atuyigiriza okwewala okusiba ekiruyi, okuba abeesigwa mu bintu byonna, n’okwagala ennyo abalala okuviira ddala ku mutima. (Zab. 37:8; Beb. 13:18; 1 Peet. 1:22) Bwe twoleka engeri ezo, tweyongera okuba abazadde abalungi, abaami oba abakyala abalungi, n’ab’emikwano abalungi.

4 Ate era Yakuwa yassa mu Bayibuli ebyokulabirako by’abantu abaayolekagana n’ebizibu ng’ebyaffe era abaalina enneewulira ng’ezaffe. (1 Kol. 10:13; Yak. 5:17) Bwe tusoma ebikwata ku bantu abo era ne tukolera ku ebyo bye tubayigirako, tuganyulwa mu ngeri bbiri. Esooka, tukitegeera nti si ffe tuba tusoose okwolekagana n’ebizibu. Waliwo n’abalala abaali boolekaganyeeko nabyo era Yakuwa n’abayamba. (1 Peet. 5:9) Ey’okubiri, tuyiga okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo.—Bar. 15:4.

5. Baani Yakuwa b’akozesa okutuwa obulagirizi?

5 Yakuwa era akozesa bakkiriza bannaffe okutuwa obulagirizi.b Ng’ekyokulabirako, abalabirizi abakyalira ebibiina batukyalira okutuzzaamu amaanyi. Emboozi ze batuwa zinyweza okukkiriza kwaffe era zituyamba okusigala nga tuli bumu. (Bik. 15:40–16:5) Abakadde mu kibiina nabo bakola nnyo okuyamba buli omu okusigala ng’alina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. (1 Peet. 5:​2, 3) Abazadde bayigiriza abaana baabwe okwagala Yakuwa, okusalawo obulungi, n’okubeera n’empisa ennungi. (Nge. 22:6) Ate bannyinnaffe abakulu bayamba bannyinnaffe abakyali abato nga babateerawo ekyokulabirako ekirungi, nga babawa amagezi amalungi, era nga babazzaamu amaanyi.—Tit. 2:​3-5.

6. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola kuganyulwa mu bulagirizi Yakuwa bw’atuwa?

6 Yakuwa atuwadde obulagirizi bwe twetaaga okusobola okusalawo obulungi ne tuba basanyufu. Tuyinza tutya kukiraga nti tusiima obulagirizi obwo? Engero 3:​5, 6 wagamba nti: “Weesigenga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, era teweesigamanga ku kutegeera kwo.” Bwe tumwesiga, ‘atereeza amakubo gaffe,’ kwe kugamba, atuyamba okwewala ebizibu bingi ne tuba basanyufu. Mazima ddala tusiima nnyo Yakuwa olw’okutuwa obulagirizi bwe twetaaga!—Zab. 32:8.

YAKUWA AKOLA KU BYETAAGO BYAFFE EBY’OMUBIRI

7. Yakuwa atulabirira atya? (Abafiripi 4:19)

7 Soma Abafiripi 4:19. Ng’oggyeeko okutuwa obulagirizi mu by’omwoyo, Yakuwa atuyamba okufuna emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. (Mat. 6:33; 2 Bas. 3:12) Wadde nga kya bulijjo okweraliikirira engeri gye tunaafunamu ebyetaago byaffe eby’omubiri, Yakuwa atukubiriza obutabyeraliikirira kisukkiridde. (Mat. 6:25) Lwaki? Kubanga tasobola kwabulira baweereza be abeesigwa nga bali mu bwetaavu. (Mat. 6:8; Beb. 13:5) Tusaanidde okumwesigira ddala nti asobola okukola ku byetaago byaffe eby’omubiri nga bwe yasuubiza.

8. Kiki Yakuwa kye yakolera Dawudi?

8 Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yayambamu Dawudi. Emyaka Dawudi gye yamala ng’adduka Kabaka Sawulo, Yakuwa yamulabirira awamu n’abasajja be. Dawudi bwe yafumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yamulabiriramu mu kiseera ekyo, yagamba nti: “Nnali muto, naye kati nkaddiye, kyokka sirabangako mutuukirivu ayabuliddwa, wadde abaana be nga basabiriza emmere.” (Zab. 37:25) Okufaananako Dawudi, naawe oyinza okuba ng’olabye engeri Yakuwa gy’alabiriramu abaweereza be abeesigwa mu biseera ebizibu.

9. Yakuwa alabirira atya abantu be nga waguddewo akatyabaga? (Laba n’ebifaananyi.)

9 Yakuwa era alabirira abantu be nga waguddewo akatyabaga. Ng’ekyokulabirako, enjala bwe yagwawo mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo okuva mu bitundu eby’enjawulo baaweereza bannaabwe abaali mu bwetaavu ebintu bye baali beetaaga. (Bik. 11:​27-30; Bar. 15:​25, 26) Ne leero abantu ba Yakuwa bafaayo ku bakkiriza bannaabwe ababa mu bwetaavu. Akatyabaga bwe kagwawo, Yakuwa aleetera abantu be okuwaayo ebintu gamba ng’emmere, amazzi, eby’okwambala, n’eddagala okuyamba abo ababa mu bwetaavu. Bannakyewa abakola ogw’okuzimba baddaabiriza amayumba n’Ebizimbe by’Obwakabaka ebiba byonooneddwa. Ate era abantu ba Yakuwa bakozesa Bayibuli okubudaabuda n’okuzzaamu amaanyi abo ababa bafiiriddwa ebintu byabwe oba abantu baabwe.c

Ebifaananyi: Ab’olsssssuganda mu Malawi nga bafuna obuyambi mu by’omubiri ne mu by’omwoyo oluvannyuma lw’akatyabaga. 1. Ekitundu ekimu ekyakosebwa Amataba. 2. Ow’oluganda Gage Fleegle ng’ayogera n’ab’oluganda ne bannyinaffe. 3. Ab’oluganda nga batikkula emmere okuva ku mmotoka.

Yakuwa atubudaabuda atya nga waguddewo akatyabaga? (Laba akatundu 9)e


10-11. Kiki ky’oyigidde ku ebyo bye tulabye ku Borys?

10 Yakuwa alabirira n’abantu abatannatandika kumuweereza. Naffe tusaanidde okumukoppa nga tuba ba kisa eri abantu abatali baweereza be. (Bag. 6:10) Bwe tukola bwe tutyo, kituwa akakisa okubabuulira ebikwata ku Yakuwa n’ekibiina kye. Lowooza ku mukulu w’essomero omu ayitibwa Borys, abeera mu Ukraine. Wadde nga Borys si Mujulirwa wa Yakuwa, yayisanga bulungi abaana Abajulirwa ba Yakuwa era yassanga ekitiibwa mu nzikiriza zaabwe. Bwe yasalawo okuva mu kitundu gye yali abeera awaali olutalo agende mu kitundu kya Ukraine ekirala ekitaalimu lutalo, baganda baffe baamuyamba. Oluvannyuma yayitibwa ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu era n’ajja. Borys bwe yalowooza ku ngeri ab’oluganda gye baamuyambamu, yagamba nti: “Abajulirwa ba Yakuwa bandaga ekisa era banfaako. Nneebaza nnyo Abajulirwa ba Yakuwa.”

11 Naffe tusaanidde okukoppa Kitaffe ow’omu ggulu omusaasizi nga tufaayo ku abo abali mu bwetaavu, ka babe bakkiriza bannaffe oba nedda. (Luk. 6:​31, 36) Tusuubira nti bwe tufaayo ku bantu abataweereza Yakuwa, kiyinza okubaviirako okufuuka abayigirizwa ba Kristo. (1 Peet. 2:12) Naye ka babe nga basazeewo okufuuka abayigirizwa ba Kristo oba nedda, tufuna essanyu erisingawo eriva mu kugaba.—Bik. 20:35.

YAKUWA ATUKUUMA

12. Bukuumi ki Yakuwa bw’asuubiza okuwa abantu be ng’ekibiina? (Zabbuli 91:​1, 2, 14)

12 Soma Zabbuli 91:​1, 2, 14. Leero Yakuwa atusuubiza okutukuuma mu by’omwoyo. Tasobola kukkiriza Sitaani kwonoona kusinza okw’amazima. (Yok. 17:15) Ate era tuli bakakafu nti ‘ekibonyoobonyo ekinene’ bwe kinaatandika, Yakuwa ajja kutuukiriza ekyo kye yatusuubiza. Ajja kutukuuma mu by’omwoyo ne mu by’omubiri.—Kub. 7:​9, 14.

13. Yakuwa atukuuma atya kinnoomu?

13 Yakuwa atukuuma atya kinnoomu? Okuyitira mu Byawandiikibwa, Yakuwa atuyamba akwawulawo ekituufu ku kikyamu. (Beb. 5:14) Bwe tukolera ku misingi egiri mu Kigambo kye, kituyamba okusigala nga tulina enkolagana ennungi naye n’okusalawo mu ngeri etuyamba okusigala nga tuli basanyufu era nga tuli balamu bulungi. (Zab. 91:4) Ate era Yakuwa atukuuma ng’akozesa ekibiina kye. (Is. 32:​1, 2) Bwe tubeera n’abantu abaagala Yakuwa era abakolera ku misingi gye, tuzzibwamu amaanyi era kituyamba okwewala okukola ebintu ebibi.—Nge. 13:20.

14. (a) Lwaki oluusi Yakuwa taggyaawo bizibu bye tuba nabyo? (b) Okusinziira ku Zabbuli 9:​10, tuli bakakafu ku ki? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

14 Mu biseera eby’edda, oluusi Yakuwa yakuumanga abaweereza be ne batattibwa. Naye ekyo teyakikola ku buli muweereza we. Bayibuli eraga nti “ebintu ebitasuubirwa” bisobola okutuuka ku muntu yenna. (Mub. 9:11) Ate era Yakuwa yaleka abamu ku baweereza be okuyigganyizibwa era n’okuttibwa, okusobola okukiraga nti Sitaani mulimba. (Yob. 2:​4-6; Mat. 23:34) Bwe kityo bwe kiri ne leero. Wadde nga Yakuwa ayinza obutaggyaawo bizibu bye tuba nabyo, tuli bakakafu nti tasobola kwabulira abo abamwagala.d—Zab. 9:10.

YAKUWA ATUBUDAABUDA

15. Yakuwa atubudaabuda atya okuyitira mu kusaba, mu Kigambo kye, ne mu bakkiriza bannaffe? (2 Abakkolinso 1:​3, 4)

15 Soma 2 Abakkolinso 1:​3, 4. Ebiseera ebimu tuba n’obulumi, tweraliikirira, oba tuba banakuwavu. Oboolyawo mu kiseera kino oyita mu mbeera enzibu ennyo ekuleetera okuwulira nti oli wekka. Waliwo ategeera engeri gye weewuliramu? Yee. Yakuwa agitegeera. Takoma ku kuwulira bulumi bwe tuba nabwo, naye era “atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.” Atubudaabuda atya? Bwe tumwegayirira atuyambe, atuwa “emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna.” (Baf. 4:​6, 7) Ate era bwe tusoma Ekigamba kye, Bayibuli, tubudaabudibwa. Ebigambo ebikirimu ebyoleka okwagala, amagezi, era ebiwa essuubi, bituzzaamu amaanyi. Era bwe tuba mu nkuŋŋaana ne tuwulira ebintu ebiva mu Bayibuli ebizzaamu amaanyi, era ne tubeerako ne bakkiriza bannaffe abatwagala, tubudaabudibwa.

16. Kiki ky’oyigidde ku Nathan ne Priscilla?

16 Lowooza ku Nathan ne Priscilla ababeera mu Amerika. Ekyokulabirako kyabwe kituyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’atubudaabudamu era gy’atuzzaamu amaanyi ng’akozesa Ekigambo kye. Emyaka mingi emabega, baasalawo okugenda mu kitundu awaali obwetaavu bw’ababuulizi obusingawo. Nathan agamba nti: “Twali bakakafu nti Yakuwa yali ajja kutuwa emikisa.” Naye bwe baatuuka mu kitundu gye baagenda, baafuna obulwadde bwe baali batasuubira era baafuna n’ebizibu by’eby’enfuna. Oluvannyuma baddayo ewaabwe, naye baasigala boolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna. Nathan agamba nti: “Nneebuuza ensonga lwaki Yakuwa yali tatuwadde mikisa nga bwe twali tusuubira. Nnatuuka n’okwebuuza obanga nnalina ensobi gye nnali nkoze.” Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera Nathan ne Priscilla baakiraba nti Yakuwa teyabaabulira nga boolekagana n’ebizibu. Nathan agamba nti: “Mu kiseera ekyo ekyali ekizibu, Bayibuli yafuuka nga mukwano gwaffe ow’amagezi atuzzaamu amaanyi era atuwa obulagirizi. Okussa ebirowoozo ku ngeri Yakuwa gye yali atuyambamu okugumira ebizibu, mu kifo ky’okubissa ku bizibu bye twalina, kyatuyamba okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okutuyamba ne mu biseera eby’omu maaso.”

17. Mwannyinaffe Helga abudaabudiddwa atya? (Laba n’ekifaananyi.)

17 Yakuwa era akozesa bakkiriza bannaffe okutubudaabuda. Ekyo akikola atya? Lowooza ku mwannyinaffe Helga, abeera mu Hungary. Okumala emyaka mingi, Helga azze afuna ebizibu bingi ebimuleetera okweraliikirira n’okuwulira ng’atali wa mugaso. Naye akiraba nti Yakuwa azze amuyamba okuyitira mu bakkiriza banne. Agamba nti: “Bulijjo Yakuwa abaddenga annyamba buli lwembaddenga mpulira nti mpeddemu amaanyi olw’omulimu gwe nkola okweyimirizaawo, olw’okulabirira omwana wange omulwadde, n’olw’ebizibu ebirala. Tewali lunaku na lumu mu myaka 30 egiyise Yakuwa lwe yalemererwa okutuukiriza ekisuubizo kye eky’okumbudaabuda. Emirundi mingi azze anzizaamu amaanyi okuyitira mu bigambo eby’ekisa era ebyoleka okusiima okuva eri bakkiriza bannange. Bakkiriza bannange batera okumpeereza mesegi, bampandiikira bukkaadi, oba banneebaza. Era ebyo babikola mu kiseera kyennyini we mba mbyetaagira ennyo.”

Ebifaananyi: Ow’oluganda akaddiye abudaabudibwa. 1. Atunuulira ebifaananyi abaana bye baakubye ne babimuweereza. 2. Ow’oluganda amusindikira mesegi. 3. Ow’oluganda ne mukyala we bamuleetedde ebintu okuli ne pizza. 4. Ow’oluganda amukubira essimu. 5. Omuwala omuto akuba ekifaananyi ekiraga empologoma mu Lusuku lwa Katonda akimuweereze.

Yakuwa ayinza atya okukukozesa okubudaabuda abalala? (Laba akatundu 17)


18. Tuyinza tutya okubudaabuda abalala?

18 Tusaanidde okubudaabuda abalala nga Yakuwa bw’akola. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Tusaanidde okubawuliriza obulungi nga baliko bye batugamba, okwogera nabo ebigambo ebizzaamu amaanyi, n’okubaako ebintu bye tubakolera. (Nge. 3:27) Tusaanidde okubudaabuda bonna ababa babonaabona, nga mw’otwalidde n’abo abatannatandika kuweereza Yakuwa. Abalala bwe baba mu nnaku ey’amaanyi, bwe balwala, oba bwe baba beeraliikirira, tusaanidde okubakyalira, okubawuliriza, n’okubasomerayo ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi. Bwe tukoppa Yakuwa, “Katonda ow’okubudaabuda kwonna,” tuyamba bakkiriza bannaffe okugumira ebizibu, era tuyamba n’abo abatannatandika kumuweereza okwagala okuyiga ebimukwatako.—Mat. 5:16.

BULIJJO YAKUWA WAALI OKUTUYAMBA

19. Kiki Yakuwa ky’atukolera era tuyinza tutya okumukoppa?

19 Yakuwa afaayo nnyo ku abo bonna abamwagala. Tatwabulira nga tulina ebizibu. Ng’omuzadde bw’afaayo ku mwana we gw’ayagala ennyo, Yakuwa afaayo ku baweereza be bonna abeesigwa. Atuwa obulagirizi, akola ku byetaago byaffe eby’omubiri, atukuuma, era atubudaabuda. Tusaanidde okukoppa Kitaffe ow’omu ggulu atwagala nga naffe tuzzaamu abalala amaanyi era nga tubabudaabuda nga boolekagana n’ebizibu. Wadde nga tuyinza okwolekagana n’ebizibu oba ebintu ebimalamu amaanyi, tuli bakakafu nti Yakuwa ali naffe. Asuubiza buli omu ku baweereza be nti: “Totya, kubanga ndi naawe.” (Is. 41:10) Ekisuubizo ekyo kituleetera okuba abakakafu nti tetuli ffekka. Yakuwa ali naffe.

MU NGERI KI YAKUWA . . .

  • gy’atuwa obulagirizi?

  • gy’akola ku byetaago byaffe eby’omubiri?

  • gy’atukuuma era gy’atubudaabuda?

OLUYIMBA 100 Basembeze

a Laba ekitundu “Salawo mu Ngeri Eweesa Katonda Ekitiibwa,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 15, 2011.

b Laba akatundu 11-14 mu kitundu “Weeyongere Okukolera ku Bulagirizi bwa Yakuwa,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 2024.

c Okusobola okulaba ebyokulabirako ebirala, genda ku jw.org/lg owandiike ekigambo “Akatyabaga” mu kasanduuko omuli ekigambo “Noonya.”

d Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 2017.

e EBIFAANANYI: Bakkiriza bannaffe mu Malawi abaakosebwa akatyabaga, baayambibwa mu by’omubiri ne mu by’omwoyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share