EKITUNDU EKY’OKUSOMA 21
OLUYIMBA 21 Kulembezanga Obwakabaka
Lindirira Ekibuga Ekijja Okubeerawo Emirembe Gyonna
“Tunoonya n’obunyiikivu ekyo ekigenda okujja.”—BEB. 13:14.
EKIGENDERERWA
Ebyo bye tuyiga mu Abebbulaniya essuula 13 bituganyula leero era bijja kutuganyula ne mu biseera eby’omu maaso.
1. Kiki Yesu kye yagamba nti kyandituuse ku kibuga Yerusaalemi eky’omu kyasa ekyasooka?
NG’EBULA ennaku ntono afe, Yesu Kristo alina obunnabbi bwe yategeeza abagoberezi be. Okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo okwasooka kwaliwo ekibuga Yerusaalemi ne yeekaalu yaamu bwe byazikirizibwa. Yesu yagamba nti ekiseera kyandituuse ekibuga Yerusaalemi ne ‘kyetooloolwa amagye.’ (Luk. 21:20) Yagamba abagoberezi be nti olwandirabye amagye ago bandibadde balina okuva mu kibuga ekyo amangu ddala. Amagye ago gaali ga Baruumi.—Luk. 21:21, 22.
2. Kiki omutume Pawulo kye yagamba Abakristaayo abaali babeera mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemi?
2 Ng’ebula emyaka mitono amagye g’Abaruumi galumbe ekibuga Yerusaalemi, omutume Pawulo alina ebbaluwa gye yawandiikira Abakristaayo abaali babeera mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya eyalimu obubaka obukulu ennyo. Ebbaluwa eyo mu kiseera kino eyitibwa ekitabo ky’Abebbulaniya. Mu bbaluwa eyo Pawulo yawa Abakristaayo amagezi agandibayambye okweteekerateekera ekyali kigenda okubaawo. Kiki ekyali kigenda okubaawo? Ekibuga Yerusaalemi kyali kigenda kuzikirizibwa. Abakristaayo abo okusobola okuwonawo, baalina okuba abeetegefu okuleka amaka gaabwe ne bizineesi zaabwe. N’olwekyo Pawulo bwe yali ayogera ku kibuga Yerusaalemi, yagamba nti: “Wano tetulinaawo kibuga kya lubeerera.” Ate era yagattako nti: “Naye tunoonya n’obunyiikivu ekyo ekigenda okujja.”—Beb. 13:14.
3. “Ekibuga ekirina emisingi gyennyini” kye ki, era lwaki tukirindirira?
3 Abakristaayo abaasalawo okuva mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya kirabika abantu baabavumirira era baabasekerera. Naye ekyo kye baakola kyabayamba okuwonawo. Leero naffe abantu batujerega olw’okuba essuubi lyaffe tetulitadde mu ssente oba mu bantu nti be bajja okugonjoola ebizibu ebiriwo mu nsi. Naye lwaki tusalawo bwe tutyo? Kubanga tukimanyi nti ensi eno embi eneetera okuzikirizibwa. Tulindirira Obwakabaka bwa Katonda, nga kino kye “kibuga ekirina emisingi gyennyini,” “ekigenda okujja.”a (Beb. 11:10; Mat. 6:33) Buli mutwe omutono mu kitundu kino gugenda kulaga: (1) engeri okubuulirira kwa Pawulo gye kwayamba Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka okweyongera okulindirira “[ekibuga] ekigenda okujja,” (2) engeri Pawulo gye yabayambamu okweteekerateekera ebyali bigenda okujja, (3) n’engeri okubuulirira kwe yawa gye kutuyamba leero.
WEESIGE YAKUWA KUBANGA TASOBOLA KUKWABULIRA
4. Lwaki ekibuga Yerusaalemi kyali kikulu nnyo eri Abakristaayo?
4 Ekibuga Yerusaalemi kyali kikulu nnyo eri Abakristaayo. Mu kibuga ekyo mwe mwasooka okuba ekibiina ky’Abakristaayo ekyasooka ekyatandikibwawo mu mwaka gwa 33 E.E., era ab’oluganda abaali ku kakiiko akafuzi baali babeera mu kibuga ekyo. Ate era Abakristaayo bangi baalina amayumba n’ebintu ebirala bingi mu kibuga ekyo. Kyokka Yesu yali yagamba abagoberezi be nti bandibadde balina okuva mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya.—Mat. 24:16.
5. Pawulo yayamba atya Abakristaayo okweteekerateekera ekyali kigenda okutuuka ku Yerusaalemi?
5 Okusobola okuyamba Abakristaayo okweteekateeka okuva mu Yerusaalemi, omutume Pawulo yabayamba okumanya engeri Yakuwa gye yali atwalamu ekibuga ekyo. Pawulo yabajjukiza nti Yakuwa yali takyasiima bakabona abaaweererezanga ku yeekaalu era ne ssaddaaka ezaaweebwangayo ku yeekaalu eyo. (Beb. 8:13) Ate era abantu abasinga obungi abaali babeera mu kibuga ekyo baagaana okukkiriza Masiya. N’olwekyo, yeekaalu eyali mu Yerusaalemi yali tekyali ntabiro y’okusinza okulongoofu, era yali egenda kuzikirizibwa.—Luk. 13:34, 35.
6. Lwaki Abakristaayo baali beetaaga okubuulirira Pawulo kwe yawa okuli mu Abebbulaniya 13:5, 6?
6 Pawulo we yawandiikira Abebbulaniya ebbaluwa, abantu bangi baali banyumirwa okubeera mu Yerusaalemi oba okukyalayo. Omuwandiisi omu Omuruumi eyaliwo mu kiseera ekyo yagamba nti Yerusaalemi “kye kibuga ekyali kisingayo okuba eky’ettutumu mu kitundu eky’Ebuvanjuba.” Abayudaaya okuva mu bitundu eby’enjawulo baagendangayo buli mwaka okukwata embaga, era ekyo kyaviirako ekibuga ekyo okubaamu ssente nnyingi. Kya lwatu nti n’abamu ku Bakristaayo baafunanga ssente nnyingi mu kibuga ekyo. Oboolyawo eyo ye nsonga lwaki Pawulo yabagamba nti: “Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina.” Oluvannyuma yajuliza mu Byawandiikibwa ebigambo bino Yakuwa by’asuubiza buli omu ku baweereza be: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.” (Soma Abebbulaniya 13:5, 6; Ma. 31:6; Zab. 118:6) Abakristaayo abaali babeera mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya baalina okwesiga ekisuubizo kya Yakuwa ekyo. Lwaki? Kubanga oluvannayuma lw’ekiseera kitono nga bafunye ebbaluwa eyo, kyandibadde kibeetaagisa okuleka amaka gaabwe, bizineesi zaabwe, n’ebisinga obungi ku bintu byabwe. Bandibadde balina okutandika obulamu obupya mu kitundu ekirala.
7. Lwaki tusaanidde okweyongera okwesiga Yakuwa mu kiseera kino?
7 Kye tuyiga: Kiki ekinaatera okubaawo? “Ekibonyoobonyo ekinene” kijja kutandika era ensi eno embi egenda kuzikirizibwa. (Mat. 24:21) Okufaananako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, tulina okuba obulindaala era nga twetegese. (Luk. 21:34-36) Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, kiyinza okutwetaagisa okuleka ebimu ku bintu byaffe oba ebintu byaffe byonna, nga tuli bakakafu nti Yakuwa tasobola kwabulira bantu be. Ne mu kiseera kino ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika, tusobola okukiraga obanga twesiga Yakuwa. Weebuuze, ‘Ebikolwa byange n’ebiruubirirwa byange biraga nti nneesiga Yakuwa nti asobola okundabirira mu kifo ky’okwesiga eby’obugagga?’ (1 Tim. 6:17) Kya lwatu, wadde nga tulina bye tuyigira ku ebyo ebyaliwo mu kyasa ekyasooka, embeera mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ejja kuba nzibu nnyo okusinga embeera yonna enzibu Abakristaayo gye baali boolekaganyeko nayo. Kati olwo tunaamanya tutya eky’okukola ng’ekibonyoobonyo ekyo kitandise?
GONDERA ABO ABATWALA OBUKULEMBEZE
8. Kiki Yesu kye yagamba Abayigirizwa be okukola?
8 Nga wayise emyaka mitono ng’Abakristaayo Abebbulaniya bamaze okufuna ebbaluwa Pawulo gye yabawandiikira, eggye ly’Abaruumi lyetooloola ekibuga Yerusaalemi. Ekyo kyali kiraga nti ekiseera kyali kituuse badduke mu kibuga ekyo kubanga kyali kigenda kuzikirizibwa. (Mat. 24:3; Luk. 21:20, 24) Naye bandiddukidde wa? Yesu yali yagamba bugambi nti: “Abo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi.” (Luk. 21:21) Ekitundu ekyo kyalimu ensozi nnyingi. Kati olwo bandibadde baddukira mu nsozi ki?
9. Lwaki Abakristaayo bayinza okuba nga beebuuza nsozi ki ze bandiddukiddemu? (Laba ne mmaapu.)
9 Lowooza ku zimu ku nsozi Abakristaayo ze baali basobola okuddukiramu: ensozi z’e Samaliya, ensozi z’e Ggaliraaya, Olusozi Kerumooni, ensozi za Lebanooni, n’ensozi ezaali emitala w’Omugga Yoludaani. (Laba mmaapu.) Ebimu ku bibuga ebyali mu nsozi ezo byali birabika nga birimu obukuumi. Ng’ekyokulabirako, ekibuga Gamula kyali waggulu ku lusozi oluwanvu era nga kizibu okutuukamu. Abamu ku Bayudaaya baali balowooza nti ekibuga ekyo kyalina obukuumi bwa maanyi. Kyokka Abaruumi baakirumba ne bakizikiriza, era abantu baamu bangi baafa.b
Waaliwo ensozi nnyingi Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka ze baali bayinza okuddukiramu, naye si zonna nti zaalina obukuumi (Laba akatundu 9)
10-11. (a) Kirabika Yakuwa yawa atya Abakristaayo obulagirizi? (Abebbulaniya 13:7, 17) (b) Abakristaayo baaganyulwa batya mu kugondera abo abaali bwatwala obukulembeze? (Laba n’ekifaananyi.)
10 Kirabika Yakuwa yawa Abakristaayo obulagirizi ng’akozesa abo abaali batwala obukulembeze mu kibiina. Munnabyafaayo ayitibwa Eusebius yagamba nti: “Katonda yabikkulira abamu ku b’oluganda abaali mu Yeerusaalemi nti Abakristaayo baalina okuva mu Yerusaalemi ng’olutalo terunnatandika baddukkire mu kimu ku bibuga by’omu Pereya ekiyitibwa Pella.” Kirabika ekibuga Pella kye kyali ekifo ekituufu okuddukiramu. Lwaki? Olw’okuba tekyali wala nnyo okuva e Yerusaalemi, kyali kyangu okutuukamu. Ate era abantu abasinga mu kibuga ekyo tebaali Bayudaaya, n’olwekyo baali tebagezaako kulwanyisa Baruumi.—Laba mmaapu.
11 Abakristaayo abaddukira mu nsozi baakolera ku kubuulirira kwa Pawulo nga bagondera abo abaali ‘babakulembera’ mu kibiina. (Soma Abebbulaniya 13:7, 17.) N’ekyavaamu, olw’okuba baali bawulize, baawonawo. Ebyafaayo biraga nti Katonda teyayabulira abo abaali balindirira “ekibuga ekirina emisingi gyennyini,” kwe kugamba, Obwakabaka bwa Katonda.—Beb. 11:10.
E Pella waaliyo obukuumi, era waali wangu okutuuka (Laba akatundu 10-11)
12-13. Yakuwa azze awa atya abantu be obulagirizi mu biseera ebizibu?
12 Kye tuyiga: Yakuwa akozesa abo abatwala obukulembeze okuwa abantu be obulagirizi bwe baba beetaaga. Ebyawandiikibwa birimu ebyokulabirako bingi ebiraga engeri Yakuwa gye yakozesa abasumba okuwa abantu be obulagirizi mu biseera ebizibu. (Ma. 31:23; Zab. 77:20) Ne leero tulabye obukakafu bungi obulaga nti Yakuwa akyeyongera okukozesa abo abatwala obukulembeze okutuwa obulagirizi.
13 Ng’ekyokulabirako, ekirwadde kya COVID-19 bwe kyabalukawo, ‘abo abatukulembera’ baatuwa obulagirizi bwe twali twetaaga. Abakadde baaweebwa obulagirizi ku ngeri y’okukubirizaamu enkuŋŋaana, ab’oluganda basobole okweyongera okusinza Yakuwa. Nga waakayita ekiseera kitono ng’ekirwadde kimaze okubalukawo, twafuna olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olwali mu nnimi ezisukka mu 500. Twalufuna okuyitira ku Intaneeti, ku ttivi, ne ku leediyo. Mu kiseera ekyo era tweyongera okufuna emmere ey’eby’omwoyo. N’ekyavaamu, twasigala tuli bumu. Tuli bakakafu nti ka bibe bizibu ki bye tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso, Yakuwa ajja kweyongera okukozesa abo abatukulembera okutuwa obulagirizi tusobole okusalawo obulungi. Ng’oggyeeko okwesiga Yakuwa n’okugondera ebiragiro bye, ngeri ki endala ze twetaaga okuba nazo okusobola okweteekerateekera ekibonyoobonyo ekinene n’okusalawo obulungi mu kiseera ekyo ekijja okuba ekizibu ennyo?
YAGALA BAGANDA BO ERA BASEMBEZE
14. Okusinziira ku Abebbulaniya 13:1-3, ngeri ki Abakristaayo ze baali beetaaga okuba nazo nga Yerusaalemi kinaatera okuzikirizibwa?
14 Ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaatandika, kijja kutwetaagisa okwagalana ennyo okusinga bwe kyali kibadde. Kijja kutwetaagisa okukoppa ekyokulabirako ky’Abakristaayo abaali babeera mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya. Bulijjo baalinga balagaŋŋana okwagala. (Beb. 10:32-34) Naye mu myaka egyasembayo Yerusaalemi kizikirizibwe, Abakristaayo abo baalina “okwagalana ng’ab’oluganda” ‘n’okusembeza abalala’ ku kigero ekisingawo.c (Soma Abebbulaniya 13:1-3.) Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, naffe kijja kutwetaagisa okulaga bakkiriza bannaffe okwagala ku kigero ekisingawo.
15. Lwaki Abakristaayo kyali kibeetaagisa okulagaŋŋana okwagala n’okusembeza abalala oluvannyuma lw’okudduka mu Yerusaalemi?
15 Amagye g’Abaruumi bwe geetooloola ekibuga Yerusaalemi ate oluvannyuma ne gejjulula mu bwangu ne gagenda, Abakristaayo badduka mu kibuga ekyo era badduka n’ebintu bitono ddala. (Mat. 24:17, 18) Baalina okuyambagana nga batambula okugenda mu nsozi, era n’oluvannyuma nga batuuse gye baali bagenda. Tewali kubuusabuusa nti waaliwo bangi abaali mu ‘bwetaavu,’ era ekyo kyawa Abakristaayo abo akakisa okulagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala n’okusembeza abalala nga bayambagana, era nga bagabana bye baalina.—Tit. 3:14.
16. Bakkiriza bannaffe ababa mu bwetaavu tuyinza tutya okubalaga okwagala? (Laba n’ekifaananyi.)
16 Kye tuyiga: Okwagala kutuleetera okuyamba bakkiriza bannaffe ababa mu bwetaavu. Ng’ekyokulabirako, bangi ku bantu ba Katonda babadde beetegefu okuyamba bakkiriza bannaabwe abafuuse abanoonyi b’obubudamu olw’entalo oba olw’obutyabaga. Babawa ebintu bye baba beetaaga, era babayamba n’okweyongera okuweereza Yakuwa. Mwannyinaffe omu ow’omu Ukraine eyadduka mu maka ge olw’olutalo, yagamba nti: “Tulabye engeri Yakuwa gy’akozesezzaamu bakkiriza bannaffe okutuwa obulagirizi n’okutulabirira. Baatwaniriza era baatufaako nnyo mu Ukraine, mu Hungary, na wano we tuli mu Bugirimaani.” Bwe tusembeza bakkiriza bannaffe era ne tukola ku byetaago byabwe, tuba tukolera wamu ne Yakuwa.—Nge. 19:17; 2 Kol. 1:3, 4.
Tusaanidde okuyamba bakkiriza bannaffe abanoonyi b’obubudamu (Laba akatundu 16)
17. Lwaki kikulu nnyo okuyiga okwagala bakkiriza bannaffe n’okubasembeza mu kiseera kino?
17 Tewali kubuusabuusa nti tujja kwetaaga okuyambagana ennyo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene n’okusinga bwe tuyambagana leero. (Kaab. 3:16-18) Mu kiseera kino Yakuwa atuyigiriza okwagala baganda baffe n’okubasembeza, era kijja kutwetaagisa nnyo okwoleka engeri ezo mu biseera eby’omu maaso.
KIKI EKINAABAAWO MU BISEERA EBY’OMU MAASO?
18. Tuyinza tutya okukoppa Abakristaayo Abebbulaniya ab’omu kyasa ekyasooka?
18 Ng’ebyafaayo bwe biraga, Abakristaayo abaddukira mu nsozi baasobola okuwonawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa. Badduka mu kibuga ekyo, era Yakuwa teyabaabulira. Tubayigirako ki? Tetumanyidde ddala bintu byonna ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Naye Yesu yatugamba okuba abeetegefu. (Luk. 12:40) Era tulina okubuulirira okulungi okuli mu bbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abebbulaniya, okwayamba ennyo Abakristaayo mu kyasa ekyasooka era naffe okusobola okutuyamba. Ate era Yakuwa kennyini atukakasa nti tasobola kutwabulira. (Beb. 13:5, 6) Ka bulijjo tweyongere okulindirira Obwakabaka bwa Katonda, ekibuga ekijja okubeerawo emirembe gyonna. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kufuna emikisa egy’olubeerera.—Mat. 25:34.
OLUYIMBA 157 Kyaddaaki Ensi Ejja Kubaamu Emirembe!
a Mu biseera by’edda, emirundi mingi ebibuga byafugibwanga bakabaka. Ebibuga ng’ebyo byali bisobola okutwalibwa ng’obwakabaka.—Lub. 14:2.
b Kino kyaliwo mu mwaka gwa 67 E.E., nga waakayita ekiseera kitono bukya Abakristaayo badduka mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya.
c Ebigambo “okwagalana ng’ab’oluganda” bitegeeza okwalagana okubaawo wakati w’ab’eŋŋanda, naye Pawulo yabikozesa okulaga okwagala okw’amaanyi kwe tulina okulaga bakkiriza bannaffe bonna.