EKITUNDU EKY’OKUSOMA 32
OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi
Yakuwa Atuyamba Atya Okugumiikiriza?
“Katonda ensibuko y’ebikolwa byonna eby’ekisa eky’ensusso . . . Ajja kubanyweza, ajja kubafuula ba maanyi, era ajja kubateeka ku musingi omugumu.”—1 PEET. 5:10.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba ebintu Yakuwa by’atuwadde ebituyamba okugumiikiriza, n’engeri gye tusobola okubiganyulwamu.
1. Lwaki twetaaga okuba abagumiikiriza, era ani asobola okutuyamba? (1 Peetero 5:10)
MU NNAKU zino enzibu ez’enkomerero ze tulimu, abantu ba Yakuwa beetaaga okugumiikiriza. Ng’ekyokulabirako, abamu balina obulwadde obutawona. Abalala bafiiriddwako ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe. Ate abalala bayigganyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe oba ab’obuyinza. (Mat. 10:18, 36, 37) Ka kibe kizibu ki ky’olina, beera mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa amaanyi osobole okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero.—Soma 1 Peetero 5:10.
2. Kiki ekisobozesa Abakristaayo okugumiikiriza?
2 Okugumiikiriza kitegeeza okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, n’okumuweereza n’essanyu ne bwe tuba nga tulina ebizibu, nga tuyigganyizibwa, oba nga tukemebwa okukola ebintu ebibi. Ate era okusobola okugumiikiriza twetaaga okuba n’essuubi nti embeera ejja kutereera. Abakristaayo okusobola okugumiikiriza tekyesigama ku maanyi gaabwe, wabula kyesigama ku ‘maanyi agasinga ku ga bulijjo’ agava eri Yakuwa. (2 Kol. 4:7) Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebintu bina Yakuwa by’atuwadde ebituyamba okugumiikiriza. Ate era tugenda kulaba engeri gye tusobola okuganyulwa mu buli kimu ku bintu ebyo.
OKUSABA
3. Lwaki tugamba nti okusaba kyamagero?
3 Yakuwa atukoledde ekyamagero ekitusobozesa okugumiikiriza. Wadde nga tetutuukiridde, tusobola okwogera naye era n’atuwuliriza. (Beb. 4:16) Kirowoozeeko: Tusobola okwogera ne Yakuwa ekiseera kyonna era ku nsonga yonna. Ka tube nga tukozesezza lulimi ki oba nga tuli mu kifo ki, Yakuwa awuliriza okusaba kwaffe; atuwuliriza ka kibe nti tuli ffekka oba nga tusibiddwa mu kkomera. (Yon. 2:1, 2; Bik. 16:25, 26) Ne bwe tuba nga tuli beeraliikirivu nnyo era nga tetumanyi na bigambo bya kukozesa nga tumusaba, Yakuwa aba asobola okutegeera kye twagala okumugamba. (Bar. 8:26, 27) Mazima ddala, okusaba kyamagero!
4. Tukakasiza ku ki nti bwe tusaba Yakuwa okutuyamba okugumiikiriza ajja kutuyamba?
4 Mu Bayibuli, Yakuwa atukakasa nti “bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.” (1 Yok. 5:14) Tusobola okusaba Yakuwa okutuyamba okugumiikiriza? Yee! Yakuwa ayagala tugumiikirize. Lwaki tugamba bwe tutyo? Bwe tugumiikiriza nga twolekagana n’ebizibu, tuwa Yakuwa eky’okuddamu oyo amusoomooza, Sitaani Omulyolyomi. (Nge. 27:11) Ate era, Bayibuli eraga nti Yakuwa ayagala nnyo “okulaga amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Byom. 16:9) N’olwekyo, tuli bakakafu nti Yakuwa asobola era ayagala okutuyamba okugumiikiriza.—Is. 30:18; 41:10; Luk. 11:13.
5. Okusaba kutuyamba kutya okufuna emirembe? (Isaaya 26:3)
5 Bayibuli egamba nti bwe tusaba Yakuwa, ‘emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe.’ (Baf. 4:7) Twesiimye nnyo okuba nti Yakuwa atuwa emirembe gye. Abantu abatamanyi Yakuwa bwe bafuna ebizibu, bakola ebintu bingi basobole okufuna emirembe. Ng’ekyokulabirako, abamu bakozesa enkola ezimu ez’okufumiitiriza ezibaleetera obutalowooza ku kintu kyonna nga mw’otwalidde n’ebibeeraliikiriza. Naye okukozesa enkola ng’ezo kiyinza okuviirako omuntu okulumbibwa emyoyo emibi era ekyo kya bulabe. (Geraageranya Matayo 12:43-45.) Naye ne bwe kiba nti abo abakozesa enkola ezo bafuna emirembe emisaamusaamu, emirembe egya nnamaddala gy’egyo gye tufuna okuva eri Yakuwa. Bwe tusaba Yakuwa, tukiraga nti tumwesigira ddala, era atuwa “emirembe egitaggwaawo.” (Soma Isaaya 26:3.) Emu ku ngeri Yakuwa gy’atuwaamu emirembe, kwe kutuyamba okujjukira ebyawandiikibwa ebitubudaabuda. Ebyawandiikibwa ebyo bituyamba okukijjukira nti Yakuwa atwagala nnyo era nti ayagala okutuyamba. Ekyo kituyamba okufuna emirembe mu mutima.—Zab. 62:1, 2.
6. Biki by’osobola okwogerako ng’osaba Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)
6 Ky’osaanidde okukola. Bw’oba n’ebizibu, “omugugu gwo gutikke Yakuwa” era musabe akuwe emirembe. (Zab. 55:22) Musabe akuwe amagezi omanye ky’osaanidde okukola. (Nge. 2:10, 11) Ate era bw’oba osaba Yakuwa, teweerabira kumwebaza. (Baf. 4:6) Lowooza ku ngeri Yakuwa gy’akuyambamu okugumiikiriza buli lunaku era omwebaze. Tokkiriza bizibu by’olina kukulemesa kulaba ngeri Yakuwa gy’akuyambamu.—Zab. 16:5, 6.
Bw’osaba, oba oyogera ne Yakuwa. Bw’osoma Bayibuli, Yakuwa aba ayogera naawe (Laba akatundu 6)b
EKIGAMBO KYA KATONDA
7. Okusoma Bayibuli kiyinza kitya okutuyamba okugumiikiriza?
7 Yakuwa atuwadde Ekigambo kye okutuyamba okugumiikiriza. Bayibuli erimu ebyawandiikibwa bingi ebitukakasa nti Yakuwa ajja kutuyamba. Ng’ekyokulabirako, Matayo 6:8 wagamba nti: “Kitammwe amanyi ebintu bye mwetaaga nga temunnaba na kubimusaba.” Yesu ye yayogera ebigambo ebyo, era amanyi bulungi Yakuwa okusinga omuntu omulala yenna. N’olwekyo tuli bakakafu nti bwe tuba tubonaabona, Yakuwa aba amanyi bye twetaaga era aba mwetegefu okutuyamba. Bayibuli erimu ebyawandiikibwa ebirala bingi ebituyamba okugumiikiriza nga twolekagana n’ebizibu.—Zab. 94:19.
8. (a) Ogumu ku misingi egiri mu Bayibuli egituyamba okugumiikiriza gwe guluwa? (b) Kiki ekisobola okutuyamba okujjukira emisingi gya Bayibuli mu mbeera we tuba tugyetaagira?
8 Emisingi egiri mu Bayibuli gisobola okutuyamba okugumiikiriza, era gisobola n’okutuyamba okusalawo obulungi. (Nge. 2:6, 7) Ng’ekyokulabirako, Bayibuli etukubiriza okwewala okweraliikirira ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, mu kifo ky’ekyo twesige Yakuwa buli lunaku. (Mat. 6:34) Bwe tusoma Bayibuli buli lunaku era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, kijja kutuyamba okujjukira emisingi egiri mu Bayibuli gye twetaaga okusobola okugumira embeera gye tuba twolekagana nayo.
9. Bye tusoma ku baweereza ba Yakuwa abaaliwo mu biseera eby’edda bituyamba bitya?
9 Ate era Bayibuli erimu ebyokulabirako by’abantu abeesiga Yakuwa era n’abayamba. (Beb. 11:32-34; Yak. 5:17) Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yabayambamu, naffe tuba bakakafu nti Yakuwa “kye kiddukiro kyaffe era ge maanyi gaffe, bulijjo abaawo okutuyamba nga tuli mu buzibu.” (Zab. 46:1) Bwe tufumiitiriza ku ngeri abaweereza ba Yakuwa abaaliwo mu biseera eby’edda gye baayolekamu okukkiriza n’obugumiikiriza, kituyamba okubakoppa.—Yak. 5:10, 11.
10. Kiki ekisobola okukuyamba okuganyulwa mu bujjuvu mu Kigambo kya Katonda?
10 Ky’osaanidde okukola. Soma Bayibuli buli lunaku, era baako ebyawandiikibwa ebisobola okukuyamba by’owandiika. Bangi basoma ekyawandiikibwa ekya buli lunaku ku makya. Ekyo kibayamba okubaako ekintu ekizzaamu amaanyi kye balowoozaako olunaku lwonna. Ekyo kyayamba nnyo mwannyinaffe Mariea bwe yali ng’ajjanjaba bazadde be abaalina obulwadde bwa kkookolo era nga banaatera okufa. Kiki ekyamuyamba okugumira embeera eyo? Marie agamba nti: “Buli ku makya, nnasomanga ekyawandiikibwa okuva mu katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku era ne nkifumiitirizaako. Ekyo kyannyamba okufumiitiriza ku Yakuwa buli lunaku ne ku bintu ebirungi by’atuyigiriza okuva mu Kigambo kye, mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byange ku bizibu bye nnalina.”—Zab. 61:2.
BAKKIRIZA BANNAFFE
11. Okukimanya nti si ffe ffekka aboolekagana n’ebizibu kitukwatako kitya?
11 Yakuwa atuwadde baganda baffe ne bannyinaffe mu nsi yonna okutuyamba okugumiikiriza. Kitubudaabuda okukimanya nti ne ‘baganda baffe bonna boolekagana n’okubonaabona kwe kumu kwe twolekagana nakwo.’ (1 Peet. 5:9) Kino kitegeeza nti waliwo baganda baffe ne bannyinaffe abaali bayiseeko mu mbeera gye tulimu naye ne bagumiikiriza. Naffe tusobola okugumiikiriza!—Bik. 14:22.
12. Bakkiriza bannaffe batuyamba batya, era naffe tuyinza tutya okubayamba? (2 Abakkolinso 1:3, 4)
12 Bakkiriza bannaffe batuyamba nga twolekagana n’embeera enzibu. Omutume Pawulo bwe yali ayolekagana n’embeera enzibu, bakkiriza banne baamuyamba. Mu mabaluwa ge yawandiika yamenya amannya g’abo abaamuyamba ng’asibiddwa mu nnyumba, era yabeebaza. Bakkiriza banne abo baamubudaabudanga, baamuzzangamu amaanyi era baamuwanga bye yabanga yeetaaga. (Baf. 2:25, 29, 30; Bak. 4:10, 11) Ne leero, baganda baffe ne bannyinaffe batubudaabuda era batuyamba okugumiikiriza nga tulina ebizibu. Naffe tubayamba mu ngeri y’emu bwe baba nga balina ebizibu.—Soma 2 Abakkolinso 1:3, 4.
13. Kiki ekyayamba mwannyinaffe Maya okugumiikiriza?
13 Mu 2020, ab’obuyinza baayingira mu nnyumba ya mwannyinaffe Maya ne bagyaza. Oluvannyuma yatwalibwa okuwozesebwa mu kkooti ng’avunaanibwa okwogera ku ebyo by’akkiririzaamu. Mwannyinaffe Maya yagamba nti bakkiriza banne baamuzzaamu nnyo amaanyi mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo. Agamba nti: “Mu kiseera ekyo nnali mukoowu, nga nneeraliikiridde, nga ndi munakuwavu, naye baganda bange ne bannyinaze bankubiranga essimu, era abamu bampandiikiranga amabaluwa. Ebintu ebyo byankakasa nti banjagala nnyo.” Agattako nti: “Bulijjo mbaddenga nkimanyi nti baganda bange ne bannyinaze banjagala nnyo, naye okuva mu 2020, nneeyongedde okukikakasa nti banjagala nnyo.”
14. Kiki kye tusobola okukola okusobola okuganyulwa mu buyambi bakkiriza bannaffe bwe batuwa? (Laba n’ekifaananyi.)
14 Ky’osaanidde okukola. Bw’oba olina ekizibu, tegeeza bakkiriza banno, era fuba okubeerako nabo. Tolonzalonza kusaba bakadde kukuyamba. Abakadde balinga ‘ekifo eky’okwekwekamu okuwona embuyaga, era ng’ekifo eky’okweggamamu enkuba ey’amaanyi.’ (Is. 32:2) Kijjukire nti bakkiriza banno nabo boolekagana n’ebizibu era bagumiikiriza. N’olwekyo, bw’onookolera abo abali mu bwetaavu ebintu ebirungi, ojja kufuna essanyu era ekyo kijja kukuyamba okugumiikiriza ebizibu by’olina.—Bik. 20:35.
Funayo ekiseera obeereko ne bakkiriza banno (Laba akatundu 14)c
ESSUUBI LYE TULINA
15. Essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso lyayamba litya Yesu, era naffe lituyamba litya? (Abebbulaniya 12:2)
15 Yakuwa atuwadde essuubi ekkakafu erituyamba okweyongera okugumiikiriza. (Bar. 15:13) Kijjukire nti essuubi Yesu lye yalina lyamuyamba okugumira ebizibu bye yayitamu mu lunaku olwasingayo okuba oluzibu ng’ali wano ku nsi. (Soma Abebbulaniya 12:2.) Yesu yali akimanyi nti bwe yandisigadde nga mwesigwa, yandigulumizza erinnya lya Yakuwa. Yesu era yali yeesunga okuddayo mu ggulu ewa Kitaawe. Ate era yali yeesunga ekiseera lwe yandifuuse kabaka, n’afugira wamu ne baganda be abaafukibwako amafuta. Mu ngeri y’emu, essuubi lye tulina ery’okubeerawo emirembe gyonna mu nsi empya, lituyamba okugumira ebizibu byonna bye tufuna mu nsi ya Sitaani.
16. Essuubi lyayamba litya mwannyinaffe Alla okugumiikiriza, era kiki ky’omuyigiddeko?
16 Lowooza ku ngeri essuubi ery’okubeera mu nsi empya gye lyayamba mwannyinaffe Alla abeera mu Russia. Omwami we yakwatibwa n’asibibwa mu kkomera ng’alindirira okuwozesebwa. Alla agamba nti: “Bwe mba nsaba Yakuwa, ntera okwogera ku ssuubi ly’atuwadde era ndifumiitirizaako. Ekyo kinnyamba obutaggwaamu nnyo maanyi. Nkimanyi nti ebizibu byonna bijja kuggwaawo Yakuwa bw’anaawangula abalabe be, era ajja kutuwa emikisa.”
17. Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima essuubi Yakuwa ly’atuwadde? (Laba n’ekifaananyi.)
17 Ky’osaanidde okukola. Fumiitiriza ku bintu ebirungi Yakuwa by’atusuubizza mu biseera eby’omu maaso. Kuba akafaananyi ng’oli mu nsi empya era nga byonna Yakuwa bye yatusuubiza bituukiridde. Ebizibu by’olina kati ojja kubiraba nga bya ‘kaseera buseera ate nga bitono.’ (2 Kol. 4:17) Ate era, fuba nnyo okubuulirako abalala ku bintu ebirungi Katonda by’atusuubizza mu biseera eby’omu maaso. Fumiitiriza ku bulamu obuzibu abantu abataweereza Yakuwa bwe bayitamu. Balina ebizibu bingi naye tebamanyi bintu ebirungi Katonda by’atusuubizza. Ne bw’obaako ebintu bitono by’obabuulira, osobola okubaleetera okwagala okumanya ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda ne bye bugenda okukola.
Funa ekiseera ofumiitirize ku bintu ebirungi Yakuwa by’atusuubizza (Laba akatundu 17)d
18. Lwaki tusobola okwesiga ebisuubizo bya Yakuwa?
18 Yobu bwe yagumira ebizibu bye yayolekagana nabyo era n’asigala nga mwesigwa, yagamba Yakuwa nti: “Kaakano mmanyi ng’osobola okukola ebintu byonna, era . . . buli ky’olowooza okukola tekiyinza kukulema.” (Yob. 42:2) Nga Yobu bwe yakiraba, tewali kisobola kulemesa Yakuwa kutuukiriza kigendererwa kye. Naffe ekyo kituyamba okugumiikiriza. Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi nga waliwo omukyala aweddemu amaanyi olw’okuba abasawo bangi balemereddwa okuzuula obulwadde obumuluma. Naye bwe wabaawo omusawo alina obumanyirivu era eyeesigika azuula obulwadde obwo era n’amunnyonnyola engeri gy’agenda okumujjanjabamu, omukyala oyo awulira obuweerero wadde nga kijja kumutwalira ekiseera ekiwerako okuwona. Kati aba asobola okugumiikiriza kubanga aba n’essuubi nti ajja kuwona. Mu ngeri y’emu, tusobola okweyongera okugumiikiriza kubanga tuli bakakafu nti ekisuubizo kya Katonda eky’ensi empya kijja kutuukirira.
19. Bintu ki ebinaatuyamba okweyongera okugumiikiriza?
19 Nga bwe tulabye, Yakuwa atuyamba okugumiikiriza ebizibu bye tuba nabyo okuyitira mu kusaba, Ekigambo kye, bakkiriza bannaffe, n’essuubi lye tulina. Bwe tufuba okukozesa ebintu bino Yakuwa by’atuwadde, Yakuwa ajja kutuyamba okweyongera okugumiikiriza okutuusa lw’anaazikiriza ensi ya Sitaani, era n’aggirawo ddala okubonaabona kwonna.—Baf. 4:13.
OLUYIMBA 33 Omugugu Gwo Gukwase Yakuwa
a Amannya agamu mu kitundu kino gakyusiddwa.
b EBIFAANANYI: Ow’oluganda akaddiye yeeyongera okugumiikiriza mwaka ku mwaka.
c EKIFAANANYI: Ow’oluganda akaddiye yeeyongera okugumiikiriza mwaka ku mwaka.
d EKIFAANANYI: Ow’oluganda akaddiye yeeyongera okugumiikiriza mwaka ku mwaka.