LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Noovemba lup. 22-27
  • “Oli Wa Muwendo Nnyo”!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Oli Wa Muwendo Nnyo”!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENGERI YESU GYE YAYAMBA ABANTU OKUKITEGEERA NTI BA MUWENDO
  • EBINAATUYAMBA OKWERABA NGA YAKUWA BW’ATULABA
  • Yakuwa “Awonya Abamenyese Omutima”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Yakuwa Akwagala Nnyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Bye Tuyigira ku Yesu mu Nnaku 40 Ezaasembayo ng’Ali ku Nsi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Noovemba lup. 22-27

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 47

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

“ Oli Wa Muwendo Nnyo”!

“ Oli wa muwendo nnyo.”—DAN. 9:23.

EKIGENDERERWA

Okuyamba abo abawulira nti si ba mugaso okukitegeera nti Yakuwa abatwala nga ba muwendo nnyo.

1-2. Kiki ekisobola okutuyamba okuba abakakafu nti tuli ba muwendo eri Yakuwa?

YAKUWA atwala abaweereza be bonna nga ba muwendo. Kyokka abamu ku bo bawulira nti si ba muwendo gy’ali. Oboolyawo waliwo omuntu abayisa mu ngeri etali nnungi, ne kibaviirako okuwulira nti si ba mugaso. Wali owuliddeko nti toli wa mugaso? Kiki ekisobola okukuyamba okuba omukakafu nti oli wa muwendo mu maaso ga Yakuwa?

2 Ekimu ku bintu ebisobola okukuyamba kwe kufumiitiriza ku byokulabirako ebiri mu Bayibuli ebiraga engeri Yakuwa gy’ayagala abantu bayisibwemu. Yesu, Omwana wa Katonda, yayisanga abantu mu ngeri ey’ekisa era eraga nti abassaamu ekitiibwa. Bw’atyo yakiraga nti n’abantu abeetwala nti tebalina mugaso ba muwendo nnyo gy’ali, era nti ba muwendo n’eri Kitaawe. (Yok. 5:19; Beb. 1:3) Mu kitundu kino tugenda kulaba: (1) engeri Yesu gye yayambamu abantu okukitegeera nti ba muwendo eri Yakuwa, ne (2) tugenda kulaba ebisobola okutuyamba okuba abakakafu nti naffe tuli ba muwendo nnyo eri Yakuwa.—Kag. 2:7.

ENGERI YESU GYE YAYAMBA ABANTU OKUKITEGEERA NTI BA MUWENDO

3. Yesu yayamba atya abantu b’omu Ggaliraaya abajja gy’ali?

3 Yesu bwe yali abuulira mu bitundu by’e Ggaliraaya, abantu bangi bajja okumuwuliriza n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe. Yesu yagamba nti “baali babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.” (Mat. 9:36) Abakulembeze baabwe ab’eddiini baali tebabafaako era nga babatwala nti tebalina mugaso, ne batuuka n’okubayita ‘abantu abaakolimirwa.’ (Yok. 7:​47-49) Naye Yesu bwe yabayigiriza ebikwata ku Katonda era n’awonya endwadde zaabwe, yakiraga nti abassaamu ekitiibwa era nti ba muwendo nnyo. (Mat. 9:35) Ate era okusobola okuyamba abantu bangi n’okusingawo, Yesu yatendeka abatume be okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira era yabawa obuyinza okuwonya endwadde.—Mat. 10:​5-8.

4. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yayisaamu abantu abaali batwalibwa nti si ba mugaso?

4 Yesu bwe yayisa abantu abaali bamuwuliriza mu ngeri ey’ekisa era eraga nti abassaamu ekitiibwa, yakiraga nti ye ne Kitaawe bafaayo nnyo ku bantu abatwalibwa nti si ba mugaso. Bw’oba oweereza Yakuwa naye ng’obuusabuusa obanga oli wa mugaso gy’ali, lowooza ku ngeri Yesu gye yali ayisaamu abantu abeetoowaze, abaali baagala okuyiga ebikwata ku Katonda. Bw’onookola bw’otyo kijja kukuyamba okukiraba nti oli wa muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa.

5. Mbeera ki omukyala Yesu gwe yasisinkana e Ggaliraaya gye yalimu?

5 Yesu teyakoma ku kuyigiriza bibiina bya bantu, naye era yali afaayo ne ku bantu kinnoomu. Ng’ekyokulabirako, bwe yali abuulira mu Ggaliraaya yasisinkana omukazi eyali alwadde obulwadde bw’ekikulukuto ky’omusaayi okumala emyaka 12. (Mak. 5:25) Okusinziira ku Mateeka, omukyala oyo teyali mulongoofu era omuntu yenna eyandimukutteko naye yandifuuse atali mulongoofu. Olw’ensonga eyo, ateekwa okuba ng’emirundi mingi yabeeranga yekka. Ate era yali tasobola kusinziza wamu n’abalala mu kkuŋŋaaniro, oba okubeera nabo nga bakwata embaga ezabeerangawo. (Leev. 15:​19, 25) N’olwekyo, omukyala ono yali tabonaabona olw’obulwadde bwe yalina kyokka, naye era ateekwa okuba nga yawuliranga nti talina mugaso.—Mak. 5:26.

6. Omukyala eyalina ekikulukuto ky’omusaayi yawonyezebwa atya?

6 Omukyala oyo eyali mu mbeera embi yali ayagala Yesu amuwonye naye teyamutuukirira butereevu. Lwaki? Oboolyawo yali aswala olw’embeera ye. Oba ayinza okuba nga yali atya nti Yesu yandimugobye kubanga yali azze mu bantu kyokka nga si mulongoofu. N’olwekyo yasalawo kukwata bukwasi ku kyambalo kya Yesu eky’okungulu nga mukakafu nti yandiwonye. (Mak. 5:​27, 28) Olw’okukkiriza okw’amaanyi omukyala oyo kwe yalina, yawonyezebwa. Oluvannyuma Yesu bwe yabuuza eyali amukutteko, omukyala oyo yagamba nti ye ye. Yesu yamuyisa atya?

7. Yesu yayisa atya omukyala eyali omulwadde? (Makko 5:34)

7 Yesu yayisa omukyala oyo mu ngeri ey’ekisa era eraga nti amussaamu ekitiibwa. Yakiraba nti omukyala oyo yali ‘atidde nnyo era ng’akankana.’ (Mak. 5:33) Yesu yafuba okutegeera engeri omukyala oyo gye yali yeewuliramu era yayogera naye mu ngeri emuzzaamu amaanyi. Bwe yali ayogera naye, yamuyita “muwala.” Yesu bwe yakozesa ekigambo ekyo kyalaga nti yali assizzaamu omukyala oyo ekitiibwa era ng’amulaze okwagala n’ekisa. (Soma Makko 5:34.) Mu Bayibuli, guno gwe mulundi gwokka Yesu w’akozesa ekigambo ‘muwala’ ng’ayogera n’omukazi. Kirabika Yesu yakozesa ekigambo ekyo ng’ayogera n’omukazi oyo kubanga yakiraba nti yali atidde nnyo. Omukazi oyo ateekwa okuba nga yafuna obuweerero obw’amaanyi kubanga Yesu yamuyisa mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala. Ebigambo Yesu bye yayogera byamuzzaamu amaanyi n’atalumirizibwa mutima olw’okukwata ku kyambalo kya Yesu eky’okungulu, n’olw’okubeera mu bantu ng’ate teyali mulongoofu. Yesu yali ayagala omukyala oyo okwetunuulira mu ngeri entuufu, kwe kugamba, okukitegeera nti yali wa muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa, Katonda alina okwagala.

8. Kusoomooza ki mwannyinaffe omu mu Brazil kwe yayitamu?

8 Ne leero, abamu ku baweereza ba Katonda balwala obulwadde obubaleetera okwennyamira n’okuwulira nti tebalina mugaso. Mwannyinaffe Mariaa abeera mu Brazil era aweereza nga Payoniya owa bulijjo, yazaalibwa nga talina magulu n’omukono ogwa kkono. Agamba nti: “Abaana ku ssomero bansekereranga era banjereganga olw’okuba ndiko obulemu. Bantuumanga n’amannya agaswaza ennyo. Ate era ebiseera ebimu n’ab’awaka baandeteranga okuwulira nti sirina mugaso.”

9. Kiki ekyayamba Maria okukiraba nti wa muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa?

9 Kiki ekyayamba Maria? Bwe yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa, bakkiriza banne baamubudaabuda era ne bamuyamba okweraba nga Yakuwa bw’amulaba. Agamba nti: “Ab’oluganda ne bannyinaze mu kibiina bankoledde ebintu ebirungi bingi era byonna sisobola kubimenya ne mbimalayo! Nneebaza Yakuwa n’omutima gwange gwonna olw’okunsembeza mu kibiina kye ekirimu abantu abalagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala.” Ab’oluganda ne bannyinaffe mu kibiina Maria ky’alimu bamuyambye okukiraba nti wa muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa.

10. Kizibu ki Maliyamu Magudaleena kye yalina, era kyali kimuleetera kuwulira atya? (Laba n’ebifaananyi.)

10 Lowooza ku Maliyamu Magudaleena, omuntu omulala Yesu gwe yayamba. Omukyala oyo yaliko dayimooni musanvu! (Luk. 8:2) Kirabika dayimooni zaamuleeteranga okukola ebintu ebitali bya bulijjo era ekyo ne kiviirako abantu okumwewala. Omukyala oyo yabonaabona nnyo era ateekwa okuba yawuliranga nti talina bukuumi, era nti tewali asobola kumuyamba. Kirabika Yesu yagoba dayimooni omukyala oyo ze yalina era oluvannyuma omukyala oyo yafuuka omugoberezi we. Mu ngeri ki endala Yesu gye yayamba Maliyamu Magudaleena okukitegeera nti yali wa muwendo nnyo eri Yakuwa?

Ebifaananyi: 1. Maliyamu Magudaleena afukamidde era mweraliikirivu, Yesu amutunuulidde. 2. Maliyamu Magudaleena atambula ne Yesu awamu n’abayigirizwa be abalala era musanyufu.

Yesu yakakasa atya Maliyamu Magudaleena nti yali wa muwendo nnyo eri Yakuwa? (Laba akatundu 10-11)


11. Yesu yakiraga atya nti Maliyamu Magudaleena yali wa muwendo nnyo eri Yakuwa? (Laba n’ebifaananyi.)

11 Yesu yawa Maliyamu Magudaleena enkizo ey’okutambulanga naye ng’abuulira mu bitundu ebitali bimu.b N’ekyavaamu Maliyamu yayiga ebintu bingi bye yawuliranga nga Yesu ayigiriza abantu abalala. Ate era ku lunaku Yesu lwe yazuukira yalabikira Maliyamu. Y’omu ku bagoberezi be gwe yasooka okwogera naye ku lunaku olwo. Ate era Yesu yawa Maliyamu obuvunaanyizibwa okutegeeza abatume nti azuukiziddwa. Ebyo byonna Yesu bye yakola byayamba Maliyamu okukiraba nti wa muwendo nnyo eri Yakuwa!—Yok. 20:​11-18.

12. Kiki ekyaleetera Lidia okulowooza nti abalala tebasobola kumwagala?

12 Nga bwe kyali eri Maliyamu Magudaleena, abantu bangi leero bawulira nti tewali muntu n’omu asobola kubaagala. Mwannyinaffe Lidia ow’omu Spain agamba nti bwe yali mu lubuto lwa maama we nga tannazaalibwa, maama we yayagala okuggyamu lubuto, era nti bwe yali akyali muto maama we teyamufangako era yamuvumanga. Agamba nti: “Olw’okuba maama wange teyandaga kwagala, bulijjo nnali njagala nnyo abantu abalala okunjagala n’okubeera mikwano gyange. Nnali mpulira nti sigwanira kwagalwa muntu yenna kubanga okuviira ddala mu buto maama wange yaŋŋambanga nti ndi muntu mubi.”

13. Kiki ekyayamba Lidia okukitegeera nti wa muwendo nnyo eri Yakuwa?

13 Lidia bwe yayiga amazima, ebintu byakyuka. Okusaba Yakuwa, okwesomesa Bayibuli, ebigambo eby’ekisa bakkiriza banne bye baamugambanga, n’ebirungi bye baamukoleranga byamuyamba okukitegeera nti wa muwendo nnyo eri Yakuwa. Agamba nti: “Omwami wange bulijjo aŋŋamba nti anjagala nnyo. Buli kiseera ayogera ku ngeri ennungi ze nnina, era ne mikwano gyange abalala nabo bakola kye kimu.” Olinayo omuntu mu kibiina kyammwe gw’omanyi eyeetaaga okuyambibwa okukitegeera nti wa muwendo nnyo eri Yakuwa?

EBINAATUYAMBA OKWERABA NGA YAKUWA BW’ATULABA

14. Ebyo ebiri mu 1 Samwiri 16:7 bituyamba bitya okutegeera engeri Yakuwa gy’atwalamu abantu? (Laba n’akasanduuko “Lwaki Yakuwa Atwala Abantu Be nga ba Muwendo?”)

14 Kijjukire nti Yakuwa takutwala ng’abantu mu nsi bwe bakutwala. (Soma 1 Samwiri 16:7.) Abantu bangi mu nsi batwala omuntu nti wa muwendo nga basinziira ku ngeri gy’alabikamu, ssente z’alina, oba ku buyigirize bw’alina. Naye Yakuwa bw’atyo si bwali. (Is. 55:​8, 9) N’olwekyo fuba okweraba nga Yakuwa bw’akulaba so si ng’abantu mu nsi bwe bakutwala. Bayibuli eyogera ku bantu emirundi egimu abaawuliranga nti si ba mugaso, gamba nga Eriya, Nawomi, ne Kaana. Bw’osoma ebikwata ku bantu abo, ojja kukiraba nti Yakuwa yali abatwala nti ba muwendo nnyo. Osobola n’okuwandiika ebintu ebibaddewo mu bulamu bwo ebiraga nti Yakuwa akwagala nnyo era akutwala nti oli wa muwendo. Ate era osobola okusoma ebitundu ebikwata ku bantu abaali babuusabuusa obanga Yakuwa abaagala ebisangibwa ku mukutu gwaffe.c

Lwaki Yakuwa Atwala Abantu Be nga ba Muwendo?

Yakuwa yatonda abantu nga ba njawulo nnyo ku nsolo. Yatutonda nga tusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye era ne tufuuka mikwano gye. (Lub. 1:27; Zab. 8:5; 25:14; Is. 41:8) Eyo nsonga nkulu nnyo etuleetera okukitegeera nti tuli ba mugaso. Kyokka waliwo n’ensonga esinga ku eyo. Bwe tusalawo okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, okumugondera era ne twewaayo gy’ali tufuuka ba muwendo nnyo eri Katonda waffe era Omutonzi waffe.—Is. 49:15.

15. Lwaki Danyeri yali “wa muwendo nnyo” mu maaso ga Yakuwa? (Danyeri 9:23)

15 Kijjukire nti bw’oba omwesigwa eri Yakuwa kikufuula wa muwendo gy’ali. Lumu nnabbi Danyeri bwe yali anaatera okuweza emyaka nga 100 yawulira ‘ng’akooye nnyo’ era ng’aweddemu amaanyi. (Dan. 9:​20, 21) Yakuwa yamuzzaamu atya amaanyi? Katonda yatuma malayika Gabulyeri okutegeeza Danyeri nti “wa muwendo nnyo,” era nti essaala ze zaali ziwuliddwa. (Soma Danyeri 9:23.) Lwaki Danyeri yali wa muwendo nnyo eri Yakuwa? Kubanga Danyeri yali ayagala nnyo okukola ekituufu era yali mwesigwa. (Ezk. 14:14) Yakuwa yawandiisa ebimukwatako mu Bayibuli tusobole okubudaabudibwa. (Bar. 15:4) Naawe Yakuwa awuliriza essaala zo era akwagala nnyo kubanga oyagala okukola ekituufu era omuweereza n’obwesigwa.—Mik. 6:​8, obugambo obuli wansi; Beb. 6:10.

16. Kiki ekisobola okukuyamba okutwala Yakuwa nga Kitaawo akwagala?

16 Yakuwa mutwale nga Kitaawo akwagala ennyo. Ayagala okukuyamba so si kukunoonyamu nsobi. (Zab. 130:3; Mat. 7:11; Luk. 12:​6, 7) Okufumiitiriza ku Yakuwa nga Kitaffe atwagala kiyambye abantu bangi abawulira nti tebalina mugaso. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mwannyinaffe Michelle ow’omu Spain, eyali awulira nti tayagalibwa era nti talina mugaso kubanga omwami we yamuvumanga okumala emyaka mingi. Agamba nti: “Buli lwe mpulira nti sirina mugaso, ngezaako okukuba akafaananyi nga Yakuwa ansitudde mu mikono gye, ng’andaga okwagala era ng’ampa obukuumi.” (Zab. 28:9) Mwannyinaffe Lauren ow’omu South Africa agamba nti: “Bwe kiba nti olw’okwagala kwe Yakuwa yansembeza gy’ali n’annyamba okusigala nga nnina enkolagana ey’oku lusegere naye emyaka gino gyonna era ng’ankozesa okuyigiriza abalala, ateekwa okuba ng’antwala nti ndi wa mugaso era nti ndi wa muwendo gy’ali.”—Kos. 11:4.

17. Kiki ekiyinza okukuyamba okuba omukakafu nti Yakuwa akusiima? (Zabbuli 5:12) (Laba n’ekifaananyi.)

17 Beera mukakafu nti Yakuwa akusiima. (Soma Zabbuli 5:12.) Okuba abakakafu nti Yakuwa atusiima Dawudi yakigeraageranya ku ‘ngabo ennene’ ekuuma abantu abatuukirivu. Okukimanya nti Yakuwa akusiima era akuyamba kiyinza okukuyamba obutaggwaamu maanyi bw’oba obuusabuusa nti toli wa mugaso. Oyinza otya okumanya nti Yakuwa akusiima? Nga bwe tulabye, Yakuwa atuwadde Bayibuli okutuyamba okumanya engeri gy’atutwalamu. Ate era akozesa abakadde mu kibiina, mikwano gyaffe egy’oku lusegere, n’abalala okutuyamba okukitegeera nti tuli ba muwendo nnyo gy’ali. Abalala bwe bakugamba ebigambo ebizzaamu amaanyi, osaanidde kukola ki?

Mwannyinaffe agenda okubuulira ng’ali wamu n’omubuulizi omulala amukutte ku kibegaabega, era bonna basanyufu.

Okukimanya nti Yakuwa atusiima kisobola okutuyamba okwewala okubuusabuusa obanga tuli ba mugaso (Laba akatundu 17)


18. Lwaki osaanidde okukkiriza ebigambo abalala bye bakugamba nga bakusiima?

18 Abantu abakumanyi era abakwagala bwe boogera ebigambo ebikusiima, kkiriza kye baba bakugamba. Kijjukire nti Yakuwa ayinza okuba abakozesa okukuyamba okuba omukakafu nti akusiima. Michelle eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Mpolampola ŋŋenda njiga okukkiriza ebigambo eby’ekisa abalala bye baŋŋamba ebiraga nti bansiima. Tekinnyanguyira kukkiriza bigambo ng’ebyo naye nkimanyi nti ekyo Yakuwa ky’ayagala nkole.” Ate era Michelle aganyuddwa nnyo mu buyambi abakadde bwe bamuwa. Kati aweereza nga payoniya owa bulijjo era alina emirimu gy’akola okuwagira Beseri ng’asinziira waka.

19. Kiki ekisobola okukuyamba okuba omukakafu nti oli wa muwendo nnyo mu maaso ga Katonda?

19 Yesu atujjukiza nti tuli ba muwendo nnyo eri Kitaffe ow’omu ggulu. (Luk. 12:24) N’olwekyo tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa atutwala nti tuli ba muwendo nnyo gy’ali era ekyo tetusaanidde kukyerabira! Ka tukole kyonna kye tusobola okuyamba abalala okukitegeera nti ba muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa!

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Yesu yayamba atya abantu okukitegeera nti ba muwendo nnyo mu maaso ga Katonda?

  • Yesu yayamba atya omukyala eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi?

  • Kiki ekisobola okutuyamba okwetunuulira nga Yakuwa bw’atutunuulira?

OLUYIMBA 139 Weerabe nga Byonna Bizziddwa Buggya

a Amannya agamu gakyusiddwa.

b Kirabika Maliyamu Magudaleena y’omu ku bakazi abaatambulanga ne Yesu. Abakyala abo baakozesanga ebintu byabwe okukola ku byetaago bya Yesu n’abatume be.—Mat. 27:​55, 56; Luk. 8:​1-3.

c Ng’ekyokulabirako, laba essuula 24 ey’akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa era soma n’ebyo ebiri wansi w’omutwe, “Okubuusabuusa” mu kitabo Emisingi gya Bayibuli Egisobola Okutuyamba mu Bulamu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share